LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 11/15 lup. 12-16
  • Abavubuka—Mmunaakozesa Mutya Obulamu Bwammwe?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abavubuka—Mmunaakozesa Mutya Obulamu Bwammwe?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Biruubirirwa Ki by’Oyinza Okweteerawo?
  • Okutuuka ku Kiruubirirwa eky’Okubatizibwa
  • Oyinza Otya Okutuuka ku Biruubirirwa Byo?
  • Kaweefube ow’okuyita abantu ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti “Okununulibwa Kuli Kumpi!”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • 12 Ebiruubirirwa
    Zuukuka!—2018
  • Abavubuka, Mulina Ebiruubirirwa eby’Omwoyo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Abavubuka Mukulaakulana mu by’Omwoyo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 11/15 lup. 12-16

Abavubuka—Mmunaakozesa Mutya Obulamu Bwammwe?

“Ebikonde byange sibikuba ng’akuba ebbanga.”​—1 KOL. 9:​26.

1, 2. Ng’omuvubuka, okusobola okutuuka ku buwanguzi mu bulamu, kiki ky’olina okuba nakyo?

BW’OBA olina gy’ogenda ng’oyitira mu kkubo ly’otomanyi, kiyinza okukwetaagisa okukozesa mmaapu awamu ne kampasi (akuuma akayamba omuntu okumanya oluuyi lw’aba ayolekedde). Mmaapu esobola okukuyamba okumanya wa w’oli ekyo ne kikuyamba okutegeera ekkubo ettuufu ery’okukwata. Ate yo kampasi ekuyamba obutava ku kkubo eryo ettuufu. Kyokka, mmaapu ne kampasi okusobola okukuyamba, olina okuba ng’omanyi gy’olaga. Okusobola okwewala okubungeeta oba okumala gatambula, weetaaga okuba ng’omanyi bulungi ekifo kyennyini gy’ogenda.

2 Naawe omuvubuka, oli mu mbeera efaananako ng’eyo. Olina mmaapu eyeesigika awamu ne kampasi. Baibuli ye mmaapu esobola okukuyamba okumanya ekkubo ettuufu ery’okukwata. (Nge. 3:​5, 6) Omuntu wo ow’omunda bw’omutendeka obulungi, akuyamba obutava ku kkubo eryo ettuufu. (Bar. 2:​15) Asobola okukola nga kampasi. Naye okusobola okutuuka ku buwanguzi mu bulamu, olina okumanya obulungi gy’olaga. Olina okuba n’ebiruubirirwa mu bulamu.

3. Miganyulo ki egiri mu kuba n’ebiruubirirwa Pawulo gy’ayogerako mu 1 Abakkolinso 9:​26?

3 Omutume Pawulo yalaga emiganyulo egiri mu kweteerawo ebiruubirirwa n’okufuba okubituukako ng’agamba nti: “Sidduka ng’atamanyi gye ndaga; ebikonde byange sibikuba ng’akuba ebbanga.” (1 Kol. 9:​26) Bw’oba n’ebigendererwa, ojja kudduka ng’omanyi gy’olaga. Mu kiseera ekitali kya wala, ojja kubaako ebintu ebikulu by’olina okusalawo ku nsonga gamba ng’okusinza, emirimu, obufumbo, n’okuzaala abaana. Ebiseera ebimu, oyinza okuwulira ng’olina ebintu eby’okusalawo bingi. Naye singa osalawo eky’okukola nga bukyali, ng’ogoberera emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda, tojja kukemebwa kukwata kkubo kyamu.​—2 Tim. 4:​4, 5.

4, 5. (a) Kiki ekiyinza okubaawo singa teweeterawo biruubirirwa? (b)  Lwaki osaanidde okulaba nti ebyo by’osalawo mu bulamu bisanyusa Katonda?

4 Singa teweeterawo biruubirirwa, kijja kuba kyangu mikwano gyo n’abasomesa bo okukuleetera okukola ekyo bo kye balowooza nti kye kituufu. Kya lwatu nti abalala ne bwe baba nga bamanyi bulungi ebiruubirirwa byo, bayinza okwagala okukuwa amagezi amalala. Bw’oba owuliriza ebyo bye bakugamba, weebuuze, ‘Ebyo bye baŋŋamba binannyamba okujjukira omutonzi wange nga nkyali muvubuka oba binannemesa okukikola?’​—Soma Omubuulizi 12:1.

5 Lwaki osaanidde okulaba nti ebyo by’osalawo mu bulamu bisanyusa Katonda? Ensonga emu eri nti Yakuwa ye yatuwa buli kintu ekirungi kye tulina. (Yak. 1:​17) Mu butuufu, buli omu kimwetaagisa okusiima ennyo Yakuwa. (Kub. 4:​11) Ddala waliwo engeri endala yonna gy’oyinza okulagamu nti osiima Yakuwa okusinga okumujjukira nga weeteerawo ebiruubirirwa? Kati ka twetegerezeeyo ebimu ku biruubirirwa by’osobola okweteerawo era n’engeri gy’oyinza okubituukako.

Biruubirirwa Ki by’Oyinza Okweteerawo?

6. Kiruubirirwa ki ky’oyinza okweteerawo, era lwaki?

6 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, ekimu ku biruubirirwa ebikulu ky’oyinza okweteerawo kwe kukakasa nti ebyo Baibuli by’eyigiriza bituufu. (Bar. 12:2; 2 Kol. 13:5) Bavubuka banno bayinza okuba nga bakkiriza nti ebintu tebyatondebwa butondebwa oba nga balina enjigiriza ezitali zimu ez’amadiini ag’obulimba ze bakkiririzaamu olw’okuba abalala babagamba okuzikkiririzaamu. Naye ggwe tosaanidde kumala gakkiririza mu kintu olw’okuba abalala baagala okikkiririzeemu. Kijjukire nti Yakuwa ayagala omuweereze n’amagezi go gonna. (Soma Matayo 22:​36, 37.) Kitaffe ow’omu ggulu ayagala okkiririze mu kintu ky’olinako obukakafu.​—Beb. 11:1.

7, 8. (a) Biruubirirwa ki by’osobola okutuukako amangu ebijja okukuyamba okunyweza okukkiriza okwo? (b) Okutuuka ku biruubirirwa ebituukikako amangu kinaakuganyula kitya?

7 Okusobola okunyweza okukkiriza kwo, lwaki teweeterawo ebiruubirirwa by’osobola okutuukako amangu? Ekimu ku byo kwe kusaba buli lunaku. Ekintu ekinaakuyamba okusaba essaala ez’amakulu era n’obutaddiŋŋana mu bigambo kwe kusooka okulowooza oba okuwandiika ebyo ebibaddewo mu lunaku bye wandyagadde okuteeka mu ssaala zo. Kakasa nti toyogera ku bizibu byokka by’oba ofunye mu lunaku, naye yogera ne ku bintu ebikusanyusizza. (Baf. 4:6) Ekiruubirirwa ekirala kwe kusoma Baibuli buli lunaku. Obadde okimanyi nti singa osoma empapula nnya buli lunaku, ojja kumalako Baibuli yonna mu mwaka gumu gwokka?a Zabbuli 1:​1, 2 wagamba nti: ‘Alina omukisa omuntu asanyukira amateeka ga Yakuwa, era nga mu mateeka ge mw’alowooleza emisana n’ekiro.’

8 Ekiruubirirwa eky’okusatu ky’oyinza okweteerawo kwe kuteekateeka ky’onoddamu mu buli lukuŋŋaana. Mu kusooka, oyinza okusoma obusomi eky’okuddamu oba ekyawandiikibwa. Oluvannyuma lw’ekiseera, gezaako okuddamu mu bigambo byo. Mu butuufu, buli lw’obaako ky’oddamu, oba owaayo ssaddaaka eri Yakuwa. (Beb. 13:15) Bw’onoomala okutuuka ku biruubirirwa ng’ebyo, ojja kufuna obuvumu, ojja kweyongera okwagala Yakuwa, era ekyo kijja kukuyamba okweteerawo ebiruubirirwa by’osobola okutuukako oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvuko.

9. Bw’oba tonnafuuka mubuulizi wa Bwakabaka, biruubirirwa ki by’oyinza okweteerawo?

9 Biruubirirwa ki ebituukikako oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvuko by’oyinza okweteerawo? Bw’oba tonnatandika kubuulira mawulire malungi, oyinza okweteerawo ekiruubirirwa eky’okufuuka omubuulizi. Bw’omala okutuuka ku kiruubirirwa kino, fuba okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro mu bujjuvu buli mwezi. Era fuba okukozesa Baibuli mu buweereza bw’ennimiro. Bw’onookola bw’otyo, omulimu gw’okubuulira gujja kweyongera okukunyumira. Oluvannyuma, yongera ku biseera by’omala ng’obuulira nnyumba ku nnyumba era ofube n’okufunayo omuyizi wa Baibuli. Ng’omubuulizi atali mubatize, kiruubirirwa ki ky’oyinza okweteerawo ekisinga okutuukiriza ebisaanyizo eby’okubatizibwa n’ofuuka Omujulirwa wa Yakuwa Katonda?

10, 11. Biruubirirwa ki abavubuka Ababatize bye bayinza okweteerawo?

10 Bw’oba oli muweereza wa Yakuwa omubatize, bino bye bimu ku biruubirirwa ebituukikako oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvuko by’oyinza okweteerawo. Oyinza okuyamba ku bibiina okubuulira mu bitundu ebitatera kubuulirwamu. Era oyinza okusalawo okuweereza nga payoniya omuwagizi oba payoniya owa bulijjo. Bapayoniya bangi bajja kukugamba nti okuba mu buweereza obw’ekiseera kyonna ngeri nnungi nnyo gy’osobola okujjukiramu Omutonzi wo mu biseera eby’obuvubuka bwo. Ebiruubirirwa bino osobola okubituukako ng’okyali na waka. Bw’onootuuka ku biruubirirwa ng’ebyo, ekibiina kyo nakyo kijja kuganyulwa.

11 Ebiruubirirwa ebirala by’osobola okutuukako oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvuko biyinza okukwetaagisa okuva mu kibiina kyo. Ng’ekyokulabirako, osobola okuweereza mu bitundu ebirala ewali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Oyinza okwenyigira mu mulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka ne ofiisi z’amatabi mu nsi endala. Osobola okuweereza ku Beseri oba okuweereza ng’omuminsani. Kya lwatu nti ekiruubirirwa ekikulu ky’olina okusooka okutuukako nga tonnaba kutuuka ku biruubirirwa ng’ebyo kwe kubatizibwa. Bw’oba nga tonnabatizibwa, fuba okulaba nti otuukiriza ebisaanyizo ebyetaagisa okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kino ekikulu.

Okutuuka ku Kiruubirirwa eky’Okubatizibwa

12. Nsonga ki ezireetera abamu okubatizibwa, era lwaki omuntu teyandibatiziddwa ng’asinziira ku nsonga ng’ezo?

12 Kiki ekyandireetedde omuntu okubatizibwa? Abamu balowooza nti okubatizibwa kujja kubatangira okukola ebibi. Abalala bawulira nti balina okubatizibwa olw’okuba mikwano gyabwe baba babatiziddwa. Ate abavubuka abamu baba baagala kusanyusa bazadde baabwe. Kyokka tolina kubatizibwa ng’olowooza nti ekyo kye kijja okukutangira okukola ebintu by’oyagala okukola mu nkukutu oba olw’okuba abalala bakupikirizza okukikola. Olina okubatizibwa ng’omaze okutegeera obulungi kye kitegeeza okuba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa era ng’oli mukakafu nti oli mwetegefu okwetikka obuvunaanyizibwa obwo.​—Mub. 5:​4, 5.

13. Lwaki osaanidde okubatizibwa?

13 Ensonga emu eyandikuleetedde okubatizibwa eri nti Yesu yalagira abagoberezi be ‘okufuula abantu abayigirizwa nga bababatiza.’ Ne Yesu yateekawo ekyokulabirako ng’abatizibwa. (Soma Matayo 28:​19, 20; Makko 1:9.) Ate era, abo bonna abaagala okulokolebwa kibeetaagisa okubatizibwa. Oluvannyuma lw’okwogera ku kuzimbibwa kw’eryato Nuuwa n’ab’omu maka ge mwe baawonera Amataba, omutume Peetero yagamba nti: “Ekyo ekifaanana n’ekyo kaakano kibalokola, nga kuno kwe kubatizibwa, . . . okuyitira mu kuzuukira kwa Yesu Kristo.” (1 Peet. 3:​20, 21) Naye kino tekitegeeza nti ensonga enkulu eyandikuleetedde okubatizibwa kwe kwagala okulokolebwa. Mu kifo ky’ekyo, obatizibwa olw’okuba oyagala Yakuwa era oyagala okumuweereza n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.​—Mak. 12:​29, 30.

14. Lwaki abamu batya okubatizibwa, naye kiki ky’osaanidde okujjukira?

14 Abamu bayinza okutya okubatizibwa nga balowooza nti oluvannyuma lw’ekiseera bayinza okugobebwa mu kibiina. Naawe bw’otyo bw’olowooza? Bwe kiba kityo, ekyo ku bwakyo si kibi. Ekyo kiyinza okulaga nti otegeera bulungi obuvunaanyizibwa obw’amaanyi omuntu bw’aba nabwo ng’afuuse omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Kyandiba nti waliwo n’ensonga endala ekuleetera okutya? Oboolyawo tonnaba kukakasa nti okutambulira ku mitindo gya Katonda ly’ekkubo ly’obulamu erisingayo obulungi. Bwe kiba kityo, okulowooza ku bizibu abo abatagoberera mitindo gya Baibuli bye bafuna kijja kukuyamba okusalawo obulungi. Ku luuyi olulala, oyinza okuba ng’oyagala okutambulira ku mitindo gya Katonda naye nga tokakasa nti osobola okuginywererako. Ekyo kiraga nti oli muwombeefu, kubanga ne Baibuli ekiraga nti emitima gy’abantu bonna abatatuukiridde mirimba. (Yer. 17:9) Naye kijjukire nti osobola okuvvuunuka okutya ng’okwo singa ‘weegendereza ng’ekigambo kya Katonda bwe kiri.’ (Soma Zabbuli 119:9.) K’ebe nsonga ki ekuleetera okutya okubatizibwa, fuba okulaba nti tekulemesa kubatizibwa.b

15, 16. Oyinza otya okutegeera nti otuuse okubatizibwa?

15 Oyinza otya okutegeera nti otuuse okubatizibwa? Ekyo oyinza okukitegeera nga weebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Nsobola okunnyonnyola abalala enjigiriza za Baibuli ezisookerwako? Nneenyigira mu mulimu gw’okubuulira ne bwe kiba nti bazadde bange tebagwenyigiramu? Nfuba okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo zonna? Nzijukirayo embeera yonna mwe nnasobolera okuziyiza okupikirizibwa? Nnaasigala nga mpeereza Yakuwa ne bwe kiba nti bazadde bange ne mikwano gyange balekedde awo okumuweereza? Nfuba okusaba Katonda annyambe okuba n’enkolagana ennungi naye? Era nneewaddeyo eri Yakuwa nga mpitira mu kusaba?’

16 Okubatizibwa kuleetera omuntu okukyusa engeri gy’atambuzaamu obulamu bwe era kusaanidde okutwalibwa ng’ekintu ekikulu ennyo. Okuze ekimala mu by’omwoyo okusobola okutunuulira okubatizibwa mu ngeri eyo? Okukula mu by’omwoyo tekitegeeza kuwa buwi mboozi nnungi ku pulatifoomu oba kuddamu bulungi bibuuzo mu nkuŋŋaana. Kizingiramu okuba nti osobola okukozesa obulungi emisingi gya Baibuli ng’oliko by’osalawo mu bulamu. (Soma Abebbulaniya 5:​14.) Bw’olaba nti otuukiriza ebintu ebyo, olwo oba osobola okufuna enkizo esinga enkizo zonna​—ey’okuweereza Yakuwa n’omutima gwo gwonna era n’okutambuza obulamu bwo mu ngeri eraga nti ddala weewaddeyo gy’ali.

17. Kiki ekinaakuyamba okwaŋŋanga ebizibu by’oyinza okwolekagana nabyo oluvannyuma lw’okubatizibwa?

17 Bw’oba nga waakabatizibwa, oyinza okuwulira ng’oyagala nnyo okuweereza Katonda. Kyokka, mangu ddala oyinza okufuna ebizibu ebisobola okugezesa okukkiriza kwo. (2 Tim. 3:​12) Tolowooza nti ebizibu ebyo olina kubyekolerako wekka. Saba bazadde bo bakuwe ku magezi. Oyinza n’okusaba ab’oluganda mu kibiina abakuze mu by’omwoyo okukuyamba. Funa emikwano eginaakuyamba okunywera. Teweerabira nti Yakuwa akufaako nnyo, era ajja kukuwa amaanyi ageetaagisa okusobola okwaŋŋanga ekizibu kyonna ky’oyinza okwolekagana nakyo.​—1 Peet. 5:​6, 7.

Oyinza Otya Okutuuka ku Biruubirirwa Byo?

18, 19. Okumanya ebyo by’olina okukulembeza mu bulamu kinaakuyamba kitya?

18 Kyandiba nti olina ebiruubirirwa by’oyagala okutuukako naye ng’owulira nti tolina biseera bimala? Bwe kiba kityo, kirungi okulowooza ku bintu by’okulembeza mu bulamu. Okuwaayo ekyokulabirako: Funa bbakketi oteekemu amayinja amanene. Oluvannyuma yiwamu omusenyu ejjule. Kati olina bbakketi ejjudde amayinja n’omusenyu. Kati ggyamu amayinja n’omusenyu obeeko w’obiteeka; omale obizzeemu. Ku mulundi guno, sooka kuyiwamu musenyu, oluvannyuma oteekemu amayinja. Amayinja gannaggweramu? Nedda, kubanga omusenyu gw’ososezza mu bbakketi.

19 Ekyokulabirako ekyo kiraga ekyo ekiyinza okubaawo bwe kituuka ku ngeri gy’okozesaamu ebiseera byo. Bw’oteeka ebintu gamba ng’okwesanyusaamu mu kifo ekisooka, tojja kufuna biseera bimala kukola ku bintu ebisinga obukulu​—ebintu eby’omwoyo. Naye singa okolera ku kubuulirira kwa Baibuli okutukubiriza “okumanya ebintu ebisinga obukulu,” kijja kukuyamba okufuna ebiseera ebimala okuweereza Katonda n’okufunayo ebiseera okwesanyusaamu.​—Baf. 1:​10.

20. Singa wabaawo ebintu ebikweraliikiriza oba ebikuleetera okubuusabuusa ng’ofuba okutuuka ku biruubirirwa byo, kiki ky’osaanidde okukola?

20 Bw’oba ofuba okutuuka ku biruubirirwa byo, ng’omwo mw’otwalidde n’okubatizibwa, oluusi oyinza okufuna ebintu ebikweraliikiriza oba ebikuleetera okubuusabuusa. Ekyo bwe kikutuukako, ‘ssa omugugu gwo ku Yakuwa, naye anaakuwaniriranga.’ (Zab. 55:22) Mu kiseera kino, olina enkizo ey’okwenyigira mu mulimu ogukyasinzeeyo okuba omukulu mu byafaayo by’olulyo lw’omuntu, omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza ogukolebwa mu nsi yonna. (Bik. 1:8) Oyinza okusalawo okubeera awo n’otunuulira obutunuulizi abalala nga bagukola. Oba oyinza okusalawo okugwenyigiramu. Tokkiriza kintu kyonna kukulemesa kukozesa busobozi bwo okuweereza Katonda n’okuwagira Obwakabaka bwe. Bw’onooweereza “Omutonzi wo mu biro eby’obuvubuka bwo,” togenda kwejjusa.​—Mub. 12:1.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba Omunaala gw’Omukuumi, Okitobba​—Ddesemba 2009, olupapula 23-​26.

b Okumanya ebisingawo ku nsonga eno, laba akatabo Questions Young People Ask​—Answers That Work, Omuzingo 2, essuula 34.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki osaanidde okweteerawo ebiruubirirwa?

• Ebimu ku biruubirirwa by’oyinza okweteerawo bye biruwa?

• Oyinza otya okutegeera nti otuuse okubatizibwa?

• Okumanya ebyo by’olina okukulembeza mu bulamu kinaakuyamba kitya okutuuka ku biruubirirwa byo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Olina ekiruubirirwa eky’okusoma Baibuli buli lunaku?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Kiki ekinaakuyamba okutuuka ku kiruubirirwa eky’okubatizibwa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Ebifaananyi bino bikuyigiriza ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share