LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 9/1 lup. 3
  • Abantu Bangi Bafiiriddwa Obulamu Bwabwe!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abantu Bangi Bafiiriddwa Obulamu Bwabwe!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Similar Material
  • Ebirimu
    Zuukuka!—2020
  • 2. Ffe Tuvunaanyizibwa ku Kubonaabona Okuliwo?
    Zuukuka!—2020
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • 1. Katonda y’Atuleetera Okubonaabona?
    Zuukuka!—2020
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 9/1 lup. 3

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU: Lwaki WALIWO OKUBONAABONA KUNGI? KUNAAKOMA DDI?

Abantu Bangi Bafiiriddwa Obulamu Bwabwe!

Noelle yali mwana musanyufu era ng’anyumirwa nnyo okukuba ebifaananyi. Lumu akawungeezi bwe yali awaka ng’azannya, yagwa mu kidiba ekiwugirwamu n’afa. Yali abuzaayo wiiki bbiri zokka okuweza emyaka ena.

Charlotte, Daniel, Olivia, ne Josephine, be bamu ku baana 20 abaali wakati w’emyaka omukaaga n’omusanvu ku bantu 26 abaakubwa amasasi ku ssomero erimu eriri mu ssaza lya Connecticut, ery’omu Amerika, nga Ddesemba 14, 2012. Ku mukolo gw’okujjukira abaana abo, Pulezidenti Obama yasoma amannya gaabwe era n’agamba abaali bamuwuliriza nti: “Ebikolwa nga bino biteekwa okukoma.”

Omuwala ayitibwa Bano ow’emyaka ekkumi n’omunaana yava mu Iraq mu 1996 n’agenda mu Norway ne bazadde be. Mikwano gye baali baamukazaako erya Sun Rays olw’okuba yali mulungi nnyo. Kyokka eky’ennaku, nga Jjulaayi 22, 2011, Bano yali omu ku bantu 77 omutujju be yatta, oluvannyuma ne yeewaana nti: “Mbeetondera . . . olw’obutasobola kutta basingawo.”

Wabaddewo amawulire ng’ago agennyamiza okwetooloola ensi yonna. Lowooza ku bulumi n’ennaku ey’amaanyi ebivudde ku bubenje, obumenyi bw’amateeka, entalo, obutujju, obutyabaga, n’ebizibu ebirala. Abantu bangi babonaabona era bafa awatali nsonga!

Abamu banenya Katonda nga bagamba nti tafaayo ku bantu. Abalala bagamba nti Katonda alaba nga tubonaabona naye n’atabaako ky’akolawo. Ate era eriyo n’abagamba nti ebizibu ng’ebyo Katonda aba yabiteekateeka dda. Abantu balina endowooza za njawulo ku kubonaabona. Wa we tuyinza okufuna eby’okuddamu ebyesigika era ebimatiza? Mu bitundu ebiddako tugenda kulaba engeri Bayibuli gy’etuyambamu okutegeera ebiviirako abantu okubonaabona n’engeri gye kunaakoma.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share