Obadde Okimanyi?
“Awaasalirwanga emisango” omutume Pawulo we yatwalibwa kyali kifo kya ngeri ki?
▪ Ebikolwa by’Abatume 18:12, 13 walaga nti Abayudaaya ab’omu Kkolinso baavunaana Pawulo nga bagamba nti yali abuulira mu ngeri emenya amateeka era bamutwala “awaasalirwanga emisango,” oba awaayitibwanga beʹma (kigambo kya Luyonaani ekitegeeza “ekituuti”). Mu kibuga Kkolinso eky’edda mwalimu ekituuti ekigulumivu ekyali wabweru okumpi n’amakkati ga agora, oba akatale, era ekituuti kino kirabika kyali kumpi n’ekkuŋŋaaniro. Mu kifo kino we baasinziiranga okwogera eri abantu. Ekituuti ekyo kyali kyazimbibwa n’amayinja ameeru n’aga bbulu era nga kiyooyooteddwa bulungi nnyo. Baakizimbirako ebisenge bibiri abantu mwe baatulanga era nga birimu entebe ezaakolebwa mu mayinja agamasamasa era nga ne wansi waaliriddwawo amayinja amatonetone.
Ekituuti ekyo kirabika kye kifo awaasalirwanga emisango omutume Pawulo gye yatwalibwa okuwozesebwa Galiyo, gavana Omuruumi ow’essaza lya Akaya. Wano abakungu we baatuulanga okuwuliriza emisango n’okulangirira ebyo bye baabanga basazeewo.
Mu bibuga by’amasaza ga Buyonaani, abantu baakuŋŋaaniranga mu maaso ga beʹma, nga waliwo ensonga erina okubategeezebwa. Matayo 27:19 ne Yokaana 19:13 woogera ku kuwozesebwa kwa Yesu. Mu biwandiiko by’Oluyonaani, ebyawandiikibwa ebyo byombi biraga nti Pontiyo Piraato yayima ku beʹma ye okwogera eri abantu.—Geraageranya Ebikolwa 12:21.
Lwaki engeri Yesu gye yattibwamu yaleetera Abayudaaya abamu okwesittala?
▪ Bwe yali ayogera ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, omutume Pawulo yagamba nti: “Tubuulira ebikwata ku Kristo eyakomererwa, eri Abayudaaya nkonge eyeesittaza, ate eri amawanga busirusiru.” (1 Abakkolinso 1:23) Lwaki engeri Yesu gye yattibwamu yaleetera abantu abamu okwesittala?
Bwe yali ayogera ku ngeri Yesu gye yattibwamu ne ku buwangwa bw’abantu abaabeeranga mu Kyondo kya Buwalabu mu kyasa ekyasooka, omwekenneenya wa Bayibuli ayitibwa Ben Witherington III yagamba nti “mu kitundu ekyo, okufa mu ngeri eyo kye kyali kisingayo okuba eky’obuswavu. Eyattibwanga mu ngeri eyo yali tatwalibwa ng’omuntu omuzira.” Witherington agattako nti: “Abantu b’omu kitundu ekyo baakitwalanga nti engeri omuntu gy’afaamu eraga ekyo ky’ali. N’olw’ensonga eyo, Yesu yatwalibwa ng’omuntu omubi ennyo, eyalya mu nsi ye olukwe, era eyali agwanira okuttibwa mu ngeri gye battangamu abaddu abajeemu.” N’olwekyo, okusinziira ku buwangwa bw’abantu abaabeeranga mu kitundu ekyo, ebyo Abakristaayo ab’edda bye baawandiika ku ngeri Yesu gye yattibwamu ne ku kuzuukira kwe tebaayiiya biyiiye naye byali bituufu.