LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp16 Na. 4 lup. 16
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Abantu be baagunjaawo amadiini?
  • Kyetaagisa omuntu okuba n’eddiini?
  • Kyetaagisa Okubaako Eddiini gy’Olimu?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Okusinza Katonda kw’Asiima
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Kiki Ekinaatuuka ku Madiini?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
  • Engeri Amadiini ag’Obulimba Gye Galeeta Ekivume ku Katonda
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
wp16 Na. 4 lup. 16
Ab’omu maka batunuulidde amasinzizo ag’enjawulo

Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Abantu be baagunjaawo amadiini?

ABANTU ABAMU BAGAMBA NTI abantu be baagunjaawo amadiini; abalala bagamba nti Katonda akozesa amadiini okuyamba abantu okumanya ebimukwatako. Ggwe olowooza otya?

BAYIBULI KY’EGAMBA

Waliwo ‘eddiini ennongoofu era etaliiko bbala mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe.’ (Yakobo 1:27, obugambo obuli wansi) Eddiini ennongoofu, oba entuufu, eva eri Katonda.

EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI

  • Eddiini bw’eba ey’okusanyusa Katonda, by’eyigiriza birina okuba nga bikwatagana n’amazima agali mu Bayibuli.—Yokaana 4:23, 24.

  • Amadiini agayigiriza endowooza z’abantu tegalina mugaso.—Makko 7:7, 8.

Kyetaagisa omuntu okuba n’eddiini?

GGWE OLOWOOZA OTYA?

  • Yee

  • Nedda

  • Kisinziira

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu.” (Abebbulaniya 10:24, 25) Katonda ayagala abantu okukuŋŋaananga awamu bamusinze.

EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI

  • Abo abasinza Katonda mu mazima balina okuba nga bye bakkiriza bye bimu.—1 Abakkolinso 1:10, 11.

  • Abali mu ddiini entuufu baagalana ng’ab’oluganda.—1 Peetero 2:17.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 15 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola n’okukafuna ku www.pr418.com/lg

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share