Yakuwa ‘Ansitulira Omugugu Gwange Buli Lunaku’
Wadde nga nnina obulwadde obw’amaanyi, Kitaffe ow’omu ggulu annyambye nnyo. Kati mazze emyaka egisukka mu 20 nga mpeereza nga payoniya, era ekyo kindeetedde essanyu lingi.
Nnazaalibwa mu 1956, era nnazaalibwa nnina ekizibu ku nkizi, ekintu ekyakosa ennyo obusimu bwange obw’omubiri. Ekyo kyandeetera okuba nga sisobola kutambula bulungi era ne kindeetera n’obulwadde obulala obw’amaanyi.
Bazadde bange baatandika okuyiga Bayibuli n’abaminsani Abajulirwa ba Yakuwa nga sinnazaalibwa. Nnakulira mu kibuga Usakos ekya Namibia. Mu kiseera ekyo waaliyo Abajulirwa batono nnyo. Bwe kityo ebintu ebyalinanga okusomebwa mu nkuŋŋaana twabisomeranga waka. Bwe nnali wa myaka musanvu, abasawo bannongoosa ne bampummulamu ekituli nsobole okufulumya omusulo. Bwe nnali wa myaka 14, nnalwala obulwadde bw’ensimbu. Okuva bwe kiri nti essomero lya siniya mwe nnali nnyinza okusomera lyali wala nnyo okuva awaka, ate nga nnali nneetaaga bazadde bange okundabirira buli kiseera, saamalako misomo gyange.
Wadde kyali kityo, nnafuba okunyweza enkolagana yange ne Yakuwa. Mu kiseera ekyo ebitabo byaffe ebisinga obungi tebyali mu Afrikaans, olulimi lwange. Bwe kityo, nnatandika okuyiga okusoma Olungereza nsobole okusoma ebitabo byaffe byonna. Bwe nnali wa myaka 19, nnafuuka omubuulizi era ne mbatizibwa. Mu myaka ena egyaddirira, nnatawaanyizibwa nnyo obulwadde era ne mpulira nga nnennyamidde. Ate era, olw’okuba mu kitundu gye twali tubeera abantu baali bammanyi nnyo, okutya abantu kwannemesa okubuulira n’obunyiikivu.
Bwe nnali sinnaweza myaka 25, twava e Namibia ne tugenda okubeera mu South Africa, era twatandika okukuŋŋaana awamu n’ekibiina. Nnasanyuka nnyo okutandika okukuŋŋaana awamu n’ekibiina! Kyokka, nnaddamu okulongoosebwa. Ku mulundi guno abasawo bampummula ekituli eky’okufulumizaamu obubi.
Lumu omulabirizi w’ekitundu bwe yakyalira ekibiina kyaffe, yatukubiriza okulowooza ku ky’okuweereza nga bapayoniya. Bye yayogera byankwatako nnyo. Nnali nkimanyi nti engeri gye nnina obulwadde obw’amaanyi, tekyandinnyanguyidde kuweereza nga payoniya. Naye olw’okuba nnali ndabye engeri Yakuwa gye yali annyambyemu mu biseera ebizibu, nnasalawo okujjuza foomu esaba okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Kyokka, olw’okuba abakadde baali bamanyi embeera y’obulamu bwange, baasooka kugaana okunzikiriza.
Wadde kyali kityo, nnafuba okwongera ku biseera bye nnali mmala nga mbuulira. Maama awamu n’ab’oluganda abalala bannyamba nnyo ne nsobola okubuulira essaawa ng’eza bapayoniya okumala emyezi mukaaga. Ekyo kyalaga nti nnali mmaliridde okuweereza nga payoniya era nti obulwadde bwange bwali tebusobola kunnemesa. Nnaddamu okujjuza foomu esaba okuweereza nga payoniya, era ku luno abakadde banzikiriza. Nga Ssebutemba 1, 1988, nnatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo.
Yakuwa annyambye nnyo nga mpeereza nga payoniya. Okumala ebiseera bingi nga njigiriza abantu amazima, kinnyambye obutamalira birowoozo byange ku bulwadde bwange era kinnyambye okukulaakulana mu by’omwoyo. Ndi musanyufu nnyo okuba nti nsobodde okuyamba abantu bangi okukulaakulana ne beewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa.
Nkyatawaanyizibwa obulwadde. Naye Yakuwa ‘ansitulira omugugu gwange buli lunaku.’ (Zab. 68:19) Ng’oggyeko okunnyamba okugumira obulwadde bwange, Yakuwa annyambye okufuna essanyu!