EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BUBAKA KI OBULI MU BAYIBULI?
Twajja Tutya Okubaawo?
Ekitabo ekisooka mu Bayibuli ekiyitibwa Olubereberye kinnyonnyola engeri eggulu n’ensi gye byajjawo nga kigamba nti: “Olubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.” (Olubereberye 1:1) Katonda bwe yamala okutonda ebimera n’ebisolo, yatonda Adamu ne Kaawa, abantu abasooka. Baali ba njawulo ku bisolo kubanga baali basobola okwoleka engeri za Katonda, era nga balina eddembe ly’okwesalirawo. N’olwekyo, bandibadde bavunaanyizibwa olw’ebyo bye bandikoze. Singa baagondera ebiragiro bya Katonda, bo n’abaana be bandizadde bandibadde ku nsi emirembe gyonna mu bulamu obweyagaza, ng’ekigendererwa kya Katonda bwe kyali.
Naye waliwo ekitonde eky’omwoyo oba malayika eyababuzaabuza olw’okuba yalina ekiruubirirwa ekikyamu. Bwe kityo, malayika oyo yafuuka Sitaani ekitegeeza “Omuziyiza.” Ng’ayogerera mu musota, Sitaani yalimbalimba Kaawa nti yandibadde bulungi nga tagoberedde bulagirizi bwa Katonda. Adamu ne Kaawa baawuliriza Sitaani ne bafiirwa enkolagana yaabwe n’Omutonzi waabwe. Olw’okuba bazadde baffe abo abasooka baasalawo bubi, baafiirwa obulamu obutaggwawo era ffenna ne tusikira ekibi, obutali butuukirivu, n’okufa.
Amangu ddala, Katonda yakola enteekateeka mwe yandiyitidde okuggyawo ebizibu ebyo, bazzukulu ba Adamu basobole okufuna obulamu obutaggwaawo. Katonda yagamba nti “ezzadde” oba omuntu ow’enjawulo yandizikirizza Sitaani era n’aggyawo okubonaabona kwonna Sitaani, Adam, ne Kaawa kwe baaleetawo. (Olubereberye 3:15) “Ezzadde” eryo yandibadde ani? Yandimanyiddwa oluvannyuma lw’ekiseera.
Sitaani yagezaako nnyo okulemesa ekigendererwa kya Katonda ekyo. Mu kiseera kitono ebikolwa ebibi byabuna mu nsi yonna. Bwe kityo, Katonda yasalawo okuzikiriza ababi ng’akozesa amataba. Yagamba Nuuwa omusajja eyali omutuukirivu okuzimba eryato eryali ng’ogusanduuko ogunene ennyo ye n’ab’omu maka ge mwe bandiwonedde awamu n’ebisolo Katonda bye yamugamba okuyingiza mu lyato eryo.
Nuuwa n’ab’omu maka ge baamala omwaka mulamba mu lyato, era we baviira mu lyato ensi yonna yali erongooseddwa. Naye “ezzadde” lyali lya kujja mu biseera bya mu maaso.
—Byesigamiziddwa ku Olubereberye, essuula 1-11; Yuda 6, 14, 15; Okubikkulirwa 12:9.