Etterekero Lyaffe
‘Buli Omu Yantunuuliranga’
Mwannyinaffe Charlotte White eyali aweereza nga payoniya, bwe yatuuka mu kibuga Louisville, Kentucky eky’omu Amerika ng’akulula ensawo eriko obupiira, abantu bonna baamutunuulira.
MU MWAKA gwa 1908, Mwannyinaffe White yatuuka mu kibuga Louisville, Kentucky, eky’omu Amerika ng’akulula Dawn-Mobile. Abantu baali tebalabanga ku nsawo efaanana bw’etyo. Mwannyinaffe oyo yagamba nti, “Buli we nnayitanga, abantu baantunuuliranga era baasigalanga boogera ku nsawo yange.”
Abajulirwa ba Yakuwa, mu kiseera ekyo abaali bayitibwa Abayizi ba Bayibuli, baakiraba nti kyali kyetaagisa okubuulirako abalala ku mazima ge baali bayize okuva mu Byawandiikibwa. Bangi baali bayize amazima ago nga bakozesa ebitabo ebiyitibwa Millennial Dawn (oluvannyuma ebyayitibwanga Studies in the Scriptures). Abamu ku bo baasalawo okugenda mu bitundu ebitali bimu ebyesudde okusobola okutuusa ebitabo ebyo ku bantu abaali baagala okubisoma.
Mu 1908, Mwannyinaffe White n’ababuulizi b’Obwakabaka abalala abanyiikivu baasabanga abantu abaabanga baagala emizingo omukaaga egy’ebitabo ebyo okuwaayo doola y’Amerika emu ne ssente 65. Ebitabo ebyo tebaabiweerangawo bantu abaabanga babyagala, naye baawandiikanga amannya gaabwe ne babibaleetera ku lunaku kwe baafuniranga omusaala. Ssente abantu ze baawangayo z’ezo ezaabanga zikozeseddwa okukuba ebitabo ebyo. Omusajja omu eyali tayagala Bayizi ba Bayibuli kyamuyisa bubi okulaba ng’ebitabo ebyo byali bigabibwa ku busente butono nnyo!
Mwannyinaffe Malinda Keefer yagamba nti yateranga okutwalira abantu ebitabo ebiri wakati w’ebikumi bibiri n’ebikumi bisatu buli wiiki. Abantu bangi baali baagala nnyo ebitabo ebyo, naye ebitabo ebyo byali bizitowa nnyo! Ng’ekyokulabirako, omuzingo ogw’omukaaga gwalimu empapula 740! Magazini ya Watch Tower emu yagamba nti ebitabo 50 byali bizitowa kiro 18, ne kiba nti tekyabanga kyangu kusitula bitabo ebyo, naddala eri bannyinaffe.
Okusobola okugonjoola ekizibu ekyo, Ow’oluganda James Cole yayiiya akagaali ak’emipiira ebiri. Akagaali ako omuntu yali asobola okukasibako ensawo ng’akozesa obusumaali. Oluvannyuma lw’okutandika okukozesa akagaali ako, Ow’oluganda James Cole yagamba nti: “Kati sikyamenyeka nnyo.” Yayanjulira ab’oluganda akagaali ako ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Cincinnati, Ohio, mu 1908 era baasanyuka nnyo. Ku kagaali ako kwaliko obupeesa okwali ebigambo Dawn-Mobile, kubanga baakakozesanga okwetikka ebitabo ebiyitibwa Millennial Dawn. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, ab’oluganda baayiga okukulula akagaali ako nga kaliko ensawo ejjudde ebitabo nga bakozesa omukono gumu. Baali basobola okukyusakyusa obuwanvu bw’akagaali ako nga bwe baabanga baagadde, era nga basobola n’okukakululira ku luguudo lw’emmotoka. Ow’oluganda bwe yabanga amalirizza okubuulira, yabanga asobola okufunyira obupiira bw’akagaali ako ku ludda lw’ensawo ye n’agisitula n’adda eka.
Bannyinaffe abaali mu buweereza obw’ekiseera kyonna baaweebwanga Dawn-Mobile ku bwereere. Naye ab’oluganda abalala baagifuniranga ku doola z’Amerika bbiri n’essente 50. Mwannyinaffe Keefer, alagiddwa mu kifaananyi, yakuguka nnyo mu kukozesa Dawn-Mobile ne kiba nti yali asobola okugikulula n’omukono gumu ng’ejjudde ebitabo ate nga mu mukono omulala akwatiddemu ensawo entono ejjudde ebitabo. Olw’okuba mu kibuga ekimu eky’omu Pennsylvania, Amerika, mwalimu abantu bangi abaali baagala ebitabo ebyo, ku lunaku lwe yabanga asuubizza okutwalira abantu ebitabo, yalinanga okutwala ebitabo emirundi essatu oba ena.
Ng’emyaka gya 1980 ginaatera okuggwako, waliwo omuvuzi w’ennyonyi eyayiiya ensawo okuli obupiira. Leero abantu bangi bakozesa nnyo ensawo ezo. Kyokka emyaka nga kikumi emabega, Abayizi ba Bayibuli baakozesanga Dawn-Mobile okubunyisa amazima ga Bayibuli.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 32]
Ku lunaku olw’okutwalira abantu ebitabo, Mwannyinaffe Keefer yalinanga okutwala ebitabo emirundi essatu oba ena
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 32]
Dawn-Mobile yatuwonya okwetikka ebitabo