LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 90
  • Kyetaagisa Okubaako Eddiini gy’Olimu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kyetaagisa Okubaako Eddiini gy’Olimu?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli ky’egamba
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Okusinza Katonda kw’Asiima
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 90
Abantu nga bakuŋŋaanye wamu okusinza Katonda

Kyetaagisa Okubaako Eddiini gy’Olimu?

Bayibuli ky’egamba

Yee, kubanga Katonda ayagala abantu bakuŋŋaane wamu okumusinza. Bayibuli egamba nti: “Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu.”​—Abebbulaniya 10:24, 25, obugambo obuli wansi.

Yesu yalaga nti abagoberezi be bandibadde bategekeddwa bulungi ng’ekibiina, bwe yagamba nti: “Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange–bwe munaayagalananga.” (Yokaana 13:35) Engeri enkulu abagoberezi ba Yesu gye bandibadde balagaŋŋanamu okwagala okwo, kwe kukuŋŋaananga awamu ne bakkiriza bannaabwe. Bandibadde bategekeddwa mu bibiina, era nga bakuŋŋaana wamu obutayosa okusinza Katonda. (1 Abakkolinso 16:19) Bonna mu nsi bandibadde bumu ng’ab’oluganda.​—1 Peetero 2:17.

Okubeera obubeezi n’eddiini tekimala

Wadde nga Bayibuli eraga nti abantu balina okukuŋŋaananga awamu okusinza Katonda, naye era eyigiriza nti omuntu okubaako eddiini gy’alimu ku bwakyo tekimala kusanyusa Katonda. Eddiini y’omuntu okusobola okusanyusa Katonda erina okuba ng’emuyamba okweyisa obulungi buli lunaku. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti: “Eddiini ennongoofu era eteriiko bbala mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe y’eno: okulabirira bamulekwa ne bannamwandu mu nnaku yaabwe, n’okwekuuma obutaba na mabala ga nsi.”​—Yakobo 1:27, obugambo obuli wansi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share