KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE
‘Yatambulira Wamu ne Katonda’
KUBA akafaananyi nga Nuuwa assa ekikkowe. Atuula ku nduli y’omuti awummuleko, ng’eno bw’atunuulira eryato eddene ennyo eritannaba kuggwa. Envumbo gye basiize ku lyato ewunya nnyo, era n’ebyuma bye bakozesa bireekaana. Era kuba akafaananyi nga Nuuwa atunuulira batabani be abakola ennyo okuzimba eryato. Batabani be, baka batabani be, awamu ne mukyala we, bamaze emyaka egiwera nga bakolera wamu naye okuzimba eryato eryo. Balina we batuuse, naye bakyalina omulimu munene nnyo!
Abantu b’omu kitundu ekyo bonna baali balowooza nti Nuuwa n’ab’omu maka ge basiru. Eryato gye lyakoma okuzimbibwa, n’abantu gye baakoma okubasekerera n’obutakkiriza nti wayinza okubaawo amataba agayinza okubuutikira ensi yonna. Nuuwa yafuba okubalabula nti amataba gajja, naye yali ng’afuuyira endiga omulere. Baali balowooza nti Nuuwa n’ab’omu maka ge boonoonera ebiseera byabwe ku kintu ekitalina mugaso. Naye ye Yakuwa, Katonda wa Nuuwa, yali takitwala bw’atyo.
Bayibuli egamba nti: ‘Nuuwa yatambulira wamu ne Katonda.’ (Olubereberye 6:9) Ekyo kitegeeza ki? Tekitegeeza nti Katonda yajja ku nsi n’atambula ne Nuuwa oba nti Nuuwa yagenda mu ggulu. Wabula kitegeeza nti Nuuwa yagondera Katonda we, era yamwagala nnyo ne baba ng’ab’omukwano abatambulira awamu. Oluvannyuma lw’enkumi n’enkumi z’emyaka, Bayibuli yayogera bw’eti ku Nuuwa: “Okuyitira mu kukkiriza [kwe] yasalira ensi omusango.” (Abebbulaniya 11:7) Nuuwa yasalira atya ensi omusango okuyitira mu kukkiriza kwe? Leero, tuyinza tutya okumukoppa?
OMUSAJJA OMULUNGI MU NSI EMBI
Mu kiseera kya Nuuwa ensi yali yeeyongera bweyongezi okwonooneka. Ensi yali mbi ne mu kiseera kya Enoka jjajjaawe, nga naye yali musajja mutuukirivu eyatambula ne Katonda. Enoka yali yalagula nti ekiseera kyandituuse abantu abatatya Katonda ne basalirwa omusango. Mu kiseera kya Nuuwa abantu baali beeyongeredde ddala obuba ababi. Mu butuufu, okusinziira ku ndaba ya Yakuwa, ensi yali eyonoonese, era ng’ejjudde eddalu. (Olubereberye 5:22; 6:11; Yuda 14, 15) Kiki ekyaviirako ensi okwonooneka bw’etyo?
Waliwo ekintu ekibi ennyo abamu ku baana ba Katonda ab’omwoyo, oba bamalayika kye baakola. Omu ku bo yali yajeemera dda Katonda n’afuuka Sitaani Omulyolyomi, bwe yawaayiriza Katonda era n’aleetera Adamu ne Kaawa okwonoona. Mu kiseera kya Nuuwa, bamalayika abalala baajeemera Katonda. Baaleka ebifo byabwe mu ggulu ne bajja ku nsi ne beefuula abantu, era ne bawasa abakazi abalabika obulungi. Bamalayika abo ab’amalala, abeefaako bokka, era abajeemu, baaviirako abantu okwonooneka.—Olubereberye 3:1-5; 6:1, 2; Yuda 6, 7.
Okugatta ku ekyo, abaana bamalayika abo be baazaala mu bantu baali bawagguufu era nga ba maanyi nnyo. Bayibuli ebayita Abanefuli, ekitegeeza, abaleetera abalala okugwa. Abanefuli baali bakambwe nnyo era baaleetera abantu okweyongera okuba abakambwe n’obutatya Katonda. Tekyewuunyisa nti Omutonzi yagamba nti, “obubi bw’omuntu [bwali] bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw’ebirowoozo eby’omu mu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo.” Yakuwa yasalawo okuzikiriza abantu abo oluvannyuma lw’emyaka 120.—Olubereberye 6:3-5.
Nuuwa ne mukyala we baalina okuyamba abaana baabwe baleme kwonoonebwa abantu ababi
Kiteeberezeemu okukuliza omwana mu nsi efaanana bw’etyo! Naye ekyo Nuuwa yasobola okukikola. Yafuna omukyala omulungi. Nuuwa bwe yali aweza emyaka 500 egy’obukulu, mukyala we yamuzaalira abaana ab’obulenzi basatu—Seemu, Kaamu, ne Yafeesi.a Nuuwa ne mukyali we baalina okuyamba abaana baabwe baleme kwonoonebwa abantu ababi abaaliwo mu kiseera ekyo. Abaana abalenzi batera okwegomba abantu ‘ab’amaanyi’ era ‘abaatiikirivu.’ N’olwekyo batabani ba Nuuwa bandibadde beegomba Abanefuli abo. Wadde nga Nuuwa ne mukyala we baali tebasobola kuziyiza batabani baabwe kuwulira buli kikolwa kibi Abanefuli kye baakolanga, baabayigiriza ebikwata ku Yakuwa Katonda. Baabayamba okukimanya nti Yakuwa akyayira ddala ebikolwa byonna ebibi nga mw’otwalidde n’ebikolwa eby’obukambwe.—Olubereberye 6:6.
Ne leero, abazadde bali mu mbeera Nuuwa ne mukyala we gye baalimu. Ensi gye tulimu nayo mbi nnyo, erimu ebikolwa eby’obukambwe n’obujeemu. N’eby’okwesanyusaamu ebisinga obungi bijjudde ebikolwa eby’obukambwe. Abazadde abafaayo ku baana baabwe bafuba okubayamba okwewala eby’okwesanyusaamu ng’ebyo nga babayigiriza ebikwata ku Yakuwa, Katonda ow’emirembe, anaatera okuzikiriza abantu bonna abakola ebikolwa eby’obukambwe. (Zabbuli 11:5; 37:10, 11) Ne mu nsi eno ennyonoonefu, abazadde basobola okuyigiriza abaana baabwe empisa ennungi! Ekyo Nuuwa ne mukyala we baasobola okukikola. Batabani baabwe baakula nga bantu balungi, era ne bawasa abakyala abakola Katonda by’ayagala.
“WEEKOLERE ERYATO”
Lwali lumu, Yakuwa n’abuulira Nuuwa omuweereza we omwesigwa, nti yali agenda kuzikiriza abantu bonna ababi. Yamugamba nti: “Weekolere eryato n’omuti goferi.”—Olubereberye 6:14.
Eryato lya Nuuwa teryali ng’amaato aga bulijjo. Lyakolebwa ng’esanduuko ennene ennyo, era lyali lisobola okuseeyeeya ku mazzi. Yakuwa yabuulira Nuuwa ebipimo by’eryato eryo, yamuwa obulagirizi ku ngeri y’okulizimbamu, era n’amugamba okulisiiga envumbo munda ne kungulu. Ate era yamubuulira ensonga lwaki yamugamba okulizimba. Yamugamba nti: “Ndireeta amataba ag’amazzi ku nsi . . . Buli ekiri mu nsi kirifa.” Ate era, Yakuwa yagamba Nuuwa nti: “Oliyingira mu lyato, ggwe n’abaana bo, ne mukazi wo, n’abakazi b’abaana bo.” Okugatta ku ebyo, Nuuwa yalina okuyingiza mu lyato ebiramu ebya buli ngeri bibiri bibiri. Abo bokka abandibadde mu lyato be bandiwonyeewo ng’amataba gazze.—Olubereberye 6:17-20.
Nuuwa yalina omulimu munene ddala, kubanga eryato eryo lyali ddene nnyo. Lyali lya ffuuti nga 437 obuwanvu, ffuuti nga 73 obugazi, ne ffuuti nga 44 obugulumivu. Tewali mmeeri yali ekoleddwa mu mbaawo eyenkana n’eryato lya Nuuwa, ka zibe ezo ezikoleddwa ku mulembe guno. Nuuwa yagezaako okwewala okukola omulimu ogwo nga yeemulugunya nti munene nnyo, oba okwewala okukola ebintu ebimu gusobole okumwanguyira? Nedda. Bayibuli egamba nti: “Nuuwa n’akola bw’atyo; nga byonna Katonda bye yamulagira bw’atyo bwe yakola.”—Olubereberye 6:22.
Omulimu ogwo gwatwala emyaka nga 40 oba 50. Emiti gyalina okutemebwa, enduli zaalina okuwalulwa, okusalibwamu embaawo, ssaako okuzigatta. Eryato lyalina kuba lya myaliiro essatu omuli ebisenge eby’enjawulo, era lyalina okubaako oluggi. Liteekwa okuba nga lyaliko obudirisa waggulu, era nga waggulu waalyo lyakolebwa mu ngeri esobozesa amazzi okukulukuta.—Olubereberye 6:14-16.
Emyaka bwe gyagenda giyitawo nga n’omulimu gw’okuzimba eryato gugenda mu maaso, Nuuwa ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okulaba ng’ab’omu maka ge bakolera wamu naye! Waliwo ekirala kye yalina okukola ekiyinza okuba nga kyali kizibu nnyo n’okusinga okuzimba eryato. Bayibuli egamba nti Nuuwa yali ‘mubuulizi wa butuukirivu.’ (2 Peetero 2:5) Ekyo kitegeeza nti yawoma omutwe mu kulabula abantu ababi era abatatya Katonda, ku mataba agaali gagenda okujja. Abantu abo bwe baalabulwa, baakolawo ki? Yesu yagamba nti ‘tebaafaayo.’ Yagamba nti baali beemalidde ku bintu ebya bulijjo, gamba ng’okulya, okunywa, okuwasa n’okufumbirwa, ne batassaayo mwoyo ku ebyo Nuuwa n’ab’omu maka ge bye baali bababuulira. (Matayo 24:37-39) Bangi bateekwa okuba nga baabasekereranga; abamu bayinza n’okuba nga baabatiisatiisanga ssaako okubayigganya.
Wadde nga Yakuwa yali awadde Nuuwa omukisa mu byonna bye yali akola, abantu baamusekerera era tebaamuwuliriza
Wadde kyali kityo, Nuuwa n’ab’omu maka ge tebaalekulira. Beeyongera okuzimba eryato wadde ng’abantu abaali babeetoolodde baali babatwala ng’abasirusiru, era nti kye baali bakola tekirina mugaso. Amaka Amakristaayo leero galina bingi bye gayinza okuyigira ku Nuuwa n’ab’omu maka ge, kubanga tuli mu kiseera Bayibuli ky’eyita “ennaku ez’oluvannyuma” ez’ensi eno embi. (2 Timoseewo 3:1) Yesu yagamba nti ekiseera kyaffe kyandibadde ng’ekiseera Nuuwa we yazimbira eryato. Abantu be tubuulira amawulire agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda bwe baba tebeefiirayo, nga batusekerera, oba nga batuyigganya, tusaanidde okukijjukira nti ne Nuuwa yayisibwa mu ngeri eyo.
“YINGIRA . . . MU LYATO”
Kyatwala emyaka mingi okumaliriza eryato eryo. Nuuwa bwe yali anaatera okuweza emyaka 600 egy’obukulu, yafiirwa abantu be. Kitaawe Lameka, yafa.b Nga wayiseewo emyaka etaano, ne jjajjaawe Mesuseera yafa ng’aweza emyaka 969 egy’obukulu, era nga ye muntu akyasinze okuwangaala mu byafaayo. (Olubereberye 5:27) Mesuseera ne Lameka baaliwoko mu kiseera kye kimu ne Adamu, omuntu eyasooka okutondebwa.
Mu mwaka ogwo gwennyini, Katonda yagamba Nuuwa nti: “Yingira ggwe n’ennyumba yo yonna mu lyato.” Ate era yamugamba okuyingiza mu lyato ebisolo ebya buli kika. Ku bisolo ebirongoofu, yamugamba kuyingizaamu musanvu musanvu, kwe yandiggye eby’okuwaayo nga ssaddaaka, ate ebirala n’amugamba kuyingizaamu bibiri bibiri.—Olubereberye 7:1-3.
Kuba akafaananyi ng’olaba ebitonde ebya buli kika: ebitambula, ebibuuka, ebyewalula, eby’ebikula eby’enjawulo, n’engeri ez’enjawulo; nga byonna bigenda mu lyato. Nuuwa tekyamwetaagisa kubiwaliriza kuyingira mu lyato. Bayibuli egamba nti “ne biyingira eri Nuuwa mu lyato.”—Olubereberye 7:9.
Abamu bayinza okwebuuza nti: ‘Ekyo kyasoboka kitya? Ebisolo ebyo byonna byasobola bitya okubeera awamu mu mirembe?’ Lowooza ku kino: Olowooza Omutonzi w’ebintu byonna asobola okulemererwa okufuga ebisolo ne bitatuusa bulabe ku binaabyo? Kijjukire nti Yakuwa ye Katonda eyayawulamu Ennyanja Emmyufu, era eyayimiriza enjuba mu kifo kimu. Kati olwo yandiremereddwa okukola ebyo byonna ebyaliwo mu kiseera kya Nuuwa? Yali asobola bulungi okubikola!
Awatali kubuusabuusa, Katonda yandisobodde okuwonyaawo ebisolo ebyo mu ngeri endala. Naye yasalawo okubiwonyaawo mu engeri etuyamba okujjukira nti yakwasa abantu obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ebitonde byonna ebiramu. (Olubereberye 1:28) N’olwekyo, leero abazadde bangi bakozesa ebyo ebyaliwo mu kiseera kya Nuuwa okuyigiriza abaana baabwe nti Katonda ayagala nnyo abantu, era n’ebisolo abitwala nga bya muwendo.
Yakuwa yagamba Nuuwa nti amataba gaali gagenda kujja oluvannyuma lwa wiiki. Nuuwa n’ab’omu maka ge bateekwa okuba nga baalina eby’okukola bingi nnyo mu wiiki eyo. Lowooza ku mirimu gye baalina gamba ng’okutegeka ebisolo mu lyato, okuyingiza emmere yaabyo, n’okuyingiza ebintu byabwe. Muka Nuuwa ne baka batabani be bateekwa okuba nga baakola nnyo okuteekateeka we baali bagenda okubeera mu lyato eryo.
Abantu abalala bo baakolawo ki? Baasigala “tebeefiirayo” wadde nga kyali kyeyoleka kaati nti Yakuwa awadde Nuuwa omukisa mu byonna bye yali akola. Baalaba ng’ebisolo biyingira mu lyato naye tebalina kye baakolawo. Naye ekyo tekisaanidde kutwewuunyisa. Ne leero waliwo obukakafu obw’enkukunala obulaga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma ez’ensi eno embi, naye abantu tebeefiirayo. Ng’omutume Peetero bwe yagamba, abasekerezi beeyongedde okusekerera abo abakolera ku kulabula kwa Katonda. (2 Peetero 3:3-6) Bwe kityo bwe kyali ne mu kiseera kya Nuuwa.
Abantu baakoma ddi okusekerera Nuuwa n’ab’omu maka ge? Bayibuli eraga nti Nuuwa n’ab’omu maka ge bwe baamala okuyingiza ebisolo mu lyato era nabo ne bayingira, Yakuwa yaggalawo oluggi. Bwe kiba nti abamu ku abo abaabasekereranga baaliwo, enseko ziteekwa okuba nga zaabakalira ku matama. Bwe kitaba kityo, enkuba eteekwa okuba nga yabasirisa, kubanga yatandika okufukumuka, amataba ne gabuutikira ensi yonna nga Yakuwa bwe yali agambye.—Olubereberye 7:16-21.
Abantu abo ababi bwe baafa, Yakuwa yasanyuka? Nedda! (Ezeekyeri 33:11) Yali abawadde akakisa okukyusa empisa zaabwe bakole ebirungi. Ddala bandisobodde okukola ebirungi? Yee, kubanga Nuuwa yabikolanga. Nuuwa bwe yagondera Katonda mu bintu byonna, kyalaga nti abantu abalala nabo baali basobola okumugondera ne bawonawo. Mu ngeri eyo, okuyitira mu kukkiriza kwe, yasalira ensi omusango; kyeyoleka kaati nti abantu b’omulembe ogwo baali babi nnyo. Okukkiriza kwe kwamuwonyaawo n’ab’omu maka ge. Bw’onookoppa okukkiriza kwa Nuuwa, ojja kuwonawo era owonyeewo n’abalala. Okufaananako Nuuwa osobola okutambula ne Katonda, era ajja kuba mukwano gwo emirembe gyonna!
a Abantu ab’omu kiseera ekyo baawangaalanga nnyo. Ekyo kirabika kyava ku kuba nti baaliwo mu kiseera nga Adamu ne Kaawa baakafiirwa obulamu obutuukiridde.
b Lameka yatuuma mutabani we erinnya Nuuwa, eritegeeza “Ekiwummulo,” era yalagula nti Nuuwa yandisobozesezza abantu okufuna ekiwummulo okuva mu kutegana ku ttaka eryakolimirwa, ng’amakulu g’erinnya lye bwe gali. (Olubereberye 5:28, 29) Lameka yafa ng’obunnabbi bwe tebunnatuukirizibwa.