Bye Njiga mu Bayibuli
EMYAKA 3 N’OKUDDA WANSI
Laba ebisolo okumpi n’eryato lya Nuuwa.
Biruwa ebiŋooŋa, ate biruwa ebiboggola?
Ebisolo byonna, ebimpi n’ebiwanvu, Eryato lya Nuuwa lyabiwonya byonna. Olubereberye 7:7-10; 8:15-17
EBY’OKUKOLA
Gamba omwana wo asonge ku:
Eryato Eddubu Embwa
Enjovu Entugga Empologoma
Enkima Embizzi Endiga
Entulege Musoke Omuti
Geegeenya eddoboozi lya:
Embwa Empologoma Enkima
Embizzi Endiga