Waliwo Awulira Okusaba?
“Nnabuusabuusanga obanga ddala Katonda gyali. Kyokka, oluusi nnasabanga nga ndowooza nti oboolyawo waliwo awulira essaala zange. Nnali sirina ssanyu era nga sirina kigendererwa mu bulamu. Nnali sikkiririza mu Katonda olw’okuba nnali ndowooza nti abantu abatali bagunjufu be bakkiririza mu Katonda.”—PATRICIA,a ABEERA MU IRELAND.
WALI obaddeko mu mbeera ng’eya Patricia? Osaba wadde ng’obuusaabuusa nti Katonda gyali? Bwe kiba bwe kityo, si ggwe wekka ali mu mbeera eyo. Lowooza ku bino wammanga.
◼ Okunoonyereza okwakolebwa mu Bungereza kwalaga nti ku bantu 2,200, abantu nga 500 be bakkiriza nti waliwo Katonda eyatonda ensi era awulira okusaba. Kyokka, abantu abasukka mu 1,200 ku bo oluusi n’oluusi basaba.
◼ Okunoonyereza okulala okwakolebwa ku bantu 10,000 ku ssemazinga nnya, kwalaga nti bangi ku abo abatakkiriza nti Katonda gyali, basaba.
Lwaki Babuusabuusa?
Omwami Omungereza ayitibwa Allan agamba nti: “Nnagambanga nti Katonda taliiyo olw’okuba nnali ndowooza nti eddiini yateekebwawo okufugirako abantu n’okukola ssente. Ate era nneebuuzanga nti, bwe kiba nti Katonda gyali, lwaki waliwo obutali bwenkanya bungi. Kyokka, ebiseera ebimu nnasirikiriranga ne nsaba naye nga simanyi gwe nsaba. Ate era nneebuuzanga nti, ‘Nnava wa?’”
Buli muntu aba n’ensonga ze ezimuleetera okubuusabuusa nti okusaba kuddibwamu. Ebiseera ebisinga obungi, abantu babuusabuusa olw’okuba baba tebafunye byakuddamu mu bibuuzo nga bino wammanga:
◼ Ddala eriyo Omutonzi?
◼ Lwaki amadiini galeetera abantu okukola ebintu ebibi?
◼ Lwaki Katonda aleseewo okubonaabona?
Singa ofuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, kyandikuleetedde okuba omukakafu nti waliwo awulira okusaba?
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya agamu mu bitundu bino ebikwata ku kusaba gakyusiddwa.