EBIBUUZO EBIVA MU BASOMI
Abaisiraeri battanga abamenyi b’amateeka nga babawanika ku muti?
Mu biseera by’edda, amawanga mangi gattanga abamenyi b’amateeka abamu nga babawanika ku muti oba ku mpagi. Abaruumi baasibanga oba baakomereranga omumenyi w’amateeka ku muti, era ayinza okuba nga yamalangako ennaku eziwerako okutuusa enjala, ennyonta, oba obulumi lwe byamuttanga. Abaruumi baakitwalanga nti okukomerera omuntu ku muti kyali kibonerezo kya buswavu era baakiwanga abamenyi b’amateeka abaabanga bakoze ebibi eby’amaanyi ennyo.
Ate kyali kitya mu ggwanga lya Isiraeri? Abaisiraeri battanga abamenyi b’amateeka nga babawanika ku muti? Amateeka ga Musa gaali gagamba nti: “Omuntu bw’aba ng’akoze ekibi ekisaanira okumussa, ne bamutta, n’omuwanika ku muti; omulambo gwe tegusulanga ku muti, naye tolemanga kumuziika ku lunaku olwo.” (Ma. 21:22, 23) N’olwekyo, mu Isiraeri ey’edda, omuntu eyabanga agwana okuttibwa, yasookanga kuttibwa oluvannyuma n’alyoka awanikibwa ku muti oba ku mpagi.
Eby’Abaleevi 20:2 wagamba nti: “Bwe wanaabangawo omuntu yenna ku baana ba Isiraeri, oba ku bagenyi abatuula mu Isiraeri, anaawangayo ku zzadde lye eri Moleki: talemanga kuttibwa: abantu ab’omu nsi banaamukubanga amayinja.” N’abantu ‘abaasamiranga oba abalogo’ nabo baalinanga okuttibwa. Naye battibwanga batya? Baalinanga ‘okukubibwa amayinja.’—Leev. 20:27.
Ekyamateeka 22:23, 24 wagamba nti: “Bwe wabangawo omuwala atamanyanga musajja ayogerezebwa omusajja, omusajja n’amusanga mu kibuga n’asula naye; bombi munaabafulumyanga eri wankaaki w’ekibuga ekyo, ne mubakuba amayinja n’okufa ne bafa; omuwala kubanga teyakuba nduulu, ng’ali mu kibuga; n’omusajja kubanga yatoowaza mukazi wa munne: bw’otyo bw’onoggyanga obubi wakati mu ggwe.” Bwe kityo, mu ggwanga lya Isiraeri, abantu abasinga obungi abaabanga bakoze ebibi eby’amaanyi baabattanga nga babakuba amayinja.a
Mu Isiraeri ey’edda, omuntu eyabanga agwana okuttibwa, yasookanga kuttibwa oluvannyuma n’alyoka awanikibwa ku muti oba ku mpagi
Ekyamateeka 21:23 wagamba nti ‘awanikibwa aba akolimiddwa Katonda.’ Okuwanika ku muti omulambo gw’omumenyi w’amateeka eyabanga “akolimiddwa Katonda” kyakolebwanga okusobola okutangira Abaisiraeri abalala okukola ekibi kye kimu ng’omuntu oyo kye yabanga akoze.
a Abayivu bangi bagamba nti okusinziira ku Mateeka ga Musa, omumenyi w’amateeka yasookanga kuttibwa omulambo gwe ne gulyoka guwanikibwa ku muti. Kyokka ebyafaayo biraga nti ekyasa ekyasooka we kyatuukira, Abayudaaya baali bakomerera abamenyi b’amateeka abamu ku muti nga bakyali balamu ne bafiira okwo.