EBYAFAAYO
Okugondera Yakuwa Kindeetedde Emikisa Mingi
Nkyajjukira ebigambo bino taata bye yatugamba: “Nuuwa yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Yagonderanga Yakuwa era yali ayagala nnyo ab’omu maka ge. Nuuwa n’ab’omu maka ge baayingira mu lyato era Amataba we gajja baawonawo.”
TAATA wange yali musajja mwetoowaze era nga mukozi nnyo. Olw’okuba yali ayagala nnyo obwenkanya, bwe yawulira amawulire amalungi mu mwaka gwa 1953, yagakkiririzaawo. Bwe yatandika okuyiga amazima, yakolanga kyonna ekisoboka okulaba nti atubuulira ku ebyo bye yali ayiga. Mu kusooka maama yali tayagala kuleka ddiini ye ey’Ekikatoliki. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, naye yatandika okuyiga Bayibuli.
Bazadde baffe tekyabanguyiranga kutuyigiriza, kubanga maama yali tamanyi kusoma na kuwandiika ate nga ye taata yali akola nnyo ng’amala ebiseera bingi mu nnimiro. Oluusi taata yakoowanga nnyo n’atuuka n’okusumagira ng’atusomesa. Naye okufuba kwe kwavaamu ebibala. Nze mwana eyali asinga obukulu awaka, era nnayambangako mu kuyigiriza muganda wange ne bannyinaze ababiri. Mu bintu bye nnabayigirizanga mwe mw’ali n’ebyo taata bye yatuyigirizanga ku Nuuwa. Taata yatugambanga nti Nuuwa yali ayagala nnyo ab’omu maka ge era nti yagonderanga Katonda. Nnanyumirwanga nnyo okusoma ku Nuuwa! Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, ffenna twatandika okugenda mu nkuŋŋaana mu kibiina ekiri mu kibuga Roseto degli Abruzzi ekya Itale, ekisangibwa ku lubalama lw’ennyanja Adriatic.
Mu 1955, nga ndi wa myaka 11, nze ne maama twagenda ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti mu Rooma. Olwo lwe lukuŋŋaana lwe twasooka okugendako. Okuva olwo, enkuŋŋaana ennene mbadde nzitwala ng’ekintu ekikulu ennyo.
Mu 1956, nnabatizibwa era oluvannyuma lw’ekiseera kitono nnayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Bwe nnali wa myaka 17 nnasindikibwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo mu kibuga Latina, ekyesudde mayiro 190 okuva awaka. Ekibuga ekyo kyali kikyali kipya, era abantu baamu baali baagala nnyo okuyiga Bayibuli. Nze ne payoniya munnange twagaba ebitabo bingi era ekyo kyatuleetera essanyu lingi. Naye olw’okuba nnali nkyali muto, oluusi nnawuliranga ekiwuubaalo olw’obutaba kumpi na b’ewaffe. Kyokka nnakijjukiranga nti Yakuwa yali ayagala mbeere eyo, era nnali njagala okumugondera.
Ku lunaku lwe twagattibwa
Oluvannyuma nnasindikibwa mu Milan okuyambako mu kuteekateeka olukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna olwaliwo mu 1963 olwalina omutwe, “Amawulire Amalungi ag’Emirembe n’Emirembe.” Ku lukuŋŋaana olwo nnakola nga nnakyewa awamu n’abalala omwali ne Paolo Piccioli, ow’oluganda omuto eyali ava mu Florence. Ku lunaku olw’okubiri olw’olukuŋŋaana olwo, Paolo yawa emboozi ennyuvu eyali ekwata ku kubeera obwannamunigina. Engeri gye yawaamu emboozi eyo, yandeetera okulowooza nti ow’oluganda oyo yali tajja kuwasa. Kyokka, twatandika okwewandiikira amabaluwa era nnakiraba nti twalina bingi bye tufaanaganya. Twalina ebiruubirirwa bye bimu, twali twagala nnyo Yakuwa, era nga twagala nnyo okumugondera. Twafumbiriganwa mu 1965.
ENSISINKANO N’ABAKULEMBEZE B’AMADIINI
Nnamala emyaka kkumi nga mpeereza nga payoniya owa bulijjo mu Florence. Kyatusanyusa nnyo okulaba engeri ebibiina gye byali bikulaakulanamu n’engeri abavubuka gye baali bakulaakulanamu. Nze ne Paolo twanyumirwanga nnyo okubeerako awamu n’abavubuka nga twogera ku bintu eby’omwoyo era twanyumirwanga nnyo okusanyukirako awamu nabo. Paolo yateranga okusamba nabo akapiira. Wadde nga nnali nnyumirwa nnyo okubeerako awamu n’omwami wange, nnakiraba nti abavubuka awamu n’ab’oluganda abalala mu kibiina nabo baali bamwetaaga.
Buli lwe tulowooza ku bantu be twayigiriza Bayibuli kituleetera essanyu lingi. Omu ku bo ye Adriana. Adriana alina abantu b’omu maka abiri be yabuulirako ku ebyo bye yali ayiga. Abantu abo baayita omukulembeze w’eddiini abatangaaze ku njigiriza egamba nti Katonda ali mu busatu n’eyo egamba nti waliwo ekiwonawo ng’omuntu afudde. Kyokka abakulembeze b’eddiini basatu balamba be bajja. Ebintu bye baali boogera byali tebikwatagana, era abayizi baffe aba Bayibuli baakiraba nti abakulembeze b’eddiini abo baali tebayigiriza mazima. Abantu 15 okuva mu maka ago kati Bajulirwa ba Yakuwa.
Engeri gye tubuuliramu kati eyawukanako ku ngeri gye twabuulirangamu edda. Edda, Paolo yakolanga enteekateeka okusisinkana abakulembeze b’amadiini n’akubaganya nabo ebirowoozo. Lumu yakubaganya nabo ebirowoozo nga waliwo n’abantu abalala abataali Bajulirwa. Abakulembeze b’eddiini abo baaliko abantu be baali bategese okubuuza Paolo ebibuuzo nga balina ekigendererwa eky’okumufeebya. Kyokka ebintu byabakyukira. Waliwo omuntu eyababuuza obanga ddala kituufu abakulembeze b’amadiini okwenyigira mu by’obufuzi, nga bwe baali bamaze ebbanga nga bakola. Baali tebalina kya kuddamu. Mu kiseera ekyo, amasannyalaze gaavaako, era olukuŋŋaana ne lukoma awo. Nga wayise ekiseera twakitegeerako nti abakulembeze b’eddiini abo baalina omuntu gwe baali bagambye okuggyako amasannyalaze singa ebintu biba tebitambudde nga bwe basuubira.
OBUWEEREZA OBULALA
Bwe twali twakamala emyaka kkumi mu bufumbo, Paolo yalondebwa okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu. Okuva bwe kiri Paolo yalina omulimu omulungi, tekyatwanguyira kukkiriza buweereza obwo. Naye oluvannyuma lw’okusaba n’okufumiitiriza ennyo, twasalawo okukkiriza obuweereza obwo. Twanyumirwanga nnyo okubeerako awamu n’ab’oluganda abaatusuzanga. Akawungeezi, twateranga okusomera awamu nabo Bayibuli, era oluvannyuma Paolo yayambangako abaana okukola ebintu abasomesa bye baabanga babawadde okukolera awaka, naddala bwe byabanga bikwatagana na kubala. Ate era Paolo yali ayagala nnyo okusoma, era yayagalanga nnyo okubuulirako abalala ebyo bye yabanga asomye. Ku Bbalaza, twateranga okugenda okubuulira mu bubuga omutaali Bajulirwa, nga tuyita abantu okujja okuwuliriza emboozi eyabanga etegekeddwa okubaawo akawungeezi.
Twanyumirwanga nnyo okubeerako awamu n’abavubuka, era Paolo yateranga okusamba nabo akapiira
Oluvannyuma lw’okumala emyaka ebiri nga tukyalira ebibiina, twayitibwa okugenda okuweereza ku Beseri mu Rooma. Paolo yali wa kukola mu kitongole ekikola ku by’amateeka, ate nze nnali wa kukola mu ekyo ekikola ku magazini. Tekyatwanguyira kukola nkyukakyuka ezo, naye twali bamalirivu okugondera Yakuwa. Twasanyuka nnyo okulaba nga ofiisi y’ettabi yeeyongera okugaziwa era nga n’ab’oluganda mu Itale beeyongera obungi. Mu kiseera ekyo, gavumenti ya Itale yatongoza omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa. Mu butuufu, okuweereza ku Beseri kyatuleetera essanyu lingi!
Paolo yayagalanga nnyo okuweereza ku Beseri
Mu myaka gya 1980, bwe twali tuweereza ku Beseri, waliwo omusango ogwawawaabirwa mwannyinaffe ne muganda waffe nga babalanga okutta omwana waabwe olw’okugaana okumuteekako omusaayi. Naye ekyo tekyali kituufu kubanga omwana waabwe yali afudde bulwadde obw’omu musaayi abantu bangi mu Itale ne mu nsi eziriraanyeewo bwe baalina. Ab’oluganda ku Beseri baakolera wamu ne bannamateeka abaakiikirira mwannyinaffe oyo ne muganda waffe oyo. Akapapula ne Awake! ey’enjawulo ebyafulumizibwa mu kiseera ekyo byayamba abantu okutegeera ekituufu ku nsonga eyo n’okumanya ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku musaayi. Omusango ogwo bwe gwali gugenda mu maaso, ebiseera ebisinga Paolo yakolanga okumala essaawa nga 16 nga tawummuddeemu. Nnakola kyonna kye nsobola okumuwagira ng’akola ku nsonga eyo enkulu ennyo.
ENKYUKAKYUKA ENDALA
Bwe twali twakamala emyaka 20 mu bufumbo, waliwo enkyukakyuka ey’amaanyi eyajjawo mu bulamu bwaffe. Nnagamba Paolo nti nnali ndowooza nti ndi lubuto. Mu kiseera ekyo nnalina emyaka 41 ate nga ye Paolo alina emyaka 49. Nga wayise ekiseera, nnalaba mu ddayale ya Paolo ebigambo bino bye yali awandiise ku lunaku olwo: “Essaala: Bwe kiba nga ddala kituufu, tuyambe okusigala mu buweereza obw’ekiseera kyonna, obutaddirira mu by’omwoyo, n’okuba abazadde abalungi. N’okusinga byonna, nnyamba okuteeka mu nkola waakiri ekitundu kimu ku buli kikumi ku bintu bye mbadde njogerera ku pulatifoomu okumala emyaka 30.” Okusinziira ku ebyo ebibaddewo, ndi mukakafu nti Yakuwa yaddamu okusaba kwe awamu n’okwange.
Oluvannyuma lw’okuzaala Ilaria waliwo ebintu bingi ebyakyuka mu bulamu bwaffe. Ebiseera ebimu twawuliranga nga tuweddemu amaanyi, ng’Engero 24:10 bwe wagamba: “Bw’ozirika ku lunaku olw’okulabirako obuyinike, amaanyi go nga matono.” Wadde kyali kityo, nze ne Paolo buli omu yazzangamu munne amaanyi.
Ilaria agamba nti musanyufu nnyo okuba nti yakuzibwa abazadde Abajulirwa ba Yakuwa era abaali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Era agamba nti yakula awulira ng’ayagalibwa era ng’afiibwako nnyo. Nnabeeranga ne Ilaria emisana, ate kitaawe bwe yakomangawo akawungeezi, yazannyangako naye era yamuyambangako ku bintu abasomesa bye baabanga bamuwadde okukolera awaka. Ebintu ebyo Paolo yabikolanga wadde ng’ebiseera ebimu byayingiriranga ebiseera mwe yabanga alina okukolera ebintu bye, ne kimuleetera okwebaka ku ssaawa munaana oba mwenda ez’ekiro. Ilaria yateranga okugamba nti, “Taata mukwano gwange nfiirabulago.”
Kya lwatu nti twalina okufuba ennyo okusobola okuyamba Ilaria okutambulira mu makubo ga Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, lumu bwe yali azannya ne mukwano gwe, Ilaria yeeyisa mu ngeri etaali nnungi. Twakozesa Bayibuli okumuyamba okukiraba nti yali talina kweyisa bw’atyo, era twamugamba okwetondera mukwano gwe nga naffe weetuli.
Ilaria agamba nti olw’okuba bazadde be baali baagala nnyo okubuulira, naye kyamuleetera okwagala ennyo okubuulira. Okuva bwe kiri nti kati mukyala mufumbo, ategeera bulungi ensonga lwaki kikulu nnyo okugondera Yakuwa n’okukolera ku bulagirizi bwe.
OKUBA OMUWULIZE NE MU BISEERA EBIZIBU ENNYO
Mu 2008, Paolo yakitegeera nti alina kkansa. Mu kusooka nnali ndowooza nti Paolo ajja kuwona, era yaŋŋumyanga nnyo. Ng’oggyeko okunoonya obujanjabi obusingayo obulungi, nze ne Ilaria twasaba nnyo Yakuwa atuyambe okugumira embeera eyo eyali enzibu ennyo. Kyannakuwaza nnyo okulaba omwami wange eyali omusajja ow’amaanyi ng’obulwadde bugenda bweyongera okumunafuya. Yafa mu 2010, era ekyo kyankuba wala nnyo. Kyokka bwe ndowooza ku bintu bye twakolera awamu mu myaka 45 gye twamala mu bufumbo, kinzizaamu nnyo amaanyi. Yakuwa twamuwa ekisingayo obulungi. Ndi mukakafu nti tasobola kwerabira birungi bye twamukolera. Nneesunga nnyo ekiseera ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 5:28, 29 lwe birituukirira ne nziramu okulaba ku Paolo.
Nga bwe nnali nga nkyali muto, ne leero nnyumirwa nnyo okusoma ebikwata ku Nuuwa era ndi mumalirivu okweyongera okugondera Yakuwa
Nga bwe nnali nga kyali muto, ne leero nnyumirwa nnyo okusoma ebikwata ku Nuuwa era ndi mumalirivu okweyongera okugondera Yakuwa. Nkirabye nti ebizibu byonna bye tufuna n’ebintu byonna bye twefiiriza bitono nnyo bw’obigeraageranya ku mikisa emingi Katonda waffe ow’okwagala gy’atuwa. Era nkirabye nti kikulu nnyo okugondera Yakuwa era nti bwe tukikola kivaamu emikisa mingi.