LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 7/1 lup. 20-21
  • Engeri y’Okweyimirizaawo ng’Enfuna Yo Ekendedde

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri y’Okweyimirizaawo ng’Enfuna Yo Ekendedde
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Amagezi ag’Omuganyulo
  • Ekireeta Essanyu Erya Nnamaddala
  • Yobu—Omusajja Eyagumiikiriza era Eyakuuma Obugolokofu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • “Essuubi Lyo Lisse mu Yakuwa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • 2 Kozesa Bulungi Ssente Zo
    Zuukuka!—2022
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yobu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 7/1 lup. 20-21

Engeri y’Okweyimirizaawo ng’Enfuna Yo Ekendedde

OMWAMI ayitibwa Obed alina abaana babiri. Yamala emyaka kkumi, ng’akola mu wooteeri ey’ebbeeyi mu kibuga ekimu mu Afirika era yali asobola bulungi nnyo okulabirira ab’omu maka ge. Buli luvannyuma lwa kiseera, yatwalanga ab’omu maka ge okulambula mu bifo awakuumirwa ebisolo mu nsi ye. Bino byonna byakoma bwe yafiirwa omulimu gwe nga bakasitoma bakendedde mu wooteeri mwe yali akola.

Omwami ayitibwa Stephen yamala emyaka egisukka mu 22 ng’akola mu banka emu ennene, era yagenda akuzibwa okutuusa lwe baamulonda ku kakiiko akaddukanya banka eyo. Omulimu ogwo gwamusobozesa okufuna ebirungi bingi, gamba nga, ennyumba ennene, emmotoka, abakozi ab’awaka, era n’abaana be baasomeranga mu masomero ag’ebbeeyi. Banka bwe yakolamu enkyukakyuka mu bakozi baayo, Stephen yafiirwa omulimu gwe. Agamba nti: “Nze n’ab’omu maka gange twasoberwa. Nnaggwamu amaanyi, nnawulira ennaku, era nneeraliikirira nnyo.”

Ebintu ng’ebyo bitera okubaawo. Embeera y’eby’enfuna eyeeyongera okugootaana mu nsi yonna eviiriddeko abantu bukadde na bukadde okufiirwa emirimu gyabwe. Abo abasobodde okufuna emirimu basasulwa ssente ntono nnyo, ng’ate ebbeeyi y’ebintu yeeyongera bweyongezi kulinnya. Okugootaana kw’eby’enfuna kukosezza ensi ezaakulaakulana edda, n’ezo ezikyakula.

Amagezi ag’Omuganyulo

Bwe tuba tetukyafuna ssente zimala oba nga twafiirwa omulimu, kiyinza okutuleetera okweraliikirira ennyo. Kyo kituufu nti omuntu tayinza kwewalira ddala kweraliikirira. Kyokka, omusajja omu ow’amagezi yagamba nti: ‘Bwe weeraliikirira ennyo ku lunaku olw’okulabirako obuyinike, amaanyi go gajja kuba matono.’ (Engero 24:​10, NW ) Mu kifo ky’okweraliikirira ennyo olw’embeera y’eby’enfuna egootaanye, tusaanidde okusoma Ekigambo kya Katonda tusobole okufuna ‘amagezi ag’omuganyulo.’​—Engero 2:​7, NW.

Wadde nga Bayibuli si kitabo kya byanfuna, amagezi agagirimu agakwata ku nsonga eyo gayambye obukadde n’obukadde bw’abantu okwetooloola ensi yonna. Ka tulabe egimu ku misingi egiri mu Bayibuli egisobola okutuyamba.

Kola embalirira. Lowooza ku bigambo bya Yesu ebiri mu Lukka 14:28: “Ani ku mmwe ayagala okuzimba omunaala atasooka kutuula wansi n’abalirira ebyetaagisa okulaba obanga alina ebimala okugumaliriza?” Amagezi ago gakuyamba okukola embalirira n’okuginywererako. Kyokka, nga Obed bw’agamba, kino kiyinza obutaba kyangu. Agamba nti: “Nga sinnafiirwa mulimu gwange, twagulanga ebintu bingi nnyo, nga n’ebisinga obungi tetubyetaaga. Tetwakolanga mbalirira kubanga twabanga ne ssente ezisobola okugula buli kye twali twagala.” Okukola embalirira kijja kukusobozesa okukozesa ssente entono z’olina ku bintu ebikulu amaka go bye geetaaga.

Kendeeza ku nsaasaanya yo. Kiyinza obutakwanguyira kukendeeza ku nsaasaanya yo, naye kyetaagisa. Stephen agamba nti, “Okusobola okukendeeza ku nsaasaanya yaffe twalina okusengukira mu nnyumba eyaffe ku bwaffe, yali ntono ate nga munda si nnongoose bulungi. Abaana nnalina okubatwala mu masomero amalala agayigiriza obulungi, naye nga ga ssente nsaamusaamu.”

Kikulu nnyo okuba n’empuliziganya ennungi mu maka bwe wabaawo enkyukakyuka ze mwagala okukola. Omwami ayitibwa Austin, eyafiirwa omulimu gwe oluvannyuma lw’okukolera banka emu okumala emyaka mwenda, agamba nti: “Nze ne mukyala wange twatuula ne tuwandiika ebintu bye twali tusinga okwetaaga. Twalina okutandika okugula emmere etali ya ssente nnyingi, okwewala eby’okwesanyusaamu ebitwala ssente ennyingi, n’okwewala okugula engoye empya buli kiseera. Ndi musanyufu nnyo olw’okuba ab’omu maka gange bakkiriza enkyukakyuka zino.” Kyo kituufu nti abaana bayinza obutategeera nsonga lwaki enkyukakyuka ng’ezo zeetaagisa, naye ng’abazadde mulina okubannyonnyola.

Beera mwetegefu okukola emirimu emirala. Bw’oba wamanyiira okukola emirimu gy’ofiisi, kiyinza okukuzibuwalira okukola emirimu egitwalibwa okuba egya wansi. Austin agamba nti: “Olw’okuba nnali nnamanyiira okukola mu ofiisi, nnawulira nga kinswaza okukola emirimu egitwalibwa okuba egya wansi.” Ekyo tekyewuunyisa, kubanga Engero 29:25 wagamba nti: “Okutya abantu kuleeta ekyambika.” Bw’oneemalira ennyo ku ekyo abalala kye bayinza okulowooza, tojja kufuna ssente za kulabirira ba mu maka go. Kiki ekinaakuyamba okweggyamu endowooza ng’eyo egudde olubege?

Kikulu nnyo okuba omwetoowaze. Obed bwe yafiirwa omulimu gwe ogw’omu wooteeri, munne gwe yakolanga naye eyalina galagi yamuwa omulimu. Omulimu ogwo gwali guzingiramu okutambula eŋŋendo empanvu ku nguudo omuli enfuufu ennyingi okugenda okugula langi, n’ebintu ebirala. Obed agamba nti: “Omulimu ogwo nnali sigwagala naye nga sirina kya kukola. Obwetoowaze bwannyamba okukola omulimu ogwo wadde ng’omusaala gwe nnali nfuna gwali teguweza kimu kya kuna eky’omusaala gwe nnafunanga nga nkyakola mu wooteeri, naye nga zimmala okulabirira ab’omu maka gange.” Singa oba n’endowooza ng’eyo, naawe ojja kuganyulwa.

Beera mumativu. Ekyo kiyinza okulabika ng’ekitasoboka eri oyo ali obubi mu by’enfuna. Naye lowooza ku bigambo by’omutume Pawulo, omuminsani eyali amanyi kye kitegeeza okubeera mu bwetaavu. Yagamba nti: “Njize okubeera omumativu mu buli mbeera yonna. Mazima ddala mmanyi kye kitegeeza okuba n’ebintu ebitono, era mmanyi kye kitegeeza okuba n’ebintu ebingi.”​—Abafiripi 4:​11, 12.

Oboolyawo eby’enfuna byaffe biyinza okutereera, kyokka olw’okuba embeera ekyukakyuka, biyinza n’okwonoonekera ddala. Tujja kuganyulwa nnyo bwe tunaakolera ku kubuulirira kwa Pawulo kuno: “Mazima ddala, okwemalira ku Katonda wamu n’okuba omumativu bivaamu amagoba. N’olwekyo, bwe tunaaba n’eby’okulya n’eby’okwambala tunaabanga bamativu n’ebyo.” Wano Pawulo tatukubiriza kuba bagayaavu, naye atukubiriza obuteemalira ku kunoonya ebintu.​—1 Timoseewo 6:​6, 8.

Ekireeta Essanyu Erya Nnamaddala

Okuba na buli kimu kye twagala oba okuba mu bulamu obulungi si kye kireeta essanyu erya nnamaddala. Yesu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” Yee, essanyu erya nnamaddala n’obumativu biva mu kukozesa ebyo bye tulina okuyamba abalala, n’okubazzaamu amaanyi.​—Ebikolwa 20:35.

Yakuwa, Omutonzi waffe, amanyi bulungi ebyo byonna bye twetaaga. Atuwadde Ekigambo kye Bayibuli, omuli emisingi egiyambye abantu bangi okulongoosa obulamu bwabwe ne bateeraliikirira kisukkiridde. Tekitegeeza nti bw’osoma Ekigambo kya Katonda ng’eby’enfuna byo birongookerawo. Naye abo ‘abasooka okunoonya obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe,’ Yesu yabakakasa nti byonna bye beetaaga buli lunaku bijja kubaweebwa.​—Matayo 6:​33.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share