Semberera Katonda
‘Nze Mukama Katonda Wo Nnaakwatanga ku Mukono Gwo Ogwa Ddyo’
“NKWATA ku mukono,” taata agamba katabani ke nga bagenda okusala oluguudo oluyitako emmotoka ennyingi. Olw’okuba emikono gya taata waako egy’amaanyi gye gikakutte, akalenzi ako kawulira nga kalina obukuumi era tekatya kintu kyonna. Muli wali owuliddeko ng’oyagala omuntu akukwate ku mukono akuyise mu bizibu by’ensi eno? Bwe kiba bwe kityo, ebigambo Isaaya bye yawandiika biyinza okubudaabuda.—Soma Isaaya 41:10, 13.
Ebigambo ebyo Isaaya yabiwandiikira eggwanga lya Isiraeri. Wadde ng’eggwanga eryo Katonda yali alitwala ‘ng’ekintu kye ekiganzi,’ lyali lyetooloddwa abalabe. (Okuva 19:5) Abaisiraeri banditidde? Yakuwa yakozesa Isaaya okubabuulira obubaka obuzzaamu amaanyi. Nga twetegereza ebigambo ebyo, tusaanidde okukijjukira nti bikwata ne ku abo abasinza Katonda mu kiseera kino.—Abaruumi 15:4.
Yakuwa agamba nti, “totya.” (Olunyiriri 10) Yakuwa yalina ensonga kwe yasinziira okubagamba bw’atyo. Annyonnyola ensonga lwaki abantu be tebalina kutya ng’agamba nti: “Kubanga nze ndi wamu naawe.” Abo bonna abeetaaga obuyambi tabali wala, era talinda muntu kumala kufuna kizibu n’alyoka ajja okumuyamba. Ayagala bantu be bamanye nti ali wamu nabo; abali ku lusegere era buli kiseera mwetegefu okubayamba. Ekyo tekikuzzaamu nnyo maanyi?
Ate era, Yakuwa agamba abantu be nti: “Tokeŋŋentererwa.” (Olunyiriri 10) Ekigambo eky’Olwebbulaniya ekyakozesebwa wano kiyinza okutegeeza abo “abamagamaga basobole okulaba obanga waliwo ekintu kyonna ekiyinza okubatuusaako obulabe.” Yakuwa annyonnyola ensonga lwaki abantu be tebalina kumagamaga olw’okutya ng’agamba nti: “Kubanga nze Katonda wo.” Waliwo ekizzaamu amaanyi okusinga ekyo? Yakuwa y’Oyo “Ali Waggulu Ennyo,” era “Omuyinza w’Ebintu Byonna.” (Zabbuli 91:1) Kiki ekyandibatiisizza, nga Yakuwa Katonda waabwe asingayo okuba ow’amaanyi waali?
Kati olwo, kiki Yakuwa ky’asuubiza abo abamusinza? Abasuubiza nti: ‘Nnaakuwaniriranga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.’ (Olunyiriri 10) Ate era, agamba nti: ‘Nze Mukama Katonda wo nnaakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo.’ (Olunyiriri 13) Kiki ekikujjira mu birowoozo bw’owulira ebigambo ebyo? Ekitabo ekimu kigamba nti: “Ennyiriri ezo zombi zituleetera okulowooza ku nkolagana ebaawo wakati w’omuzadde n’omwana we. [Taata] tayimirira buyimirizi ku bbali okukuuma omwana we, naye era amubeera ku lusegere era takkiriza kintu kyonna kubaawula.” Kirowoozeeko, Yakuwa tajja kwabulira bantu be; wadde mu kiseera ekisingayo okuba ekizibu mu bulamu bwabwe.—Abebbulaniya 13:5, 6.
Leero, ebigambo Isaaya bye yawandiika bisobola okuzzaamu amaanyi abo abasinza Yakuwa. Mu ‘biseera bino ebizibu,’ oluusi tuyinza okuggwamu amaanyi olw’ebyo ebitweraliikiriza mu bulamu. (2 Timoseewo 3:1) Naye tetusaanidde kwemalirira. Yakuwa mwetegefu okutukwata ku mukono. Ng’abaana abeesiga kitaabwe, tusobola okukwata ku mukono gwe ogw’amaanyi, nga tuli bakakafu nti ajja kutukulembera mu kkubo ettuufu era ajja kutuyamba nga tufunye ebizibu.—Zabbuli 63:7, 8.