LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 1/15 lup. 4-8
  • Abakristaayo ab’Amazima Bassa Ekitiibwa mu Bayibuli

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abakristaayo ab’Amazima Bassa Ekitiibwa mu Bayibuli
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENSONGA EY’AMAANYI EGONJOOLWA
  • ENJAWULO YA MAANYI
  • ‘EŊŊAANO N’OMUDDO’ BIKULIRA WAMU
  • “EKIGAMBO KYA KATONDA TEKISIBIDDWA”
  • Abakristaayo Abaasooka n’Amateeka ga Musa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Yabayita Okuva mu Kizikiza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • ‘Bwe Waabaawo Obutakkaanya Obw’amaanyi’
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Eddiini emu ey’Ekikristaayo ey’Amazima Weeri
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 1/15 lup. 4-8

Abakristaayo ab’Amazima Bassa Ekitiibwa mu Bayibuli

“Ekigambo kyo ge mazima.”​—YOK. 17:17.

NOONYA EBY’OKUDDAMU MU BIBUUZO BINO:

Njawulo ki eri wakati w’olukuŋŋaana olwali mu Yerusaalemi mu mwaka gwa 49 E.E. n’enkiiko z’abakulembeze b’amadiini?

Abamu ku bantu abaalwanirira Ekigambo kya Katonda oluvannyuma lw’ekiseera ky’abatume be baluwa?

Abakristaayo abeesigwa baasomanga batya Bayibuli ng’emyaka gya 1800 ginaatera okuggwako, era lwaki enkola eyo yali nnungi nnyo?

1. Ku mulundi gwe wasooka okwogerako n’Abajulirwa ba Yakuwa, kintu ki kye walaba ekibafuula ab’enjawulo ku b’amadiini amalala?

LOWOOZA ku mulundi gwe wasooka okunyumyako n’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Kiki ky’ojjukira? Bangi ku ffe ekintu kye tusinga okujjukira kwe kuba nti Omujulirwa oyo yakozesa Bayibuli okuddamu ebibuuzo byaffe byonna. Nga twasanyuka nnyo okumanya ekigendererwa kya Katonda eri ensi, ekyo ekitutuukako bwe tufa, awamu n’essuubi eri abaagalwa baffe abaafa!

2. Kiki ekyakuleetera okutandika okutwala Bayibuli ng’ekitabo eky’omuwendo?

2 Bwe tweyongera okuyiga Bayibuli, twakiraba nti Bayibuli tekoma ku kuddamu buzzi bibuuzo byaffe ebikwata ku bulamu, ku kufa, ne ku biseera eby’omu maaso, naye era etuyigiriza n’ebintu ebirala bingi. Twatandika okutwala Bayibuli ng’ekitabo ekisingayo okuba eky’omuganyulo mu nsi yonna. Amagezi agagirimu gaganyula abantu ekiseera kyonna era abo abagakolerako baba basanyufu era ebintu bibagendera bulungi mu bulamu. (Soma Zabbuli 1:1-3.) Okuva edda n’edda, Abakristaayo ab’amazima Bayibuli babadde bagitwala ‘ng’ekigambo kya Katonda,’ so “ng’ekigambo ky’abantu.” (1 Bas. 2:13) Okwekenneenya ebintu ebibaddewo mu biseera by’emabega kijja kutuyamba okulaba enjawulo eri wakati w’abo abassa ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda n’abo batakissaamu kitiibwa.

ENSONGA EY’AMAANYI EGONJOOLWA

3. Kizibu ki ekyali kiyinza okugootaanya obumu bw’ekibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka, era lwaki ekizibu ekyo tekyali kyangu kugonjoola?

3 Bwe waali waakayita emyaka 13 bukya Munnaggwanga ataali mukomole, Koluneeriyo, afukibwako amafuta, wajjawo ekizibu ekyali kiyinza okugootaanya obumu bw’ekibiina Ekikristaayo. Ab’amawanga bangi baali bafuuse Abakristaayo. Ekyo kyaleetawo ekibuuzo. Ab’amawanga basaanidde okusooka okukomolebwa okusinziira ku bulombolombo bw’Ekiyudaaya nga tebannabatizibwa? Ekibuuzo ekyo tekyali kyangu eri Abayudaaya kuddamu. Abayudaaya abaali bakwata Amateeka baali tebasobola kuyingira mu nnyumba ya Munnaggwanga yenna, wadde okumutwala ng’ow’oluganda. Abayudaaya abaali bafuuse Abakristaayo baali bayigganyizibwa olw’okuva mu ddiini y’Ekiyudaaya. Singa ate bakkiriza n’okutwala Ab’amawanga abataali bakomole nga baganda baabwe, ekyo kyandireetedde Abayudaaya abaali bakwata Amateeka okwongera okubakyawa n’okubayigganya.​—Bag. 2:11-14.

4. Baani abaakuŋŋaana okugonjoola ekizibu ekyali kizzeewo, era bibuuzo ki abantu bye bayinza okuba nga baali beebuuza?

4 Mu mwaka gwa 49 E.E., abatume n’abakadde mu Yerusaalemi, nga nabo baali Bayudaaya bakomole, “bakuŋŋaana wamu okwekenneenya ensonga eno.” (Bik. 15:6) Mu lukuŋŋaana olwo, tebadda awo kumala biseera nga bakubaganya ebirowoozo ku bintu ebitalina mugaso, wabula essira baalissa ku ekyo Ebyawandiikibwa kye biyigiriza. Buli omu yawa endowooza ye. Naye bandigonjodde batya ekizibu ekyo? Buli omu yandiguggubidde ku ndowooza ye? Abakadde abo bandirinzeeko okubaako ne kye basalawo okutuusa ng’embeera mu Isiraeri ekkakkanye? Oba bandimaze gakkiriza ekintu kye bamanyi nti si kituufu olw’okwagala obwagazi okubaako ne kye basalawo?

5. Njawulo ki eri wakati w’olukuŋŋaana olwali mu Yerusaalemi mu mwaka gwa 49 E.E. n’enkiiko z’abakulembeze b’amadiini?

5 Bwe baba mu nkiiko zaabwe, abakulembeze b’amadiini bangi bekkiriranya era abamu bagezaako n’okusendasenda abalala okukkiriza endowooza zaabwe. Kyokka si bwe kityo bwe kyali mu lukuŋŋaana olwali mu Yerusaalemi. Mu lukuŋŋaana olwo, ab’oluganda bonna bakkiriziganya. Ekyo kyasoboka kitya? Kyasoboka olw’okuba, abo bonna abaaliwo baali bassa ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda, era baakozesa ebyawandiikibwa ebitukuvu okugonjoola ekizibu ekyali kizzeewo.​—Soma Zabbuli 119:97-101.

6, 7. Abatume n’abakadde baakozesa batya Ebyawandiikibwa okugonjoola ensonga ekwata ku kukomolebwa?

6 Ebigambo ebiri mu Amosi 9:11, 12 byayamba nnyo mu kugonjoola ensonga eyo. Abatume baajuliza ebigambo ebyo nga bwe kiragibwa mu Ebikolwa 15:16, 17, awagamba nti: “Ndiddamu okuzimba eweema ya Dawudi eyagwa; era ndiddamu okuzimba ebyamenyekamenyeka ne ngiyimiriza nate, abantu abasigaddewo ku bantu bano basobole okunoonya Yakuwa, awamu n’ab’amawanga gonna abayitibwa erinnya lyange, bw’ayogera Yakuwa.”

7 Naye omuntu ayinza okugamba nti, ‘ekyawandiikibwa ekyo tekigamba nti Ab’amawanga abaafuuka Abakristaayo baali tebeetaaga kukomolebwa.’ Ekyo kituufu; naye bo Abakristaayo Abayudaaya ago ge makulu ge bandifunye. Lwaki? Kubanga Ab’amawanga abakomole baali babatwala nga baganda baabwe, so si ‘ng‘abantu ab’amawanga.’ (Kuv. 12:48, 49) Ng’ekyokulabirako, okusinziira ku nkyusa ya Bayibuli eya Bagster eya Septuagint, Eseza 8:17 wagamba nti: “Ab’amawanga bangi baakomolebwa, ne bafuuka Abayudaaya.” Bwe kityo, Ebyawandiikibwa bwe byagamba nti abantu b’ennyumba ya Isiraeri abaali basigaddewo (Abayudaaya n’Ab’amawanga abakyufu abaali abakomole) awamu n’abantu ‘ab’amawanga gonna’ (Ab’amawanga abataali bakomole) bandiyitiddwa erinnya lya Katonda, ekyo kyali kitegeerekeka bulungi. Ab’amawanga abaali baagala okufuuka Abakristaayo kyali tekibeetagisa kusooka kukomolebwa.

8. Lwaki Abakristaayo Abayudaaya baali beetaaga okuba abavumu okusobola okusalawo nga bwe baasalawo?

8 Ekigambo kya Katonda awamu n’omwoyo gwe omutukuvu byayamba Abakristaayo abo ab’amazima ‘bonna okukkiriziganya.’ (Bik. 15:25) Wadde ng’ekyo kye baali basazeewo kyali kisobola okuleetera Abakristaayo Abayudaaya okwongera okuyigganyizibwa, Abakristaayo abaali abeesigwa baakolera ku ekyo ekyali kisaliddwawo okusinziira ku Byawandiikibwa.​—Bik. 16:4, 5.

ENJAWULO YA MAANYI

9. Ekimu ku bintu ebyaviirako enjigiriza ez’obulimba okuyingira mu kusinza okw’amazima kye kiruwa, era njigiriza ki ey’Ekikristaayo gye baakyusa?

9 Omutume Pawulo yalagula nti oluvannyuma lw’okufa kw’abatume, enjigiriza ez’obulimba zandiyingidde mu Bukristaayo. (Soma 2 Abassessaloniika 2:3, 7.) Abakristaayo abamu, nga mw’otwalidde n’abo abaalina obuvunaanyizibwa mu kibiina, tebandigumiikirizza “kuyigiriza okw’obulamu.” (2 Tim. 4:3) Pawulo yalabula abakadde abaaliwo mu kiseera kye ng’agamba nti: “Mu mmwe mwennyini muliva abantu aboogera ebintu ebikyamye okusendasenda abayigirizwa okubagoberera.” (Bik. 20:30) Ekitabo ekiyitibwa The New Encyclopædia Britannica kiraga emu ku nsonga ezaaviirako enjigiriza ez’obulimba okuyingira mu Bukristaayo: “Abakristaayo abaali bayigiriziddwa obufirosoofo bw’Abayonaani baatandika okunnyonnyola enjigiriza z’Ekikristaayo nga bakozesa obufirosoofo obwo. Kino baakikolanga okusobola okweraga nga bwe baali abayivu n’olw’okwagala okusikiriza abakaafiiri abayivu okufuuka Abakristaayo.” Emu ku njigiriza y’Ekikristaayo gye baakyusa y’eyo ekwata ku Yesu Kristo. Bayibuli emuyita Mwana wa Katonda; naye abo abaali baagala obufirosoofo bw’Abayonaani bo baali bayigiriza nti ye Katonda.

10. Abakulembeze b’amadiini bandisobodde batya okumanya amazima agakwata ku Kristo?

10 Enjigiriza eyo yakubaganyizibwako ebirowoozo mu nkiiko z’abakulembeze b’amadiini eziwerako. Baali basobola okutegeera amazima agakwata ku Yesu nga bakozesa Ebyawandiikibwa, naye eky’ennaku kiri nti abasinga obungi ku bo baali tebassa kitiibwa mu Byawandiikibwa. Mu butuufu, bangi ku bo baagendanga okugenda mu nkiiko ezo nga baamaze dda okusalawo ekyo kye baagala, era tebaabanga beetegefu kukyusa ndowooza yaabwe. Ebyo ebyasalibwangawo mu nkiiko ezo tebaabyesigamyanga ku Byawandiikibwa.

11. Bwe baabanga balina bye basalawo, abakulembeze b’amadiini baasinziiranga ku ki, era lwaki?

11 Lwaki abakulembeze b’amadiini tebeekenneenyanga Byawandiikibwa nga tebannasalawo? Munnabyafaayo ayitibwa Charles Freeman agamba nti abo abaali bagamba nti Yesu ye Katonda ‘kyabazibuwaliranga okuwakanya ebigambo bya Yesu ebiraga nti Yesu ali wansi wa Katonda.’ N’ekyavaamu, baatandika okutwala obulombolombo bw’Ekkereziya n’endowooza z’abantu okuba ebikulu okusinga ebitabo by’Enjiri. N’okutuusa leero, abakulembeze b’amadiini bangi batwala enjigiriza z’abakulembeze b’amadiini abaaliwo mu biseera by’edda (be bayita Church Fathers) okuba enkulu okusinga Ekigambo kya Katonda! Bwe kiba nti wali oyogeddeko n’omuseminaaliyo ku njigiriza egamba nti Katonda ali mu busatu, naawe ekyo oyinza okuba nga wakyerabirako.

12. Buyinza ki empula bwe yabanga nabwo?

12 Empula wa Rooma yabanga n’obuyinza bungi mu ebyo ebyasalibwangawo mu nkiiko z’abakulembeze b’amadiini. Ng’ekyokulabirako, Profesa Richard E. Rubenstein yawandiika bw’ati ku lukiiko olwali mu Nicaea: ‘Bwe yali yakatandika okufuga, Empula Constantine yagaggawazza nnyo babisopu. Mu mwaka gumu gwokka, yali amaze okubaddiza ebintu byonna ebyali byabaggibwako, omwali amakereziya gaabwe, emirimu gyabwe, n’ebitiibwa byabwe. Era yabawa n’enkizo bakabona abakaafiiri ze baali balina.’ Bwe kityo, ‘Constantine yasobola okuleetera babisopu abaali batudde mu lukiiko lw’e Nicaea okusalawo nga bwe yali ayagala, era ayinza n’okuba nga yabalagira okukyusa ebimu ku bintu bye baali basazeewo.’ Charles Freeman naye yagamba nti: ‘Oluvannyuma lw’olukiiko olwo, empula yawa Ekkereziya obuyinza naye era yatandika okubaako ebintu by’asalawo ebikwata ku njigiriza zaayo.’​—Soma Yakobo 4:4.

13. Lwaki abakulembeze b’amadiini baagaana okukkiriza amazima agali mu Bayibuli?

13 Abakulembeze b’amadiini baagaana okukkiriza nti Yesu Kristo Mwana wa Katonda, naye abantu aba bulijjo bo baali bategeera bulungi ekyo Ebyawandiikibwa kye biyigiriza era nga bakkiriza nti Yesu Mwana wa Katonda. Okuva bwe kiri nti abakulembeze b’amadiini baali baagala okufuna ssente n’ebitiibwa okuva eri empula, baagaana okukkiriza ekyo Bayibuli ky’eyigiriza. Omusomesa w’eddiini eyaliwo mu kiseera ekyo ayitibwa Gregory ow’e Nyssa yajerega abantu ba bulijjo, gamba ng’abatunzi b’engoye, abawanyisa ssente, abatunzi b’amaduuka, n’abakozi b’awaka, olw’okwogera ku by’eddiini. Gregory kyamunyizanga nnyo okuwulira ng’abantu ba bulijjo bagamba nti Omwana wa njawulo ku Kitaffe, nti Kitaffe asinga Omwana, era nti Omwana yatondebwa butondebwa. Ebintu ebyo abantu ba bulijjo baali basobola bulungi okubinnyonnyola nga bakozesa Ekigambo kya Katonda. Kyokka, Gregory awamu n’abakulembeze b’amadiini ekyo baali tebakikola. Bandibadde bawuliriza abantu ba bulijjo!

‘EŊŊAANO N’OMUDDO’ BIKULIRA WAMU

14. Tumanya tutya nti wabaddengawo Abakristaayo ab’amazima abaafukibwako amafuta okuva mu kyasa ekyasooka n’okweyongerayo?

14 Ebyo Yesu bye yayogera mu lumu ku ngero ze biraga nti okuva mu kyasa ekyasooka n’okweyongerayo, wandibaddengawo Abakristaayo ab’amazima abaafukibwako amafuta ku nsi. Yabageraageranya ku “ŋŋaano” ekulira awamu ‘n’omuddo.’ (Mat. 13:30) Kya lwatu nti tetusobola kutegeerera ddala bantu ki abaali abamu ku abo abaafukibwako amafuta aboogerwako ng’eŋŋaano, naye kye tumanyi kiri nti okuva mu kyasa ekyasooka wabaddengawo abantu abafuba okulwanirira Ekigambo kya Katonda era ne bawakanya enjigiriza ez’obulimba. Ka tulabeyo ebyokulabirako ebitonotono.

15, 16. Abamu ku bantu abaalaga nti baali bassa ekitiibwa mu Bayibuli be baluwa?

15 Ssabasumba Agobard ow’e Lyons, mu Bufalansa (779-840 E.E.), yavumirira nnyo okusinza ebifaananyi, amakereziya okutuumibwa amannya g’abatuukirivu, n’ebintu ebirala ebitali bya mu Byawandiikibwa ebyali bikolebwa mu kusinza. Bisopu Claudius, eyaliwo mu kiseera kye kimu ne Bisopu Agobard naye yavumirira obulombolombo bw’Ekkereziya, okusaba abatuukirivu, awamu n’okusinza ebifaananyi. Mu kyasa ekya 11, Ssabadinkoni Berengarius ow’e Tours, mu Bufalansa, yagobebwa mu Kkereziya olw’okugaana enjigiriza y’Abakatuliki egamba nti omugaati n’envinnyo bifuuka omubiri n’omusaayi gwa Kristo. Ate era yagambanga nti Bayibuli esaanidde okussibwamu ekitiibwa okusinga obulombolombo bw’Ekkereziya.

16 Peter ow’e Bruys ne Henry ow’e Lausanne abaaliwo mu kyasa 12 nabo baali baagala nnyo amazima ga Bayibuli. Peter yalekulira obusaseredooti olw’okuba yali alaba ng’enjigiriza z’Ekikatuliki, gamba ng’okubatiza abaana abawere, omugaati n’envinnyo okufuuka omubiri n’omusaayi gwa Kristo, okusabira abafu, n’okusinza omusaalaba zaali zikontana n’Ebyawandiikibwa. Mu 1140, Peter yattibwa olw’okunywerera ku mazima ga Bayibuli. Henry yavumirira nnyo ebikolwa ebibi ebyali mu Kkereziya n’ebintu ebyakolebwanga mu Kkereziya ebitaali bya mu Byawandiikibwa. Yasibibwa mu kkomera mu 1148 era n’abeerayo okutuusa lwe yafa.

17. Kiki Waldo n’abagoberezi be kye baakola?

17 Mu kiseera Peter ow’e Bruys we baamwokyera olw’okuwakanya enjigiriza z’Ekkereziya ez’obulimba, waliwo omuntu omulala eyazaalibwa eyayamba ennyo mu kubunyisa amazima ga Bayibuli. Omusajja oyo yali ayitibwa Valdès, oba Waldo.a Obutafaananako Peter ow’e Bruys ne Henry ow’e Lausanne, Valdès yali muntu wa bulijjo, naye yali assa nnyo ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda ne kiba nti yatuuka n’okwefiiriza ebintu bye okusobola okuwagira omulimu gw’okuvvuunula ebimu ku bitabo bya Bayibuli mu lulimi olwogerwa abantu abasinga obungi mu bukiikaddyo bwa Bufalansa. Abantu abamu baakwatibwako nnyo oluvannyuma lw’okuwulira obubaka bwa Bayibuli mu lulimi lwabwe era nabo ne beefiiriza ebintu byabwe okusobola okuyamba abalala okuyiga amazima ga Bayibuli. Ekyo kyanyiiza nnyo abakulembeze b’Ekkereziya. Mu 1184 abasajja bano n’abakazi abaali abanyiikivu, oluvannyuma abaatandika okuyitibwa Waldenses, ppaapa yabagoba mu Ekkereziya era ne bisopu n’abagoba mu maka gaabwe. Naye ekyo kyayamba buyambi mu kubunyisa obubaka bwa Bayibuli mu bitundu ebirala. Oluvannyuma lw’ekiseera, abagoberezi ba Waldo, Peter ow’e Bruys, ne Henry ow’e Lausanne awamu n’abantu abalala abaali beekutudde ku Ekkereziya baabuna mu bitundu bya Bulaaya ebitali bimu. Waliwo n’abantu abalala abaalwanirira amazima ga Bayibuli ne mu byasa ebyaddirira, gamba nga John Wycliffe (1330-1384), William Tyndale (1494-1536), Henry Grew (1781-1862), ne George Storrs (1796-1879).

“EKIGAMBO KYA KATONDA TEKISIBIDDWA”

18. Abayizi ba Bayibuli baasomanga batya Bayibuli mu kyasa ekya 19, era lwaki enkola eyo yali nnungi nnyo?

18 Wadde ng’abalabe bakoze kyonna ekisoboka okulemesa amazima ga Bayibuli okusaasaana, tebasobodde kugalemesa kusaasaana. Mu 2 Timoseewo 2:9 wagamba nti: “Ekigambo kya Katonda tekisibiddwa.” Mu 1870 ekibinja ky’abayizi ba Bayibuli abaali abeesimbu baatandika okunoonya amazima. Baasomanga batya Bayibuli? Omu ku bo yabuuzanga ekibuuzo ku nsonga emu. Baagikubaganyangako ebirowoozo, ne beekenneenya ebyawandiikibwa byonna ebigikwatako, bwe baafunanga ebyawandiikibwa ebisobola okunnyonnyola obulungi ensonga eyo, baabangako we bawandiika ebyo bye baabanga bazudde. Ekyo tekikukakasa nti okufaananako abatume n’abakadde abaaliwo mu kyasa ekyasooka, abasajja abo abeesigwa, “bajjajjaffe ab’eby’omwoyo” abaaliwo ng’emyaka gya 1800 ginaatera okuggwaako, baali bamalirivu okulaba nti enjigiriza zaabwe zonna zeesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda?

19. Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2012 kye kiruwa, era lwaki kituukirawo?

19 Ne leero, enjigiriza zaffe zonna zeesigamiziddwa ku Bayibuli. N’olw’ensonga eyo, Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa kalonze ebigambo bya Yesu bino okuba ekyawandiikibwa ky’omwaka 2012: “Ekigambo kyo ge mazima.” (Yok. 17:17) Okuva bwe kiri nti buli muntu yenna ayagala okusiimibwa mu maaso ga Katonda alina okutambulira mu mazima, ka ffenna tukole kyonna ekisoboka okweyongera okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda.

[Obugambo obuli wansi]

a Valdès oluusi ayitibwa Pierre Valdès oba Peter Waldo, naye erinnya lye erisooka terimanyiddwa bulungi.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 8]

Eyawandiikibwa ky’omwaka 2012: “Ekigambo kyo ge mazima.”—Yokaana 17:17

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Waldo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Wycliffe

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Tyndale

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Grew

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Storrs

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share