LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 8/15 lup. 30
  • Okyajjukira?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okyajjukira?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Similar Material
  • Yakuwa Yawa Samusooni Amaanyi
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Omusajja Asingayo Okuba ow’Amaanyi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Weesige Yakuwa nga Samusooni Bwe Yakola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 8/15 lup. 30

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini za Omunaala gw’Omukuumi ezaafulumizibwa gye buvuddeko awo? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:

Amaanyi ga Samusooni gaali gava mu nviiri ze?

Amaanyi ga Samusooni gaali tegava mu nviiri ze. Enviiri ze zaali zikiikirira enkolagana ey’enjawulo gye yalina ne Katonda ng’Omunaziri. Enkolagana eyo yayonooneka Derira bwe yakola olukwe enviiri ze ne zisalibwako.​—4/15, olupapula 9.

Bintu ki ebisatu ebisobola okutuyamba okukuuma omutima gwaffe ogw’akabonero?

(1) Emmere gye tulya. Ng’okulya emmere erimu ekiriisa bwe kisobola okukuuma omutima gwaffe nga mulamu bulungi, twetaaga okweriisa obulungi mu by’omwoyo. (2) Okukola dduyiro. Okubuulira n’obunyiikivu kisobola okukuuma omutima gwaffe ogw’akabonero nga mulamu bulungi. (3) Abantu be tubeeramu. Okubeera awamu ne bakkiriza bannaffe abatufaako, kisobola okuyamba omutima gwaffe obutazitoowererwa.​—4/15, olupapula 16.

Lwaki oyo awa emboozi ku mukolo gw’okuziika talina kukozesa Zabbuli 116:15 ng’ayogera ku muntu aba afudde?

Zabbuli 116:15 wagamba nti: “Okufa kw’abatukuvu be kwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama.” Ekyo kitegeeza nti Katonda atwala okufa kw’abaweereza be abeesiga bonna ng’ekibiina nga kwa muwendo nnyo ne kiba nti tasobola kukukkiriza kubaawo. Tasobola kukkiriza baweereza be bonna abali ku nsi kusaanyizibwawo.​—5/15, olupapula 22.

Bakolopoota be baani?

Omwaka gwa 1931 bwe gwali tegunnatuuka, bapayoniya bali bayitibwa “bakolopoota.”​—5/15, olupapula 31.

“Obwakabaka obwo bwonna” obwogerwako mu Danyeri 2:44 bwe buliwa?

Bwe bwakabaka obwo bwokka obukiikirirwa ebitundu by’ekifaananyi ekinene ekyogerwako mu kitabo kya Danyeri.​—6/15, olupapula 17.

Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika bwafuuka ddi obufuzi kirimaanyi obw’omusanvu?

Mu kiseera kya Ssematalo I, Amerika ne Bungereza zaatandika okukolagana mu ngeri ey’enjawulo. Mu kiseera ekyo, Bungereza n’Amerika zaafuuka obufuzi kirimaanyi obw’omusanvu.​—6/15, olupapula 19.

Oyinza otya okwekutula ku badayimooni?

Weewale ekintu kyonna ekirina akakwate n’eby’obusamize. (Bik. 19:19, 20) Fuba ‘okusemberera Katonda’ ng’oli mukakafu nti ajja kukuyamba okwekutula ku badayimooni. (Yak. 4:7, 8)​—7/1, olupapula 12.

Lwaki engeri Yesu gye yattibwamu yaleetera Abayudaaya abamu okwesittala?

Okusinziira ku munnabyafaayo omu, Abayudaaya abaaliwo mu kyasa ekyasooka okufa kwa Yesu baakutwala ng’ekintu eky’obuswavu ennyo. Baakitwalanga nti engeri omuntu gy’attibwamu eraga ekyo ky’ali. N’olwekyo, Yesu bateekwa okuba nga baamutwala ng’omuntu omubi ennyo.​—7/1, olupapula 13.

Kiki ekinaakuyamba okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi?

Lowooza ku ebyo ebinaava mu ebyo by’oba ogenda okusalawo. (Nge. 22:3) Sooka weekenneenye ky’ogenda okusalawo. Lowooza ku biseera byo eby’omu maaso. (Nge. 21:5) Fuba okutuuka ku biruubirirwa byo. (Yok. 17:3)​—7/1, olupapula 18-19.

Misingi ki egya Bayibuli eginaakuyamba okweyimirizaawo ng’enfuna yo ekendedde?

Kola embalirira. (Luk. 14:28) Kendeeza ku nsaasaanya yo. (Nge. 22:3) Beera mwetegefu okukola emirimu emirala. (Nge. 29:25) Beera mumativu. (Baf. 4:11, 12)​—7/1, olupapula 20-21.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share