LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 3/15 lup. 13-17
  • Okuva Bwe Mumaze ‘Okumanya Katonda’​—Musaanidde Kukola Ki?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuva Bwe Mumaze ‘Okumanya Katonda’​—Musaanidde Kukola Ki?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EMITENDERA EGISOOKERWAKO OMUNTU GY’AYITAMU OKUMANYA KATONDA
  • ABO ABAMANYI KATONDA BEEYONGERA OKUKULAAKULANA MU BY’OMWOYO
  • NYWEZA ENKOLAGANA YO NE KATONDA
  • WEETAAGA OKUBA OMUGUMIIKIRIZA
  • Abavubuka—Mweyongere Okukulaakulana mu by’Omwoyo Oluvannyuma lw’Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Okubatizibwa n’Enkolagana Yo ne Katonda
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Kifuule Kiruubirirwa Kyo Okuweereza Katonda Emirembe Gyonna
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Engeri gy’Oyinza Okweteekerateekera Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 3/15 lup. 13-17
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Okuva Bwe Mumaze “Okumanya Katonda”​—Musaanidde Kukola Ki?

“Mumanyi Katonda.”​—BAG. 4:9.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Lwaki twetaaga okwekebera buli kiseera?

  • Lwaki n’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo beetaaga okwongera okukulaakulana mu by’omwoyo?

  • Lwaki kikulu okulowooza ku kukkiriza kwaffe ne ku bweyamo bwe twakola nga twewaayo eri Yakuwa?

1. Lwaki omuvuzi w’ennyonyi abaako ebintu by’akebera ng’ennyonyi tennasimbula?

ENNYONYI bw’eba tennasimbula, omuvuzi waayo alina ebintu ebisukka mu 30 by’asooka okukebera n’obwegendereza. Bw’aba akebera ebintu ebyo, aba n’olukalala okuba ebintu by’alina okukebera. Singa ebintu ebimu tabikebera, ennyonyi eyinza okugwa ku kabenje. N’omuntu amaze emyaka emingi ng’avuga ennyonyi aba alina okukebera ebintu byonna ebiri ku lukalala olwo buli lw’aba agenda okusimbula ennyonyi.

2. Lwaki Abakristaayo basaanidde okwekebera buli kiseera?

2 Ng’omuvuzi w’ennyonyi bw’abaako ebintu by’alina okukebera, naawe olina ebintu by’osaanidde okukebera okusobola okukakasa nti okukkiriza kwo kunywevu. K’obe nga waakabatizibwa oba ng’omaze emyaka mingi ng’oweereza Yakuwa, bulijjo weetaaga okwekebera olabe obanga okukkiriza kwo kukyali kunywevu. Singa teweekebera bulijjo, oyinza okwesanga ng’enkolagana yo ne Katonda efudde. Bayibuli egamba nti: “Alowooza nti ayimiridde yeegendereze aleme okugwa.”​—1 Kol. 10:12.

3. Kiki Abakristaayo abaali mu Ggalatiya kye baalina okukola?

3 Abakristaayo abaali mu Ggalatiya baalina okwekebera okusobola okukakasa nti okukkiriza kwabwe kunywevu. Ssaddaaka ya Yesu yasobozesa abo abaamukkiririzaamu okumanya Katonda mu ngeri ey’enjawulo. Baali basobola okufuuka abaana ba Katonda! (Bag. 4:9) Okusobola okusigala nga basiimibwa mu maaso ga Katonda, Abaggalatiya baalina okwewala enjigiriza z’abo abaali bagamba nti omuntu okusobola okuba omutuukirivu yalina okuba ng’akwata Amateeka ga Musa. Katonda yali takyasinziira ku Mateeka ga Musa okusiima omuntu, era n’Ab’amawanga abataali bakomole abaali mu kibiina, baali tebabangako wansi w’Amateeka! Abayudaaya n’Ab’amawanga bonna baali beetaaga okukulaakulana mu by’omwoyo. Baalina okukitegeera nti Katonda yali takyetaagisa bantu kukwata Mateeka ga Musa.

EMITENDERA EGISOOKERWAKO OMUNTU GY’AYITAMU OKUMANYA KATONDA

4, 5. Kiki Pawulo kye yagamba Abaggalatiya, era lwaki ebyo bye yabagamba bikulu nnyo gye tuli leero?

4 Ebbaluwa Yakuwa gye yaluŋŋamya omutume Pawulo okuwandiikira Abaggalatiya yalina ekigendererwa kino: okuyamba Abakristaayo bonna okukiraba nti tebasaanidde kuva ku mazima agali mu Bayibuli ne baddira ebintu bye baaleka emabega. Ebyo ebiri mu bbaluwa eyo ffenna bisobola okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa.

5 Ffenna twetaaga okujjukira engeri gye twava mu kizikiza eky’eby’omwoyo ne tufuuka Abajulirwa ba Yakuwa. Ekyo okusobola okukikola, lowooza ku bibuuzo bino ebibiri: Mitendera ki gye wayitamu okusobola okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa? Ojjukira engeri gye waggyamu okumanya Katonda n’engeri Katonda gye yaggyamu okukumanya, bw’otyo n’ofuna eddembe eriva gy’ali?

6. Bintu ki bye tugenda okwetegereza?

6 Waliwo emitendera mwenda gye twayitamu okusobola okuyiga amazima. Emitendera egyo giragiddwa mu kasanduuko akalina omutwe “Emitendera Omuntu gy’Ayitamu Okutuuka ku Kubatizibwa n’Okweyongera Okukulaakulana.” Okwejjukanyanga emitendera egyo buli kiseera kijja kutuyamba okuba abamalirivu obutaddira bintu by’ensi bye twaleka emabega. Ng’omuvuzi w’ennyonyi bw’abaako ebintu by’akebera nga tannaba kusimbula nnyonyi, naffe tusaanidde okwejjukanyanga emitendera egyo omwenda.

ABO ABAMANYI KATONDA BEEYONGERA OKUKULAAKULANA MU BY’OMWOYO

7. Kyakulabirako ki kye tusaanidde okugoberera, era lwaki?

7 Ng’omuvuzi w’ennyonyi bw’abaako ebintu by’akebera buli lw’aba agenda okusimbula ennyonyi, naffe tusaanidde okwekebera bulijjo okulaba wa we tutuuse mu kukulaakulana mu by’omwoyo. Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Nywereranga ku kyokulabirako ky’ebigambo eby’obulamu bye wawulira okuva gye ndi. Binywerereko ng’olina okukkiriza n’okwagala ebiri mu Kristo Yesu.” (2 Tim. 1:13) “Ebigambo eby’obulamu” bisangibwa mu Kigambo kya Katonda. (1 Tim. 6:3) Ng’ekifaananyi omuntu ky’aba akubye bwe kituyamba okumanya ekintu ky’aba akubye bwe kifaanana, “ebigambo eby’obulamu” bituyamba okumanya ebyo Katonda by’ayagala. Kati ka tulabe emitendera gye twayitamu okusobola okutuuka ku ddala ery’okubatizibwa era tulabe obanga tugoberera ekyokulabirako eky’ebigambo eby’obulamu.

8, 9. (a) Lwaki tusaanidde okwongera okuyiga ebikwata ku Katonda n’okwongera okunyweza okukkiriza kwaffe? (b) Lwaki tusaanidde okweyongera okukula mu by’omwoyo? Waayo ekyokulabirako.

8 Okusookera ddala twayiga ebikwata ku Yakuwa. Ekyo kyatuyamba okuba n’okukkiriza. Kyokka tulina okwongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okwongera okunyweza okukkiriza kwaffe. (2 Bas. 1:3) Omuntu ne bw’amala okubatizibwa, aba akyetaaga okwongera okukula mu by’omwoyo, kubanga bw’atakola atyo, ayinza okuziŋŋama mu by’omwoyo.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Ng’omuti bwe gweyongera okukula, n’Omukristaayo asaanidde okweyongera okukula mu by’omwoyo

9 Engeri gye tukulaakulanamu mu by’omwoyo eyinza okugeraageranyizibwa ku ngeri omuti gye gukulamu. Omuti gusobola okukula ne gugejja, naddala singa guba n’emirandira egiba giyingiridde ddala mu ttaka. Ng’ekyokulabirako, egimu ku mivule eminene egiri mu Lebanooni girina obuwanvu bwa ffuuti nga 120 era bw’oba ow’okusiba enduli y’ogumu ku mivule egyo oba weetaaga omuguwa gwa ffuuti nga 40. (Zab. 92:12) Omuvule bwe guba gukyali muto, gukulira ku sipiidi era kiba kyangu okukiraba nti gukula. Naye bwe gugenda gweyongera okukula, ekiseera kituuka ne kiba nga si kyangu kukiraba nti gukula. Buli mwaka ogugenda guyitawo, enduli yaagwo yeeyongera okugejja era n’emirandira gyagwo gyeyongera okuyingira mu ttaka, ekyo ne kiyamba omuti ogwo okwongera okunywera. Bwe kityo bwe kiri ne bwe kituuka ku kukulaakulana mu by’omwoyo. Bwe tuba twakatandika okuyiga Bayibuli, tuyinza okukulaakulana ku sipiidi okutuusa lwe tubatizibwa. Abo abali mu kibiina kyangu okukiraba nti tukulaakulana. Tuyinza n’okutandika okuweereza nga bapayoniya oba tuyinza okufuna enkizo endala mu kibiina. Kyokka ekiseera bwe kigenda kiyitawo, kiyinza obutaba kyangu balala kukiraba nti tukulaakulana. Wadde kiri kityo, ffenna twetaaga okwongera okukula mu kukkiriza ne mu kumanya “ne tufuuka ng’omuntu omukulu, ne tutuuka ku kigera eky’obukulu bwa Kristo.” (Bef. 4:13) Bwe tukulaakulana mu by’omwoyo, tuba ng’akasigo akatono akamera ne kavaamu omuti omunene ennyo.

10. Lwaki n’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo beetaaga okweyongera okukula mu by’omwoyo?

10 Ffenna tusaanidde okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Ebintu bye tumanyi ebikwata ku Yakuwa awamu n’okukkiriza kwaffe biringa emirandira egitunyweza ne tutasagaasagana. Eyo ye nsonga lwaki bulijjo tulina okwongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okwongera okunyweza okukkiriza kwaffe. (Nge. 12:3) Mu kibiina Ekikristaayo mulimu baganda baffe ne bannyinaffe bangi abafubye okukola bwe batyo. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu amaze emyaka nga 30 ng’aweereza ng’omukadde agamba nti akyeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Agamba nti: “Nneeyongedde okwagala Bayibuli. Nkizudde nti waliwo engeri nnyingi emisingi egiri mu Bayibuli gye giyinza okuyambamu omuntu okusalawo obulungi. Era nneeyongedde okwagala omulimu gw’okubuulira.”

NYWEZA ENKOLAGANA YO NE KATONDA

11. Kiki ekinaatuyamba okweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa?

11 Bwe tuba ab’okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo, tulina okwongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa, Kitaffe era Mukwano gwaffe. Yakuwa ayagala tukimanye nti atwagala nnyo era nti atufaako. Ayagala tuwulire ng’omwana bw’awulira ng’ali ne muzadde we amwagala ennyo oba tuwulire nga bwe tuwulira nga tuli ne mukwano gwaffe ow’oku lusegere. Kya lwatu nti omuntu okusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa kitwala ekiseera era kyetaagisa okufuba. N’olwekyo, fuba okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku. Era fuba okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! ezifuluma buli mwezi awamu n’ebitabo ebirala ebikubibwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi.

12. Kiki kye twetaaga okukola okusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?

12 Ebintu ebirala ebisobola okutuyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa kwe kusaba n’okubeerangawo mu nkuŋŋaana. (Soma Malaki 3:16.) Abo abaagala Yakuwa bwe bamusaba, awulira “okwegayirira kwabwe.” (1 Peet. 3:12) Bwe twegayirira Yakuwa okutuyamba, awulira okusaba kwaffe. N’olwekyo, twetaaga ‘okunyiikirira okusaba.’ (Bar. 12:12) Tetusobola kweyongera kukulaakulana mu by’omwoyo Katonda bw’aba nga tatuyambye. Ffenna twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi bye tutasobola okugumira oba kuvvuunuka mu maanyi gaffe. Singa tulekera awo okusaba Katonda, tetujja kufuna maanyi ge twetaaga okusobola okugumira ebizibu. Bw’olowooza ku ssaala zo, owulira ng’olina we weetaaga okulongoosaamu?​—Yer. 16:19.

13. Okubangawo mu nkuŋŋaana obutayosa kiyinza kitya okutuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo?

13 Twetaaga okukuŋŋaananga awamu n’abo abaagala Yakuwa. Yakuwa ayagala nnyo “abo abamwesiga.” (Nak. 1:7) Okuva bwe kiri nti ensi mwetuli mulimu ebintu bingi ebiyinza okutumala amaanyi, twetaaga okukuŋŋaana awamu ne baganda baffe ne bannyinaffe. Lwaki ekyo kikulu nnyo? Kubanga mu kibiina mulimu abantu abajja okutukubiriza “okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi.” (Beb. 10:24, 25) Tetusobola kukolera ku bigamba ebyo Pawulo bye yawandiikira Abebbulaniya okuggyako nga tukuŋŋaana wamu ne bakkiriza bannaffe. N’olwekyo, fuba okubeerangawo mu nkuŋŋaana obutayosa era fuba okuzenyigiramu.

14. Lwaki bulijjo tusaanidde okuba abeetegefu okwenenya n’okukyuka?

14 Okusobola okufuuka Abakristaayo, kyali kitwetaagisa okwenenya n’okukyuka, oba okuleka amakubo gaffe amabi. Naye olw’okuba ffenna tetutuukiridde era nga tulina obunafu obutali bumu oluusi tukola ensobi, ne kiba nga kitwetaagisa okwenenya. (Bar. 3:9, 10; 6:12-14) N’olwekyo, tetulina kwerimbalimba nti tetulina bunafu bwonna. Kyokka kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa atugumiikiriza nga tulwanyisa obunafu bwaffe era nga tufuba okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. (Baf. 2:12; 2 Peet. 3:9) Kozesa ebiseera byo n’amaanyi go okuweereza Yakuwa mu kifo ky’okubikozesa okwenoonyeza ebibyo ku bubwo. Mwannyinaffe omu yagamba nti: “Wadde nga nnakulira mu mazima, endowooza gye nnalina ku Yakuwa yali ya njawulo ku y’abalala. Nnali mmutya nnyo era nga ndowooza nti sisobola kumusanyusa.” Mwannyinaffe oyo yali awulira nti talina nkolagana ya ku lusegere ne Yakuwa era yakola ensobi nnyingi. Yagattako nti: “Yakuwa nnali mwagala, naye nnali simumanyi bulungi. Oluvannyuma lw’okusaba ennyo, nnatandika okukyuka. Okufaananako omuzadde ayamba omwana we omuto, Yakuwa yannyamba okugenda nga nkola enkyukakyuka ezeetaagisa.”

15. Kiki Yesu ne Kitaawe kye bamanyi?

15 Peetero n’abatume abalala bwe baali baakasumululwa mu kkomera mu ngeri ey’ekyamagero, malayika wa Katonda yabagamba ‘okweyongere okubuulira abantu’ amawulire amalungi. (Bik. 5:19-21) Okubuulira buli wiiki kye kimu ku bintu bye tulina okukola okusobola okunyweza okukkiriza kwaffe. Yesu ne Kitaawe bamanyi okukkiriza kwe tulina era n’ebyo bye tukola mu buweereza bwaffe. (Kub. 2:19) Omukadde eyayogeddwako waggulu yagamba nti: “Okubuulira kusaanidde okuba ekitundu ky’obulamu bwaffe.”

16. Lwaki tusaanidde bulijjo okufumiitiriza ku bweyamo bwe twakola nga twewaayo eri Yakuwa?

16 Lowooza ku bweyamo bwe wakola nga weewaayo eri Yakuwa. Enkolagana gye tulina ne Yakuwa kye kintu ekisingayo okuba eky’omuwendo kye tulina. Yakuwa amanyi abantu be. (Soma Isaaya 44:5.) Tokkiriza kintu kyonna kwonoona nkolagana yo ne Yakuwa era saba Yakuwa akuyambe okukuuma enkolagana eyo. Ate era teweerabiranga lunaku lwe wabatizibwa. Ku olwo wakiraga nti wali weewaddeyo eri Yakuwa. Bwe wasalawo okubatizibwa, wasalawo okukola ekintu ekisingayo obulungi.

WEETAAGA OKUBA OMUGUMIIKIRIZA

17. Okuba abagumiikiriza kinaatuyamba kitya okusigala nga tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa?

17 Bwe yali awandiikira Abaggalatiya, Pawulo yakiraga nti baali beetaaga okuba abagumiikiriza. (Bag. 6:9) N’Abakristaayo leero beetaaga okuba abagumiikiriza. Ojja kufuna ebizibu bingi, naye Yakuwa ajja kukuyamba. Weeyongere okusaba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu. Yakuwa ajja kukuyamba okufuna essanyu n’emirembe wadde ng’ebizibu ebimu biyinza obutavaawo. (Mat. 7:7-11) Lowooza ku kino: Bwe kiba nti Yakuwa afaayo ku binyonyi, olowooza takufeeko nnyo ggwe amwagala era eyeewaayo gy’ali? (Mat. 10:29-31) K’ofune bizibu bya ngeri ki, tolekuliranga, tovanga mu mazima. Abo bonna Yakuwa b’amanyi ajja kubawa emikisa mingi.

18. Okuva lw’omaze ‘okumanya Katonda,’ kiki ky’omaliridde okukola?

18 K’obe nga waakabatizibwa oba nga wabatizibwa emyaka mingi emabega, kiki ky’osaanidde okukola? Weeyongere okumanya Yakuwa era weeyongere okukulaakulana mu by’omwoyo. Weewale okulowooza nti kati omanyi nnyo Katonda era nti teweetaaga kwongera kunyweza nkolagana yo naye. Bulijjo wejjukanyenga ebintu bye tulabye mu kitundu kino kikuyambe okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa, Kitaffe ow’okwagala, Mukwano gwaffe, era Katonda waffe.​—Soma 2 Abakkolinso 13:5, 6.

EMITENDERA OMUNTU GY’AYITAMU OKUTUUKA KU KUBATIZIBWA N’OKWEYONGERA OKUKULAAKULANA

  1. Omuntu asooka kuyiga ebikwata ku Yakuwa n’Omwana we, Yesu Kristo.​—Yok. 17:3

  2. Bwe yeeyongera okuyiga ebikwata ku Katonda okukkiriza kwe kweyongera okunywera.​—Yok. 3:16

  3. Atandika okusaba Yakuwa obutayosa.​—Bik. 2:21

  4. Atandika okukuŋŋaana awamu n’abaweereza ba Yakuwa obutayosa.​—Beb. 10:24, 25

  5. Yeenenya ebibi bye.​—Bik. 17:30

  6. Akyuka n’alekayo amakubo ge amabi.​—Bik. 3:19

  7. Okukkiriza kwe kumukubiriza okutandika okubuulira.​—2 Kol. 4:13

  8. Yeewaayo eri Yakuwa asobole okugoberera Yesu.​—1 Peet. 4:2

  9. Abatizibwa mu mazzi.​—1 Peet. 3:21

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share