LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 8 lup. 26-lup. 27 kat. 1
  • Ibulayimu ne Saala Baagondera Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ibulayimu ne Saala Baagondera Katonda
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Ibulayimu—Mukwano gwa Katonda
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Yakuwa Yamuyita ‘Mukwano Gwe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Katonda Agezesa Okukkiriza kwa Ibulayimu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Olindirira “Ekibuga Ekirina Emisingi Gyennyini”?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 8 lup. 26-lup. 27 kat. 1
Ibulayimu ne Saala nga beeteekateeka okuva mu Uli

ESSOMO 8

Ibulayimu ne Saala Baagondera Katonda

Okumpi ne Babeeri waaliwo ekibuga ekiyitibwa Uli, era abantu b’omu Uli baali tebasinza Yakuwa. Baali basinza bakatonda bangi ab’obulimba. Naye mu Uli mwalimu omusajja eyali asinza Yakuwa. Omusajja oyo yali ayitibwa Ibulayimu.

Yakuwa yagamba Ibulayimu nti: ‘Vva mu nsi yo oleke ab’eŋŋanda zo ogende mu nsi gye nnaakulaga.’ Era Katonda yamusuubiza nti: ‘Ojja kufuuka eggwanga ddene, era okuyitira mu ggwe nja kukolera abantu bangi mu nsi yonna ebirungi.’

Ibulayimu yali tamanyi wa Yakuwa gye yali amugamba okugenda, naye yeesiga Yakuwa. Bwe kityo, Ibulayimu, mukyala we Saala, taata we Teera, ne Lutti omwana wa muganda we, baapakira ebintu byabwe ne bagenda.

Ibulayimu n’ab’omu maka ge we baatuukira mu nsi Yakuwa gye yali abagambye okugenda, Ibulayimu yalina emyaka 75. Ensi eyo yali eyitibwa Kanani. Nga bali eyo, Katonda yasuubiza Ibulayimu nti: ‘Ensi eno yonna gy’olaba nja kugiwa abaana bo.’ Naye Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye ate nga tebalina baana. Kati Yakuwa yandisobodde atya okutuukiriza ekisuubizo ekyo?

Ibulayimu n’ab’omu nnyumba ye nga bagenda e Kanani

“Olw’okukkiriza, Ibulayimu . . . yalaga obuwulize n’agenda mu kifo kye yali agenda okufuna ng’obusika; yagenda wadde nga yali tamanyi gy’alaga.”​—Abebbulaniya 11:8

Ebibuuzo: Kiki Yakuwa kye yagamba Ibulayimu okukola? Kiki Yakuwa kye yasuubiza Ibulayimu?

Olubereberye 11:29–12:9; Ebikolwa 7:2-4; Abaggalatiya 3:6; Abebbulaniya 11:8

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share