LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 7/1 lup. 7
  • Ddala Eriyo Eddiini Eyeesigika?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ddala Eriyo Eddiini Eyeesigika?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Similar Material
  • Obwesige Bwetaagisa Okusobola Okuba n’Obulamu obw’Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Lwaki Kikulu Okwekenneenya Amadiini?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Enkomerero Y’eddiini Ez’obulimba Eri Kumpi!
    Enkomerero Y’eddiini Ez’obulimba Eri Kumpi!
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 7/1 lup. 7

Ddala Eriyo Eddiini Eyeesigika?

Bwe wabaawo eddiini eyakuviirako okwetamwa amadiini, kiyinza okukuzibuwalira okwesiga eddiini endala yonna. Naye beera mukakafu nti waliwo eddiini eyeesigika. Yesu bwe yali ku nsi, yayigiriza abagoberezi be emitindo gya Katonda egy’empisa. Abagoberezi ba Kristo ab’amazima abakola Katonda by’ayagala ne leero weebali. Oyinza kubategeera otya?

Estelle, eyayogeddwako agamba nti: “Oluvannyuma Abajulirwa ba Yakuwa baatandika okunjigiriza Bayibuli. Mu kaseera katono ‘nnamanya amazima, era amazima ne ganfuula wa ddembe.’”​—Yokaana 8:32

Ray, nga naye yayogeddwako yagamba nti: “Abajulirwa ba Yakuwa bwe baatandika okunjigiriza Bayibuli, nnakitegeera nti Katonda si y’atuleetera okubonaabona. Ate era nnayiga nti Katonda alina ensonga ennungi lwaki akyaleseewo okubonaabona, era asuubiza nti anaatera okukuggyawo.”

Kyo kituufu nti kizibu okweyisa obulungi ng’abantu abasinga obungi beeyisa bubi. Naye kisoboka. Abantu bangi beetaaga okuyambibwa okutegeera Bayibuli n’okukolera ku ebyo by’eyigiriza. N’olw’ensonga eyo, Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna bayigiriza obukadde n’obukadde bw’abantu Bayibuli ku bwereere. Buli wiiki, abantu bangi bayigirizibwa Bayibuli, ekibayamba okufuna enkolagana ennungi n’Omutonzi waabwe n’okufuna essanyu erya nnamaddala.a

Buuza Abajulirwa ba Yakuwa ensonga kwe basinziira okwesiga eddiini yaabwe

Lw’onoddamu okusisinkana Abajulirwa ba Yakuwa, babuuze ensonga kwe basinziira okwesiga eddiini yaabwe. Weekenneenye ebyo bye bayigiriza era weetegereze engeri gye beeyisaamu. Oluvannyuma weesalirawo eddiini gy’osobola okwesiga.

a Okumanya ebisingawo, soma akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share