LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • bt sul. 19 lup. 168-177
  • “Weeyongere Okwogera, Tosirika”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Weeyongere Okwogera, Tosirika”
  • ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Baali Bakozi ba Weema” (Bik. 18:1-4)
  • “Bangi ku Bakkolinso . . . Bakkiriza” (Bik. 18:5-8)
  • “Nnina Abantu Bangi mu Kibuga Kino” (Bik. 18:9-17)
  • “Yakuwa bw’Anaaba Ayagadde” (Bik. 18:18-22)
  • “Sivunaanibwa Musaayi gwa Muntu Yenna”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
bt sul. 19 lup. 168-177

ESSUULA 19

“Weeyongere Okwogera, Tosirika”

Pawulo akola omulimu ogumuyamba okweyimirizaawo naye ng’akulembeza omulimu gw’okubuulira

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 18:1-22

1-3. Lwaki omutume Pawulo azze mu kibuga ky’e Kkolinso, era kusoomooza ki kw’ayolekaganye nakwo?

Omwaka ogwa 50 E.E. gunaatera okuggwako, era omutume Pawulo ali mu kibuga ky’e Kkolinso. Ekibuga kino ekigagga kirimu Abayonaani, Abaruumi, n’Abayudaaya bangi.a Pawulo tazze mu kibuga kino kubaako by’agula oba by’atunda, era tazze kunoonya mulimu gwa kukola okusobola okweyimirizaawo. Waliwo ensonga enkulu ennyo emuleese mu Kkolinso, nga kwe kuwa obujulirwa ku Bwakabaka bwa Katonda. Wadde kiri kityo, Pawulo yeetaaga okufuna aw’okubeera era tayagala kutikka muntu yenna mugugu gwa kumulabirira. Tayagala kuleetera muntu yenna kulowooza nti abalala be balina okumulabirira olw’okuba akola omulimu ogw’okuweereza Katonda. Kiki ky’anaakola?

2 Waliwo omulimu Pawulo gw’amanyi okukola. Omulimu ogwo gwa kukola weema. Si mulimu mwangu naye Pawulo mwetegefu okugukola okusobola okweyimirizaawo. Anaasobola okufuna w’akolera omulimu ogwo mu kibuga kino? Anaasobola okufuna ekifo ekirungi eky’okubeeramu? Wadde nga Pawulo ayolekaganye n’okusoomooza ng’okwo, talagajjalira mulimu gwe ogusinga obukulu, nga gwe gw’okubuulira.

3 Wadde nga waaliwo okusoomooza, Pawulo yabeera mu Kkolinso okumala ekiseera, era obuweereza bwe mu kibuga ekyo bwavaamu ebibala bingi. Biki bye tuyigira ku ebyo Pawulo bye yakola mu Kkolinso ebinaatuyamba okuwa obujulirwa mu bujjuvu mu bitundu bye tubuuliramu?

EKIBUGA KKOLINSO KYALI WAKATI W’ENNYANJA BBIRI

Ekibuga Kkolinso eky’edda kyali kisangibwa ku katundu k’ettaka akatono akagatta ensi ya Buyonaani ku kizinga kya Buyonaani ekiyitibwa Peloponnese. Ekitundu ekimu eky’ettaka ekibuga ekyo kwe kyali kitudde, kyali kifunda nnyo nga tekiweza mayiro nnya obugazi. Bwe kityo ekibuga Kkolinso kyalina emyalo ebiri egyali erudda n’erudda. Ku ludda olumu olw’ekibuga waaliyo omwalo ogwali guyitibwa Lekiyamu, era ebyombo byavanga ku mwalo ogwo ne bigenda mu bitundu eby’ebugwanjuba mu Yitale, mu Sisiri, ne mu Sipeyini. Ate ku ludda olulala olw’ekibuga ekyo waaliyo omwalo ogwali guyitibwa Kenkereya, era ebyombo byavanga ku mwalo guno ne bigenda mu bitundu ebyetoolodde Ennyanja Aegean, ne mu Asiya Omutono, mu Busuuli, ne mu Misiri.

Okuva bwe kiri nti embuyaga ey’amaanyi yakuntanga nnyo mu kitundu eky’ebukiikaddyo eky’olubalama lw’ekizinga Peloponnese, kyabanga kya bulabe ebyombo okugoba mu kitundu ekyo. N’olwekyo, abagoba b’ebyombo baagobanga ebyombo byabwe ku gumu ku myalo gya Kkolinso, ne batikkula eby’amaguzi ne biyisibwa ku lukalu ate ne baddamu ne babitikkira ku mwalo ogwali ku luuyi olulala. Ebyombo ebyabanga bitazitowa nnyo baabisikanga okuva ku mwalo ogumu okudda ku mwalo omulala nga babiyisa ku lukalu mu kitundu kye baali bazimbye okubiyisaamu. Olw’ekifo ekibuga Kkolinso kye kyalimu, ebyombo by’abasuubuzi okuva ebuvanjuba n’ebugwanjuba byagobanga ku myalo gyakyo, era n’abasuubuzi abaayisanga ebyamaguzi ku lukalu okuva mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo nabo bajjanga mu kibuga ekyo, ekyakifuula okuba eky’amaanyi mu by’obusuubuzi. Ng’oggyeeko okuba nti eby’obusuubuzi byaviirako ekibuga Kkolinso okugaggawala ennyo, era byakiviirako okubaamu emize emibi mingi abantu ababeera ku myalo gye batera okwenyigiramu.

Mu kiseera ky’omutume Pawulo, Kkolinso kye kyali ekibuga ekikulu eky’essaza lya Rooma eriyitibwa Akaya, era mu kibuga kino essaza mwe lyasinziiranga okuddukanya emirimu gyalyo. Ekiraga nti mu kibuga kino mwalimu amadiini mangi, kwe kuba nti kyalimu yeekaalu y’eddiini y’Abarooma, amasabo, ne yeekaalu za bakatonda b’Abayonaani n’ab’Abamisiri. Era kyalimu n’ekkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya.​—Bik. 18:4.

Emizannyo egyabangawo buli luvannyuma lwa myaka ebiri mu kibuga Isimiya ekyali okumpi ne Kkolinso, gye gyali giddirira emizannyo gya Olympic obukulu. Mu mwaka gwa 51 E.E. we waabeererawo emizannyo mu kibuga ekyo, omutume Pawulo ayinza okuba nga yali mu Kkolinso. Enkuluze emu ennyonnyola ebigambo ebiri mu Bayibuli egamba nti: “Tekiyinzika kuba nti kyaliwo mu butanwa okuba nti mu bbaluwa y’Abakkolinso Pawulo mwe yasookera okukozesa ekyokulabirako ky’emizannyo.”​—1 Kol. 9:24-27.

“Baali Bakozi ba Weema” (Bik. 18:1-4)

4, 5. (a) Wa Pawulo gye yali abeera ng’ali mu Kkolinso, era mulimu ki ogw’okweyimirizaawo gwe yali akola? (b) Kyajja kitya okuba nti Pawulo yali amanyi okukola weema?

4 Nga wayise ekiseera ng’amaze okutuuka mu Kkolinso, Pawulo yasisinkana Omuyudaaya eyali ayitibwa Akula ne Mukyala we Pulisikira, oba Pulisika, abaalina omwoyo ogw’okusembeza abalala. Baali bazze okubeera mu Kkolinso olw’okuba Kabaka Kulawudiyo yali alagidde “Abayudaaya bonna okuva mu Rooma.” (Bik. 18:1, 2) Ng’oggyeeko okuba nti Akula ne Pulisikira baasembeza Pawulo mu maka gaabwe, era baakolera wamu naye omulimu ogw’okweyimirizaawo. Bayibuli egamba nti: “[Pawulo] n’abeera mu maka gaabwe n’akola nabo, kubanga bonna baali bakozi ba weema.” (Bik. 18:3) Ekiseera Pawulo kye yamala ng’ali mu Kkolinso, yali abeera wamu ne Akula ne Pulisikira abaali ab’ekisa ennyo era abasembeza abalala. Ezimu ku bbaluwa ze eziri mu Bayibuli ayinza okuba nga yaziwandiika mu kiseera ekyo ng’ali wamu ne Akula ne Pulisikira.b

5 Kyajja kitya okuba nti Pawulo eyali ‘yasomesebwa Gamalyeri,’ yali amanyi n’omulimu gw’okukola weema? (Bik. 22:3) Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka baali bakitwala nti kyali kigwana okuyigiriza abaana baabwe omulimu ogw’okweyimirizaawo, wadde ng’abaana abo baali bayinza n’okufuna obuyigirize obulala. Olw’okuba Pawulo yali nzaalwa y’e Taluso eky’omu Kirukiya, ekitundu ekyali kimanyiddwa okukola engoye eziyitibwa cilicium mwe baakolanga weema, kirabika omulimu ogwo yaguyiga akyali muto. Kiki ekyali kizingirwa mu mulimu gw’okukola weema? Omulimu ogwo guyinza okuba nga gwali guzingiramu okuluka engoye za weema oba okukomola engoye ezo ezaabanga eŋŋumu ennyo n’okuzitunga okusobola okuzikolamu weema. Ka kibe ki ekyali kizingirwamu, tegwali mulimu mwangu.

6, 7. (a) Pawulo yali atwala atya omulimu gw’okukola weema, era kiki ekiraga nti Akula ne Pulisikira nabo baali bagutwala nga bwe yali agutwala? (b) Abakristaayo leero bakoppa batya ekyokulabirako kya Pawulo, Akula, ne Pulisikira?

6 Omulimu gw’okukola weema Pawulo teyagutwala ng’omulimu gwe ogusinga obukulu. Yagukolanga okusobola okweyimirizaawo, bwe kityo n’asobola okukola omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi “ku bwereere.” (2 Kol. 11:7) Ate Akula ne Pulisikira bo baali batwala batya omulimu gwabwe ogw’okukola weema? Olw’okuba baali Bakristaayo, nabo baali bagutwala nga Pawulo bwe yali agutwala. Mu butuufu, Pawulo bwe yava mu Kkolinso mu mwaka gwa 52 E.E., Akula ne Pulisikira baagenda naye mu Efeso. Era ab’oluganda mu kibiina ky’e Efeso baakuŋŋaaniranga mu nnyumba yaabwe. (1 Kol. 16:19) Nga wayiseewo ekiseera, baddayo e Rooma ate oluvannyuma ne bakomawo mu Efeso. Abafumbo abo abaali abanyiikivu, baakulembezanga Obwakabaka era beewaayo okuyamba abalala. N’ekyavaamu, baayagalibwa nnyo “ebibiina byonna eby’ab’amawanga.”​—Bar. 16:3-5; 2 Tim. 4:19.

7 Abakristaayo leero bakoppa Pawulo, Akula, ne Pulisikira. Ababuulizi abanyiikivu leero baliko emirimu gye bakola okusobola okweyimirizaawo, ‘baleme kubaako n’omu gwe batikka mugugu gwa kubalabirira.’ (1 Bas. 2:9) Era ababuulizi bangi ab’ekiseera kyonna bakola emirimu egitali gya kiseera kyonna oba egibaawo ebiseera ebimu n’ebimu mu mwaka, basobole okweyimirizaawo nga bakola omulimu gwabwe ogusinga obukulu, nga gwe gw’okubuulira amawulire amalungi. Ate era okufaananako Akula ne Pulisikira, abaweereza ba Yakuwa bangi basembeza abalabirizi abakyalira ebibiina mu maka gaabwe. Abo ‘abasembeza’ abalala mu ngeri eyo bazzibwamu nnyo amaanyi, era okukkiriza kwabwe kweyongera okunywera.​—Bar. 12:13.

EBBALUWA EZAALUŊŊAMIZIBWA EZAZZAAMU ABALALA AMAANYI

Mu kiseera eky’emyezi 18 omutume Pawulo gye yamala mu Kkolinso, yawandiika ebbaluwa ezitakka wansi wa bbiri awo nga mu mwaka gwa 50-52 E.E., era ebbaluwa ezo kati eziyitibwa Abassessalonika Ekisooka n’Abassessalonika Eky’okubiri, ze zimu ku Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Ebbaluwa gye yawandiikira Abaggalatiya nayo yagiwandiika mu kiseera kye kimu ekyo oba nga waakayita ekiseera kitono ng’amaze okuziwandiika.

Abassessalonika Ekisooka ye bbaluwa eyaluŋŋamizibwa Pawulo gye yasooka okuwandiika. Pawulo yagenda mu Ssessalonika awo nga mu mwaka gwa 50 E.E. ng’ali ku lugendo lwe olw’obuminsani olw’okubiri. Ekibiina ekyali kitandikiddwawo mu kibuga ekyo, mu kiseera kitono kyatandika okuyigganyizibwa era ne kiviirako Pawulo ne Siira okuva mu kibuga ekyo. (Bik. 17:1-10, 13) Olw’okuba Pawulo yali afaayo ku b’oluganda mu kibiina ekyo ekyali kyakatandikibwawo, yagezaako emirundi ebiri okuddayo, naye “Sitaani ne yeekiika mu kkubo” lye. Bwe kityo, Pawulo yatuma Timoseewo okubudaabuda n’okuzzaamu ab’oluganda abo amaanyi. Kirabika awo ng’omwaka gwa 50 E.E. gunaatera okuggwaako, Timoseewo yakomawo eri Pawulo mu Kkolinso n’amuleetera amawulire amalungi agaali gakwata ku kibiina ky’e Ssessalonika. Oluvannyuma lw’ekyo, Pawulo yawandiika ebbaluwa eno.​—1 Bas. 2:17–3:7.

Ebbaluwa y’Abassessalonika eky’Okubiri kirabika yawandiikibwa nga waakayita ekiseera kitono ng’ebbaluwa y’Abassessalonika Ekisooka emaze okuwandiikibwa, oboolyawo mu mwaka gwa 51 E.E. Mu bbaluwa ezo zombi, Timoseewo ne Siruvano, (ayitibwa Siira mu Ebikolwa by’Abatume) nabo baalamusa ab’oluganda. Naye Bayibuli teraga nti abasatu bano baddamu okubeera awamu nga Pawulo amaze okuva mu Kkolinso. (Bik. 18:5, 18; 1 Bas. 1:1; 2 Bas. 1:1) Lwaki Pawulo yawandiika ebbaluwa y’Abassessalonika eky’Okubiri? Kirabika yali afunye amawulire amalala agakwata ku kibiina, oboolyawo okuyitira mu muntu eyatwala ebbaluwa eyasooka. Ebyo Pawulo bye yategeezebwa byamuleetera okutendereza ab’oluganda olw’okwagala n’olw’obugumiikiriza bye baali booleka, era byamuleetera n’okutereeza endowooza enkyamu abamu mu kibiina ekyo gye baalina. Abamu baali balowooza nti okubeerawo kwa Kristo kwali kunaatera okutuuka.​—2 Bas. 1:3-12; 2:1, 2.

Ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abaggalatiya eraga nti yali abakyalidde emirundi egitakka wansi w’ebiri nga tannabawandiikira. Wakati w’omwaka gwa 47- 48 E.E., Pawulo ne Balunabba baagenda mu Antiyokiya eky’omu Pisidiya, mu Ikoniyo, mu Lusitula, ne mu Derube, era ng’ebitundu ebyo byonna byali mu ssaza lya Ggalatiya. Mu mwaka gwa 49 E.E., Pawulo yaddayo mu bitundu ebyo ng’ali wamu ne Siira. (Bik. 13:1–14:23; 16:1-6) Pawulo yawandiika ebbaluwa eno olw’okuba ab’oluganda ab’obulimba abaagendayo amangu ddala nga yaakavaayo, baali bayigiriza nti Abakristaayo balina okukomolebwa n’okukwata Amateeka ga Musa. Pawulo ateekwa okuba nga yawandiikira Abaggalatiya amangu ddala nga yaakawulira ebikwata ku njigiriza ezo ez’obulimba. Ayinza okuba ng’ebbaluwa eno yagiwandiikira mu Kkolinso oba mu Efeso, bwe yayitako mu kibuga ekyo ng’agenda mu Antiyokiya ekya Busuuli. Oba ayinza okuba nga yagiwandiikira mu Antiyokiya.​—Bik. 18:18-23.

“Bangi ku Bakkolinso . . . Bakkiriza” (Bik. 18:5-8)

8, 9. Kiki Pawulo kye yakola ng’Abayudaaya baziyiza omulimu gwe ogw’okubuulira, era wa gye yaddako okubuulira?

8 Omulimu ogw’okweyimirizaawo Pawulo gwe yali akola yali agutwala ng’ogwali gumuyamba okufuna bye yeetaaga mu bulamu asobole okutuukiriza omulimu ogwali gusinga obukulu. Ekyo kyeyoleka bulungi Siira ne Timoseewo bwe bajja gyali okuva e Masedoniya nga bamuleetedde ebintu eby’okukozesa. (2 Kol. 11:9) Bayibuli eraga nti mangu ddala Pawulo “yeemalira ku kubuulira ekigambo.” (Bik. 18:5) Kyokka Abayudaaya baagezaako nnyo okuziyiza Pawulo ng’akola omulimu ogwo. Okusobola okulaga nti yali tavunaanyizibwa gye bali olw’okugaana okuwuliriza obubaka obukwata ku Kristo obuwonyaawo obulamu, Pawulo yakunkumula ebyambalo bye era n’agamba Abayudaaya abo nti: “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe. Nze siriiko musango. Kati nja kugenda eri ab’amawanga.”​—Bik. 18:6; Ezk. 3:18, 19.

9 Wa Pawulo gye yandizzeeko okubuulira? Omusajja eyali ayitibwa Tito Yusito, kirabika eyali Omuyudaaya omukyufu, era eyalina ennyumba okuliraana ekkuŋŋaaniro, yasembeza Pawulo mu maka ge. Bwe kityo, Pawulo yava mu kkuŋŋaaniro n’adda mu nnyumba ya Yusito. (Bik. 18:7) Pawulo yasigala asula wa Akula ne Pulisikira ekiseera kyonna kye yamala mu Kkolinso, naye nga mu nnyumba ya Yusito mw’asinziira okukola omulimu gw’okubuulira.

10. Kiki ekiraga nti Pawulo teyeemalira ku kubuulira b’Amawanga bokka?

10 Pawulo bwe yagamba nti kati yali agenda eri ab’Amawanga, yali ategeeza nti yali agenda kulekerayo ddala okubuulira Abayudaaya bonna n’Abakyufu, ka babe abo abaali baagala okuwuliriza obubaka bwe yali abuulira? Nedda, ekyo si kye yali ategeeza. Ng’ekyokulabirako, “Kulisupo omukulu w’ekkuŋŋaaniro [yakkiriza] Mukama waffe awamu n’ab’ennyumba ye bonna.” Kirabika abantu abawerako abaali bakuŋŋaanira mu kkuŋŋaaniro, beegatta ku Kulisupo, kubanga Bayibuli egamba nti: “Bangi ku Bakkolinso abaawulira amawulire amalungi bakkiriza ne babatizibwa.” (Bik. 18:8) N’olwekyo, ennyumba ya Tito Yusito ye yafuuka ekifo ekibiina ekipya eky’omu Kkolinso gye kyakuŋŋaaniranga. Lukka yawandiikanga ebintu nga bwe byajjanga biddiriŋŋana. Bwe kiba nti bwe kityo bwe kyali ne ku bino bye tusoma mu Ebikolwa 18, ekyo kiba kiraga nti Abayudaaya abo n’Abakyufu baafuuka Abakristaayo oluvannyuma lwa Pawulo okukunkumula ebyambalo bye. Kino kiraga nti Pawulo bwe yalinga abuulira, yabanga mwetegefu okukyusaamu okusobola okutuukana n’embeera.

11. Abajulirwa ba Yakuwa leero bakoppa batya Pawulo nga babuulira abantu b’omu makanisa ga Kristendomu?

11 Mu nsi nnyingi leero, amakanisa ga Kristendomu gaasimba amakanda era galina obuyinza bungi ku bagoberezi baago. Mu nsi ezimu ne ku bizinga ebimu, abaminsani b’amakanisa ga Kristendomu bakyusizza abantu bangi nnyo ne bafuuka abagoberezi b’amadiini gaabwe. Abantu abeetwala okuba Abakristaayo emirundi mingi bafugibwa obulombolombo, nga bwe kyali eri Abayudaaya ab’omu Kkolinso mu kyasa ekyasooka. Wadde kiri kityo, okufaananako Pawulo, naffe tufuba okubuulira abantu ng’abo, ne tuzimbira ku ebyo bye bayinza okuba nga bamanyi ku Byawandiikibwa. Abantu abo ne bwe batuziyiza oba abakulembeze baabwe ab’amadiini ne bwe batuyigganya, tetuggwaamu ssuubi. Tukimanyi nti mu abo ‘abanyiikira okuweereza Katonda, naye ng’okunyiikira kwabwe tekwesigamye ku kumanya okutuufu,’ muyinza okubaamu abantu abawombeefu abeetaaga okunoonyezebwa n’okuzuulibwa.​—Bar. 10:2.

“Nnina Abantu Bangi mu Kibuga Kino” (Bik. 18:9-17)

12. Bukakafu ki Pawulo bwe yafuna mu kwolesebwa?

12 Bwe kiba nti Pawulo yalimu okubuusabuusa obanga yali agwanidde okweyongera okubuulira mu Kkolinso, okubuusabuusa okwo kwagwaawo mu kiro mukama waffe Yesu mwe yamulabikira mu kwolesebwa n’amugamba nti: “Totya, weeyongere okwogera, tosirika, kubanga ndi naawe era tewali muntu yenna ajja kukukolako kabi; nnina abantu bangi mu kibuga kino.” (Bik. 18:9, 10) Okwolesebwa okwo nga kuteekwa okuba nga kwamuzzaamu nnyo amaanyi! Mukama waffe kennyini ye yakakasa Pawulo nti yali ajja kukuumibwa aleme okutuusibwako akabi era nti mu kibuga ekyo mwalimu abantu bangi abaali baagala okuwuliriza obubaka. Kiki Pawulo kye yakola oluvannyuma lw’okufuna okwolesebwa okwo? Bayibuli egamba nti: “N’amalayo omwaka gumu n’emyezi mukaaga, ng’abayigiriza ekigambo kya Katonda.”​—Bik. 18:11.

13. Kiki Pawulo ky’ayinza okuba nga yali alowoozaako bwe yali atwalibwa awali entebe okusalirwa emisango, naye kiki kye yali asinziirako okuba omukakafu nti ekyo ekyatuuka ku Siteefano kyali tekigenda kumutuukako?

13 Pawulo bwe yali yaakamala omwaka nga gumu mu Kkolinso, yafuna obukakafu obulala obwali bulaga nti Mukama waffe yali amuyamba. Bayibuli egamba nti: “Abayudaaya baalumba Pawulo ne bamutwala awaali entebe okusalirwa emisango,” eyali eyitibwa beʹma. (Bik. 18:12) Abamu bagamba nti entebe eno kyali kituuti ekyali kyawundibwa obulungi n’amayinja aga bbulu n’ameeru, era nti yali awo nga mu makkati g’akatale k’omu Kkolinso. Mu maaso g’entebe eyo, waaliwo ekibangirizi ekyali kisobola okugyamu abantu abawerako. Abo abanoonyereza ku bintu eby’edda bagamba nti entebe eno eyinza okuba nga teyali wala okuva awaali ekkuŋŋaaniro. N’olwekyo teyali wala okuva awaali ennyumba ya Yusito. Pawulo bwe yali atwalibwa awali entebe eyo, ayinza okuba nga yalowooza ku kuttibwa kwa Siteefano abamu gwe batwala okuba nga ye Mukristaayo eyasooka okuttibwa ng’omujulizi. Pawulo, mu kiseera ekyo eyali amanyiddwa nga Sawulo, “yasanyukira okuttibwa” kwa Siteefano. (Bik. 8:1) Kati ekintu ng’ekyo naye kyali kigenda kumutuukako? Nedda, kubanga Mukama waffe yali amugambye nti: “Tewali muntu yenna ajja kukukolako kabi.”​—Bik. 18:10.

Galiyo ng’agoba abantu abasunguwavu abazze gy’ali okuloopa Pawulo. Abasirikale Abaruumi nga basindiikiriza abantu abasunguwavu.

“Awo n’abagoba awaali entebe okusalirwa emisango.”​—Ebikolwa 18:16

14, 15. (a) Musango ki Abayudaaya gwe baali bavunaana Pawulo, era lwaki Galiyo yagoba omusango ogwo? (b) Kiki ekyatuuka ku Sossene, era kiki oluvannyuma ekiyinza okuba nga kyabaawo?

14 Kiki ekyaliwo Pawulo bwe yatuusibwa mu maaso g’entebe okusalirwa emisango? Omukungu eyali atuula ku ntebe eyo, yali ow’essaza ly’e Akaya eyali ayitibwa Galiyo, mukulu wa Seneka, omufirosoofo Omuruumi. Abayudaaya baavunaana Pawulo omusango nga bagamba nti: “Omusajja ono asendasenda abantu okusinza Katonda mu ngeri emenya amateeka.” (Bik. 18:13) Mu ngeri endala, Abayudaaya baali bagamba nti Pawulo yali akyusa abantu mu ngeri emenya amateeka. Kyokka Galiyo yakiraba nti Pawulo yali talina ‘kikyamu’ kyonna kye yali akoze era nti teyalina tteeka lyonna lye yali amenye. (Bik. 18:14) Galiyo teyayagala kweyingiza mu nkaayana z’Abayudaaya. Pawulo bwe yali tannaba na kubaako ky’ayogera kwewoozaako, Galiyo yagoba omusango! Ekyo kyasunguwaza nnyo abo abaali bamuvunaana. Obusungu bwabwe baabumalira ku Sossene, kirabika eyali azze mu bigere bya Kulisupo ng’omukulu w’ekkuŋŋaaniro. Baakwata Sossene “ne bamukubira mu maaso g’entebe okusalirwa emisango.”​—Bik. 18:17.

15 Lwaki Galiyo teyaziyiza bantu kukuba Sossene? Oboolyawo yalowooza nti Sossene ye yakulemberamu abantu abo abaali bavunaana Pawulo era nti ekyo kye baali bamukola kyali kimugwanira. Ka kibe nti ekyo kyali kituufu oba nedda, kirabika ebyo ebyaliwo byavaamu ebirungi. Mu bbaluwa esooka gye yawandiikira Abakkolinso nga wayise emyaka, Pawulo yayogera ku w’oluganda omu eyali ayitibwa Sossene. (1 Kol. 1:1, 2) Ono ye Sossene eyali yakubibwa mu Kkolinso? Bw’aba nga ye ye, ebyo ebyamutuukako biyinza okuba nga byamuviirako okufuuka omugoberezi wa Kristo.

16. Ebyo Yesu bye yagamba Pawulo nti, “Totya, weeyongere okwogera, tosirika, kubanga ndi naawe,” bituyamba bitya nga tukola omulimu gw’okubuulira?

16 Kijjukire nti Abayudaaya baamala kugaana kuwuliriza bubaka Pawulo bwe yali abuulira, Yesu n’alyoka amugamba nti: “Totya, weeyongere okwogera, tosirika, kubanga ndi naawe.” (Bik. 18:9, 10) Tusaanidde okujjukiranga ebigambo ebyo naddala ng’abantu tebaagala kuwuliriza bubaka bwaffe. Era tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa alaba ekyo ekiri ku mutima era asembeza gy’ali abantu ab’emitima emirungi. (1 Sam. 16:7; Yok. 6:44) Ekyo kyanditukubirizza okweyongera okukolanga n’obunyiikivu omulimu gwaffe ogw’okubuulira. Buli mwaka abantu mitwalo na mitwalo babatizibwa, kwe kugamba, abantu bikumi na bikumi babatizibwa buli lunaku. Abo abagondera ekiragiro kya Yesu ‘eky’okufuula abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa,’ Yesu abasuubiza nti: “Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.”​—Mat. 28:19, 20.

“Yakuwa bw’Anaaba Ayagadde” (Bik. 18:18-22)

17, 18. Pawulo bwe yali asaabala okugenda mu Efeso, kiki ky’ayinza okuba nga yali alowoozaako?

17 Tekimanyiddwa obanga endowooza Galiyo gye yalina ku abo abaali bavunaana Pawulo yaleetera ekibiina ky’e Kkolinso ekyali kyakatandikibwawo okuba mu mirembe okumala ekiseera. Kyokka Pawulo yamala “ennaku eziwerako” mu Kkolinso oluvannyuma n’alyoka asiibula ab’oluganda. Mu makkati g’omwaka gwa 52 E.E., Pawulo yakola enteekateeka okusaabala okugenda e Busuuli ng’aviira ku mwalo gw’e Kenkereya ogwali gwesudde mayiro nga musanvu ebuvanjuba w’ekibuga Kkolinso. Kyokka Pawulo bwe yali nga tannava Kenkereya, “yasala enviiri ze ne ziba nnyimpi, kubanga yali akoze obweyamo.”c (Bik. 18:18) Oluvannyuma yagenda ne Akula ne Pulisikira ne basomoka Ennyanja Aegean ne bagenda mu Efeso, mu Asiya Omutono.

18 Pawulo bwe yali asaabala okuva e Kenkereya, kirabika yafumiitiriza ku kiseera kye yali amaze mu Kkolinso. Waliwo ebintu bingi ebirungi bye yali ajjukira, era waaliwo ensonga nnyingi kwe yali asinziira okuba omusanyufu. Ekiseera eky’emyezi 18 kye yamala ng’aweereza mu Kkolinso kyali kivuddemu ebibala bingi. Ekibiina ekyasooka mu Kkolinso kyali kitandikiddwawo era kyali kikuŋŋaanira mu nnyumba ya Yusito. Mu abo abaafuuka abakkiriza mwe mwali Yusito, Kulisupo n’ab’ennyumba ye, awamu n’abalala bangi. Abantu abo Pawulo yali abaagala nnyo, kubanga yali abayambye okufuuka Abakristaayo. Oluvannyuma yali agenda kubawandiikira, aboogereko ng’abaali ebbaluwa eyali emusemba ewandiikiddwa ku mutima gwe. Naffe tuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abantu be tuyamba okutandika okuweereza Yakuwa. Mu butuufu, kisanyusa nnyo okulaba abantu abo abalinga ‘amabaluwa agatusemba.’​—2 Kol. 3:1-3.

19, 20. Pawulo bwe yatuuka mu Efeso kiki kye yakola, era kiki kye tumuyigirako nga tulina ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo bye tuba tweteereddewo?

19 Pawulo bwe yatuuka mu Efeso, yatandikirawo okukola omulimu gwe ogwali gusingayo obukulu. Bayibuli egamba nti: “N’ayingira mu kkuŋŋaaniro n’akubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya.” (Bik. 18:19) Ku mulundi ogwo, Pawulo mu Efeso yamalayo ekiseera kitono. Wadde nga baamusaba nti agira asigalayo, “teyakkiriza.” Yasiibula ab’oluganda abo ab’omu Efeso n’abagamba nti: “Nja kukomawo gye muli Yakuwa bw’anaaba ayagadde.” (Bik. 18:20, 21) Awatali kubuusabuusa Pawulo yali akimanyi nti omulimu gw’okubuulira gwali gukyetaagisa nnyo okukolebwa mu Efeso. Yalina enteekateeka okukomawo mu kibuga ekyo, naye ensonga yazireka mu mikono gya Yakuwa. Mazima ddala yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo mu nsonga eyo. Bwe tuba tulina ebiruubirirwa bye twagala okutuukako mu buweereza bwaffe, tulina okubaako kye tukolawo. Kyokka bulijjo tulina okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa, era ne tufuba okukolera ku ekyo ky’aba ayagala.​—Yak. 4:15.

20 Pawulo yaleka Akula ne Pulisikira mu Efeso, n’asaabala n’agenda e Kayisaliya. Kirabika bwe yava eyo ‘yagenda’ e Yerusaalemi n’alamusa ab’oluganda abaali mu kibiina kyayo. (Bik. 18:22) Oluvannyuma Pawulo yagenda ewuwe mu Antiyokiya ekya Busuuli. Olugendo lwe olw’obuminsani olw’okubiri lwali luwedde bulungi. Biki ebyali bimulindiridde ku lugendo lwe olw’obuminsani olwasembayo?

OBWEYAMO BWA PAWULO

Ebikolwa 18:18 walaga nti Pawulo bwe yali mu Kenkereya, “yasala enviiri ze ne ziba nnyimpi, kubanga yali akoze obweyamo.” Bweyamo ki bwe yakola?

Okutwalira awamu, omuntu bwe yeeyama eri Katonda, amusuubiza nti ajja kubaako ekintu ky’akola, ky’awaayo gy’ali, oba nti ajja kubaako embeera gy’abaamu. Abamu bagamba nti Pawulo yasala enviiri ze okusobola okutuukiriza obweyamo bwe yali akoze obw’okuba Omunaziri. Kyokka Ebyawandiikibwa biraga nti omuntu eyabanga yeeyamye okuba Omunaziri, ekiseera eky’obweyamo bwe bwe kyaggwangako yalinanga okumwera enviiri ze “ku mulyango oguyingira mu weema ey’okusisinkaniramu.” Kirabika ekyo kyakolebwanga mu Yerusaalemi mwokka, era kyali tekiyinza kukolebwa mu Kenkereya.​—Kubal. 6:5, 18.

Ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume tebiraga ddi Pawulo lwe yakola obweyamo obwo. Ayinza n’okuba nga yabukola tannafuuka Mukristaayo. Ate era tebiraga obanga Pawulo bwe yali akola obweyamo obwo alina ekintu kye yasaba Yakuwa. Ekitabo ekimu kigamba nti Pawulo okusala enviiri ze ne ziba nnyimpi kiyinza okuba nga ‘kyali kiraga nti yali yeebaza Katonda olw’okumukuuma n’asobola okumaliriza obuweereza bwe mu Kkolinso.’

a Laba akasanduuko “Ekibuga Kkolinso Kyali Wakati w’Ennyanja Bbiri.”

b Laba akasanduuko “Ebbaluwa Ezaaluŋŋamizibwa Ezazzaamu Abalala Amaanyi.”

c Laba akasanduuko “Obweyamo bwa Pawulo.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share