‘Tonyiigiranga Yakuwa’
“Obusirusiru bw’omuntu bwe buvuunika ekkubo lye; n’omutima gwe gunyiigira Mukama.”—NGE. 19:3.
1, 2. Lwaki tetusaanidde kunenya Yakuwa olw’ebizibu ebiri mu nsi? Waayo ekyokulabirako.
LOWOOZA ku musajja amaze emyaka mingi mu bufumbo era nga ye ne mukyala we bakolagana bulungi. Lumu akomawo awaka n’asanga ng’ebintu eby’omu nnyumba ye byonna byonooneddwa. Emmeeza n’entebe bimenyesemenyese era amasowaani n’ebikoppa byatiseyatise. Olowooza ayinza okugamba nti mukyala we y’akoze ekintu ekyo? Nedda. Lwaki? Kubanga aba akimanyi nti mukyala we omwagalwa tayinza kwonoona bintu byabwe.
2 Leero, ensi eyonooneddwa nnyo, era ejjudde ettemu n’ebikolwa eby’obugwenyufu. Bayibuli etuyambye okukitegeera nti Yakuwa si y’aleeta ebizibu ebiri mu nsi. Yatonda ensi eno ng’ayagala ebeere olusuku olulabika obulungi ennyo. (Lub. 2:8, 15) Yakuwa ye Katonda ow’okwagala. (1 Yok. 4:8) Ebyawandiikibwa biraga nti Sitaani Omulyolyomi ye ‘mufuzi w’ensi’ eno era nti ye nsibuko y’ebizibu ebisinga obungi ebiri mu nsi leero.—Yok. 14:30; 2 Kol. 4:4.
3. Bwe tufuna ebizibu, ndowooza ki enkyamu gye tuyinza okufuna?
3 Kyokka, tetusobola kunenya Sitaani olw’ebizibu byonna ebiri mu nsi. Lwaki? Kubanga ebizibu ebimu biva ku nsobi ze tukola. (Soma Ekyamateeka 32:4-6.) Tuyinza okugamba nti ekyo tukimanyi. Kyokka olw’okuba tetutuukiridde, oluusi bwe tufuna ebizibu tuyinza okufuna endowooza enkyamu, ekintu eky’akabi ennyo gye tuli. (Nge. 14:12) Mu ngeri ki? Mu kifo ky’okwenenya oba okunenya Sitaani olw’ebizibu bye tuba tufunye, tuyinza okutandika okunenya Yakuwa. Mu butuufu, tuyinza ‘n’okunyiigira Yakuwa.’—Nge. 19:3.
4, 5. Omukristaayo ayinza atya ‘okunyiigira Yakuwa’?
4 Ddala tusobola ‘okunyiigira Yakuwa’? Okunyiigira Yakuwa tekisobola kutuviiramu kalungi konna. (Is. 41:11) Omuwandiisi w’ebitontome omu yagamba nti: ‘Tewali asobola kulwana na Katonda n’amuwangula.’ Kyo kituufu nti tuyinza obutayogera nti tunyiigidde Yakuwa. Naye Engero 19:3 wagamba nti: “Obusirusiru bw’omuntu bwe buvuunika ekkubo lye; n’omutima gwe gunyiigira Mukama.” Ekyo kiraga nti omuntu asobola okunyiigira Katonda mu mutima gwe. Kino kiyinza okweyolekera mu bintu omuntu by’akola. Ng’ekyokulabirako, omuntu bw’anyiigira Yakuwa, asobola okuddirira mu buweereza bwe oba okulekera awo okugenda mu nkuŋŋaana.
5 Kiki ekiyinza okutuleetera ‘okunyiigira Yakuwa’? Tuyinza tutya okwewala ‘okunyiigira Yakuwa’? Twetaaga okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, kubanga ekyo kijja kutuyamba okukuuma enkolagana yaffe ne Yakuwa Katonda.
KIKI EKIYINZA OKUTULEETERA ‘OKUNYIIGIRA YAKUWA’?
6, 7. Kiki ekyaleetera Abaisiraeri abaaliwo mu kiseera kya Musa okwemulugunya ku Yakuwa?
6 Kiki ekiyinza okuleetera omuweereza wa Yakuwa omwesigwa okutandika okwemulugunya ku Katonda? Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bitaano ebiyinza okutuleetera okunyiigira Yakuwa, era tulabe n’ebyokulabirako eby’abamu ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abaagwa mu mutego ogwo.—1 Kol. 10:11, 12.
Okuwuliriza ebigambo ebimalamu amaanyi kiyinza okukuleetera okunyiigira Yakuwa (Laba akatundu 7)
7 Ebigambo ebimalamu amaanyi. (Soma Ekyamateeka 1:26-28.) Lowooza ku bintu Yakuwa bye yakolera Abaisiraeri. Yaleeta ebibonoobono kkumi ku Misiri era oluvannyuma n’azikiriza Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emmyufu, bw’atyo n’anunula Abaisiraeri okuva mu buddu. (Kuv. 12:29-32, 51; 14:29-31; Zab. 136:15) Abantu ba Katonda baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize. Kyokka mu kiseera ekyo, Abaisiraeri baatandika okwemulugunya ku Yakuwa. Kiki ekyabaleetera obutaba na kukkiriza? Abakessi ekkumi baayogera bubi ku nsi gye baali bava okuketta era ekyo ne kitiisa nnyo Abaisiraeri ne baggwaamu amaanyi. (Kubal. 14:1-4) Biki ebyavaamu? Yakuwa teyakkiriza mulembe ogwo kuyingira mu ‘nsi ennungi.’ (Ma. 1:34, 35) Ekyo kituyigiriza ki? Kituyigiriza nti ebigambo ebimalamu amaanyi abalala bye boogera bisobola okunafuya okukkiriza kwaffe ne bituleetera okutandika okwemulugunya ku ngeri Yakuwa gy’akulemberamu abantu be.
8. Kiki ekyaleetera abantu ba Katonda abaaliwo mu kiseera kya Isaaya okutandika okunenya Yakuwa olw’ebizibu bye baalina?
8 Ebizibu bye tufuna biyinza okutumalamu amaanyi. (Soma Isaaya 8:21, 22.) Mu kiseera kya Isaaya, abantu b’omu Yuda beesanga mu mbeera enzibu. Baali beetooloddwa abalabe, tebaalina mmere emala, era bangi baali balumwa enjala. Kyokka baalina n’ekizibu ekirala eky’amaanyi ennyo. Baali balumwa enjala ey’eby’omwoyo. (Am. 8:11) Mu kifo ky’okusaba Yakuwa abayambe okuvvuunuka ebizibu bye baalina, baatandika ‘okukolimira’ kabaka waabwe ne Katonda waabwe. Baanenya Yakuwa olw’ebizibu bye baalina. Naffe bwe tufuna ebizibu tutandika okunenya Yakuwa nga tugamba nti, ‘Yakuwa yali ludda wa mu kiseera we nnali mwetaagira?’
9. Lwaki Abaisiraeri abaaliwo mu kiseera kya Ezeekyeri baafuna endowooza enkyamu?
9 Tetumanyi byonna bizingirwamu. Olw’okuba Abaisiraeri abaaliwo mu kiseera kya Ezeekyeri baali tebamanyi byonna bizingirwamu, baatandika okulowooza nti amakubo ga Yakuwa ‘tegenkanankana.’ (Ez. 18:29) Bwe kityo, baali ng’abeeteereddewo emitindo egyabwe ku bwabwe egy’obwenkanya era nga beefudde abalamuzi abalamula Yakuwa nga basinziira ku mitindo gyabwe egyo. Singa wabaawo ekintu kye tuba tusomye mu Bayibuli ne tutakitegeera bulungi oba singa tuba tetutegeera nsonga lwaki ebintu ebimu bitutuukako, naffe tunaatandika okulowooza nti amakubo ga Yakuwa si ga bwenkanya era nti ‘tegenkanankana’?—Yob. 35:2.
10. Omuntu ayinza atya okweyisa nga Adamu?
10 Okunenya abalala olw’ebibi bye tukola n’ensobi ze tukola. Omusajja eyasooka, Adamu, bwe yakola ekibi, yasalawo okunenya Katonda. (Lub. 3:12) Wadde nga Adamu yali amanyi bulungi ebyandivudde mu kumenya etteeka lya Katonda, yasalawo okulimenya ate oluvannyuma n’anenya Yakuwa. Mu ngeri endala, Adamu yali ng’agamba nti Yakuwa yamuwa omukazi omubi. Okuva olwo, wabaddewo abantu bangi abeeyisizza nga Adamu ne banenya Katonda olw’ensobi ze bakola. Kati buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Bwe nkola ensobi, ntandika okulowooza nti emitindo gya Yakuwa mizibu okutambulirako?’
11. Kiki kye tuyigira ku Yona?
11 Okwerowoozaako ennyo. Yakuwa bwe yalaga ekisa abantu b’e Nineeve, ekyo nnabbi Yona tekyamusanyusa. (Yon. 4:1-3) Lwaki? Oboolyawo yatya okuswala ng’ebintu bye yali ayogedde ku Nineeve tebituukiridde. Yona yeerowoozaako nnyo n’alemwa okukwatirwa ekisa abantu b’e Nineeve abaali beenenyezza. Kyandiba nti naffe oluusi twerowoozaako nnyo ne tutuuka ‘n’okunyiigira Yakuwa’ olw’obutaleeta nkomerero mu bwangu? Bwe kiba nti tumaze emyaka mingi nga tubuulira abantu nti olunaku lwa Yakuwa luli kumpi, tunaalekera awo okuba abagumiikiriza nga waliwo abatuvumirira olw’okubabuulira ekyo Bayibuli ky’egamba?—2 Peet. 3:3, 4, 9.
EBINAATUYAMBA ‘OBUTANYIIGIRA YAKUWA’
12, 13. Singa tutandika okulowooza nti engeri Yakuwa gy’akolamu ebintu si ntuufu, kiki kye tulina okukola?
12 Kiki kye tuyinza okukola singa tutandika okulowooza nti engeri Yakuwa gy’akolamu ebintu si ntuufu? Tusaanidde okukijjukira nti si kya magezi okulowooza bwe tutyo. Engero 19:3 walaga nti obutamanya busobola okutuleetera okunenya Yakuwa olw’ebizibu bye tuba twereetedde. Kati ka tulabe ebintu bitaano ebiyinza okutuyamba okwewala okunyiigira Yakuwa.
13 Okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa kituyamba okwewala okumunyiigira. (Soma Engero 3:5, 6.) Tusaanidde okwesiga Yakuwa. Era tetusaanidde kwetwala kuba ba magezi oba okwerowoozaako ennyo. (Nge. 3:7; Mub. 7:16) Ekyo kijja kutuyamba obutanenya Yakuwa olw’ebizibu bye tufuna.
14, 15. Kiki ekinaatuyamba obutatwalirizibwa bigambo ebimalamu amaanyi abalala bye boogera?
14 Obutatwalirizibwa bigambo ebimalamu amaanyi. Abaisiraeri abaaliwo mu kiseera kya Musa baalina ensonga nnyingi ezandibaleetedde okuba abakakafu nti Yakuwa yali asobola okubatuusa mu Nsi Ensuubize. (Zab. 78:43-53) Naye ebigambo ebimalamu amaanyi abakessi ekkumi abataali beesigwa bye baayogera byabaleetera ‘obutajjukira mukono’ gwa Yakuwa. (Zab. 78:42) Okufumiitiriza ku bintu ebirungi enkumu Yakuwa by’atukoledde, kijja kutuyamba okunyweza enkolagana yaffe naye. N’ekinaavaamu, ebigambo ebimalamu amaanyi abalala bye boogera tetujja kubikkiriza kutwawukanya ne Yakuwa.—Zab. 77:11, 12.
15 Watya singa tuba n’endowooza enkyamu ku bakkiriza bannaffe? Ekyo kiyinza okutuleetera okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa. (1 Yok. 4:20) Ng’ekyokulabirako, Alooni bwe yalondebwa okuba kabona asinga obukulu, Abaisiraeri beemulugunya. Naye Yakuwa yakitwala nti baali beemulugunya ku ye. (Kubal. 17:10) Mu ngeri y’emu, singa tutandika okwemulugunya ku abo Yakuwa b’alonze okutwala obukulembeze mu kitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kye, tuba twemulugunya ku Yakuwa.—Beb. 13:7, 17.
16, 17. Kiki kye tusaanidde okujjukira nga tufunye ebizibu?
16 Okukijjukira nti ebizibu bye tufuna Yakuwa si y’abireeta. Wadde ng’Abaisiraeri abaaliwo mu kiseera kya Isaaya baali bavudde ku Yakuwa, yali akyayagala okubayamba. (Is. 1:16-19) Ka tube nga tufunye kizibu ki, kituzzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa atufaako era mwetegefu okutuyamba. (1 Peet. 5:7) Mu butuufu, asuubiza okutuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okugumira ebizibu bye tufuna.—1 Kol. 10:13.
17 Yobu yabonaabona wadde nga yali mwesigwa eri Yakuwa. Bwe tuba tubonaabona, tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa si y’aba atuleetedde okubonaabona. Yakuwa “ayagala obutuukirivu n’amazima.” (Zab. 33:5) Tusaanidde okuba nga mukwano gwa Yobu, Eriku, eyali akimanyi nti Katonda tasobola ‘kukola bintu bibi era nti tasobola kukola bintu bitali bya butuukirivu.’ (Yob. 34:10) Yakuwa si y’atuleetera ebizibu. Mu kifo ky’ekyo, atuwa “buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde.”—Yak. 1:13, 17.
18, 19. Lwaki tusaanidde okwesiga Yakuwa? Waayo ekyokulabirako.
18 Okwesiga Yakuwa. Yakuwa atuukiridde era ebirowoozo bye bya waggulu nnyo ku byaffe. (Is. 55:8, 9) Okuba abeetoowaze kijja kutuyamba okukijjukira nti tetumanyi buli kimu. (Bar. 9:20) Emirundi egisinga tuba tetumanyi byonna bizingirwa mu ekyo ekiba kibaddewo. Oyinza okuba nga naawe okirabye nti ebigambo bino bituufu: “Oyo asooka okwanjula ensonga ayinza okulabika ng’omutuufu, okutuusa omulala lw’ajja n’amulumiriza.”—Nge. 18:17, New International Version.
19 Singa tuba ne mukwano gwaffe gwe twesiga naye n’akola ekintu kye tutategedde oba ekitali kya bulijjo, twandyanguye okulowooza nti ekintu ky’akoze kikyamu? Nedda. Mu kifo ky’ekyo, twandikitutte nti oboolyawo tetumanyi byonna bizingirwamu. Bwe kiba nti tuli beetegefu okukwata mikwano gyaffe abatatuukiridde mu ngeri eyo, olowooza tetwandisinzeewo nnyo okwesiga Kitaffe ow’omu ggulu, Oyo alina ebirowoozo n’amakubo ebisingira ewala ku byaffe.
20, 21. Lwaki tetusaanidde kunenya Yakuwa olw’ebizibu bye tufuna?
20 Okunenya oyo asaanidde okunenyezebwa. Tusaanidde okukijjukira nti ebiseera ebimu ebizibu bye tufuna ffe tuba tubyereetedde. (Bag. 6:7) Togezaako kunenya Yakuwa olw’ebizibu by’oba ofunye. Lwaki tosaanidde kumunenya? Lowooza ku kyokulabirako kino: Singa omuntu aba avuga emmotoka n’asalawo okuweta ekkoona ku sipiidi ey’amaanyi era n’afuna akabenje, aba mutuufu okunenya oyo eyagikola? Nedda! Mu ngeri y’emu, Yakuwa atuwadde eddembe ly’okwesalirawo. Okugatta ku ekyo atuwadde ebintu ebisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. N’olwekyo, bwe tukola ensobi ne tufuna ebizibu, tetusaanidde kunenya Mutonzi waffe.
Yoswa ne Kalebu baafuna emikisa olw’okwesiga Yakuwa (Laba akatundu 22)
21 Kya lwatu nti ebizibu byonna bye tufuna tebiva ku nsobi ze tukola. Ebimu tubifuna olw’okuba “ebiseera n’ebigambo” ffenna bitugwira bugwizi. (Mub. 9:11) Ate era tusaanidde okukijjukira nti ebizibu ebisinga obungi ebiri mu nsi, Sitaani Omulyolyomi y’abireeta. (1 Yok. 5:19; Kub. 12:9) Sitaani ye mulabe waffe, so si Yakuwa!—1 Peet. 5:8.
ENKOLAGANA YO NE YAKUWA GITWALE NGA YA MUWENDO
22, 23. Bwe tuwulira nga tuweddemu amaanyi olw’ebizibu bye tufuna kiki kye tusaanidde okujjukira?
22 Bw’ofuna ebizibu, jjukiranga Yoswa ne Kalebu. Obutafaananako abakessi ekkumi, Yoswa ne Kalebu baayogera bulungi ku Nsi Ensuubize. (Kubal. 14:6-9) Baakiraga nti baalina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa. Wadde kyali kityo, baalina okubundabundira mu ddungu okumala emyaka 40 awamu n’Abaisiraeri abalala. Yoswa ne Kalebu beemulugunya oba baanyiiga nga bawulira nti ekyo tekyali kya bwenkanya? Nedda. Beesiga Yakuwa, era yabawa emikisa. Wadde ng’Abaisiraeri abasinga obungi baafiira mu ddungu, Yakuwa yasobozesa Yoswa ne Kalebu okuyingira mu Nsi Ensuubize. (Kubal. 14:30) Mu ngeri y’emu, Yakuwa ajja kutuwa emikisa singa tufuba okukola by’ayagala.—Bag. 6:9; Beb. 6:10.
23 Bw’owulira ng’oweddemu amaanyi olw’ebizibu by’olina, olw’ensobi z’okola, oba olw’ensobi z’abalala, kiki ky’osaanidde okukola? Fumiitiriza ku ngeri za Yakuwa ez’ekitalo. Lowooza ku ssuubi Yakuwa ly’atuwadde. Weebuuze, ‘Obulamu bwange bwandibadde butya awatali Yakuwa?’ Bulijjo weeyongere okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa era tomunyiigiranga!