SEMBEERERA KATONDA
Yakuwa “Tasosola”
Wali ososoddwako? Baali bakummyeko omulimu, obujanjabi, oba okuyisibwa obubi olwa langi yo oba olw’eggwanga lyo? Bwe kiba bwe kityo, si ggwe wekka gwe kyali kituuseeko. Naye waliwo amawulire amalungi: Wadde nga bangi basosola abalala, Katonda ye bw’atyo si bw’ali. Omutume Peetero yagamba nti “Katonda tasosola.”—Soma Ebikolwa 10:34, 35.
Ekyewuunyisa kiri nti Peetero yayogera ebigambo ebyo ng’ali mu maka g’Omunnagwanga ayitibwa Koluneeriyo. Peetero yali Muyudaaya, era mu kiseera ekyo Abayudaaya baali batwala Bannamawanga ng’abantu abatali balongoofu era nga tebakolagana nabo. Kati olwo lwaki Peetero yagenda mu maka ga Koluneeriyo? Kubanga Yakuwa Katonda ye yamutumayo. Peetero yali afunye okwolesebwa, era nga mu kwolesebwa okwo yagambibwa nti: “Ebintu Katonda by’alongoosezza lekera awo okubiyita ebitali birongoofu.” Olunaku lumu emabega, Koluneeriyo naye yali afunye okwolesebwa, malayika mwe yamugambira okutumya Peetero. (Ebikolwa 10:1-15) Peetero bwe yamanya nti Yakuwa ye yali ateeseteese ensisinkano eyo, yakwatibwako nnyo.
Peetero yagamba nti: “Mazima ddala ntegedde nti Katonda tasosola.” (Ebikolwa 10:34) Ng’annyonnyola amakulu g’ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okusosola,” omukugu omu yagamba nti: “Kikozesebwa ku mulamuzi asalira omuntu omusango ng’asinziira ku ngeri gy’aba amulabikiddemu, so si ku ngeri omusango gye gulina okusalibwamu.” Katonda tasosola bantu olwa langi yaabwe, eggwanga lyabwe, endabika yaabwe, oba olw’ensonga endala yonna.
Mu kifo ky’ekyo, Yakuwa atunuulira ekiri mu mitima gyaffe. (1 Samwiri. 16:7; Engero 21:2) Peetero yayongera n’agamba nti: “Mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola eby’obutuukirivu amukkiriza.” (Ebikolwa 10:35) Okutya Katonda kitegeeza okussaamu ekitiibwa n’okumwesiga, nga twewala okukola ekintu kyonna ekimunyiiza. Okukola eby’obutuukirivu kizingiramu okukola ekituufu mu maaso ga Katonda. Yakuwa ayagala nnyo abo abamutya era abaagala okukola ekituufu.—Ekyamateeka 10:12, 13.
Abantu bonna Yakuwa abatwala nga ba ggwanga limu
Bw’oba nga wali ososoddwako, waliwo ensonga ennungi lwaki osaanidde okufumiitiriza ku bigambo Peetero bye yayogera ku Katonda. Yakuwa ayamba abantu ab’amawanga gonna okwegatta ku kusinza okw’amazima. (Yokaana 6:44; Ebikolwa 17:26, 27) Awulira era n’addamu okusaba kw’abaweereza be ka babe ba langi ki oba ba ggwanga ki. (1 Bassekabaka 8:41-43) Mu butuufu, abantu bonna Yakuwa abatwala nga ba ggwanga limu. Ekyo tekyandikuleetedde kwagala kuyiga ebisingawo ebikwata ku Katonda ono atasosola?
Essuula za Bayibuli z’oyinza okusoma mu Jjuuni