Fuba Okuwa Abasajja Obujulirwa
1. Bwetaavu ki obwa maanyi obuliwo mu kulabirira emirimu gy’Obwakabaka?
1 Ng’omulimu gw’Obwakabaka gugenda gweyongerayongera mu nnaku zino ez’oluvannyuma, waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’abasajja abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo okutwala obukulembeze mu kibiina. (Mak. 4:30-32; Bik. 20:28; 1 Tim. 3:1-13) Wadde kiri kityo, mu bitundu ebimu abakazi bangi bakkiriza obubaka bw’Obwakabaka okusinga abasajja. Mu mawanga agamu, abasajja balekera bakyala baabwe obuvunaanyizibwa obw’okuyigiriza abaana eddiini. Tuyinza tutya okukubiriza abasajja okufaayo ku obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo ne batwegattako mu kusinza okw’amazima?
2. Birungi ki ebyavaamu Pawulo ne Peetero bwe baawa abasajja obujulirwa?
2 Fuba Okunoonya Abasajja: Omutwe gw’amaka bw’ayiga amazima, n’abalala mu maka ge bayinza okumwegattako mu kusinza okulongoofu. Ng’ekyokulabirako, Pawulo ne Siira bwe baali basibiddwa mu kkomera olw’okubuulira amawulire amalungi, baawa obujulirwa omukuumi w’ekkomera. Omusajja oyo n’ab’omu nnyumba ye bonna baabatizibwa. (Bik. 16:25-34) Pawulo bwe yabuulira mu Kkolinso, “Kulisupo omukulu w’ekkuŋŋaaniro n’akkiriza Mukama waffe awamu n’ab’ennyumba ye bonna.” (Bik. 18:8) Yakuwa yakozesa Peetero okuwa obujulirwa Koluneeriyo, omukulu w’abasirikale ayogerwako ‘ng’omusajja omutuukirivu atya Katonda.’ Koluneeriyo, yabatizibwa wamu n’abeŋŋanda ze era n’emikwano gye egy’oku lusegere.—Bik. 10:1-48.
3. Okufaananako Firipo, muntu ki ‘ali mu kifo ekya waggulu’ gw’oyinza okuwa obujulirwa?
3 Waliwo ebirungi bingi ebiyinza okuva mu kubuulira abasajja “abali mu bifo ebya waggulu.” (1 Tim. 2:1, 2) Ng’ekyokulabirako, malayika wa Yakuwa yagamba Firipo okubuulira “omukungu” eyali omuwanika w’ebintu bya kabaka omukazi owa Esiyopiya. Firipo yawulira omusajja oyo “ng’asoma mu ddoboozi eriwulikika ekitabo kya nnabbi Isaaya” era n’amunnyonnyola amawulire amalungi agakwata ku Yesu. Omwesiyopiya ono yafuuka omuyigirizwa era kirabika yagenda abuulira amawulire amalungi ng’addayo ewaabwe. Era ayinza okuba nga yawa obujulirwa kabaka omukazi awamu n’ab’omu lubiri lwe, oboolyawo abatandifunye kakisa kuwulira mawulire malungi.—Bik. 8:26-39.
4. Kiki kye tuyinza okukola okuwa abasajja bangi obujulirwa?
4 Wa Abasajja Bangi Obujulirwa: Okuva bwe kiri nti abasajja batera okuba ku mirimu gyabwe emisana, osobola okukola enteekateeka okubuulira essaawa eziwerako akawungeezi, ku wiikendi, oba ku nnaku enkulu? Okubuulira mu bifo ebikolerwamu bizineesi kijja kukusobozesa okuwa obujulirwa abasajja abatatera kusangibwa waka. Ab’oluganda bayinza okufuba okubuulira embagirawo basajja bannaabwe ku mirimu. Bwe tuba tubuulirira nnyumba ku nnyumba, naddala mu bitundu ebitera okubuulirwamu, oluusi ab’oluganda bayinza okusaba okwogerako ne nnyinimu.
5. Kiki mwannyinaffe kye yandikoze bw’asanga omusajja ayagala okumanya ebisingawo ku mawulire g’Obwakabaka?
5 Mwannyinaffe bw’asanga omusajja ayagala okumanya ebisingawo, tasaanidde kuddayo ng’ali yekka. Ayinza okuddayo n’omwami we oba n’omubuulizi omulala. Omuntu oyo bw’agenda okulaakulana, kiba kirungi n’amukwasa ow’oluganda anaasobola okumuyigiriza obulungi.
6. Tuyinza tutya okukoppa omutume Pawulo bwe tuba twagala “okufuna abantu abasinga obungi”?
6 Londa Ennyanjula Ezisikiriza Abasajja: Omutume Pawulo yalowoozanga ku abo be yabanga agenda okubuulira era yakyusakyusanga mu nnyanjula ze okusobola “okufuna abantu abasinga obungi.” (1 Kol. 9:19-23) Mu ngeri y’emu, naffe tulina okulowooza era ne tuteekateeka ennyanjula eziyinza okusikiriza abasajja. Ng’ekyokulabirako, abasajja batera okweraliikirira eby’enfuna, eby’obufuzi, era n’okulabirira ab’omu maka gaabwe. Era bayinza okwagala okumanya ebikwata ku kigendererwa ky’obulamu, ebiseera by’ensi eby’omu maaso, era n’ensonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona. Abasajja bayinza okwagala okuwuliriza obubaka bw’Obwakabaka singa twogera ku bintu ng’ebyo.—Nge. 16:23.
7. Bonna mu kibiina bayinza batya okuyamba omwami atali mukkiriza aba azze mu lukuŋŋaana?
7 Fuba Okuyamba Abaami Abatali Bakkiriza: Wadde ng’empisa za bannyinaffe ennungi ziyinza okusikiriza abaami baabwe abatali bakkiriza, n’abo abali mu kibiina balina kye bayinza okukola okubayamba. (1 Peet. 3:1-4) Omwami atali mukkiriza bw’ajja ne mukyala we mu lukuŋŋaana, afuna obujulirwa bwa maanyi ab’oluganda bwe bamwaniriza n’essanyu. Okubeerawo kwe mu lukuŋŋaana kuyinza okuba nga kulaga nti asiima amazima, era ayinza okukkiriza okuyiga Baibuli.
8. Ab’oluganda bayinza batya okuyamba abaami abatali bakkiriza ababa balaze okusiima okutonotono eri amazima?
8 Ku luuyi olulala, abaami abamu mu kusooka bayinza okulaga nti tebasiima nnyo mazima, naye oluvannyuma bayinza okwagala okukubaganya ebirowoozo ku Baibuli n’ow’oluganda abanguyira. Ab’oluganda mu kibiina ekimu, baateranga okukyala mu maka omwali omwami atali mukkiriza ne banyumyako naye ku bintu ebyamusanyusanga. Oluvannyuma, kino kyabasobozesa okwogera naye ku bintu eby’omwoyo, era nga kati mubatize. Ow’oluganda omulala, yayambako omwami atali mukkiriza okuzimba ekikomera ky’ennyumba ye. Olw’okuba yamufaako mu ngeri eyo, yatandika okuyiga Baibuli. (Bag. 6:10; Baf. 2:4) Bw’oba ng’oli wa luganda, lwaki tofuba okuyamba abaami abatali bakkiriza?
9. Birungi ki ebiyinza okuva mu kutendeka abasajja Abakristaayo?
9 Okutendeka Abasajja Abakristaayo: Abasajja ababa bafuuse Abakristaayo era ne baluubirira enkizo mu buweereza bwa Yakuwa bayinza okufuuka abamu ku ‘birabo mu bantu,’ era nga bano be bakadde Abakristaayo abakozesa obusobozi bwabwe n’amaanyi gaabwe okuyamba abantu ba Yakuwa. (Bef. 4:8; Zab. 68:18) Abasajja bano balabirira ekibiina n’okwagala so si na buwaze. (1 Peet. 5:2, 3) Nga baba ba muganyulo nnyo eri ekibiina!
10. Abantu bangi baganyuddwa batya mu buyambi Ananiya bwe yawa Pawulo?
10 Ng’ekyokulabirako, Sawulo yafuuka “omutume eri amawanga” wadde ng’emabegako yayigganyanga Abakristaayo. (Bar. 11:13) Mu kusooka, kino kyaleetera omuyigirizwa Ananiya okutya okubuulira Sawulo. Wadde kyali kityo, Ananiya yagoberera obulagirizi bwa Mukama Waffe era n’ayogera n’omusajja oyo oluvannyuma eyafuuka omutume Pawulo. Okumala emyaka mingi, obuweereza bwa Pawulo bwaganyula nnyo enkumi n’enkumi z’abantu abaamuwuliranga ng’abuulira nga kw’otadde n’obukadde n’obukadde bw’abo leero abakyeyongera okuganyulwa mu bbaluwa ze ezaaluŋŋamizibwa eziri mu Kigambo kya Katonda.—Bik. 9:3-19; 2 Tim. 3:16, 17.
11. Lwaki twandikoze enkyukakyuka zonna ezeetaagisa okusobola okuwa abasajja obujulirwa?
11 N’olwekyo, ka tufube okukola enkyukakyuka zonna ezeetaagisa tusobole okuwa abasajja obujulirwa. Nga tulina ekiruubirirwa kino, tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa emikisa nga tufuba okukola by’ayagala nga kw’otadde n’okutuukiriza emirimu gy’Obwakabaka.