6. Omulimu gw’Okubuulira Ogukolebwa mu Nsi Yonna
“Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu.”—MATAYO 24:14.
● Omukyala ayitibwa Vaiatea abeera ku kizinga ekyesudde ekiri ku guyanja Pacific mu kitundu ekiyitibwa Tuamotu. Wadde nga ekitundu ekyo Tuamotu kiriko obuzinga obutonotono nga 80 era nga kiweza yiika 198,400,000 (802,900 sq km), kiriko abantu nga 16,000 bokka. Wadde kiri kityo, Abajulirwa ba Yakuwa baakyalira Vaiatea ne baliraanwa be. Lwaki? Kubanga Abajulirwa ba Yakuwa baagala okubuulira abantu bonna amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda—ka babe mu kifo ki.
OBUKAKAFU OBULIWO BULAGA KI? Amawulire g’Obwakabaka gabuulirwa kumpi mu buli kanyomero k’ensi. Mu mwaka 2010 gwokka, Abajulirwa ba Yakuwa baamala essaawa ezisoba mu kawumbi kamu mu obukadde lukaaga nga babuulira amawulire amalungi mu nsi 236. Okutwalira awamu, buli Mujulirwa wa Yakuwa yabuuliranga eddakiika 30 buli lunaku. Mu myaka kkumi egiyise, bakubye era ne bagaba ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli ebisoba mu buwumbi 20.
ABATAKKIRIZIGANYA NA BUKAKAFU BUNO BATERA KWOGERA KI? Obubaka obuli mu Bayibuli bubuuliddwa okumala enkumi n’enkumi z’emyaka.
ENDOWOOZA EYO NTUUFU? Kyo kituufu nti bangi bagezezzaako okubuulira obubaka obuli mu Bayibuli. Kyokka, abasinga obungi bakikoze okumala ekiseera kitono era mu bitundu bitono. Naye bo Abajulirwa ba Yakuwa babuulira mu nsi yonna mu ngeri entegeke obulungi era batuuka ku bukadde n’obukadde bw’abantu. Abajulirwa ba Yakuwa beeyongedde okukola omulimu gwabwe ogw’okubuulira wadde nga bafunye okuziyizibwa okuva eri ebimu ku bibiina ebisinga okuba eby’amaanyi era eby’abantu abakambwe ennyo mu byafaayo by’omuntu.a (Makko 13:13) Ng’oggyeko ekyo, Abajulirwa ba Yakuwa tebasasulwa kukola mulimu gwa kubuulira. Wabula, bawaayo ebiseera byabwe kyeyagalire era tebatunda bitabo byabwe. Omulimu gwabwe gwonna guyimiriziddwawo n’ebiweebwayo kyeyagalire.
GGWE OLOWOOZA OTYA? Ddala “amawulire amalungi ag’obwakabaka” gaabuulirwa mu nsi yonna? Kyandiba nti okutuukirizibwa kw’obunnabbi buno kulaga nti waliwo ebintu ebirungi ebijja mu maaso awo?
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo, laba vidiyo zino essatu: “Faithful Under Trials,” “Purple Triangles,” ne “Jehovah’s Witnesses Stand Firm Against Nazi Assault,” ezaafulumizibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 9]
“Tujja kweyongera okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu, nga tukozesa engeri zonna ezisoboka okutuuka ku bantu, okutuusiza ddala Yakuwa lw’aligamba nti omulimu guwedde.”—AKATABO AKAYITIBWA 2010 YEARBOOK OF JEHOVAH’S WITNESSES