Kisoboka Okufuna Essanyu mu Maka Agatali Bumu mu Kukkiriza
“Omanyi otya obanga ojja kulokola [munno]?”—1 KOL. 7:16.
OSOBOLA OKUDDAMU EBIBUUZO BINO?
Abakristaayo abali mu maka agatali bumu mu kukkiriza bayinza kukola ki okulaba nti amaka gaabwe gabaamu emirembe?
Omukristaayo ayinza kukola ki okuyamba ab’omu maka ge okukkiriza amazima?
Abo abali mu kibiina bayinza batya okuyamba ab’oluganda abali mu maka agatali bumu mu kukkiriza?
1. Kiki ekiyinza okubaawo mu maka singa omu ku bo akkiriza amazima?
LUMU Yesu bwe yali atuma abatume be okugenda okubuulira, yabagamba nti: “Bwe muba mugenda, mubuulire nga mugamba nti, ‘Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.’” (Mat. 10:1, 7) Amawulire ago amalungi gandiyambye abo abandigakkirizza okufuna emirembe n’essanyu. Kyokka, Yesu yagamba abayigirizwa be nti abantu bangi bandibayigganyizza nga bakola omulimu gwabwe ogw’okubuulira. (Mat. 10:16-23) Tekiba kyangu kugumira kuyigganyizibwa naddala singa kuba kuva mu b’omu maka gaffe.—Soma Matayo 10:34-36.
2. Lwaki Abakristaayo abali mu maka agatali bumu mu kukkiriza nabo basobola okuba abasanyufu?
2 Ekyo kitegeeza nti Abakristaayo abali mu maka agatali bumu mu kukkiriza tebasobola kuba basanyufu? Nedda! Wadde ng’Abakristaayo abamu bayigganyizibwa ab’omu maka gaabwe abatali bakkiriza, abalala tebayigganyizibwa. Ate era okuyigganyizibwa ng’okwo ebiseera ebisinga tekubaawo kumala bbanga ddene. Tusobola okusigala nga tuli basanyufu singa tufuba okweyisa obulungi ng’ab’omu maka gaffe batuyigganya oba nga bagaanye okukkiriza amazima. Ate era, Yakuwa ayamba abaweereza be abeesigwa okusigala nga basanyufu ne bwe baba mu mbeera enzibu. Abakristaayo basobola okuba abasanyufu singa (1) bafuba okukuuma emirembe mu maka gaabwe era (2) ne bafuba okuyamba ab’omu maka gaabwe okukkiriza amazima.
MUFUBE OKULABA NTI AMAKA GAMMWE GABAAMU EMIREMBE
3. Lwaki Omukristaayo asaanidde okufuba okulaba nti amaka ge gabaamu emirembe?
3 Kiba kyangu ab’omu maka okukkiriza amazima singa mu maka mubaamu emirembe. (Soma Yakobo 3:18.) N’olwekyo, Omukristaayo bw’aba mu maka agatali bumu mu kukkiriza, yeetaaga okufuba ennyo okulaba nti mu maka ge mubaamu emirembe. Ekyo ayinza kukikola atya?
4. Kiki ekiyinza okutuyamba okuba n’emirembe mu mutima?
4 Tusaanidde okufuba okulaba nti tuba n’emirembe mu mutima. Kino kiba kitwetaagisa okusaba tusobole okufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna.” (Baf. 4:6, 7) Omuntu okusobola okufuna essanyu n’emirembe, aba yeetaaga okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okukolera ku misingi gya Bayibuli mu bulamu bwe. (Is. 54:13) Ate era bwe tuba ab’okufuna emirembe n’essanyu, kiba kitwetaagisa okubangawo mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu. N’abo abali mu maka agatali bumu mu kukkiriza basobola okukola ebintu ebyo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mwannyinaffe Enza,a alina omwami atayagalira ddala mazima. Mwannyinaffe oyo bw’aba tannagenda kubuulira asooka kukola mirimu gya waka gyonna. Enza agamba nti, “Yakuwa ampa emikisa buli lwe nfuba okubuulira abalala amawulire amalungi.” Tewali kubuusabuusa nti emikisa egyo gimuleetera okuwulira emirembe, essanyu, n’obumativu.
5. Buzibu ki abo abali mu maka agatali bumu mu kukkiriza bwe bayinza okufuna, naye kiki ekiyinza okubayamba?
5 Twetaaga okufuba ennyo okusobola okuba mu mirembe n’ab’omu maka gaffe abatali bakkiriza. Kino si kyangu olw’okuba emirundi egimu baba baagala tukole ebintu ebikontana n’emisingi gya Bayibuli. Bwe tunywerera ku misingi gya Bayibuli, ekyo kiyinza okuleetera abamu ku b’omu maka gaffe abatali bakkiriza okutunyiigira. Naye bwe tunywerera ku kituufu, oluvannyuma amaka gayinza okuddamu okuba mu mirembe. Bayibuli egamba nti: “Amakubo g’omuntu bwe gasanyusa Yakuwa, aleetera n’abalabe be okuba mu mirembe naye.” (Engero 16:7, NW) Kya lwatu nti tetwandyagadde kukalambira ku nsonga singa waba tewali musingi gwa Bayibuli guba gumenyeddwa. Bwe tuba mu mbeera enzibu, kiba kikulu okufuna obulagirizi bw’omu Byawandiikibwa okuva mu bakadde awamu ne mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi.—Nge. 11:14.
6, 7. (a) Lwaki abantu abamu bayigganya abo ababa batandise okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa? (b) Omuyizi wa Bayibuli oba ow’oluganda ayinza kukola ki ng’ayigganyizibwa ab’omu maka ge?
6 Bwe tuba ab’okukuuma emirembe mu maka, tuba twetaaga okwesiga Yakuwa era n’okweteeka mu bigere by’ab’omu maka gaffe abatali bakkiriza. (Nge. 16:20) N’abo abaakatandika okuyiga Bayibuli basobola okukola kye kimu. Oluusi abaami oba abakyala abatali bakkiriza bayinza obutagaana bannaabwe mu bufumbo kuyiga Bayibuli. Bayinza n’okukiraba nti munnaabwe bw’ayiga Bayibuli ekyo kiyinza okuyamba amaka gaabwe. Kyokka abalala bayinza okusalawo okuyigganya bannaabwe ababa bayiga Bayibuli. Omukyala ayitibwa Esther, nga kati Mujulirwa wa Yakuwa, yagamba nti yanyiiga nnyo omwami we bwe yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Era yagamba nti, “Oluusi nnasuulanga ebitabo bye ebweru oba ne mbyokya.” Howard, mu kusooka eyayigganya mukyala we ng’ayiga Bayibuli, yagamba nti: “Abasajja bangi bakyala baabwe bwe batandika okuyiga Bayibuli, baba balowooza nti bagenda kuyingira akadiinidiini akajja okubabuzaabuza. Olw’okuba omwami aba alowooza nti ekyo kiyinza okuteeka mukyala we mu kabi, ayinza okusalawo okumuziyiza.”
7 Twetaaga okuyamba abayizi ba Bayibuli abalina bannaabwe mu bufumbo ababaziyiza okukiraba nti tebalina kulekera awo kuyiga Bayibuli. Omuyizi ali mu mbeera ng’eyo aba alina okwoleka obukkakkamu era n’okuwa munne ekitiibwa. Ekyo kiyinza okuleetawo emirembe mu maka. (1 Peet. 3:15) Ow’oluganda Howard agamba nti, “Nneebaza nnyo mukyala wange olw’okuba yasigala nga mukkakkamu!” Mukyala we agamba nti: “Howard yali ayagala ndekere awo okuyiga Bayibuli. Yali alowooza nti Abajulirwa ba Yakuwa baali bannimbalimba. Mu kifo ky’okuwakana naye, nnamugamba nti, ‘Oyinza okuba omutuufu, naye nze siraba ngeri gye bambuzaabuzaamu.’ Era nnamusaba asome akatabo ke nnali nkozesa okuyiga Bayibuli. Yakasoma naye n’atakalabamu mutawaana gwonna. Ekyo kyamukwatako nnyo.” Abantu bangi abatali bakkiriza batera okuwulira ekiwuubaalo bannaabwe bwe babalekawo ne bagenda mu nkuŋŋaana oba ne bagenda okubuulira era bayinza n’okulowooza nti obufumbo bwabwe buyinza okusasika. Abayizi ba Bayibuli oba Abajulirwa abafumbo abali mu mbeera ng’eyo beetaaga okukakasa bannaabwe nti babaagala. Ekyo kijja kubayamba obuteeraliikirira.
MUBAYAMBE OKUKKIRIZA AMAZIMA
8. Kiki omutume Pawulo kye yakubiriza Abakristaayo abaalina bannaabwe abatali bakkiriza okukola?
8 Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo abafumbo obutalekaawo bannaabwe olw’okuba si bakkiriza.b (Soma 1 Abakkolinso 7: 12-16.) Singa Omukristaayo akijjukira nti munne atali mukkiriza asobola okufuuka omukkiriza, ekyo kiyinza okumuyamba okusigala nga musanyufu. Kyokka asaanidde okukozesa amagezi ng’amuyamba okukkiriza amazima. Lowooza ku byokulabirako bino wammanga.
9. Kiki Omukristaayo ky’asaanidde okwewala bw’aba ng’ayagala okubuulirako ab’omu maka ge ku bintu by’ayiga okuva mu Bayibuli?
9 Jason yasanyuka nnyo bwe yatandika okuyiga Bayibuli. Yali ayagala okubuulirako buli omu ku ebyo bye yali ayiga. Omuyizi wa Bayibuli bw’akiraba nti ebyo by’ayiga ge mazima, ekyo kiyinza okumusanyusa ennyo n’awulira ng’ayagala okubibuulirako buli omu. Ayinza okulowooza nti n’ab’omu maka ge bajja kukkiriza amawulire g’Obwakabaka naye oluusi kiyinza obutaba bwe kityo. Mukyala wa Jason yawulira atya ng’omwami we buli kiseera amubuulira ku bintu bye yali ayiga? Agamba nti, “Nnawulira nga kimpitiriddeko.” Omukyala omu eyakkiriza amazima nga wayise emyaka 18 bukya mwami we ayiga amazima agamba nti, “Nze nnali njagala kuyiga mpolampola.” Bw’oba olina omuntu gw’oyigiriza Bayibuli naye ng’omwami we oba mukyala we tayagala kuyiga mazima, kiba kirungi okumuyamba okulaba engeri gy’ayinza okunnyonnyolamu munne ebyo by’ayiga mu ngeri ey’amagezi. Musa yagamba nti: “Okuyigiriza kwange kunaatonnya ng’enkuba, okwogera kwange kunaagwa ng’omusulo; ng’obukubakuba ku ssubi eggonvu.” (Ma. 32:2) Okubuulira omuntu ebintu ebitonotono okuva mu Bayibuli mu ngeri ennungi era mu kiseera ekituufu kyamuganyulo nnyo okusinga okumubuulira ebintu ebingi omulundi ogumu.
10-12. (a) Magezi ki omutume Peetero ge yawa Abakristaayo abalina abakyala oba abaami abatali bakkiriza? (b) Omuyizi wa Bayibuli omu yayiga atya okukolera ku magezi agali mu 1 Peetero 3:1, 2?
10 Omutume Peetero yawa abakazi Abakristaayo abali mu maka agatali bumu mu kukkiriza amagezi amalungi ennyo. Yagamba nti: “Mugonderenga babbammwe, bwe wabaawo abatakkiriza kigambo balyoke bawangulwe awatali kigambo okuyitira mu mpisa z’abakazi baabwe, olw’okuba baba balabye empisa zammwe ennongoofu n’ekitiibwa eky’amaanyi kye mubassaamu.” (1 Peet. 3:1, 2) Omukazi asobola okuyamba omwami we okuyiga amazima singa amugondera era n’amussaamu ekitiibwa, ne bwe kiba nti omwami we tamuyisa bulungi. Mu ngeri y’emu, n’omusajja Omukristaayo asaanidde okweyisa obulungi n’okwagala mukyala we, ne bwe kiba nti mukyala we atali mukkiriza amuziyiza.—1 Peet. 3:7-9.
11 Abakristaayo bangi leero baganyuddwa nnyo mu kukolera ku magezi Peetero ge yawa. Lowooza ku kyokulabirako kya Selma. Bwe yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, ekyo omwami we, Steve, tekyamusanyusa. Steve agamba nti, “Nnanyiiga nnyo, ne nkwatibwa obuggya, era ne ntandika okweraliikirira.” Selma agamba nti: ‘Ne bwe nnali sinnatandika kuyiga mazima, tekyambeereranga kyangu kubeera na Steve. Yalina obusungu bungi. Bwe nnatandika okuyiga Bayibuli, embeera yeeyongera okwonooneka.’ Kiki ekyayamba Selma?
12 Selma ajjukira amagezi amalungi Omujulirwa eyamuyigiriza Bayibuli ge yamuwa. Agamba nti, “Lumu nnali saagala kuyiga Bayibuli. Ekiro, omwami wange yali ankubye olw’okuba nnagezaako okumuwakanya. Muganda wange bwe yajja okunsomesa Bayibuli, yasanga ndi munakuwavu nnyo. Bwe nnamubuulira ekyo ekyali kibaddewo n’engeri gye nnali mpuliramu, yansaba okusoma 1 Abakkolinso 13:4-7. Oluvannyuma lw’okusoma ennyiriri ezo, nnamugamba nti, ‘Omwami wange talina na kimu ku bino ky’ankolera.’ Naye muganda wange yannyamba okwekebera. Yambuuza, ‘Ggwe ku bino byonna bimeka by’okolera omwami wo?’ Nnamuddamu nti, ‘Tewali na kimu, kubanga Steve musajja muzibu nnyo.’ Mu ngeri ey’ekisa, muganda wange yaŋŋamba nti, ‘Selma, ani ku mmwe ayagala okufuuka Omukristaayo? Ggwe oba mwami wo?’ Bwe nnakiraba nti waliwo enkyukakyuka ze nnalina nneetaaga okukola, nnasaba Yakuwa annyambe okusobola okwoleka okwagala eri omwami wange. Mpolampola, embeera yatandika okutereera.” Oluvannyuma lw’emyaka 17, Steve yakkiriza okuyiga amazima.
ENGERI ABALALA GYE BASOBOLA OKUYAMBAMU
13, 14. Ab’oluganda mu kibiina bayinza batya okuyamba abo abali mu maka agatali bumu mu kukkiriza?
13 Okufaananako obukubakuba obunnyikiza ettaka ne buyamba ebimera okukula obulungi, abo abali mu kibiina balina kye basobola okukola okuyamba Abakristaayo abali mu maka agatali bumu ku kukkiriza okufuna essanyu. Mwannyinaffe Elvina abeera mu Brazil agamba nti, “Okwagala baganda bange ne bannyinaze kwe bandaga kwannyamba okunywerera mu mazima.”
14 Singa ab’oluganda mu kibiina balaga okwagala omuntu atali mukkiriza era ne balaga nti bamufaako, ekyo kiyinza okumuyamba okukyusa endowooza ye. Ow’oluganda omu mu Nigeria eyayiga amazima oluvannyuma lw’emyaka 13 bukya mukyala we agayiga, agamba nti: “Lumu twaliko gye tulaga n’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, emmotoka ye n’eyonooneka. Yanoonya Abajulirwa ba Yakuwa abaali mu kitundu ekyo ne batusuza. Baatulabirira bulungi nnyo nga gy’obeera baali batumanyi okuviira ddala mu buto. Ku olwo nnalaba okwagala okwa nnamaddala, mukyala wange kwe yayogerangako.” Mwannyinaffe omu mu Bungereza, eyayiga amazima oluvannyuma lw’emyaka 18 bukya bba agayiga, agamba nti: “Abajulirwa ba Yakuwa baatuyitanga okuliirako awamu nabo emmere. Bannyanirizanga n’essanyu.”c Omwami omulala mu Bungereza, oluvannyuma eyafuuka Omujulirwa wa Yakuwa, agamba nti: “Ab’oluganda ne bannyinaffe baatukyaliranga era oluusi ne batuyita okubakyalirako. Nnakiraba nti baalina okwagala okwa nnamaddala. Kino kyeyoleka bulungi bwe nnali mu ddwaliro nga ndi mulwadde. Bangi ku bo bajja okundabako.” Naawe osobola okubaako ky’okolawo okuyamba abo abali mu maka agatali bumu mu kukkiriza?
15, 16. Kiki ekiyinza okuyamba Abakristaayo okusigala nga basanyufu wadde ng’ab’omu maka gaabwe bagaanye okukkiriza amazima?
15 Kya lwatu nti Omukristaayo ne bw’amala ebbanga ddene ng’afuba okuyamba munne mu bufumbo, abaana be, bazadde be, oba ab’eŋŋanda ze okuyiga amazima, bayinza obutagakkiriza oba bayinza okweyongera okumuyigganya. (Mat. 10:35-37) Kyokka Abakristaayo bwe beeyongera okwoleka engeri ennungi, ekyo kiyinza okuvaamu ebirungi. Omusajja omu oluvannyuma eyafuuka Omujulirwa wa Yakuwa agamba nti: ‘Omukristaayo bw’ayoleka engeri ennungi, ayinza obutamanya ngeri ekyo gye kikwata ku munne atali mukkiriza. N’olwekyo, tolekera awo kwoleka ngeri nnungi.’
16 Abakristaayo abalina bannaabwe abagaanye okuyiga amazima nabo basobola okuba abasanyufu. Mwannyinaffe omu amaze emyaka 21 ng’afuba okuyamba omwami we okuyiga amazima naye n’agagaana, agamba nti: “Okufuba okusanyusa Yakuwa, okusigala nga ndi mwesigwa gy’ali, n’okufuba okunyweza enkolagana yange naye, kinnyambye okusigala nga ndi musanyufu.” Era agamba nti: “Nfuba okwesomesa Bayibuli, okugenda mu nkuŋŋaana, okubuulira, n’okuyamba abalala mu kibiina. Ekyo kinnyambye okunyweza enkolagana yange ne Yakuwa n’okusigala nga ndi mwesigwa gy’ali.”—Nge. 4:23.
TOGGWAMU MAANYI!
17, 18. Kiki ekiyinza okuyamba Abakristaayo abali mu maka agatali bumu mu kukkiriza okusigala nga basanyufu?
17 Bw’oba ng’oli Mukristaayo ali mu maka agatali bumu mu kukkiriza, toggwamu maanyi. Kijjukire nti Yakuwa “taayabulirenga bantu be olw’erinnya lye ekkulu.” (1 Sam. 12:22) Yakuwa ajja kukuyamba singa omunywererako. (Soma 2 Ebyomumirembe 15:2.) N’olwekyo, sanyukiranga Yakuwa, era mwesigenga. (Zab. 37:4, 5) ‘Nyiikiriranga okusaba,’ era ba mukakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu ajja kukuyamba okugumira embeera enzibu yonna gy’oyinza okwolekagana nayo.—Bar. 12:12.
18 Saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu gukuyamba okukuuma emirembe mu maka go. (Beb. 12:14) Bw’onoofuba okukuuma emirembe, ekyo kijja kukwata ku mitima gy’ab’omu maka go abatali bakkiriza. Ojja kufuna essanyu n’emirembe bw’onoofuba okukola “ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.” (1 Kol. 10:31) Era ba mukakafu nti baganda bo ne bannyoko abali mu kibiina bajja kukuyamba!
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya gakyusiddwa.
b Ebigambo bya Pawulo ebyo tebiraga nti Omukristaayo tasobola kwawukana na munne. Waliwo embeera Omukristaayo mw’ayinza okusalirawo okwawukana ne munne mu bufumbo. Laba akatabo “Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda,” olupapula 220-221.
c Ebyawandiikibwa tebitugaana kulya na bantu abatali bakkiriza.—1 Kol. 10:27.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Funa ekiseera ekituufu okunnyonnyola munno ebikwata ku nzikiriza yo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Laga nti ofaayo ku bakyala oba abaami abatali bakkiriza