LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • my olugero 14
  • Katonda Agezesa Okukkiriza kwa Ibulayimu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Katonda Agezesa Okukkiriza kwa Ibulayimu
  • Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Similar Material
  • Okukkiriza kwa Ibulayimu Kugezesebwa
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Yakuwa Yamuyita ‘Mukwano Gwe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Ibulayimu ne Saala Baagondera Katonda
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Olindirira “Ekibuga Ekirina Emisingi Gyennyini”?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
See More
Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
my olugero 14

OLUGERO 14

Katonda Agezesa Okukkiriza kwa Ibulayimu

OLABA Ibulayimu ky’akola wano? Akutte ekiso, era kirabika nga agenda kutta mwana we. Lwaki yandikoze ekintu ng’ekyo? Okusooka, ka tulabe engeri Ibulayimu ne Saala gye baafunamu omwana.

Jjukira, Katonda yabasuubiza nti bandifunye omwana. Naye ekyo kyalabika ng’ekitasoboka, kuba Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye nnyo. Kyokka, Ibulayimu yakkiriza nti Katonda yandiyinzizza okukola ekyalabika ng’ekizibu. Kati kiki ekyabaawo?

Oluvannyuma lwa Katonda okubasuubiza, omwaka mulamba gwayitawo. Kyokka, Ibulayimu bwe yali ng’aweza emyaka 100 ate Saala ng’aweza myaka 90, baazaala omwana ow’obulenzi ayitibwa Isaaka. Katonda yali atuukiriza ekisuubizo kye!

Naye Isaaka bwe yakula, Yakuwa yagezesa okukkiriza kwa Ibulayimu. Yamukoowoola: ‘Ibulayimu!’ Era Ibulayimu n’amuddamu: ‘Nze nzuuno!’ Awo Katonda n’amugamba: ‘Twala omwana wo, omwana wo omu yekka, Isaaka, ogende ku lusozi lwe nnaakulaga. Ng’otuuse eyo tta omwana wo, omuweeyo nga ssaddaaka.’

Ng’ebigambo ebyo byanakuwaza nnyo Ibulayimu, kubanga Ibulayimu yali ayagala nnyo mutabani we. Ate jjukira, Katonda yali asuubizza nti abaana ba Ibulayimu bajja kubeera mu nsi ya Kanani. Naye ekyo kyandisobose kitya nga Isaaka afudde? Ibulayimu yali takitegeera, naye era yagondera Katonda.

Bwe yatuuka ku lusozi, Ibulayimu yasiba Isaaka era n’amuteeka ku kyoto kye yazimba. Awo, n’asowolayo ekiso atte omwana we. Naye mu kiseera ekyo kyennyini, malayika wa Katonda yamukoowoola: ‘Ibulayimu, Ibulayimu!’ Era Ibulayimu n’amuddamu: ‘Nze nzuuno!’

‘Omwana tomulumya oba okumukola ekintu kyonna,’ bw’atyo Katonda bwe yamugamba. ‘Kati ntegedde nti olina okukkiriza mu nze, kubanga tonnyimye mwana wo, omwana wo omu yekka.’

Nga kukkiriza kwa maanyi nnyo Ibulayimu kwe yalina mu Katonda! Yakkiriza nti tewali kitasoboka eri Yakuwa, era nti Yakuwa yandisobodde okuzuukiza Isaaka okuva mu bafu. Naye mazima ddala tekyali kigendererwa kya Katonda Ibulayimu okutta Isaaka. Bwe kityo, Katonda yaleetera endiga okuwagamira mu kisaka ekiri okumpi awo, era n’agamba Ibulayimu okugissaddaaka mu kifo kya mutabani we.

Olubereberye 21:1-7; 22:1-18.

Ebibuuzo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share