LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 5/15 lup. 31-32
  • “Buli Lunaku Nneeyongera Okunyumirwa Okuweereza nga Kolopoota”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Buli Lunaku Nneeyongera Okunyumirwa Okuweereza nga Kolopoota”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 5/15 lup. 31-32

Etterekero Lyaffe

“Buli Lunaku Nneeyongera Okunyumirwa Okuweereza nga Kolopoota”

MU 1886, ebitabo kikumi ebya Millennial Dawn, omuzingo ogusooka, byasindikibwa e Chicago, Illinois. Ow’oluganda Charles Taze Russell yali ayagala ebitabo ebyo biteekebwe mu madduuka agatunda ebitabo. Emu ku kampuni ezaali zisinga obunene mu Amerika yakkiriza okutambuza ebitabo bya Millennial Dawn okubituusa mu madduuka ag’enjawulo mu Chicago. Naye oluvannyuma lwa wiiki bbiri, ebitabo ebyo byonna byakomezebwawo ku Bible House (nga Beseri bwe yali eyitibwa mu kiseera ekyo) mu Allegheny, Pennsylvania, Amerika.

Omu ku bakulembeze b’amadiini omututumufu yanyiiga nnyo bwe yalaba ebitabo bya Millennial Dawn nga biteekeddwa wamu n’ebitabo bye ebyali bitundibwa mu maduuka. Yagamba bannannyini maduuka agaali gatunda ebitabo nti singa tebaggya bitabo bya Millennial Dawn mu madduuka gaabwe, ye awamu n’abakulembeze b’amadiini abalala abatutumufu baali bagenda kuggya ebitabo byabwe mu madduuka ago babitwale awalala. Kampuni eyali etutte ebitabo ebyo yasalawo okuzzaayo ebitabo ebyo ku Bible House. Ng’oggyeko ekyo, abakulembeze b’amadiini baagaana n’abakubi b’empapula z’amawulire okuteeka obulango obukwata ku kitabo Millennial Dawn mu mpapula zaabwe ez’amawulire. Kati olwo ekitabo ekyo kyandituuse kitya ku bantu abaali baanoonya amazima?

Bakolopoota baayamba nnyo mu kubunyisa ebitabo ebyo.a Mu 1881, magazini ya Zion’s Watch Tower yalaga nti ababuulizi ab’ekiseera kyonna 1,000 baali beetaagibwa okuyamba mu kubunyisa ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli. Wadde nga bakolopoota baali batono nnyo, baabunyisa ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli mu bitundu by’ensi bingi. Omwaka gwa 1897 we gwatuukira, bakolopoota abo baali bamaze okubunyisa ebitabo bya Millennial Dawns ng’akakadde kalamba. Abasinga obungi ku bakolopoota abo akasente akatono ke baabawanga okweyimirizaawo kaabanga kavudde mu magazini oba ebitabo ebirala bye baabanga bagabye.

Babuulizi ba ngeri ki abaaweereza nga bakolopoota mu kiseera ekyo? Abamu baali batiini, ate abalala baali bakuze mu myaka. Bangi ku bo baali bwannamunigina oba nga bafumbo naye nga tebalina baana. Waaliwo n’abatonotono abaalina abaana. Bakolopoota aba bulijjo baamalanga essaawa nnyingi buli lunaku nga babuulira, ate bakolopoota abawagizi baamalanga essaawa ng’emu oba bbiri buli lunaku nga babuulira. Ab’oluganda abamu embeera zaabwe zaali tezibasobozesa kuweereza nga bakolopoota. Naye ku lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu 1906, kyakkaatirizibwa bulungi nti abo abaali baagala okuweereza nga bakolopoota era ng’embeera zaabwe zibasobozesa, kyali tekibeetaagisa kuba “nga baasoma nnyo, nga balina ebitone eby’enjawulo, oba nga boogera lulimi lwa bamalayika.”

Bakolopoota baakola omulimu gwa maanyi mu bitundu by’ensi ebitali bimu. Ow’oluganda omu yagamba nti mu myaka musanvu gyokka, yagaba ebitabo ebisukka mu 15,000. Kyokka yagamba nti, “Saafuuka kolopoota lwa kwagala kutunda bitabo, naye nnakikola olw’okwagala okuwa obujulirwa ku Yakuwa awamu n’amazima.” Buli wamu bakolopoota we baagendanga, ebibiina by’Abayizi ba Bayibuli byatandikibwangawo.

Abakulembeze b’amadiini baasekereranga bakolopoota, nga babayita batembeeyi ba bitabo. Magazini ya Watch Tower eya 1892 yagamba nti: “Abantu batono nnyo ababamanyi ng’ababaka ba Mukama waffe, oba abakimanyi nti Mukama waffe abatwala nga ba muwendo nnyo olw’obuwombeefu bwabwe n’omwoyo gw’okwefiiriza gwe booleka.” Mu butuufu, tekyali kyangu kuweereza nga kolopoota mu kiseera ekyo. Bakolopoota abamu baatambuzanga bigere okugenda okubuulira ate abalala baakozesanga ggaali. Abantu bwe baabanga tebalina ssente, bakolopoota baabawanga ebitabo, abantu ne babawaamu emmere. Bakolopoota abamu baasulanga mu weema ate abalala mu mayumba ge baapangisanga. Oluvannyuma lw’ekiseera, bakolopoota baatandika okukozesa ebigaali ebyasikibwanga embalaasi, ekyo ne kibayamba okukekkereza ssente n’ebiseera.b

Okuva mu mwaka gwa 1893, ku lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu Chicago, bakolopoota baatandika okubanga n’olukuŋŋaana olw’enjawulo ku nkuŋŋaana ennene. Mu lukuŋŋaana olwo, bakolopoota baayogeranga ku bintu ebirungi bye baabanga bafunye mu mulimu gw’okubuulira, engeri ez’enjawulo ez’okubuulira, n’amagezi amalungi agayinza okubayamba mu mulimu gwabwe. Lumu Ow’oluganda Russell yakubiriza bakolopoota okulya obulungi ku makya, oluvannyuma lw’essaawa ntonotono okunywayo giraasi y’amata, era n’okunywayo sooda annyogoga, singa obudde buba bwa bbugumu.

Bakolopoota abaabanga baagala omuntu ow’okubuulira naye baayambalanga liboni eya kyenvu ku nkuŋŋaana ennene. Bakolopoota abapya baateranga okubuulira n’abo abaalina obumanyirivu. Ekyo kyayamba nnyo bakolopoota abapya okuva bwe kiri nti abamu baali tebamanyi ngeri ya kugabamu bitabo. Ng’ekyokulabirako, lumu kolopoota omu omupya bwe yali aliko omukyala gw’agabira ebitabo, yamugamba nti, “Weetaaga ebitabo bino?” Ekirungi kiri nti omukyala oyo yakkiriza ebitabo ebyo, era oluvannyuma yabatizibwa.

Ow’oluganda omu yali yeebuuza nti, ‘Nneeyongere okukola omulimu gwange ogusasula obulungi mpengayo doola z’Amerika 1,000 buli mwaka okuwagira omulimu gw’okubuulira, oba nguleke ntandike okuweereza nga kolopoota?’ Ab’oluganda baamugamba nti Mukama waffe byombi yali ajja kubisiima, naye singa yali asazeewo okuweereza nga kolopoota yandifunye emikisa mingi. Mwannyinaffe Mary Hinds, enkizo y’okuweereza nga kolopoota yagitwala “ng’engeri esingayo obulungi ey’okukolera abalala ebirungi.” Ate ye Ow’oluganda Alberta Crosby eyali yeetya, yagamba nti, “Buli lunaku nneeyongera okunyumirwa okuweereza nga kolopoota.”

Leero waliwo abaana n’abazzukulu bangi, ab’omubiri n’ab’omwoyo, ab’ab’oluganda abaaweerezaako nga bakolopoota abakyakuumye omwoyo gw’obwapayoniya. Bwe kiba nti mu lunyiriri lwammwe olw’obuzaale temuli n’omu yali aweerezzaako nga kolopoota oba payoniya, lwaki si ggwe asooka mu lunyiriri lwammwe okuweereza nga payoniya? Ekyo kijja kuyamba abalala mu maka gammwe okwagala okuweereza nga bapayoniya.

[Obugambo obuli wansi]

a Oluvannyuma lw’omwaka gwa 1931 “bakolopoota” baatandika okuyitibwa “bapayoniya.”

b Ebisingawo ebikwata ku bigaali ebyo bijja kwogerwako mu magazini ejja okufulumizibwa mu kiseera eky’omu maaso.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 32]

Kyali tekibeetaagisa kuba “nga baasoma nnyo, nga balina ebitone eby’enjawulo, oba nga boogera lulimi lwa bamalayika”

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Kolopoota A. W. Osei ng’ali mu Ghana, awo nga mu 1930

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 32]

Waggulu: Kolopoota Edith Keen ne Gertrude Morris nga bali Bungereza, awo nga mu 1918; wansi: Kolopoota Stanley Cossaboom ne Henry Nonkes nga bali kumpi ne bbokisi enkalu ez’ebitabo bye baali bagabye mu Amerika

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share