Abasomi Baffe Babuuza . . .
Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Babuulira Nnyumba ku Nnyumba?
▪ Yesu yalagira abagoberezi be nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, . . . nga mubayigiriza.” (Matayo 28:19, 20) Ekiragiro ekyo kikwata ku Bakristaayo bonna? Abayigirizwa ba Yesu abasooka baali bakimanyi nti kikwata ku Bakristaayo bonna. Ng’ekyokulabirako, omutume Peetero yagamba nti: “[Yesu] yatulagira okubuulira abantu n’okuwa obujulirwa mu bujjuvu.” (Ebikolwa 10:42) Ate era n’omutume Pawulo yawandiika ng’agamba nti: “Nnina okugalangirira. Mazima ddala zinsanze bwe sirangirira mawulire malungi!”—1 Abakkolinso 9:16.
Pawulo ne Peetero si be bokka abaagondera ekiragiro kya Yesu ekyo, Abakristaayo bonna ab’omu kyasa ekyasooka baakigondera. Omulimu gw’okubuulira gwe baakulembezanga mu bulamu bwabwe. (Ebikolwa 5:28-32, 41, 42) Leero, Abajulirwa ba Yakuwa nabo bafuba okukola kye kimu. Babuulira amawulire Yesu ge yabuuliranga, amawulire agakwata ku ‘Bwakabaka obw’omu ggulu.’—Matayo 10:7.
Baani abasaanidde okubuulirwa amawulire g’Obwakabaka? Yesu yalaga nti abantu bonna balina okubuulirwa amawulire ago yonna gye bali. Yagamba abayigirizwa be nti: “Muliba bajulirwa bange . . . okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.” (Ebikolwa 1:8) Yagamba n’okugamba nti ng’enkomerero y’enteekateeka y’ensi eno tennatuuka, “amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa.” (Matayo 24:14) Nga bagondera ekiragiro ekyo, Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka tebaabuuliranga mikwano gyabwe n’abantu abatalina ddiini bokka, wabula baafubanga okubuulira abantu bonna. (Abakkolosaayi 1:23; 1 Timoseewo 2:3, 4) Mu ngeri y’emu leero, Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okubuulira buli muntu.a
Engeri esingayo obulungi ey’okubuuliramu amawulire g’Obwakabaka y’eruwa? Yesu, eyali amanyi engeri y’okutuuka ku bantu abasinga obungi, yatuma abayigirizwa be okubuulira mu bibuga, mu byalo, ne mu maka g’abantu. (Matayo 10:7, 11, 12) Oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu n’okuzuukira kwe, abayigirizwa be beeyongera okubuulira “nnyumba ku nnyumba.” (Ebikolwa 5:42) Nga Yesu bwe yakola, nabo baabuuliranga mu bitundu byonna gye baasanganga abantu ne mu bifo ebya lukale. (Yokaana 4:7-26; 18:20; Ebikolwa 17:17) Leero, Abajulirwa ba Yakuwa bakozesa engeri ze zimu okubuulira abantu bonna.
Yesu yalaga nti abantu abamu tebandiwulirizza mawulire ga Bwakabaka. (Matayo 10:14; 24:37-39) Ekyo kyandireetedde Abakristaayo okulekera awo okubuulira? Lowooza ku kyokulabirako kino: Singa obadde omu ku abo abanoonya abantu ekizimbe be kigwiridde, wandirekedde awo okunoonya olw’okuba oluvannyuma lw’okunoonyeza ekiseera kitono mufunyeyo abantu batono nnyo abawonyeewo? Nedda, wandyeyongedde okunoonya bwe kiba nti waliwo omuntu yenna gw’osuubira okuwonya. Yesu yakubiriza abayigirizwa be okunyiikira okubuulira kasita waabaawo essuubi ery’okufunayo abantu abanaawuliriza amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. (Matayo 10:23; 1 Timoseewo 4:16) Mu kunoonya abantu ng’abo nga babuulira nnyumba ku nnyumba, Abajulirwa ba Yakuwa balaga nti baagala Katonda n’abantu abalala. Singa abantu abo bawulira amawulire agakwata ku Bwakabaka era ne bagakolerako, bajja kulokolebwa.—Matayo 22:37-39; 2 Abassessaloniika 1:8.
Magazini eno gy’osoma erimu amawulire ago ag’omu Bayibuli. Okumanya ebisingawo, yogerako n’Abajulirwa ba Yakuwa bwe banaaba bakukyalidde, oba wandiikira abakuba magazini eno.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu kiseera kino, Abajulirwa ba Yakuwa babuulira mu nsi 236. Omwaka oguwedde, baamala essaawa akawumbi kamu mu obukadde lusanvu mu mulimu gw’okubuulira era abantu be baayigiriza Bayibuli okwetoloola ensi yonna baali obukadde munaana mu emitwalo ataano.