LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 5/15 lup. 28-30
  • “Mwekuume Ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Mwekuume Ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Similar Material
  • “Muyigire ku Nze”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Ayanika Bannaddiini Abamuziyiza
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Ebintu Bibiri Ebikulu—Okusaba n’Obwetoowaze
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Yesu Awonya Omusajja ku Ssabbiiti
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 5/15 lup. 28-30

“Mwekuume Ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo”

Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mwekuume ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo, nga kino bwe bunnanfuusi.” (Luk. 12:1) Ekizimbulukusa Yesu kye yayogerako ze ‘njigiriza’ z’Abafalisaayo enkyamu.​—Mat. 16:12.

Oluusi Bayibuli eyogera ku ‘kizimbulukusa,’ ng’etegeeza ekintu ekisobola okwonoona omuntu. Abantu abakkirizanga enjigiriza z’Abafalisaayo n’endowooza zaabwe enkyamu baatandikanga okukola ebintu ebibi. Lwaki enjigiriza z’Abafalisaayo zaali za kabi nnyo?

1 Abafalisaayo baali beetwala okuba abatuukirivu, era nga banyooma abantu aba bulijjo.

Kino kyeyolekera mu ebyo Yesu bye yayogera mu lumu ku ngero ze. Yagamba nti: “Omufalisaayo n’ayimirira n’atandika okusaba ebintu bino mu mutima gwe, ‘Ai Katonda, nkwebaza olw’okuba siri ng’abantu abalala, abanyazi, abatali batuukirivu, abenzi, oba ng’oyo asolooza omusolo. Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, mpaayo ekimu eky’ekkumi ku bintu byonna bye nfuna.’ Naye asolooza omusolo n’ayimirira walako, n’atayagala na kuyimusa maaso ge kutunula waggulu, naye n’akuba mu kifuba kye ng’agamba nti, ‘Ai Katonda, nsaasira nze omwonoonyi.’”​—Luk. 18:11-13.

Yesu yatendereza omusolooza w’omusolo olw’okwoleka obwetoowaze, era n’agamba nti: “Omusajja [oyo] yaddayo ewuwe nga mutuukirivu okusinga [Omufalisaayo] oli; kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa na buli eyeetoowaza aligulumizibwa.” (Luk. 18:14) Wadde ng’abasolooza b’omusolo baali bamanyiddwa ng’abantu abataali beesigwa, Yesu yafubanga okuyamba abasolooza b’omusolo abaayagalanga okumuwuliriza. Bayibuli eyogera ku basolooza b’omusolo babiri, Matayo ne Zaakayo, abaafuuka abagoberezi be.

Watya singa obusobozi obw’enjawulo bwe tulina, enkizo ze tulina mu kibiina, oba ensobi ze tulaba mu balala n’obunafu bwabwe bituleetera okutandika okulowooza nti tuli ba waggulu ku bakkiriza bannaffe? Bwe kiba kityo, tuba tulina okweggyamu endowooza eyo amangu ddala nga bwe kisoboka. Lwaki? Bayibuli egamba nti: “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekukwatibwa buggya, tekwewaana, tekwegulumiza, tekweyisa mu ngeri etasaana, tekwenoonyeza byakwo, tekunyiiga era tekusiba kiruyi. Tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n’amazima.”​—1 Kol. 13:4-6.

Tusaanidde okuba n’endowooza ng’ey’omutume Pawulo. Oluvannyuma lw’okugamba nti: “Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi,” yagamba nti: “Mu boonoonyi abo nze nsingayo.”​—1 Tim. 1:15.

Ebibuuzo eby’okufumiitirizaako:

Nkikkiriza nti ndi mwonoonyi era nti awatali kisa kya Yakuwa eky’ensusso siyinza kulokolebwa? Oba kyandiba nti emyaka gye mmaze nga mpeereza Yakuwa, enkizo ze nnina mu kibiina, oba obusobozi bwe nnina bindeetera okulowooza nti nsinga abalala?

2 Abafalisaayo baakolanga ebintu ebirungi nga baagala abantu babalabe era balowooze nti baali batuukirivu. Baali baagala nnyo obukulu n’okuweebwa ebitiibwa eby’enjawulo.

Naye Yesu yagamba nti: “Ebintu byonna bye bakola, babikola abantu babalabe; kubanga bagaziya fulakuteeri ze bambala ng’eby’okwekuumisa, era bawanvuya ebijwenge eby’oku byambalo byabwe. Baagala ebifo eby’ebitiibwa nga bali ku bijjulo, era baagala okutuula mu bifo eby’omu maaso mu makuŋŋaaniro, baagala okulamusibwa mu butale mu ngeri ey’ekitiibwa, era baagala abantu okubayita Labbi.” (Mat. 23:5-7) Kyokka endowooza Yesu gye yalina yali ya njawulo nnyo ku y’Abafalisaayo. Wadde nga yali atuukiridde era nga yali Mwana wa Katonda, Yesu yali mwetoowaze. Omusajja omu bwe yamuyita omuyigiriza “omulungi,” Yesu yamugamba nti: “Lwaki ompita omulungi? Teri mulungi, okuggyako Katonda.” (Mak. 10:18) Ku mulundi omulala, Yesu yanaaza abayigirizwa be ebigere n’abalaga nti nabo baali beetaaga okuba abeetoowaze.​—Yok. 13:1-15.

Abakristaayo bonna, naddala abo abaagala okufuuka abalabirizi mu kibiina, basaanidde okuba abeetegefu okuweereza bakkiriza bannaabwe. (Bag. 5:13) Kirungi ow’oluganda ‘okuluubirira omulimu gw’obulabirizi,’ naye ekyo asaanidde okukikola ng’alina ekiruubirirwa eky’okuweereza abalala. Omulabirizi taba wa waggulu ku bakkiriza banne era taba mufuzi waabwe. Abo abaweereza ng’abalabirizi basaanidde okuba ‘abawombeefu mu mutima,’ nga Yesu bwe yali.​—1 Tim. 3:1, 6; Mat. 11:29.

Ebibuuzo eby’okufumiitirizaako:

Ab’oluganda abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina mbayisa bulungi okusinga ab’oluganda abalala, oboolyawo nga ndowooza nti ekyo kinaabaleetera okubaako enkizo ze bampa mu kibiina? Bwe mba mpeereza Yakuwa, essira ndissa ku kukola ebintu ebinaaleetera abalala okundaba n’okuntendereza? Buli kiseera mba njagala kuba nga nze nsukkulumye ku balala?

3 Amateeka n’obulombolombo bw’Abafalisaayo byaleetera abantu aba bulijjo okukaluubirirwa okukwata Amateeka ga Yakuwa.

Yakuwa yawa Abaisiraeri Amateeka basobole okumanya engeri y’okumusinzaamu. Naye teyababuulira kalonda yenna akwata ku buli kimu kye baalina okukola okusobola okutuukiriza buli limu ku mateeka ago. Ng’ekyokulabirako, Amateeka gaalagira Abaisiraeri obutakola mirimu ku Ssabbiiti, naye tegaalaga bintu ki ebyandibadde bitwalibwa ng’emirimu. (Kuv. 20:10) Abafalisaayo baddira amateeka gaabwe n’obulombolombo bwabwe ne babigatta mu Mateeka ga Musa nga balowooza nti Amateeka ago gaalimu ebibulamu. Yesu yakwata Amateeka ga Musa, naye yagaana okukwata amateeka amakakali Abafalisaayo ge baayongeramu. (Mat. 5:17, 18; 23:23) Yesu yali amanyi ensonga lwaki Yakuwa yali awadde abantu be Amateeka. Yali akimanya nti Katonda ayagala abantu be booleke ekisa n’obusaasizi. Yesu yayolekanga ekisa wadde ng’oluusi abagoberezi be baamumalangamu amaanyi. Ng’ekyokulabirako, mu kiro mwe baamukwatira, yagamba abayigirizwa be basatu okusigala nga batunula, naye ekyo ne balemererwa okukikola. Wadde kyali kityo, Yesu yayoleka ekisa era n’agamba nti: “Omwoyo gwagala naye omubiri munafu.”​—Mak. 14:34-42.

Ebibuuzo eby’okufumiitirizaako:

Nteekawo amateeka amakakali era ne ngezaako okugakakaatika ku balala? Nsuubira abalala okukola ekyo nze kye ndowooza nti kye kituufu? Nsuubira abalala okukola ekyo kye batasobola kukola?

Ebyo Yesu bye yayigirizanga byali bya njawulo nnyo ku ebyo Abafalisaayo bye baayigirizanga. Olina ekintu kyonna ky’oyinza okukola okusobola okwongera okuba nga Yesu? Bwe kiba kityo, lwaki tofuba okukikola?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Abafalisaayo baasibanga ku byenyi byabwe obusanduuko obutono obwabangamu ebyawandiikibwa.​—Mat. 23:2, 5

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 29]

Obutafaananako Bafalisaayo abaali ab’amalala, abakadde booleka obwetoowaze era bafuba okuweereza abalala

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Naawe oyoleka ekisa nga Yesu, oba osuubira abalala okukola ebintu bye batasobola kukola?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share