Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume
EKITABO ky’Ebikolwa by’Abatume kiraga engeri ekibiina Ekikristaayo gye kyatandikawo n’engeri gye kyagenda kikula. Kyawandiikibwa Lukka eyali omusawo, era kyogera ku ebyo Abakristaayo bye baakola okumala emyaka 28—okuva mu 33 C.E. okutuuka mu 61 C.E.
Ekitundu ekisooka mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume okusinga kyogera ku buweereza bwa mutume Peetero, ate ekyo ekisembayo kisinga kwogera ku buweereza bwa mutume Pawulo. Ebigambo ebimu Lukka by’akozesa biraga nti yaliwo ng’ebintu ebimu bibaawo. Okwekenneenya obubaka obuli mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kijja kutuyamba okwongera okutegeera amaanyi g’Ekigambo kya Katonda n’ag’omwoyo gwe omutukuvu. (Beb. 4:12) Ng’oggyeko ekyo, kijja kutukubiriza okuba n’omwoyo gw’okwefiiriza era kijja kunyweza okukkiriza kwaffe mu ssuubi ly’Obwakabaka.
PEETERO AKOZESA “EBISUMULUZO BY’OBWAKABAKA”
Bwe bamala okuweebwa omwoyo omutukuvu, abatume bawa obujulirwa n’obuvumu. Peetero akozesa ‘ekisumuluzo ky’obwakabaka obw’omu ggulu’ ekisooka okuyamba Abayudaaya n’abakyufu “abakkiriza ekigambo kye” okumanya amazima n’okufuna omukisa okuyingira mu Bwakabaka. (Mat. 16:19; Bik. 2:5, 41) Okuyigganyizibwa kuwaliriza abayigirizwa okusaasaana, naye kino kireetera omulimu gw’okubuulira okweyongera okubuna.
Bwe bawulira nti ab’omu Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, abatume mu Yerusaalemi babasindikira Peetero ne Yokaana. Peetero akozesa ekisumuluzo ekyokubiri okuyamba Abasamaliya okuyingira mu Bwakabaka. (Bik. 8:14-17) Mu bbanga lya mwaka nga gumu bukya Yesu azuukira, wabaawo enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwa Sawulo ow’e Talusiisi. Mu 36 C.E., Peetero akozesa ekisumuluzo ekyokusatu, era omwoyo omutukuvu gufukibwa ku bantu b’amawanga abatali bakomole.—Bik. 10:45.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
2:44-47; 4:34, 35—Lwaki abakkiriza baatunda ebintu byabwe ne bagaba ssente ezaavaamu? Bangi ku abo abaafuuka abakkiriza baali bavudde wala nnyo ng’ebintu bye balina tebimala kubayimirizaawo. Kyokka, baali baagala okusigala mu Yerusaalemi okumala ekiseera basobole okuyiga ebisingawo ku nzikiriza yaabwe empya era bawe n’abantu abalala obujulirwa. Okusobola okubayamba, Abakristaayo abamu baatunda ebintu byabwe, ssente ne baziwa abo abaali mu bwetaavu.
4:13—Peetero ne Yokaana baali tebamanyi kusoma na kuwandiika? Baali bamanyi. Baayitibwa “abantu abatamanyi kusoma era abataayigirizibwa nnyo” lwa kuba nti baali tebaatendekebwa mu masomero ga balabbi ag’eby’eddiini.
5:34-39—Lukka yategeera atya Gamalyeri bye yayogera mu lukiiko olwali olw’ekyama? Kyandiba nti: (1) Pawulo, eyaliko omuyizi wa Gamalyeri, ye yabimubuulira; (2) Lukka yabuuza omu ku bantu abaali mu lukuŋŋaana eyali ayagala Abakristaayo, gamba nga Nikodemu; (3) Lukka yaluŋŋamizibwa Katonda n’asobola okumanya ebyaliyo.
7:59—Suteefano yali asaba Yesu? Nedda. Omuntu alina kusinza na kusaba Yakuwa Katonda yekka. (Luk. 4:8; 6:12) Mu mbeera eza bulijjo, Suteefano yandisabye Yakuwa mu linnya lya Yesu. (Yok. 15:16) Naye ku mulundi guno, Suteefano yafuna okwolesebwa n’alaba ‘Omwana w’omuntu ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo.’ (Bik. 7:56) Ng’akimanyi bulungi nti Yesu yali aweereddwa obuyinza okuzuukiza abafu, Suteefano yayogera butereevu ne Yesu n’amugamba akuume omwoyo gwe, naye yali tasaba.—Yok. 5:27-29.
Bye Tuyigamu:
1:8. Omulimu gw’okuwa obujulirwa ogukolebwa abasinza ba Yakuwa mu nsi yonna teguyinza kutuukirizibwa okuggyako nga bayambibwa omwoyo omutukuvu.
4:36–5:11. Yusufu ow’e Kupulo yali ayitibwa Balunabba, ekitegeeza “Omwana w’Okubudaabuda.” Abatume bayinza okuba nga baamukazaako erinnya eryo olw’okuba yali wa kisa era ng’ayagala nnyo okuyamba abalala. Tusaanidde okubeera nga ye, so si nga Ananiya ne Safira abaali abalimba era bannanfuusi.
9:23-25. Bwe twewala abalabe baffe tusobole okweyongera okubuulira tebuba butiitiizi.
9:28-30. Singa okubuulira abantu abamu oba mu bifo ebimu kiba kya kabi eri obulamu bwaffe oba kiyinza okutuviirako okwonooneka mu mpisa ne mu by’omwoyo, kiba kya magezi okwegendereza ddi lwe tubuulira ne wa gye tubuulira.
9:31. Bwe watabaawo kuyigganyizibwa, kiba kya magezi okunyweza okukkiriza kwaffe nga twesomesa era nga tufumiitiriza ku bye tusoma. Kino kijja kutuyamba okubuulira n’obunyiikivu n’okutambulira mu kkubo ery’okutya Katonda nga tussa mu nkola bye tuyiga.
PAWULO AWEEREZA N’OBUNYIIKIVU
Mu 44 C.E., Agabo ajja mu Antiyokiya, Balunabba ne Sawulo gye bamaze ‘omwaka mulamba’ nga bayigiriza. Agabo alagula nti wagenda kubaawo “enjala nnyingi,” era enjala eyo egwa nga wayise emyaka ebiri. (Bik. 11:26-28) “Bwe bamala okutwala obuyambi mu Yerusaalemi,” Balunabba ne Sawulo bakomawo mu Antiyokiya. (Bik. 12:25, NW) Mu 47 C.E.—emyaka nga 12 bukya Sawulo afuuka Mukristaayo—omwoyo omutukuvu gutuma Balunabba ne Sawulo ku lugendo lw’obuminsani. (Bik. 13:1-4) Mu 48 C.E., baddayo mu Antiyokiya “gye baali baabakwasiza Katonda okubalaga ekisa kye eky’ensusso.”—Bik. 14:26, NW.
Nga wayise emyezi nga mwenda, Pawulo (era amanyiddwa nga Sawulo) alonda Siira okugenda naye ku lugendo lwe olw’okubiri. (Bik. 15:40) Oluvannyuma Timoseewo ne Lukka beegatta ku Pawulo. Lukka asigala e Firipi ate ye Pawulo yeeyongerayo mu Asene n’oluvannyuma agenda e Kkolinso gy’asisinkana Akula ne Pulisikira, era amalayo omwaka gumu n’emyezi mukaaga. (Bik. 18:11) Pawulo aleka Timoseewo ne Siira e Kkolinso n’agenda ne Akula ne Pulisikira e Busuuli ku ntandikwa y’omwaka 52 C.E. (Bik. 18:18) Akula ne Pulisikira baamuwerekerako ne bamutuusa mu Efeso, bo gye baasigala.
Oluvannyuma lw’ekiseera ng’ali mu Antiyokiya eky’omu Busuuli, Pawulo agenda ku lugendo lwe olw’okusatu mu 52 C.E. (Bik. 18:23) Mu Efeso, ‘ekigambo kya Yakuwa kyeyongerayongera amaanyi ne kiwangula.’ (Bik. 19:20) Pawulo amalayo emyaka ng’esatu. (Bik. 20:31) Pentekoote ya 56 C.E. etuuka nga Pawulo ali Yerusaalemi. Akwatibwa era awa ab’obuyinza obujulirwa awatali kutya kwonna. Mu Ruumi, Pawulo asibirwa mu nnyumba okumala emyaka ebiri (awo nga 59-61 C.E.), era akola buli ky’asobola okubuulira Obwakabaka n’okuyigiriza “ebigambo bya Mukama Yesu Kristo.”—Bik. 28:30, 31.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
14:8-13—Lwaki abantu b’omu Lusitula baayita ‘Balunabba Zewu, ate Pawulo ne bamuyita Kerume’? Okusinziira ku nfumo z’Abayonaani, Zewu ye yali omufuzi wa bakatonda, ate ye mutabani we Kerume ng’amanyiddwa ng’omwogezi omulungi ennyo. Olw’okuba Pawulo ye yasinga okwogera, abantu b’omu Lusitula baamuyita Kerume, ate ye Balunabba ne bamuyita Zewu.
16:6, 7—Lwaki omwoyo omutukuvu gwagaana Pawulo ne banne okubuulira mu Asiya ne Bisuniya? Ababuulizi baali batono. N’olwekyo omwoyo omutukuvu gwabalagirira ebifo ebyandisinze okuvaamu ebibala ebingi.
18:12-17—Lwaki Galiyo ow’essaza teyagaana bantu kukuba Sossene? Osanga Galiyo yalowooza nti Sossene eyalabika nga ye mukulembeze w’ekibinja ekyakwata Pawulo yali agwana okukubibwa. Kyokka kirabika ebyavaamu byali birungi kubanga Sossene yafuuka Omukristaayo. Oluvannyuma Pawulo ayogera ku Sossene ‘ng’ow’oluganda.’—1 Kol. 1:1.
18:18—Pawulo yeeyama kukola ki? Abekenneenya ba Baibuli abamu bagamba nti Pawulo yali yeeyamye okuba Omunaziri. (Kubal. 6:1-21, NW) Naye, Baibuli tetubuulira kiki Pawulo kye yali yeeyamye kukola. Era Ebyawandiikibwa tebiraga obanga Pawulo yeeyama amaze kufuuka Mukristaayo oba nga tannaba, wadde okulaga obanga yali atandika butandisi obweyamo obwo oba yali abumaliriza. Ekituufu kiri nti, tekyali kikyamu Pawulo kweyama.
Bye Tuyigamu:
12:5-11. Tusaanidde okusabira baganda baffe.
12:21-23; 14:14-18. Kerode yakkiriza okutenderezebwa ng’ate Katonda yekka y’alina okutenderezebwa. Mu kino, yayawukanira ddala ku Pawulo ne Balunabba abaagaana okukkiriza okutenderezebwa abantu. Tetulina kukkiriza kutenderezebwa olw’ebirungi bye tukola mu kuweereza Yakuwa.
14:5-7. Okuba abeegendereza kiyinza okutuyamba okusigala nga tuli banyiikivu mu buweereza.—Mat. 10:23.
14:22. Abakristaayo bakimanyi nti basobola okuyigganyizibwa. Tebagezaako kukwewala nga bekkiriranya.—2 Tim. 3:12.
16:1, 2. Abavubuka Abakristaayo basaanidde okufuba okuweereza Yakuwa n’okumusaba abayambe okuba n’erinnya eddungi.
16:3. Tusaanidde okukola buli kye tusobola okuyamba abalala okukkiriza amawulire amalungi kasita tuba nga tetumenya misingi gya mu Byawandiikibwa,.—1 Kol. 9:19-23.
20:20, 21. Mu buweereza bwaffe, kikulu nnyo okubuulira nju ku nju.
20:24; 21:13. Okukuuma obwesigwa bwaffe eri Katonda kikulu nnyo okusinga okutaasa obulamu bwaffe.
21:21-26. Tusaanidde okukkiriza amagezi amalungi agatuweebwa.
25:8-12. Abakristaayo leero basobola okweyambisa amateeka ‘okuwolereza enjiri n’okuginyweza.’—Baf. 1:7.
26:24, 25, NW. Tulina okubuulira “ebigambo eby’amazima era eby’amagezi” wadde nga bya busirusiru eri “omuntu ow’omukka obukka.”—1 Kol. 2:14.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Peetero yakozesa ddi “ebisumuluzo by’obwakabaka”?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31
Omulimu gw’okuwa obujulirwa mu nsi yonna teguyinza kukolebwa awatali buyambi bwa mwoyo mutukuvu