LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp16 Na. 4 lup. 14-15
  • Geraageranya Bayibuli ky’Egamba n’Ebyo by’Okkiririzaamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Geraageranya Bayibuli ky’Egamba n’Ebyo by’Okkiririzaamu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENGERI GY’OYINZA OKUGERAAGERANYA BAYIBULI KY’EGAMBA N’EBYO BY’OKKIRIRIZAAMU
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Kiki Abajulirwa ba Yakuwa kye Bakkiriza?
    Kiki Abajulirwa ba Yakuwa kye Bakkiriza?
  • Yesu Kristo y’Ani?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
wp16 Na. 4 lup. 14-15

Geraageranya Bayibuli ky’Egamba n’Ebyo by’Okkiririzaamu

OLI Mukristaayo? Bwe kiba bwe kityo, oli omu ku bantu abasukka mu buwumbi bubiri mu nsi yonna abeeyita abagoberezi ba Kristo. Leero waliwo amadiini nkumi na nkumi agagamba nti gagoberera Kristo, kyokka amadiini ago tegali bumu era gayigiriza ebintu ebikontana. N’olwekyo, ebyo by’okkiririzaamu biyinza okuba eby’enjawulo ennyo ku by’abantu abalala abeeyita Abakristaayo. Naye kikulu okufaayo ku ebyo by’okkiririzaamu? Yee, kikulu nnyo bw’oba ng’oyagala okubeera Omukristaayo ow’amazima.

Abagoberezi ba Yesu Kristo abaasooka baayitibwanga ‘Bakristaayo.’ (Ebikolwa 11:26) Kyali tekyetaagisa kubayita mannya malala okusobola okubaawula, kubanga Abakristaayo tebaalimu biwayi bya njawulo. Abakristaayo bonna baali bassa kimu era bonna baagobereranga enjigiriza za Yesu Kristo, eyatandikawo Obukristaayo. Ate kiri kitya mu ddiini yo? Olowooza mu ddiini yo bayigiriza ebyo Kristo bye yayigiriza era abagoberezi ba Kristo abaasooka bye baali bakkiririzaamu? Oyinza otya okukakasa obanga ebiyigirizibwa mu ddiini yo bituufu? Engeri yokka gy’oyinza okukikolamu kwe kukozesa Bayibuli nga minzaani.

Lowooza ku kino: Yesu Kristo yali assa nnyo ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda, Bayibuli. Yanenya abo abaali bayigiriza obulombolombo bw’abantu mu kifo ky’okuyigiriza ebyo ebiri mu Bayibuli. (Makko 7:9-13) N’olwekyo, abagoberezi ba Yesu ab’amazima bayigiriza ebyo byokka ebiri mu Bayibuli. Buli Mukristaayo asaanidde okwebuuza nti, ‘Ebiyigirizibwa mu ddiini yange bikwatagana n’ebyo ebiri mu Bayibuli?’ Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, geraageranya ebyo ebiyigirizibwa mu ddiini yo n’ebyo Bayibuli by’eyigiriza.

Yesu yagamba nti tulina okusinza Katonda mu mazima; amazima gasangibwa mu Bayibuli. (Yokaana 4:24; 17:17) Ate ye omutume Pawulo yagamba nti bwe tuba ab’okulokolebwa, tulina ‘okutegeerera ddala amazima.’ (1 Timoseewo 2:4) N’olwekyo, kikulu nnyo okuba nti ebyo bye tukkiririzaamu bikwatagana n’amazima agali mu Bayibuli; bwe kitaba kityo, tetujja kulokolebwa.

ENGERI GY’OYINZA OKUGERAAGERANYA BAYIBULI KY’EGAMBA N’EBYO BY’OKKIRIRIZAAMU

Tukusaba osome ebibuuzo omukaaga ebiri wammanga era weetegereze engeri Bayibuli gy’ebiddamu. Soma ebyawandiikibwa ebiragiddwa era ofumiitirize ku by’okuddamu ebiweereddwa. Oluvannyuma weebuuze nti, ‘Ebiyigirizibwa mu ddiini yange bikwatagana n’ekyo Bayibuli ky’egamba?’

Ebibuuzo ebyo n’eby’okuddamu ebiweereddwa bijja kukuyamba okugeraageranya obulungi. Wandyagadde okugeraageranya enjigiriza endala ez’eddiini yo n’ekyo Bayibuli ky’egamba? Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu nnyo okukuyamba okumanya amazima agali mu Bayibuli. Basabe bakuyigirize Bayibuli ku bwereere, oba genda ku mukutu gwaffe jw.org/lg.

EKIBUUZO 1: Katonda y’ani?

EKY’OKUDDAMU: Yakuwa, Kitaawe wa Yesu, ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, era ye yatonda ebintu byonna.

BAYIBULI KY’EGAMBA:

“Bulijjo twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, nga tubasabira.”—Abakkolosaayi 1:3.

“Yakuwa, Katonda waffe ow’amaanyi, ogwanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo, kubanga watonda ebintu byonna, era olw’okusiima kwo byabaawo era byatondebwa.”—Okubikkulirwa 4:11.

Soma ne Abaruumi 10:13; 1 Timoseewo 1:17.

EKIBUUZO 2: Yesu Kristo y’ani?

EKY’OKUDDAMU: Yesu ye Mwana wa Katonda omubereberye. Yesu yatondebwa butondebwa. Katonda asinga Yesu obuyinza era Yesu amugondera.

BAYIBULI KY’EGAMBA:

“Kitange ansinga obuyinza.”—Yokaana 14:28.

“[Yesu] kye kifaananyi kya Katonda atalabika, omubereberye w’ebitonde byonna.”—Abakkolosaayi 1:15.

Soma ne Matayo 26:39; 1 Abakkolinso 15:28.

EKIBUUZO 3: Omwoyo omutukuvu kye ki?

EKY’OKUDDAMU: Omwoyo omutukuvu ge maanyi Katonda g’akozesa okutuukiriza ebigendererwa bye. Omwoyo omutukuvu si muntu. Abantu basobola okujjuzibwa omwoyo omutukuvu era n’okufuna amaanyi ag’omwoyo omutukuvu.

BAYIBULI KY’EGAMBA:

“Erizabeesi bwe yawulira okulamusa kwa Maliyamu, omwana eyali mu lubuto lwe n’abuukabuuka, era Erizabeesi n’ajjuzibwa omwoyo omutukuvu.”—Lukka 1:41.

“Mujja kufuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gunaabakkako.”—Ebikolwa 1:8.

Soma ne Olubereberye 1:2; Ebikolwa 2:1-4; 10:38.

EKIBUUZO 4: Obwakabaka bwa Katonda kye ki?

EKY’OKUDDAMU: Obwakabaka bwa Katonda ye gavumenti ey’omu ggulu. Yesu ye Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Obwakabaka obwo bunaatera okuleetera Katonda by’ayagala okukolebwa mu nsi yonna.

BAYIBULI KY’EGAMBA:

“Malayika ow’omusanvu n’afuuwa ekkondeere lye. Ne wabaawo amaloboozi ag’omwanguka mu ggulu nga gagamba nti: ‘Obwakabaka bw’ensi bufuuse Bwakabaka bwa Mukama waffe era bwa Kristo we, era ajja kufuga nga kabaka emirembe n’emirembe.’”—Okubikkulirwa 11:15.

Soma ne Danyeri 2:44; Matayo 6:9, 10.

EKIBUUZO 5: Abantu bonna abalungi bagenda mu ggulu?

EKY’OKUDDAMU: Nedda. Omuwendo gw’abantu abagenda mu ggulu mugereke, era bayitibwa “ekisibo ekitono.” Abo bajja kufuga ensi nga bali wamu ne Yesu.

BAYIBULI KY’EGAMBA:

“Temutya mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asazeewo okubawa Obwakabaka.”—Lukka 12:32.

“Baliba bakabona ba Katonda era ba Kristo, era balifugira wamu naye nga bakabaka.”—Okubikkulirwa 20:6.

Soma ne Okubikkulirwa 14:1, 3.

EKIBUUZO 6: Katonda alina kigendererwa ki eri abantu n’ensi?

EKY’OKUDDAMU: Ensi bw’eriba efugibwa Obwakabaka bwa Katonda, ejja kuba erabika bulungi nnyo era abantu abawulize bajja kuba balamu bulungi, bajja kuba mu mirembe, era bajja kufuna obulamu obutaggwaawo.

BAYIBULI KY’EGAMBA:

“Abawombeefu balisikira ensi, era baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.”—Zabbuli 37:10, 11.

“Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”—Okubikkulirwa 21:3, 4.

Soma ne Zabbuli 37:29; 2 Peetero 3:13.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share