Yakuwa Anunula Abali mu Nnaku
“Ebibonoobono by’omutuukirivu bye bingi: naye Mukama amulokola mu byonna.”—ZABBULI 34:19.
1, 2. Kizibu ki Omukristaayo omu omwesigwa kye yayolekagana nakyo, era lwaki naffe tuyinza okutuukibwako ekizibu kye kimu?
OMUKYALA ayitibwa Keikoa akyali omuto mu myaka, abadde omu ku Bajulirwa ba Yakuwa okumala emyaka egisukka mu 20. Okumala ekiseera, yaweereza nga payoniya ow’ekiseera kyonna, oba omulangirizi w’Obwakabaka ow’ekiseera kyonna. Enkizo eyo yali agitwala nga ya muwendo nnyo. Kyokka, ebiseera si bingi emabega, Keiko yatandika okuwulira nga takyalina ssuubi lyonna era ng’ali mu kiwuubaalo kya maanyi. Agamba nti: “Nnakaabanga buli kiseera.” Okusobola okuvvuunuka endowooza embi gye yalina, Keiko yawaayo ebiseera bingi okwesomesa. Agamba nti: “Wadde nnakola ekyo, embeera yange teyalongooka. Nnatuuka n’okwagala okufa.”
2 Naawe wali obaddeko omwennyamivu bw’otyo? Ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, olina esonga nnyingi okusanyuka kubanga okutya Katonda “kulina okusuubiza kw’obulamu obwa kaakano [n’obwo] obugenda okujja.” (1 Timoseewo 4:8) Mu kiseera kino, oli mu lusuku olw’eby’omwoyo! Kyokka, ekyo kitegeeza nti toyinza kufuna bizibu? N’akatono! Baibuli egamba: “Ebibonoobono by’omutuukirivu bye bingi: naye Mukama amulokola mu byonna.” (Zabbuli 34:19) Kino tekyewuunyisa kubanga “ensi yonna efugibwa omubi,” Setaani Omulyolyomi. (1 Yokaana 5:19, NW) Mu ngeri emu oba endala, tunyigirizibwa olw’okubanga Setaani y’afuga ensi.—Abaefeso 6:12.
Ebiva mu Kubonaabona
3. Waayo ebyokulabirako okuva mu Baibuli eby’abaweereza ba Katonda abaali abennyamivu.
3 Omuntu bw’abonaabona okumala ekiseera ekiwanvu, kiyinza okumuviirako okwennyamira. (Engero 15:15) Lowooza ku Yobu omusajja omutuukirivu. Mu kubonaabona okungi kwe yalimu,Yobu yagamba: “Omuntu azaalibwa omukazi Wa nnaku si nnyingi, era ajjudde obuyinike.” (Yobu 14:1) Essanyu lya Yobu lyali liweddewo. Okumala akaseera, yatuuka n’okulowooza nti Yakuwa amwabulidde. (Yobu 29:1-5) Yobu si ye muweereza wa Katonda yekka eyafuna ennaku ey’amaanyi. Baibuli etubuulira nti ne Kaana ‘yali munakuwavu mu mwoyo’ kubanga yali mugumba. (1 Samwiri 1:9-11) Olw’embeera embi eyali mu maka ge, Lebbeeka yagamba: ‘obulamu bwange bwetamiddwa.’ (Olubereberye 27:46) Bwe yali alowooza ku nsobi ze yakola, Dawudi yagamba: “Ntambula nga nkaaba obudde okuziba.” (Zabbuli 38:6) Ebyokulabirako bino bikyoleka kaati nti abasajja n’abakazi abatya Katonda abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo nabo oluusi babanga bennyamivu.
4. Lwaki tekyewuunyisa nti abamu ku Bakristaayo leero ‘bennyamivu’?
4 Ate kiri kitya eri Abakristaayo? Omutume Pawulo yakiraba nga kyetaagisa okugamba Abasessaloniika nti “mugumyenga abennyamivu.” (1 Abasessaloniika 5:14, NW) Ekitabo ekimu kigamba nti ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “abennyamivu” kiyinza okukwata ku abo “ababa n’ebizibu eby’amaanyi okumala akaseera.” Ebigambo bya Pawulo biraga nti abamu ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta abaali mu kibiina ky’e Sessaloniika baali bennyamivu. N’abamu ku Bakristaayo leero bennyamivu. Naye lwaki bennyamivu? Ka twetegereze ebintu bisatu ebiviirako ekyo.
Obutali Butuukirivu Bwaffe Buyinza Okutuviirako Okwennyamira
5, 6. Kubudaabudibwa ki kwe tuyinza okufuna mu Abaruumi 7:22-25?
5 Obutafaananako abantu “abatakyalina nsonyi,” Abakristaayo ab’amazima bawulira bubi olw’obutali butuukirivu bwabwe. (Abaefeso 4:19) Bayinza okuwulira nga Pawulo eyawandiika nti: “Nsanyukira amateeka ga Katonda mu muntu ow’omunda: naye ndaba etteeka eddala mu bitundu byange nga lirwana n’etteeka ly’amagezi gange, era nga lindeeta mu bufuge wansi w’etteeka ly’ekibi eriri mu bitundu byange.” Awo Pawulo n’alyoka agamba nti: “Nze nga ndi muntu munaku!”—Abaruumi 7:22-24.
6 Wali weewuliddeko nga Pawulo? Si kikyamu okumanya nti totuukiridde, kubanga ekyo kiyinza okukuyamba okutegeera akabi akali mu kwonoona era n’okubeera omumalirivu okwewala okukola ekibi. Naye kiba tekikwetaagisa kuba omwennyamivu buli kiseera olw’ensobi z’okola. Mu bigambo bye ebyo ebyoleka ennaku, Pawulo yagattako: “Nneebaza Katonda ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe!” (Abaruumi 7:25) Mazima ddala, Pawulo yali mukakafu nti omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa gwali gusobola okumununula okuva mu kibi ekisikire.—Abaruumi 5:18.
7. Kiki ekiyinza okuyamba omuntu bw’aba omwennyamivu olw’ensobi zaakola?
7 Bw’owulira ng’ozitoowereddwa olw’ensobi z’okola, oyinza okufuna okubudaabudibwa mu bigambo by’omutume Yokaana eyawandiika nti: “Omuntu yenna bw’akola ekibi, tulina Omuwolereza eri Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu. N’oyo gwe mutango olw’ebibi byaffe; so si lwa bibi byaffe fekka, era naye n’olw’ensi zonna.” (1 Yokaana 2:1, 2) Bw’oba oli mwennyamivu olw’ebisobyo by’okola, jjukiranga nti Yesu yafiirira bantu boonoonyi so si batuukiridde. Mu butuufu, “bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.”—Abaruumi 3:23.
8, 9. Lwaki twandyewaze okwesalira omusango?
8 Ka tugambe nti wakola ekibi eky’amaanyi mu biseera ebyayita. Tewali kubuusabuusa, waatuukirira Yakuwa mu kusaba enfunda n’enfunda ku nsonga eyo. Wafuna obuyambi okuva eri abakadde b’ekibiina. (Yakobo 5:14, 15) Weenenya n’osigala mu kibiina Ekikristaayo. Oboolyawo wava mu kibiina kya Katonda okumala ekiseera, kyokka oluvannyuma weenenya era n’oddamu okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Ka kibe ki ekiyinza okuba nga kye kyakutuukako, oyinza okujjukira ekibi kye wakola era ne kikuleetera okwennyamira. Ekyo bwe kibaawo, jjukira nti Yakuwa “asonyiyira ddala nnyo” abo abeenenyeza. (Isaaya 55:7) Ate era, tayagala owulire ng’olumirizibwa omusango olw’ekibi kye wakola. Setaani yayagala owulire bw’otyo. (2 Abakkolinso 2:7, 10, 11) Omulyolyomi ajja kuzikirizibwa kubanga ekyo kye kimugwanidde, era ayagala owulire nti naawe ogwanidde okuzikirizibwa nga ye. (Okubikkulirwa 20:10) Tokkiriza Setaani kusaanyawo kukkiriza kwo. (Abaefeso 6:11) Wabula, ‘muziyizenga,’ era nga bw’okola ne ku bintu ebirala.—1 Peetero 5:9.
9 Mu Okubikkulirwa 12:10, Setaani ayogerwako nga ‘avunaana baganda baffe’—Abakristaayo abaafukibwako amafuta. ‘Abavunaana emisana n’ekiro’ eri Katonda. Okufumiitiriza ku lunyiriri olwo kiyinza okukuyamba okulaba nti Setaani, oyo avunaana abalala mu bukyamu, aba musanyufu singa weesalira omusango olw’ensobi z’okola wadde nga ye Yakuwa tagukusalidde. (1 Yokaana 3:19-22) Lwaki onyolwa olw’ensobi z’okola n’otuuka n’okwagala okuva mu mazima? Tokkiriza Setaani kwonoona nkolagana yo ne Katonda. Tokkirizanga Mulyolyomi kukuleetera kwerabira nti Yakuwa “ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi.”—Okuva 34:6.
Ebitukugira Biyinza Okutumalamu Amaanyi
10. Mu ngeri ki ebitukugira gye biyinza okutumalamu amaanyi?
10 Abakristaayo abamu baweddemu amaanyi olw’okuba balina ebibakugira okuweereza Katonda. Bwe kityo bwe kiri gy’oli? Kiyinzika okuba nti obulwadde obw’amaanyi, obukadde, oba embeera endala zikulemesa okwenyigira ennyo mu buweereza nga bwe wakolanga edda. Kyo kituufu nti Abakristaayo bakubirizibwa okugula ebiseera okusobola okuweereza Katonda. (Abaefeso 5:15, 16) Naye watya singa olina ebikukugira okukola ekisingawo mu buweereza era nga kino kye kikuviirako okuggwamu amaanyi?
11. Okubuulirira kwa Pawulo okuli mu Baggalatiya 6:4 kuyinza kutya okutuganyula?
11 Baibuli etukubiriza obutaba bagayaavu, naye ‘okugoberera abo olw’okukkiriza n’okugumiikiriza abasikira ebyasuubizibwa.’ (Abaebbulaniya 6:12) Tuyinza okukikola singa twekeneenya ebyokulabirako byabwe ebirungi era ne tukoppa okukkiriza kwabwe. Kyokka, tetujja kuganyulwa singa twegeraageranya ku balala era ne kituviirako okugamba nti tetulina kalungi ke tukola. N’olwekyo, tusaanidde okugoberera okubuulirira kwa Pawulo okugamba nti: “buli muntu akemenga omulimu gwe ku bubwe, alyoke abeere n’okwenyumiriza ku bubwe yekka so si ku bwa mulala.”—Abaggalatiya 6:4.
12. Lwaki okuweereza Yakuwa kwandituleetedde essanyu?
12 Abakristaayo balina ensonga ebaleetera okuba abasanyufu, ne bwe baba nga balina obulwadde obubakugira okukola ekisingawo mu buweereza. Baibuli etukakasa nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye.” (Abaebbulaniya 6:10) Kiyinzika okuba nti ebizibu by’otayinza kugonjoola ku bubwo bye bikulemesa okwenyigira mu buweereza nga bwe wakolanga edda. Kyokka, n’obuyambi bwa Yakuwa, oyinza okusobola okwenyigira mu buweereza obw’Ekikristaayo obw’engeri endala gamba ng’okubuulirira ku ssimu n’okubuulira ng’okozesa amabaluwa. Osobola okuba omukakafu nti Yakuwa Katonda ajja kukuwa emikisa olw’okwenyigira mu buweereza n’omutima gwo gwonna era n’okumwagala era n’okwagala abantu abalala.—Matayo 22:36-40.
“Ebiro eby’Okulaba Ennaku” Biyinza Okutumalamu Amaanyi
13, 14. (a) Mu ngeri ki “ebiro eby’okulaba ennaku” gye biyinza okukuleetera okwennyamira? (b) Mu ngeri ki obutayagala balala gye kweyoleseemu leero?
13 Wadde nga twesunga okufuna obulamu mu nsi ya Katonda ey’obutuukirivu, mu kiseera kino tuli mu ‘biro eby’okulaba ennaku.’ (2 Timoseewo 3:1) Tusobola okubudaabudibwa singa tumanya nti ebizibu ebiriwo biraga nti tuli kumpi okununulibwa. Wadde kiri kityo, tukwatibwako embeera eziriwo mu nsi. Ng’ekyokulabirako, kiba kitya bw’oba nga tolina mulimu? Emirimu giyinza okuba nga gya bbula, era emyezi bwe gigenda giyitawo, oyinza okwebuuza oba nga Yakuwa alaba ekizibu kyo oba awuliriza okusaba kwo. Oboolyawo ososolwa oba oyisibwa mu ngeri endala yonna etali ya bwenkanya. N’okusoma obusomi emitwe egy’oku mpapula z’amawulire kiyinza okukuleetera okuwulira nga Lutti omusajja eyali omutuukirivu ‘eyeeraliikirira ennyo’ (“eyaggwaamu maanyi,” Young’s Literal Translation of the Holy Bible) olw’empisa ez’obukaba ez’ababi.—2 Peetero 2:7.
14 Waliwo ekintu ekirala ekyeyoleka mu nnaku ez’oluvannyuma kye tutayinza kubuusa maaso. Baibuli yalagula nti abantu bangi bandibadde ‘tebaagala ba luganda.’ (2 Timoseewo 3:3) Mu maka mangi temuli kwagala. Ekitabo Family Violence kigamba nti, “obujulizi bulaga nti kyangu okuttibwa, okukubibwa, oba okukolebwako eby’obugwenyufu ab’omu maka go okusinga omuntu omulala yenna. Ekifo abantu gye bandibadde baagalibwa era nga balina obukuumi, kye kisinga okuba eky’akabi eri abantu abakulu n’abaana.” Abo abaali bayisiddwako obubi mu maka, oluvannyuma lw’emyaka bayinza okwennyamira ennyo oba okuggwaamu amaanyi. Kiba kitya kino bwe kiba nga kyali kikutuuseeko?
15. Okwagala kwa Yakuwa kusinga kutya okw’abantu?
15 Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yagamba nti: ‘Kitange ne mmange ne bwe bandindese, Mukama ananjijajanbanga.’ (Zabbuli 27:10) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa atwagala nnyo okusinga ne bazadde baffe! Wadde nga kiruma nnyo okuboolebwa n’okuyisibwa obubi bazadde baffe, ekyo tekirina kye kikola ku ngeri Yakuwa gy’atwagalamu. (Abaruumi 8:38, 39) Kijjukire nti asembeza abo b’ayagala. (Yokaana 3:16; 6:44) Abantu ka babe nga bakuyisizza batya, Kitaawo ow’omu ggulu akwagala!
Bye Tuyinza Okukola Okukendeeza ku Bwennyamivu
16, 17. Bw’oba ng’oli mwennyamivu, kiki ky’oyinza okukola okusobola okubeera omunywevu mu by’omwoyo?
16 Waliwo ky’oyinza okukola okusobola okwaŋŋanga obwennyamivu. Ng’ekyokulabirako, beera n’enteekateeka ennungi ey’okwenyigira mu mirimu gy’Ekikristaayo. Fumiitiriza ku kigambo kya Katonda naddala ng’otendewereddwa olw’ennaku. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Bwe nnayogera nti Ekigere kyange kiseerera, Okusaasira kwo, ggwe Mukama, ne kumpanirira. Mu birowoozo byange ebingi ebiri mu nze okusanyusa kwo kumpoomera emmeeme yange.” (Zabbuli 94:18, 19) Okusoma Baibuli obutayosa kijja kukuyamba okufuna ebigambo bingi ebisobola okukubudaabuda n’okukuzzaamu amaanyi.
17 Okusaba nakwo kukulu nnyo. Ne bw’oba nga tosobola kwolekera ddala nneewulira yo mu bigambo, Yakuwa amanya ky’ogezaako okwogera. (Abaruumi 8:26, 27) Omuwandiisi wa Zabbuli yayogera ebigambo bino ebituzzaamu amaanyi: “Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga: taaganyenga batuukirivu okujjulukuka ennaku zonna.”—Zabbuli 55:22
18. Biki omuntu omwennyamivu by’ayinza okukola?
18 Abamu baggwaamu essuubi olw’okwenyamira ekisukkiridde.b Bw’oba ng’oli mu mbeera bw’etyo, gezaako okussa ebirowoozo byo ku nsi ya Katonda empya, ekiseera buli ‘atuulamu lw’alyogera nti siri mulwadde.’ (Isaaya 33:24) Singa weesanga nga buli kiseera obeera mwennyamivu nnyo, kiba kya magezi okulaba omusawo. (Matayo 9:12) Ate era kikulu okwerabirira obulungi. Okulya obulungi n’okuzannya emizannyo kiyinza okukuyamba. Kakasa nti owummula ekimala. Tolwawo kwebaka kiro ng’olaba ttivi era weewale eby’amasanyu ebikukooya mu birowoozo ne mu mubiri. N’ekisinga byonna, weeyongere okwenyigira mu mirimu egisanyusa Katonda! Wadde ng’ekiseera tekinnatuuka Yakuwa ‘okusangula buli zziga,’ ajja kukuyamba okugumiikiriza.—Okubikkulirwa 21:4; 1 Abakkolinso 10:13.
Okubeera “Wansi w’Omukono ogw’Amaanyi Ogwa Katonda”
19. Kiki Yakuwa ky’asuubiza ababonaabona?
19 Baibuli etukakasa nti wadde ebibonoobono by’omutuukirivu bingi, naye “Mukama amulokola mu byonna.” (Zabbuli 34:19) Ekyo Katonda akikola atya? Omutume Pawulo bwe yasaba enfunda n’enfunda okuwonyezebwa “eriggwa mu mubiri,” Yakuwa yamugamba nti: “amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu.” (2 Abakkolinso 12:7-9) Kiki Yakuwa kye yasuubiza Pawulo, era kiki ky’akusuubiza? Si kuwonyezebwa mbagirawo, naye asuubiza okukuwa amaanyi osobole okugumiikiriza.
20. Wadde nga tulina ebizibu, 1 Peetero 5:6, 7 zitukakasa ki?
20 Omutume Peetero yawandiika nti: “Mwewombeekenga wansi w’omukono ogw’amaanyi ogwa Katonda, alyoke abagulumize ng’obudde butuuse. Nga mumusindiikiririzanga ye okweraliikirira kwammwe kwonna, kubanga ye ateeka ku mwoyo ebigambo byammwe.” (1 Peetero 5:6, 7) Olw’okuba akufaako, tajja kukwabulira. Ajja kukuwagira wadde ng’oyolekaganye n’ebizibu. Kijjukire nti Abakristaayo ab’amazima bali “wansi w’omukono ogw’amaanyi ogwa Katonda.” Bwe tuba tuweereza Yakuwa, atuwa amaanyi okugumiikiriza. Bwe tuba abeesigwa gy’ali, tewali kijja kututusaako kabi ak’olubeerera mu by’omwoyo. N’olwekyo, ka tukuume obugolokofu bwaffe eri Yakuwa tusobole okunyumirwa obulamu mu nsi empya gye yatusuubiza era tusobole okulaba olunaku lw’alinunulirako ababonaabona!
[Obugambo obuli wansi]
a Erinnya likyusiddwa.
b Omuntu omwennyamivu ennyo aba taweddemu bugwi maanyi kyokka, naye era aba mwennyamivu nnyo ekiseera kyonna. Okumanya ebisingawo, laba Watchtower aka Okitobba 15, 1988, empapula 25-9; Noovemba 15, 1988, empapula 21-4; ne Ssebutemba 1, 1996, empapula 30-1.
Okyajjukira?
• Lwaki abaweereza ba Yakuwa nabo bafuna ebizibu?
• Bintu ki ebimu ebiyinza okuleetera abantu ba Katonda abamu okwennyamira?
• Yakuwa atuyamba atya okwaŋŋanga okweraliikirira?
• Mu ngeri ki gye tuli “wansi w’omukono gwa Katanda ogw’amaanyi”?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]
Wadde nga bagezesebwa, abantu ba Yakuwa balina ensonga ebaleetera okusanyuka