Waliwo ky’Oyinza Okukola Okuyamba Omu ku Bafumbo Atali Mukkiriza?
1. Lwaki Abakristaayo abali mu maka agatali bumu mu nzikiriza si be bokka abaagala okuyamba bannaabwe mu bufumbo okuyiga amazima?
1 Waliwo abamu ku babuulizi mu kibiina kyo abalina abaami oba abakyala abatali bakkiriza? Bwe kiba bwe kityo, tewali kubuusabuusa nti ababuulizi abo baagala nnyo bannaabwe mu bufumbo babeegatteko mu kusinza okw’amazima. Naye si be bokka abaagala kibe bwe kityo. Okufaananako Katonda, ekibiina kyonna kyagala “abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.” (1 Tim. 2:4) Tuyinza tutya okuyamba abaami oba abakyala abatali bakkiriza ab’ababuulizi abali mu kibiina kyaffe?
2. Okuba n’okutegeera kinaatusobozesa kitya okuyamba omufumbo atali mukkiriza?
2 Okusookera ddala, tusaanidde okugezaako okulaba ebintu ng’oyo atali mukkiriza bw’abiraba. Bangi ku bafumbo abatali bakkiriza baagala amaka gaabwe era nga bagezaako okuba abafumbo era abazadde abalungi. Oboolyawo balina enzikiriza ezaawukana ku zaffe ze batwala okuba nga ze ntuufu. Bayinza okuba nga bamanyi kitono ku Bajulirwa ba Yakuwa ng’oggyeko ebyo bye baawulira okuva ku abo abatatumanyi bulungi oba abatulinako obukyayi. Abamu bawulira bubi olw’okuba ekiseera kye baakozesanga okubeerako awamu ng’amaka kati bannaabwe bakikozesa mu kusinza. Okuba n’okutegeera kijja kutuyamba okuyisa oyo atali mukkiriza mu ngeri ey’ekisa era emuweesa ekitiibwa era n’okwewala okumutya nga tuli wamu naye.—Nge. 16:20-23.
3. Ngeri ki ey’okusikirizaamu oyo atali mukkiriza eyinza okuba nga y’esingayo obulungi?
3 Balage nti Obafaako: Engeri esingayo obulungi ey’okusikirizaamu omufumbo atali mukkiriza okuyiga amazima, mu kusooka, kwe kuyitira mu bikolwa byaffe so si kukubaganya birowoozo ku Baibuli. (1 Peet. 3:1, 2) Ekisinga obukulu kwe kubalaga nti obafaako. Bannyinaffe mu kibiina basobola okulaga nti bafaayo ku mukyala atali mukkiriza n’ab’oluganda ne bakola kye kimu eri omwami atali mukkiriza. Kino bayinza kukikola batya?
4. Ngeri ki gye tuyinza okulagamu nti tufaayo ku mufumbo atali mukkiriza?
4 Bw’oba nga tosisinkanangako mufumbo oyo atali mukkiriza, oboolyawo oyinza okukikola ng’omaze okwebuuzaako ku munne Omukristaayo. Toggwamu maanyi singa ku mulundi ogusooka oyo atali mukkiriza gw’oba olaze okufaayo takitwala ng’ekikulu. Omukwano n’okufaayo kwe tubalaga biyinza okubaleetera okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku Bajulirwa ba Yakuwa. (Bar. 12:20) Abamu ku Bakristaayo abakuze mu by’omwoyo bakoze enteekateeka ne baaniriza oyo atali mukkiriza n’ab’omu maka ge okuliirako awamu ekyeggulo, nga balina ekigendererwa eky’okumumanya obulungi n’okuggyawo endowooza yonna enkyamu gy’ayinza okuba nayo ku Bajulirwa. Bafuba okwogera ku bintu by’anyumirwa, mu kifo ky’okukaka emboozi nga boogera ku bintu eby’omwoyo. Oluvannyuma singa okiraba nti oyo atali mukkiriza kiyinza obutamuyisa bubi, musobola okukubaganya ebirowoozo ku Kyawandiikibwa. Oba ayinza okukkiriza okujja mu lumu ku nkuŋŋaana zaffe okulaba mukyala we by’ayiga, naddala okuva bwe kiri nti waliwo abamu mu kibiina b’amanyi. Ne bwe kiba nti si mwetegefu kuyiga mazima, tuyinza okumusiima olw’okulabirira munne omukkiriza.
5. Abakadde mu kibiina bayinza batya okufaayo ku mufumbo atali mukkiriza?
5 Okusingira ddala abakadde basaanidde okufaayo ku mufumbo atali mukkiriza n’okuba abeetegefu okukozesa buli kakisa okubawa obujulirwa. Oyo atali mukkiriza abadde tayagala kukubaganya birowoozo ku Baibuli ayinza okuwuliriza ng’omusomera Ekyawandiikibwa ekimubudaabuda ng’ali mu ddwaliro oba ng’afunye obulwadde obw’amaanyi. Singa ab’omu maka agatali bumu mu kukkiriza bafuna ebizibu, gamba ng’okufiirwa omu ku b’omu maka gaabwe, abakadde mu kibiina bayinza okusaba oyo atali mukkiriza okubeerawo nga babudaabuda ab’omu maka ago.
6 Lowooza ku ssanyu Omukristaayo ali mu kibiina kyaffe ly’ajja okufuna ng’omwami we oba mukyala we ayize amazima! Ekyo bwe kibaawo kisanyusa nnyo Yakuwa, bamalayika, n’ab’oluganda bonna mu kibiina. (Luk. 15:7, 10) Kyokka, singa omufumbo atali mukkiriza mu kusooka agaana okuyiga amazima, tuyinza okuba abasanyufu nga tukimanyi nti okufuba kwaffe kusanyusa nnyo Yakuwa, ‘atayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.’—2 Peet. 3:9.
6. Nsonga ki ezituleetera okufaayo ku mufumbo atali mukkiriza?
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 6]
Engeri esingayo obulungi ey’okusikirizaamu omufumbo atali mukkiriza okuyiga amazima, mu kusooka, kwe kuyitira mu bikolwa byaffe so si kukubaganya birowoozo ku Baibuli