Yakuwa Awulira Okukaaba kw’Abanaku
NGA Kabaka Sulemaani owa Isiraeri ey’edda bwe yagamba, ‘ffenna bitugwira bugwizi ebiseera n’ebigambo.’ (Mub. 9:11) Ffenna tuyinza okufuna ebizibu mu bulamu ebitumalamu amaanyi. Ng’ekyokulabirako, okufiirwa omu ku b’omu maka gaffe kituleetera ennaku ey’amaanyi. Oyinza okufuna ennaku ey’amaanyi n’ennyiike okumala ekiseera ekiwanvuko. Omuntu ayinza okuwulira nga yenna aweddemu amaanyi era ng’awulira nti tasaanira na kutuukirira Yakuwa mu kusaba.
Mu mbeera ng’eyo, oyo aba afiiriddwa omwagalwa we aba yeetaaga okuzzibwamu amaanyi, okufiibwako, n’okulagibwa okwagala. Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yagamba nti: “Mukama awanirira abagwa bonna, era ayimiriza abakutama bonna.” (Zab. 145:14) Baibuli egamba nti: “Amaaso ga [Yakuwa] gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw’ali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” (2 Byom. 16:9) Aba wamu “n’oyo alina omwoyo ogumenyese era omukkakkamu, okuzzaamu amaanyi omwoyo gw’abanaku era n’okuzzaamu amaanyi abo abalina omutima ogumenyese.” (Is. 57:15, NW ) Yakuwa ayamba atya abanaku era ababudaabuda atya?
“Ekigambo Ekijjira mu Kiseera Ekituufu”
Yakuwa ayamba abanaku ng’akozesa ekibiina Ekikristaayo. Abakristaayo bakubirizibwa “okubudaabuda abennyamivu.” (1 Bas. 5:14) Ebigambo ebibudaabuda era ebyoleka okwagala okuva mu bakkiriza bannaffe bizzaamu nnyo amaanyi oyo alina ennaku n’ennyiike ku mutima. Ebigambo ebibudaabuda ne bwe biba bitono bitya bisobola okuzzaamu amaanyi omuntu omwennyamivu. Ebigambo ng’ebyo bisobola okuva eri ow’oluganda eyayitako mu mbeera ng’eyo. Oba biyinza okuva eri ow’oluganda atera okuyamba abantu ababa mu mbeera ng’eyo. Ng’ayitira mu b’oluganda ng’abo, Yakuwa azzaamu amaanyi abo abali mu nnaku.
Lowooza ku w’oluganda aweereza ng’omukadde ayitibwa Alex eyafiirwa mukyala we nga baakafumbiriganwa. Omulabirizi atambula yabudaabuda Alex n’amuzzaamu amaanyi. Omulabirizi ono naye yali yafiirwako mukyala we naye n’addamu okuwasa. Omulabirizi oyo yamubuulira ku bulumi naye bwe yayitamu ng’afiiriddwa mukyala we. Yamugamba nti yawuliranga bulungi bwe yabeeranga n’abalala mu buweereza bw’ennimiro ne mu nkuŋŋaana z’ekibiina, naye bwe yaddangayo awaka, ng’awulira ekiwuubaalo. Alex agamba nti, “Kyambudaabuda nnyo okukimanya nti abantu bonna bwe bafuna ebizibu bawulira ennaku nga gye nnalina.” Tewali kubuusabuusa nti “ekigambo ekijjira mu [kiseera ekituufu]” kibudaabuda nnyo omuntu ali mu nnaku.—Nge. 15:23.
Ow’oluganda omulala aweereza ng’omukadde, era nga yali ayambye abantu abawerako abaali bafiiriddwako bannaabwe mu bufumbo, naye yayogerako ne Alex n’amuzzaamu amaanyi. Yamulaga nti Yakuwa amanyi bulungi engeri gye tuwuliramu era amanyi ne bye twetaaga. Ow’oluganda oyo yagamba Alex nti, “Ekiseera bwe kinaayitawo n’owulira nga weetaaga okuddamu okuwasa, Yakuwa takugaana kuddamu kuwasa.” Kyo kituufu nti si bonna ababa bafiiriddwako abaagalwa baabwe naye ne baagala okuddamu okuwasa oba okufumbirwa nti basobola okukikola. Naye Alex bwe yalowooza ku bigambo by’ow’oluganda oyo, yagamba nti, “Oyo aba afiiriddwako omwagalwa we bw’akimanya nti Yakuwa tamugaana kuddamu kuwasa oba kufumbirwa kimuyamba obutalowooza nti bw’addamu okuwasa oba okufumbirwa aba talaze bwesigwa eri munne eyafa awamu n’enteekateeka ya Yakuwa ey’obufumbo.”—1 Kol. 7:8, 9, 39.
Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi, eyayolekagana n’ebizibu ebingi, yagamba nti: “Amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu, n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.” (Zab. 34:15) Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa awulira okukaaba kw’abanaku era abayamba mu kiseera ekituufu ng’ayitira mu Bakristaayo abakuze mu by’omwoyo. Abakristaayo ng’abo kirabo kya muwendo nnyo okuva eri Yakuwa.
Obuyambi Okuyitira mu Nkuŋŋaana z’Ekikristaayo
Kyangu omuntu omwennyamivu okufuna ebirowoozo ebibi ebiyinza okumuleetera okweyawula ku balala. Kyokka, Engero 18:1 wagamba nti: “Eyeeyawula anoonya kye yeegomba yekka, era alalukira amagezi gonna amatuufu.” Alex yagamba nti: “Bw’ofiirwa omwagalwa wo, ofuna ebirowoozo bingi ebitali birungi.” Ajjukira okwebuuza nti: “ ‘Kyandiba nti nnina kye saakola kye nnalina okukola? Kyandiba nti saamufaako kimala?’ Nnali saagala kubeera nzekka. Nnali saagala kubeera bwannamunigina. Kizibu nnyo okweggyamu ebirowoozo ng’ebyo kubanga buli lunaku oba okijjukira nti oli wekka.”
Omuntu alina omwoyo ogumenyese, aba yeetaaga emikwano eginaamuzzaamu amaanyi. Emikwano ng’egyo asobola okugifuna ng’agenze mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Bwe tuba mu nkuŋŋaana, Katonda atuyamba okufuna ebirowoozo ebirungi era tuzibwamu amaanyi.
Enkuŋŋaana z’Ekikristaayo zituyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bizibu bye tulina. Bwe tuwuliriza era ne tufumiitiriza ku ebyo ebisomebwa mu Baibuli, kituyamba okussa ebirowoozo byaffe ku bintu ebisinga obukulu—okulaga nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna n’okutukuzibwa kw’erinnya lye—so si ku bizibu bye tulina. Ate era bwe tuba mu nkuŋŋaana, kituzzaamu amaanyi okukitegeera nti Yakuwa amanyi bulungi ennaku yaffe wadde ng’abalala bayinza obutamanyira ddala ngeri gye tuwuliramu. Akimanyi nti “obuyinike obw’omutima bwe bumenya omwoyo.” (Nge. 15:13) Katonda ow’amazima ayagala okutuyamba, era ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi.—Zab. 27:14.
Bwe yali ng’ayigganyizibwa abalabe be, Kabaka Dawudi yakaabirira Katonda ng’agamba nti: “Omwoyo gwange kyeguvudde guzirika munda yange; omutima gwange munda yange teguliiko anannyamba.” (Zab. 143:4) Bwe tufuna ebizibu tutera okuggwaamu amaanyi. Ebizibu ebyo biyinza okuba obulwadde oba obulemu obw’amaanyi ku mibiri gyaffe. Naye tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba okugumira ebizibu ng’ebyo. (Zab. 41:1-3) Wadde nga Katonda talina gw’awonya leero mu ngeri ya kyamagero, awa abo abalina ebizibu amagezi n’amaanyi okusobola okubyaŋŋanga. Jjukira nti ne Dawudi bwe yali mu bizibu eby’amaanyi yaddukira eri Yakuwa. Yagamba nti: “N[z]ijukira ennaku ez’edda; ndowooza ebikolwa byo byonna: nfumiitiriza omulimu ogw’engalo zo.”—Zab. 143:5.
Okuba nti ebigambo bino byawandiikibwa mu Kigambo kya Katonda kiraga nti Yakuwa ategeera bulungi enneewulira yaffe. Ebigambo ng’ebyo bitukakasa nti awulira okukaaba kwaffe. Singa tukkiriza obuyambi Yakuwa bw’atuwa, ‘ajja kutuwanirira.’—Zab. 55:22.
“Musabenga bulijjo”
Yakobo 4:8 wagamba nti: “Musemberere Katonda, naye anaabasemberera.” Okusaba y’engeri emu gye tuyinza okusembereramu Katonda. Omutume Pawulo atukubiriza ‘okusabanga bulijjo.’ (1 Bas. 5:17) Ne bwe tuba nga tetumanyidde ddala ngeri ya kwogeramu ekyo ekituli ku mutima, “omwoyo gwennyini gwegayirira ku lwaffe bwe tuba tusinda wadde ng’ebituleetera okusinda tetubyogera.” (Bar. 8:26, 27) Yakuwa amanyi bulungi ekyo ekituli ku mutima.
Mwannyinaffe ayitibwa Monika agamba nti: “Okusaba, okusoma Baibuli, awamu n’okwesomesa, binnyambye okuwulira nti Yakuwa ye mukwano gwange asingayo okuba ow’oku lusegere. Afuuse wa ddala gyendi era nkiraba nti anfaako. Kinzizaamu nnyo amaanyi okumanya nti ne bwe mba nga simanyidde ddala ngeri ya kumubuuliramu ekyo ekindi ku mutima, ye aba akimanyi bulungi. Nkimanyi nti ajja kweyongera okundaga ekisa kye n’okumpa emikisa gye.”
N’olwekyo, ka bulijjo tuwulirize bakkiriza bannaffe nga batubudaabuda, tukolere ku ebyo bye tuyiga mu nkuŋŋaana ebituzzaamu amaanyi, era tubuulire Yakuwa byonna ebituli ku mutima okuyitira mu kusaba. Ebintu bino byonna biraga nti Yakuwa atufaako. Ng’asinziira ku ebyo bye yayitamu, Alex agamba nti, “Singa tufuba okukozesa ebyo byonna Yakuwa Katonda by’atuwa okutuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo, tujja kufuna ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo’ okusobola okugumira ebizibu byonna bye tuyinza okwolekagana nabyo.”—2 Kol. 4:7.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Ebyawandiikibwa Ebibudaabuda Abanaku
Mu Zabbuli mulimu ebyawandiikibwa bingi ebyoleka enneewulira y’abantu era ebiraga nti Yakuwa awulira okukaaba kw’abanaku nga bali mu bizibu. Lowooza ku byawandiikibwa bino:
“Mu nnaku zange ne nkoowoola Mukama, ne mpita Katonda wange: n’awulira eddoboozi lyange mu yeekaalu ye, ne bye nnakaabira mu maaso ge ne bituuka mu matu ge.”—Zab. 18:6.
“Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.”—Zab. 34:18.
“[Yakuwa] awonya abalina emitima egimenyese, era asiba ebiwundu byabwe.”—Zab. 147:3.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
‘Ng’ekigambo ekijjira mu kiseera ekituufu’ kibudaabuda nnyo omuntu ali mu bizibu!