Abasomi Baffe Babuuza . . .
Lwaki Katonda Yagamba Ibulayimu Okuwaayo Omwana We nga Ssaddaaka?
▪ Nga bwe kiragibwa mu kitabo kya Bayibuli ekya Olubereberye, Yakuwa Katonda yagamba Ibulayimu okuwaayo omwana we Isaaka nga ssaddaaka. (Olubereberye 22:2) Abasomi ba Bayibuli abamu kibazibuwalira okutegeera ekyawandiikibwa ekyo. Profesa omu ayitibwa Carol agamba nti: “Lwe nnasooka okuwulira ebigambo ebyo nga nkyali muto, nnanyiiga nnyo. Katonda wa ngeri ki ayinza okugamba omuntu okukola ekintu ng’ekyo?” Wadde nga okuba n’enneewulira ng’eyo kitegeerekeka, waliwo ensonga ze tusaanidde okulowoozaako.
Esooka, lowooza ku ekyo Yakuwa ky’ataakola. Teyakkiriza Ibulayimu kutta mwana we, wadde nga Ibulayimu yali amaliridde okukikola. Ate era Katonda taddangamu kugamba muntu yenna kuwaayo mwana we nga ssaddaaka. Yakuwa ayagala abaweereza be bonna, nga mw’otwalidde n’abaana abato, beeyongere okubeera abalamu, nga basanyufu era nga bamativu.
Eyokubiri, Bayibuli eraga nti Yakuwa yalina ensonga enkulu kwe yasinziira okugamba Ibulayimu okuwaayo omwana we nga ssaddaaka. Katonda yali akimanyi nti nga wayiseewo ebyasa bingi, yandiwaddeyo Omwana we Yesu,a okutufiirira. (Matayo 20:28) Yakuwa yali ayagala atulage engeri gye yandyefiirizzaamu okusobola okutununula. Yakuwa okugamba Ibulayimu akole ekintu ekyo yali awa kyakulabirako ekirungi ennyo ekiraga ngeri gye yandyefiirizzaamu ng’awaayo omwana we nga ssaddaaka. Lwaki tugamba bwe tutyo?
Lowooza ku bigambo Yakuwa bye yagamba Ibulayimu: “Twala omwana wo, omwana wo omu yekka Isaaka gw’oyagala ennyo, . . . omuweeyo ng’ekiweebwayo ekyokebwa.” (Olubereberye 22:2, NW ) Weetegereze nti Yakuwa yayogera ku Isaaka ng’omwana Ibulayimu gwe yali ‘ayagala ennyo.’ Yakuwa yali akimanyi nti Isaaka yali wa muwendo nnyo eri Ibulayimu. Katonda naye yali ayagala nnyo Omwana we Yesu. Yakuwa yali ayagala nnyo Yesu ne kiba nti yamwogerako emirundi ebiri ng’akozesa ebigambo, “Mwana wange omwagalwa.”—Makko 1:11; 9:7.
Ate era, mu lulimi Bayibuli mwe yawandiikibwa Yakuwa yakozesa ekigambo eky’Olwebbulaniya ekiraga nti yali asaba busabi Ibulayimu okuwaayo omwana we nga ssaddaaka. Ibulayimu alina okuba nga yanyolwa nnyo Yakuwa bwe yamugamba okuwaayo omwana we; mu ngeri y’emu, Yakuwa naye ateekwa okuba nga yalumwa nnyo bwe yalaba Omwana we ng’abonaabona era ng’afa. Awatali kubuusabuusa, ekyo kye kintu ekikyasinze okuleetera Yakuwa obulumi era tewali kirala kirimuleetera bulumi ng’obwo.
Wadde nga tuyinza okuyisibwa obubi bwe tulowooza ku ekyo Yakuwa kye yagamba Ibulayimu okukola, kiba kirungi okukijjukira nti Yakuwa teyakkiriza muweereza we oyo omwesigwa kutta mwana we. Yali tayagala Ibulayimu abe mu bulumi obw’amaanyi ennyo omuzadde bw’abeeramu ng’afiiriddwa omwana we; mu butuufu, Katonda yali tayagala Isaaka afe. Kyokka, Yakuwa teyaleka ‘Mwana we naye yamuwaayo ku lwaffe ffenna.’ (Abaruumi 8:32) Lwaki Yakuwa yakola ekintu ng’ekyo ekyamuleetera obulumi obw’amaanyi ennyo? Yakikola “tusobole okufuna obulamu.” (1 Yokaana 4:9) Nga Katonda atwagala nnyo! Ekyo tekyandituleetedde kulaga nti naffe tumwagala?b
[Obugambo obuli wansi]
a Bayibuli teyigiriza nti Katonda yazaala Yesu ng’abantu bwe bazaala. Wabula, Yakuwa yamutonda ng’ekitonde eky’omwoyo oluvannyuma n’amutuma ku nsi, n’azaalibwa Maliyamu omukazi eyali embeerera. Olw’okuba Katonda ye yatonda Yesu, ky’ava ayitibwa Kitaawe.
b Okuyiga ebisingawo ebikwata ku nsonga lwaki kyali kyetaagisa Yesu okutufiirira n’engeri gye tusobola okulaga nti tusiima kye yatukolera, laba essuula 5 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?