Yakuwa Kye ‘Kigo Kyaffe mu Biro eby’Okulaba Ennaku’
“Obulokozi obw’abatuukirivu buva eri Mukama: oyo kye kigo kyabwe mu biro eby’okulabiramu ennaku.”—ZABBULI 37:39.
1, 2. (a) Kiki Yesu kye yasaba ku lw’abayigirizwa be? (b) Kiki Katonda ky’ayagala ku bikwata ku bantu be?
YAKUWA ye muyinza w’ebintu byonna. Asobola okukuuma abasinza be abeesigwa mu ngeri yonna gy’ayagala. Era asobola n’okuggya abantu be mu bantu abalala bonna mu nsi n’abateeka mu kifo ekirimu obukuumi n’emirembe. Kyokka, kubikwata ku bayigirizwa be, Yesu yasaba Kitaawe ow’omu ggulu nti: “Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga [eri omubi].”—Yokaana 17:15.
2 Yakuwa asazeewo ‘obutatuggya mu nsi.’ Wabula, ayagala tubeere n’abantu mu nsi munno, tusobole okulangirira obubaka obuwa essuubi era obubudaabuda. (Abaruumi 10: 13-15) Kyokka, nga Yesu bwe yakyoleka mu kusaba, okubeera mu nsi muno, twolekagana ‘n’omubi.’ Abantu abajeemu wamu n’emyoyo emibi, bireeta ebizibu eby’amaanyi era n’Abakristaayo nabo boolekagana n’ebizibu ebyo.—1 Peetero 5:9.
3. Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa nabo balina kwolekagana na ki, naye Ekigambo kya Katonda kitubudaabuda kitya?
3 Nga twolekaganye n’ebizibu ng’ebyo, kya bulijjo okuggwaamu amaanyi. (Engero 24:10) Baibuli erimu ebyokulabirako bingi eby’abantu abeesigwa abaayolekagana n’ebizibu. Omuwandiisi wa zabbuli agamba: “Ebibonoobono eby’omutuukirivu bye bingi: naye Mukama amulokola mu byonna.” (Zabbuli 34:19) Yee, ebintu ebibi bituuka ne ku ‘muntu omutuukirivu.’ Okufaananako Dawudi, oluusi tuyinza ‘n’okuyongobera ne tuwulira nti tuyenjebuse.’ (Zabbuli 38:8) Kyokka, kizzaamu amaanyi okumanya nti “[Yakuwa] ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.”—Zabbuli 34:18; 94:19.
4, 5. (a) Nga kituukagana ne Engero 18:10, kiki kye tuteekeddwa okukola okusobola okufuna obukuumi bwa Katonda? (b) Bintu ki bye tuteekeddwa okukola okusobola okufuna obuyambi bwa Katonda?
4 Nga kituukagana n’ebyo ebyali mu kusaba kwa Yesu, mazima ddala Yakuwa atukuuma. Kye ‘kigo kyaffe mu biro eby’okulabiramu ennaku.’ (Zabbuli 37:39) Ekitabo ky’Engero kikozesa ebigambo ebifaananako n’ebyo bwe kigamba nti: “Erinnya lya Mukama kigo kya maanyi: omutuukirivu addukira omwo n’aba mirembe.” (Engero 18:10) Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti Yakuwa afaayo ku ebitonde bye. Okusingira ddala, Katonda akuuma abatuukirivu be abamunoonya nga balinga abaddukira mu kigo eky’amaanyi okufuna obukuumi.
5 Bwe tuba twolekaganye n’ebizibu, tusobola tutya okuddukira eri Yakuwa okufuna obukuumi? Ka twetegereze ebintu bisatu bye tuyinza okukola okusobola okufuna obuyambi bwa Yakuwa. Ekisooka, tulina okutuukirira Kitaffe ow’omu ggulu nga tuyitira mu kusaba. Eky’okubiri, tusaanidde okugoberera obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. Ate eky’okusatu, tuteekwa okugoberera enteekateeka ya Yakuwa nga tufuba okubeera awamu ne Bakristaayo bannaffe abayinza okuwewula ku bizibu byaffe.
Amaanyi g’Okusaba
6. Abakristaayo ab’amazima batwala batya okusaba?
6 Bakakensa abamu ab’eby’obulamu bagamba nti okusaba kusobola okuvumula obwennyamivu n’okweraliikirira. Wadde nga kiyinza okuba ekituufu nti omuntu bw’asiriikirira n’afumiitiriza kisobola okukendeeza ku kweraliikirira, n’ebintu ebirala gamba ng’okunyigibwanyigibwa mu mubiri (masaagi) nabyo bisobola okukola ekintu kye kimu. Abakristaayo ab’amazima tebatunuulira kusaba ng’ekintu obuntu ekiwonya ekizibu kye baba nakyo. Okusaba tukutwala ng’okwogera n’Omutonzi mu ngeri ey’ekitiibwa. Okusaba kuzingiramu okwemalira ku Katonda era n’okumwesiga. Yee, okusaba kitundu kya kusinza kwaffe.
7. Okusaba Yakuwa nga tulina obwesige kizingiramu ki, era okusaba ng’okwo kutuyamba kutya okwaŋŋanga ebizibu?
7 Bwe tuba tusaba, tuteekwa okuba nga twesigira ddala Yakuwa. Omutume Yokaana yawandiika nti: “Buno bwe bugumu bwe tulina eri ye, nti bwe tusaba ekintu nga bw’ayagala, atuwulira.” (1 Yokaana 5:14) Yakuwa, Katonda omu yekka, Omuyinza w’Ebintu Byonna, awuliriza okusaba kw’abaweereza be mu ngeri ey’enjawulo. Okumanya obumanya nti Katonda waffe omwagazi atuwuliriza bwe tumubuulira ebizibu byaffe, kitubudaabuda.—Abafiripi 4:6.
8. Lwaki Abakristaayo abeesigwa tebasaanidde kukwatibwa nsonyi oba okuwulira nti tebasaanidde bwe baba nga batuukirira Yakuwa mu kusaba?
8 Abakristaayo abeesigwa tebasaanidde kukwatibwa nsonyi, oba okuwulira nti tebasaanidde, oba okutya bwe baba nga butuukirira Yakuwa mu kusaba. Kyo kituufu nti, bwe tuba tuterebuse, oba ng’ebizibu bituyitiriddeko, tuyinza okuwulira nga tetwagala kutuukirira Yakuwa mu kusaba. Bwe tuba mu mbeera ng’ezo, tusaanidde okujjukira nti Yakuwa ‘asaasira ababe ababonyaabonyezebwa,’ era nti ‘abudaabuda abanafu.’ (Isaaya 49:13; 2 Abakkolinso 7:6) Okusingira ddala, mu kiseera eky’okulumwa n’okulaba ennaku mwe twetaagira okwesiga Kitaffe ow’omu ggulu ng’ekigo kyaffe.
9. Okukkiriza kulina kifo ki ku kusaba kwaffe?
9 Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu nkizo ey’okusaba, tuteekwa okuba n’okukkiriza okwa nnamaddala. Baibuli egamba: “Ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.” (Abaebbulaniya 11:6) Okuba n’okukkiriza kisingawo ku kukkiriza obukkiriza nti ‘Katonda gy’ali.’ Okuba n’okukkiriza okwa nnamaddala kizingiramu okuba omukakafu nti Katonda alina obusobozi era nti ayagala okutuwa empeera bwe tumugondera. “Amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, n’amatu ge gali eri okusaba kwabwe.” (1 Peetero 3:12) Bwe tumanya nti Yakuwa atufaako, okusaba kwaffe kuba kwa makulu.
10. Tusaanidde kusaba mu ngeri ki bwe tuba ab’okufuna obuyambi okuva eri Yakuwa?
10 Yakuwa awuliriza okusaba kwaffe bwe kuba nga kuviiridde ddala ku mutima. Omuwandiisi wa zabbuli yawandiika: “Nkoowodde n’omutima gwange gwonna; ompitabe, ai Mukama.” (Zabbuli 119:145) Obutafaananako amadiini amangi agaddiŋŋana ebigambo nga gasaba, ffe tusaba okuviira ddala ku mutima so si kutuusa butuusa mukolo. Bwe tusaba Yakuwa ‘n’omutima gwaffe gwonna,’ ebigambo byaffe biba bya makulu era nga birina ekigendererwa. Oluvannyuma lw’okusaba mu ngeri eyo, tutandika okuwulira obuweerero olw’okutikka ‘Yakuwa emigugu gyaffe.’ Baibuli etusuubiza nti, ‘Yakuwa kennyini ajja kutuyamba.’—Zabbuli 55:22; 1 Peetero 5:6, 7.
Omwoyo gwa Katonda Gutuyamba
11. Ngeri ki emu Yakuwa gy’atuddamu bwe ‘tumusaba’ atuyambe?
11 Yakuwa tawuliriza buwuliriza kusaba kwaffe kyokka, naye era akuddamu. (Zabbuli 65:2) Dawudi yawandiika: “Ku lunaku olw’okunakuwala kwange, ndikukoowoola; kubanga olinziramu.” (Zabbuli 86:7) Nga kituukirawo, Yesu yakubiriza abayigirizwa be ‘okusabanga’ Yakuwa okubayamba kubanga ‘Kitaffe ali mu ggulu awa omwoyo omutukuvu abo abamusaba.’ (Lukka 11:9-13) Yee, omwoyo omutukuvu guyamba, oba gubudaabuda abantu ba Katonda.—Yokaana 14:16.
12. Omwoyo gwa Katonda gusobola gutya okutuyamba ebizibu bwe birabika ng’ebituyitiriddeko?
12 Ne bwe tuba nga tugezesebwa, omwoyo gwa Katonda gusobola okutuwa ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo.’ (2 Abakkolinso 4:7) Omutume Pawulo eyagumira embeera nnyingi enzibu, yagamba bw’ati: “Nnyinzizza byonna mu oyo ampa amaanyi.” (Abafiripi 4:13) Mu ngeri y’emu, Abakristaayo bangi leero bazzeemu amaanyi mu by’omwoyo olw’okuddibwamu okusaba kwabwe. Emirundu mingi, ebizibu eby’amaanyi ennyo bifuuka ng’ebitali bya maanyi oluvannyuma lw’okufuna obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda. Olw’amaanyi gano Katonda g’atuwa, tusobola okwogera ng’omutume nti: “Tutaayizibwa eruuyi n’eruuyi, naye tetunyigirizibwa; tweraliikirira, so si kweraliikiririra ddala: tuyigganyizibwa, naye tetulekebwa; tumeggebwa, naye tetuzikirira.”—2 Abakkolinso 4:8, 9.
13, 14. (a) Ng’ayitira mu Kigambo kye, Yakuwa abadde atya ekigo kyaffe? (b) Oyambiddwa otya mu kussa mu nkola emisingi gya Baibuli?
13 Ate era, omwoyo gwa Katonda gwaluŋŋamya era ne gukuuma Ekigambo kye ku lw’obulungi bwaffe. Ng’ayitira mu Kigambo kye, mu ngeri ki Yakuwa gy’abadde ekigo kyaffe mu biseera eby’okulaba ennaku? Engeri emu, kwe kutuwa amagezi agatuyamba era n’obusobozi bw’okulowooza. (Engero 3:21-24) Baibuli etuyamba okutunuulira ebintu mu ngeri ey’amagezi. (Abaruumi 12:1) Okuyitira mu kusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa era n’okussa mu nkola bye tusoma, tusobola ‘okufuna amagezi agatuyamba okwawulangawo obulungi n’obubi.’ (Abaebbulaniya 5:14) Ggwe kennyini emisingi gya Baibuli giyinza okuba nga gyakuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi bwe wali ng’oyolekaganye n’ebizibu. Baibuli etuwa amagezi agasobola okutuyamba okugonjoola ebizibu eby’amaanyi.—Engero 1:4.
14 Ekigambo kya Katonda era kituwa ekintu ekirala ekituzzaamu amaanyi—essuubi ery’okulokolebwa. (Abaruumi 15:4) Baibuli etutegeeza nti, ebintu ebibi tebiggya kubaawo emirembe gyonna. Okubonaabona kwonna okuliwo kwa kaseera buseera. (2 Abakkolinso 4:16-18) Tulina ‘essuubi ery’obulamu obutaggwaawo, Katonda atayinza kulimba bwe yasuubiza ebiro eby’emirembe n’emirembe nga tebinnabaawo.’ (Tito 1:2) Bwe tuba n’essuubi eryo, nga tujjukiranga ebiseera eby’omu maaso ebirungi Yakuwa by’asuubiza, tusobola okugumiikiriza okubonaabona.—Abaruumi 12:12; 1 Abasessaloniika 1:3.
Ekibiina—Nteekateeka ya Katonda ey’Okwagala
15. Abakristaayo basobola batya okuyambagana?
15 Ekintu ekirala Yakuwa ky’atuwa ekiyinza okutuyamba mu biseera ebizibu, gye mikwano gye tusanga mu kibiina Ekikristaayo. Baibuli egamba: “Ow’omukwano ayagala mu biro byonna, era ow’oluganda yazaalirwa obuyinike.” (Engero 17:17) Ekigambo kya Katonda kikubiriza bonna mu kibiina okuwaŋŋana ekitiibwa n’okwagalana. (Abaruumi 12:10) Omutume Pawulo yawandiika: “Omuntu yenna tanoonyanga ebibye yekka, wabula ebya munne.” (1 Abakkolinso 10:24) Okubeera n’endowooza ng’eyo kisobola okutuyamba okulowooza ku byetaago by’abalala mu kifo ky’okubeera nga tweraliikirira ebizibu byaffe. Bwe tuyamba abalala, tufuna essanyu n’okumatira era nga bino biwewula ku bizibu byaffe.—Ebikolwa 20:35.
16. Buli Mukristaayo asobola atya okuzzaamu abalala amaanyi?
16 Abasajja n’abakazi abakuze mu by’omwoyo basobola okubaako eky’amaanyi kye bakola okuzzaamu abalala amaanyi. Okusobola okukola ekyo, balina okuba nga batuukirikika. (2 Abakkolinso 6:11-13) Ekibiina kiganyulwa nnyo bonna abakirimu bwe bafuba okusiima abavubuka, okuzimba abapya era n’okuzzaamu amaanyi abennyamivu. (Abaruumi 15:7) Okwagalana ng’ab’oluganda kijja kutuyamba okwewala obuteesigaŋŋana. Tetusaanidde kwanguwa kugamba nti ebizibu omuntu by’aba alina kaba kabonero akooleka obunafu mu by’omwoyo. Nga kituukirawo, Pawulo yakubiriza Abakristaayo ‘okubudaabuda abennyamivu.’ (1 Abasessaloniika 5:14) Baibuli eraga nti n’Abakristaayo abeesigwa nabo boolekagana n’ebizibu.—Ebikolwa 14:15.
17. Ddi lwe tuyinza okunyweza enkolagana ey’oluganda olw’Ekikristaayo?
17 Enkuŋŋaana ez’Ekikristaayo zituwa akakisa okubudaabuda abalala n’okuzziŋŋanamu amaanyi. (Abaebbulaniya 10:24, 25) Kino tekikoma mu nkuŋŋaana za kibiina zokka. Abantu ba Katonda bafunayo ebiseera ebirala ne babeerako awamu. Embeera enzibu bwe zijjawo, kitwanguyira okuyambagana kubanga tuba tulina enkolagana ey’oku lusegere. Omutume Pawulo yawandiika: “Walemenga okubeerawo okwawula mu mubiri, naye ebitundu biyambaganenga bumu byokka na byokka. Era ekitundu ekimu bwe kibonaabona, ebitundu byonna bibonaabonera wamu nakyo; oba ekitundu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bisanyukira wamu nakyo.”—1 Abakkolinso 12:25, 26.
18. Kiki kye tusaanidde okwewala okukola bwe tuba nga tunakuwadde nnyo?
18 Oluusi, tuyinza okunakuwala ennyo ne kiba nti tetwagala kubeera wamu na Bakristaayo bannaffe. Tusaanidde okulwanyisa enneewulira ng’ezo tuleme okusubwa okubudaabuda n’obuyambi baganda baffe bye bayinza okutuwa. Baibuli etulabula: ‘Eyeeyawula aba yeenoonyeza bibye yekka era awakanya amagezi gonna amatuufu.’ (Engero 18:1) Omukwano baganda baffe ne bannyinaffe gwe batulaga gwoleka okwagala Katonda kw’alina gye tuli. Bwe tusiima okwagala okwo, tujja kufuna obuweerero mu biseera ebizibu.
Beeranga n’Endowooza Ennungi
19, 20. Ebyawandiikibwa bituyamba bitya okwewala endowooza etali nnungi?
19 Omuntu bw’aggwaamu amaanyi oba bw’anakuwala, kiba kyangu nnyo okufuna endowooza etali nnungi. Ng’ekyokulabirako, abamu bwe boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, bayinza okutandika okubuusabuusa obanga banywevu mu by’omwoyo era ne balowooza nti ebizibu byabwe kabonero akalaga nti Katonda tabasiima. Kyokka, kijjukire nti Katonda takema muntu yenna “na bubi.” (Yakobo 1:13) “[Katonda] tagenderera kubonyaabonya newakubadde okulu[mya] abaana b’abantu,” bw’etyo Baibuli bw’egamba. (Okukungubaga 3:33) Okwawukanira ddala ku ekyo, Yakuwa anyolwa nnyo abaweereza be bwe babonaabona.—Isaaya 63:8, 9; Zekkaliya 2:8.
20 Yakuwa ye ‘Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna.’ (2 Abakkolinso 1:3) Atufaako, era mu kiseera ekigereke ajja kutugulumiza. (1 Peetero 5:6, 7) Bulijjo bwe tumanya nti atwagala, kijja kutuyamba okubeera n’endowooza ennungi era n’okusigala nga tuli basanyufu. Yakobo yawandiika: “Mulowoozenga byonna okuba essanyu, baganda bange, bwe munaagwanga mu kukemebwa okutali kumu.” (Yakobo 1:2) Lwaki? Addamu bw’ati: “Kubanga bwe mulimala okusiimibwa muliweebwa engule ey’obulamu, Yakuwa gye yasuubiza abamwagala.”—Yakobo 1:12, NW.
21. Ka bibeere bizibu ki bye twolekagana nabyo, bukakafu ki Katonda bw’awa abo abamwesiga?
21 Nga Yesu bwe yalabula, ddala tuli ba kwolekagana n’ennaku mu nsi. (Yokaana 16:33) Naye, Baibuli esuubiza nti ‘k’ebe nnaku, oba kulumwa, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba bwereere, oba kabi,’ tewali kijja kutwawula ku kwagala kwa Katonda n’okw’Omwana we. (Abaruumi 8:35, 39) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti ebizibu byonna bye twolekagana nabyo bya kaseera buseera! Mu kiseera kino nga tulindirira enkomerero y’okubonaabona, Kitaffe omwagazi, Yakuwa, atufaako. Bwe tuddukira gy’ali okufuna obukuumi, ajja ‘kubeera kigo kyaffe ekiwanvu nga tuyigganyizibwa, era ekigo kyaffe ekiwanvu mu biro eby’okulaba ennaku.’—Zabbuli 9:9.
Biki bye Tuyize?
• Abakristaayo basaanidde kusuubira ki nga bali mu nsi eno embi?
• Okusaba kusobola kutya okutuzzaamu amaanyi bwe tuba nga twolekaganye n’ebigezo?
• Mu ngeri ki omwoyo gwa Katonda gye gutuyambamu?
• Kiki kye tuyinza okukola okusobola okuyambagana?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Tulina okunoonya Yakuwa nga tulinga abaddukira mu kigo eky’amaanyi
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
Abo abakuze mu by’omwoyo bakozesa buli kakisa konna okusiima n’okuzzaamu abalala amaanyi