Osobola Otya Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso eby’Essanyu?
BIKI ebinaakuyamba okuba mu bulamu obweyagaza mu biseera eby’omu maaso? Ekimu ku byo, kwe kulowooza ku binaava mu ebyo by’osalawo kati.
Kyo kituufu nti, kiyinza obutakubeerera kyangu kusalawo mu ngeri eneekuganyula obulamu bwo bwonna. Lwaki? Kubanga abantu abasinga obungi baagala okufunirawo ebintu bye beegomba. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba ng’okimanyi nti okukolera ku magezi agali mu Kigambo kya Katonda kisobola okukuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’ab’omu amaka go. (Abeefeso 5:22–6:4) Naye okusobola okukola ekyo, kikwetaagisa okufisangawo akadde obeereko wamu n’ab’omu maka go, nga weewala okumala ekiseera ekiwanvu ennyo ku mulimu ne mu by’okwesanyusaamu. Ng’era bwe kiba mu mbeera ezitali zimu, olina okusalawo obanga oyagala kufuna essanyu ery’akaseera obuseera, oba ery’olubeerera. Kiki ekiyinza okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi? Kola ebintu bino ebina.
1 Lowooza ku Binaava mu Ekyo ky’Ogenda Okusalawo
Bw’oba ng’olina ky’ogenda okusalawo, lowooza ku ebyo ebinaavaamu. Bayibuli egamba nti: “Omuntu omuteegevu alaba akabi ne yeekweka.” (Engero 22:3) Bw’ofumiitiriza ku bizibu ebiyinza okuva mu ekyo ky’ogenda okusalawo, kijja kukuyamba okwewala okusalawo obubi. Ku luuyi olulala, bw’olowooza ku birungi ebinaava mu ekyo ky’ogenda okusalawo, kijja kukuyamba okusalawo obulungi.
Weebuuze: ‘Biki ebinaava mu kye ŋŋenda okusalawo, oluvannyuma lw’omwaka gumu, 10 oba 20? Kinaakwata kitya ku bulamu bwange? Kinaakwata kitya ku b’omu maka gange ne ku bantu abalala?’ N’ekisinga obukulu weebuuze: ‘Kye ŋŋenda okusalawo kinaasanyusa Katonda? Kinaayonoona enkolagana yange naye?’ Okuva bwe kiri nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda, esobola okukuyamba okutegeera ebimusanyusa n’ebimunyiiza.—Engero 14:12; 2 Timoseewo 3:16.
2 Sooka Weekenneenye ky’Ogenda Okusalawo
Mu kifo ky’okwesalirawo ku lwabwe, abantu abamu bakoppa ekyo abalala kye baba basazeewo. Eky’okuba nti ekintu ekimu abantu abasinga obungi kye bakola, tekitegeeza nti kirungi. Sooka weekenneenye ky’ogenda okusalawo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mukyala ayitibwa Natalie.a Agamba nti: “Nnali njagala okubeera mu bufumbo obulungi. Naye olw’engeri gye nnali nneeyisaamu, nnakiraba nti nnali siyinza kufuna bufumbo ng’obwo. Mikwano gyange bonna be nnali nabo ku ttendekero baali bavubuka abagezi ennyo. Kyokka, baasalangawo bubi. Baayagalanga abalenzi oba abawala bangi. Nange nnalina abalenzi abawerako. Ekyo kyandeetera obulumi obw’amaanyi.”
Natalie yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Agamba nti: “Nnakyetegereza nti mu Bajulirwa ba Yakuwa mulimu abavubuka abasanyufu n’abantu abali mu bufumbo obunywevu. Wadde nga tekyambeerera kyangu, nnagenda nkola enkyukakyuka mu bulamu bwange.” Biki ebyavaamu? Natalie agamba nti: “Nnali njagala okufumbirwa omuntu alina engeri ennungi. Oluvannyuma lw’ekiseera nnafumbirwa omusajja ow’enzikiriza yange. Ndaba nti Katonda annyambye okuba mu bufumbo obulungi bwe sandifunye.”
3 Lowooza ne ku Biseera Byo eby’Omu Maaso
Ekinaakuyamba okwewala okulowooza ku bintu eby’akaseera obuseera, kwe kulowooza ku bulamu bw’oyagala okubeeramu mu biseera eby’omu maaso ne ku ngeri gy’oyinza okubufunamu. (Engero 21:5) Tolowooza ku myaka 70 oba 80 gyokka abantu gye batera okuwangaala. Mu kifo ky’ekyo, kuba akafaananyi ng’oli mu bulamu obulungi era obutaggwawo Bayibuli bw’esuubiza.
Bayibuli eraga nti okuyitira mu kinunulo kya ssaddaaka ya Yesu Kristo, Katonda akoze enteekateeka eneesobozesa abantu okufuna obulamu obutaggwawo. (Matayo 20:28; Abaruumi 6:23) Katonda asuubiza nti anaatera okutuukiriza ekigendererwa kye eri abantu. Abo abaagala Katonda bajja kunyumirwa obulamu emirembe gyonna ku nsi erabika obulungi era ezziddwa obuggya. (Zabbuli 37:11; Okubikkulirwa 21:3-5) Osobola okubeera mu bulamu ng’obwo singa olowooza ne ku biseera byo eby’omu maaso ng’olina ky’ogenda okusalawo.
4 Fuba Okutuuka ku Biruubirirwa Byo
Kiki ky’oyinza okukola okufuna obulamu Katonda bw’asuubizza? Tandikira ku kuyiga ebikwata ku Katonda. (Yokaana 17:3) Okumanya okutuufu okukwata ku Katonda okuli mu Bayibuli, kujja kukuyamba okuba n’obwesige nti Katonda ajja kutuukiriza ebisuubizo bye. Okukkiriza ng’okwo kujja kukuyamba okukola enkyukakyuka ezeetaagisa osobole okusiimibwa Katonda.
Lowooza ku Michael. Agamba nti: “Nnatandika okunywa omwenge n’okukozesa ebiragalalagala nga ndi wa myaka 12. Nnali mu kibinja ky’abamenyi b’amateeka era nnali ndowooza nja kufa nga sinnaweza myaka 30. Obusungu n’okweraliikirira ennyo byandeeteranga okugezaako okwetta. Nnali nsuubira nti nnandifunye essanyu mu bulamu naye saalifuna.” Michael bwe yali akyali mu ssomero, omu ku abo be yali nabo mu kibinja ky’abamenyi b’amateeka yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Michael naye yakkiriza okuyiga Bayibuli.
Ebyo Michael bye yayiga mu Bayibuli byakyusa endowooza ye ku ngeri gy’atunuuliramu ebiseera eby’omu maaso. Agamba: “Nnayiga nti mu biseera eby’omu maaso ensi ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda era abantu bajja kubeera mu mirembe, awatali kweraliikirira. Ekyo kyandeetera okwagala okubeera mu bulamu obwo mu biseera eby’omu maaso. Nneeteerawo ekiruubirirwa eky’okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Naye, emirundi egimu nnalemererwanga okukola Yakuwa by’ayagala. Wadde nga nnali ntandise okuyiga Bayibuli, oluusi nnanywanga nnyo ne ntamiira. Era lumu nneegatta n’omuwala.”
Michael yasobola atya okuvvuunuka obunafu obwo n’okukola enkyukakyuka mu bulamu bwe? Agamba nti: “Eyanjigiriza Bayibuli yankubirizanga okusoma Bayibuli buli lunaku n’okukolagana n’abantu abaagala okusanyusa Katonda. Nnakizuula nti abo be nnali nabo mu kibinja ky’abamenyi b’amateeka baali bakyandeetera okukola ebintu ebibi. Wadde baali bafuuse ng’ab’omu maka gange, nnabeeyawulako.”
Michael yeeteerawo ebiruubirirwa ebyangu okutuukako ebyamuyamba okutuuka ku kiruubirirwa kye ekikulu eky’okutuukanya obulamu bwe n’emitindo gya Katonda. Naawe osobola okukola kye kimu. Wandiika ebiruubirirwa byo era ne by’osaanidde okukola okusobola okubituukako. Bibuulireko abo abanaakuyamba okubituukako, era basabe bakubuulire we weetaaga okwongeramu amaanyi.
Tolwawo kuyiga bikwata ku Katonda n’okukolera ku ebyo by’oba oyize. Baako ky’okolawo okukulaakulanya okwagala kwo eri Katonda n’Ekigambo kye Bayibuli. Nga kyogera ku muntu akolera ku misingi gya Bayibuli, Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Buli ky’akola, akiweerwako omukisa.”—Zabbuli 1:1-3.
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya gakyusiddwa.