Bye Tuyigira ku Ssaala Entegeke Obulungi
‘Erinnya lyo ery’ekitiibwa ligulumizibwe.’—NEK. 9:5, NW.
1. Lukuŋŋaana ki abantu ba Katonda lwe baalina lwe tugenda okwetegereza, era bibuuzo ki bye tusaanidde okulowoozaako?
“MUYIMIRIRE mwebaze Mukama Katonda wammwe okuva emirembe gyonna n’okutuusa emirembe gyonna.” Ebyo bye bigambo Abaleevi bye baayogera nga bayita abantu ba Katonda okukuŋŋaana basabe Yakuwa. Essaala gye baasaba y’emu ku ssaala ezisingayo obuwanvu mu Bayibuli. (Nek. 9:4, 5) Olukuŋŋaana olwo lwali mu Yerusaalemi mu 455 E.E.T, ku lunaku olwa 24 olw’omwezi ogw’omusanvu, Tisiri, ku kalenda y’Ekiyudaaya. Nga twetegereza ebyo ebyaliwo ng’olukuŋŋaana olwo olw’enjawulo terunnabaawo, weebuuze ebibuuzo bino: ‘Kiki Abaleevi kye baakolanga ekyasobozesa olukuŋŋaana olwo okutambula obulungi? Kiki kye nnyinza okuyigira ku ssaala entegeke obulungi Abaleevi gye baasaba?’—Zab. 141:2.
OMWEZI OGW’ENJAWULO
2. Kyakulabirako ki ekirungi Abaisiraeri kye baatuteerawo?
2 Olukuŋŋaana olwo we lwabeererawo, waali waakayita omwezi gumu bukya Abayudaaya bamaliriza okuddamu okuzimba ebisenge bya Yerusaalemi. (Nek. 6:15) Abantu ba Katonda baazimba ebisenge bya Yerusaalemi mu nnaku 52 zokka. Era ku lunaku olusooka olw’omwezi ogwaddako oguyitibwa Tisiri, baakuŋŋaanira mu kibangirizi okuwuliriza Ezera awamu n’Abaleevi abalala nga basoma era nga bannyonnyola Amateeka ga Katonda. Abantu ba Katonda bonna, nga mw’otwalidde n’abaana, baayimirira ne bawuliriza “okuva enkya mu makya okutuusa ettuntu.” Abaisiraeri abo baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Wadde nga ffe tuyinza okuba nga tukuŋŋaanira mu Bizimbe by’Obwakabaka nga tutudde bulungi, oluusi ebirowoozo byaffe biyinza okuwuguka ne bidda ku bintu ebirala ebitali bikulu nnyo. Naye Abaisiraeri abo baawuliriza bulungi ebyali byogerwa, ne babifumiitirizaako, era ne bakaaba olw’okukiraba nti eggwanga lyabwe lyali livudde ku Mateeka ga Katonda.—Nek. 8:1-9.
3. Bulagirizi ki Abaisiraeri bwe baakolerako?
3 Kyokka ekyo si kye kyali ekiseera ekituufu eky’okwatula ebibi byabwe. Olunaku olwo lwali lwa mbaga, era Yakuwa yali ayagala abantu be bamusinze nga basanyufu. (Kubal. 29:1) Bwe kityo Nekkemiya yagamba abantu nti: “Mweddireyo, mulye amasavu, munywe ebiwoomerevu, muweereze oyo emigabo atategekeddwa kintu: kubanga olunaku luno lutukuvu eri Mukama waffe: so temunakuwala; kubanga essanyu lya Mukama ge maanyi gammwe.” Abantu baakolera ku bulagirizi obwo era baafuna “essanyu lingi” ku olwo.—Nek. 8:10-12.
4. Kiki emitwe gy’amaka Abaisiraeri kye baakola, era kiki Abaleevi kye baakolanga buli lunaku ku Mbaga y’Ensiisira?
4 Olunaku olwaddako, emitwe gy’amaka bonna baakuŋŋaana okwekenneenya Amateeka ga Katonda basobole okukakasa nti bagakolerako gonna. Bwe baali beekenneenya Amateeka, baakizuula nti eggwanga lyabwe lyalina okukwata Embaga ey’Ensiisira mu mwezi ogwo gwennyini ogwa Tisiri, okuva ku lunaku olwa 15 okutuuka ku lwa 22, era nti embaga eyo yalinanga okukomekkerezebwa n’olukuŋŋaana olutukuvu. Bwe batyo baatandikirawo okukola enteekateeka. Abaisiraeri baali tebakwatangako bulungi bwe batyo Mbaga ya Nsiisira okuva mu kiseera kya Yoswa era baafuna “essanyu lingi nnyo.” Ku mbaga eyo, Abaleevi baasomeranga abantu Amateeka ga Katonda ‘buli lunaku, okuva ku lunaku olusooka okutuuka ku lunaku olusembayo.’—Nek. 8:13-18.
OLUNAKU OLW’OKWATULA EBIBI
5. Kiki abantu kye baakola ng’Abaleevi tebannatandika kusaba?
5 Nga wayise ennaku bbiri oluvannyuma lw’embaga ey’Ensiisira, ekiseera kyali kituuse abantu okwatula ebibi byabwe. Olunaku olwo terwali lwa kulya na kusanyuka. Mu kifo ky’ekyo, abantu ba Katonda baasiiba era ne bambala ebibukutu nga bakiraga nti baali banakuwadde olw’okumenya Amateeka ga Katonda. Ku makya, Abaleevi baddamu okusomera abantu Amateeka ga Katonda okumala essaawa nga ssatu. Olw’eggulo, abantu baayatula ebibi byabwe era ne bavunnamira Yakuwa Katonda waabwe. Oluvannyuma, Abaleevi baakiikirira abantu mu kusaba, era essaala gye baasaba yali ntegeke bulungi. —Nek. 9:1-4.
6. Kiki ekyayamba Abaleevi okusaba essaala ey’amakulu, era ekyo kituyigiriza ki?
6 Tewali kubuusabuusa nti okuba nti Abaleevi baasomanga Amateeka ga Katonda obutayosa kyabayamba okusaba essaala ey’amakulu. Mu nnyiriri ekkumi ezisooka, essira Abaleevi baalissa ku bikolwa bya Yakuwa n’engeri ze. Mu kitundu ekisembayo eky’essaala eyo, enfunda n’enfunda Abaleevi baayogera ku ‘busaasizi’ bwa Katonda obungi era ne bakiraga nti Abaisiraeri baali tebagwana kulagibwa busaasizi ng’obwo. (Nek. 9:19, 27, 28, 31) Okufaananako Abaleevi abo, singa tusoma era ne tufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda buli lunaku, kwe kugamba, singa tukkiriza Yakuwa okwogera naffe nga tetunnaba kumusaba, naffe essaala zaffe zijja kuba za makulu.—Zab. 1:1, 2.
7. Kiki Abaleevi kye baasaba Katonda, era ekyo kituyigiriza ki?
7 Mu ssaala yaabwe, Abaleevi baasaba ekintu kimu. Bwe baali banaatera okukomekkereza essaala yaabwe baagamba nti: “Kale nno, Katonda waffe, Katonda omukulu, ow’amaanyi, ow’entiisa, akwata endagaano n’okusaasira, okutegana kwonna kuleme okufaanana okutono mu maaso go, okwatubangako, ku bassekabaka baffe, ku bakungu baffe, ne ku bakabona baffe, ne ku bannabbi baffe, ne ku bajjajjaffe, ne ku bantu bo bonna, okuva ku mirembe gya bakabaka b’e Bwasuli na buli kati.” (Nek. 9:32) Abaleevi baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Bwe tuba tusaba, tusaanidde okusooka okutendereza Yakuwa n’okumwebaza nga tetunnamusaba kintu kyonna.
OKUTENDEREZA ERINNYA LYA KATONDA ERY’EKITIIBWA
8, 9. (a) Abaleevi baayoleka batya obwetoowaze nga batandika essaala yaabwe? (b) Ggye ki ery’omu ggulu ery’emirundi ebiri Abaleevi lye baayogerako?
8 Wadde ng’essaala yaabwe yali ntegeke bulungi, Abaleevi abo baali beetoowaze era baawulira nti ebigambo byabwe byali tebisobola kwoleka bulungi ttendo n’ekitiibwa Yakuwa by’agwanidde okuweebwa. Bwe kityo, bwe baali batandika okusabira abantu ba Katonda, baagamba Yakuwa nti: “Ka batendereze erinnya lyo ery’ekitiibwa erigulumiziddwa okusinga ettendo lyonna.”—Nek. 9:5, NW.
9 Abaleevi beeyongera okusaba nga bagamba nti: “Ggwe Mukama, ggwe wekka; ggwe wakola eggulu, eggulu erya waggulu, n’eggye lyalyo lyonna, ensi n’ebintu byonna ebiri okwo, ennyanja ne byonna ebiri omwo, era ggwe obikuuma byonna; n’eggye ery’omu ggulu likusinza.” (Nek. 9:6) Yakuwa ye yatonda eggulu ‘n’eggye lyalyo,’ kwe kugamba, ebibinja by’emmunyeenye ebingi ennyo. Ate era Yakuwa ye yakola ensi n’ebintu byonna ebigiriko, era n’agikola ng’esobola okubeezaawo ebiramu byonna ebigiriko nga bizaala ng’ebika byabyo bwe biri. Ebyo byonna bamalayika ba Katonda abatukuvu baabiraba nga bikolebwa. Bamalayika abo nabo boogerwako ‘ng’eggye ery’omu ggulu.’ (1 Bassek. 22:19; Yob. 38:4, 7) Bamalayika booleka obwetoowaze nga baweereza abantu abatatuukiridde “abagenda okusikira obulokozi.” (Beb. 1:14) Naffe leero tuweereza Yakuwa nga tuli bumu ng’eggye ettendeke. Tusaanidde okukoppa bamalayika nga tuweereza Yakuwa n’obwetoowaze.—1 Kol. 14:33, 40.
10. Kiki kye tuyigira ku ebyo Yakuwa bye yakolera Ibulayimu?
10 Oluvannyuma, Abaleevi baayogera ku bintu Katonda bye yakolera Ibulaamu. Wadde nga yalina emyaka 99, Ibulaamu yali tannazaala mwana mu mukazi we Salaayi. Mu kiseera ekyo, Yakuwa yakyusa erinnya lye n’amutuuma Ibulayimu ekitegeeza “kitaawe w’amawanga amangi.” (Lub. 17:1-6, 15, 16) Era Katonda yasuubiza Ibulayimu nti ezzadde lye lyandisikidde ensi ya Kanani. Wadde ng’abantu batera okwerabira ebyo bye baba baasuubiza, Yakuwa ye tali bw’atyo. Kino tukirabira mu bigambo Abaleevi bye baayogera nga basaba. Baagamba nti: “Ggwe Mukama Katonda yennyini, eyalonda Ibulayimu n’omuggya mu Uli ey’Abakaludaaya, n’omuwa erinnya Ibulayimu; n’olaba omutima gwe nga mwesigwa mu maaso go, n’olagaana naye endagaano okuwa ensi ey’Omukanani . . . ezzadde lye, era otuukirizza ebigambo byo; kubanga ggwe mutuukirivu.” (Nek. 9:7, 8) Tusaanidde okukoppa Katonda waffe omutuukirivu nga bulijjo tufuba okutuukiriza ebyo bye tuba tusuubizza.—Mat. 5:37.
EBINTU EBY’EKITALO YAKUWA BYE YAKOLERA ABANTU BE
11, 12. Erinnya Yakuwa lirina makulu ki, era kiki Yakuwa kye yakolera bazzukulu ba Ibulayimu ekiraga nti atuukana n’erinnya lye.
11 Erinnya Yakuwa litegeeza “Asobozesa Ebintu Okubeerawo.” Ekyo kiraga nti tewali kiyinza kulemesa Yakuwa kutuukiriza ebyo by’aba abasuubizza. Ekyo kyeyolekera mu ebyo bye yakolera bazzukulu ba Ibulayimu bwe baali mu buddu e Misiri. Mu kiseera ekyo, kyalabika ng’ekyali tekisoboka Baisiraeri bonna kununulibwa okuva mu buddu bayingire mu Nsi Ensuubize. Naye Katonda yakola ekyo kyonna ekyali kyetaagisa n’atuukiriza ekisuubizo kye, bw’atyo n’atuukana n’erinnya lye ekkulu, Yakuwa.
12 Mu ssaala yaabwe, Abaleevi baayogera ku bintu ebitali bimu Yakuwa bye yakolera abantu be. Baagamba nti: “Walaba okubonaabona kwa bajjajjaffe mu Misiri n’owulira okukaaba kwabwe ku ttale ly’Ennyanja Emmyufu; n’olaga obubonero n’eby’amagero ku Falaawo n’abaddu be bonna n’abantu bonna ab’omu nsi ye; kubanga wamanya nga baabakola eby’amalala; ne weefunira erinnya nga bwe kiri leero. Era wayawula mu nnyanja mu maaso gaabwe n’okuyita ne bayita wakati mu nnyanja ku lukalu; n’abo abaabagoberera n’obakasuka mu buziba ng’ejjinja bwe likasukibwa mu mazzi ag’amaanyi.” Baagattako nti: “[Wa]wangula abaali mu nsi mu maaso gaabwe, Abakanani . . . [Abantu bo] ne bamenya ebibuga ebyaliko enkomera, n’ensi engimu, ne balya ennyumba ezajjula ebirungi byonna, ebidiba ebyabajjibwa, ensuku ez’emizabbibu, n’ez’emizeyituuni, n’emiti egibala ebibala mingi nnyo: awo ne balya ne bakutta, ne bagejja ne basanyukiranga obulungi bwo obungi.”—Nek. 9:9-11, 24, 25.
13. Kiki Yakuwa kye yakolera Abaisiraeri nga baakava e Misiri, era kiki Abaisiraeri kye baakola?
13 Waliwo n’ebintu ebirala bingi Katonda bye yakola okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. Ng’ekyokulabirako, Abaisiraeri bwe baali baakava e Misiri, Yakuwa yabawa Amateeka era n’abalaga engeri gye baalina okumusinzaamu. Abaleevi bwe baali basaba, baagamba nti: “Wakka ku lusozi Sinaayi, n’oyogera nabo ng’oyima mu ggulu n’obawa ensala entuufu n’amateeka ag’amazima, ebyakuutirwa ebirungi n’ebiragiro.” (Nek. 9:13) Yakuwa yayigiriza abantu be engeri gye baali bagwanidde okweyisaamu basobole okuweesa erinnya lye ekitiibwa era basobole n’okusikira Ensi Ensuubize. Kyokka mu kiseera kitono, Abaisiraeri baava ku Mateeka ge.—Soma Nekkemiya 9:16-18.
ABAISIRAERI BAALI BEETAAGA OKUKANGAVVULWA
14, 15. (a) Yakuwa yalaga atya Abaisiraeri obusaasizi? (b) Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yayisaamu Abaisiraeri?
14 Essaala y’Abaleevi eraga ebibi bibiri Abaisiraeri bye baakola amangu ddala nga baakeeyama okukwata Amateeka Katonda ge yabaweera ku Lusozi Sinaayi. Olw’ebibi byabwe ebyo, Abaisiraeri baali bagwana okufiira mu ddungu, naye Yakuwa yabasaasira. Abaleevi baatendereza Yakuwa nga bagamba nti: “Olw’okusaasira kwo okutali kumu [tewabaleka] mu ddungu. . . . Wabaliisa emyaka amakumi ana . . . Ne batabulwanga kintu; ebyambalo byabwe tebyakaddiwanga n’ebigere byabwe tebyazimbanga.” (Nek. 9:19, 21) Ne leero Yakuwa atuwa byonna bye twetaaga okusobola okumuweereza n’obwesigwa. Tusaanidde okwewala okuba ng’Abaisiraeri abaafiira mu ddungu olw’obujeemu n’obutaba na kukkiriza. Mu butuufu, ebintu ebyo “byawandiikibwa okutulabula ffe abatuukiddwako enkomerero y’omulembe guno.”—1 Kol. 10:1-11.
15 Eky’ennaku kiri nti Abaisiraeri bwe baayingira mu nsi ensuubize, baatandika okusinza bakatonda b’Abakanani, ne beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu era ne batandika n’okusaddaaka abaana baabwe. Bwe kityo, Yakuwa yakkiriza amawanga agaali gabeetoolodde okubatulugunya. Naye Abaisiraeri bwe beenenyanga, Yakuwa yabasaasiranga, n’abasonyiwa, era n’abawonya mu mukono gw’abalabe baabwe. Ekyo kyabaawo “emirundi mingi.” (Soma Nekkemiya 9:26-28, 31.) Abaleevi baagamba nti: “N’obagumiikirizanga emyaka mingi, n’obanga mujulirwa eri bo n’omwoyo gwo mu bannabbi bo: naye ne batayagalanga kutega kutu: kye wavanga obagabulanga mu mukono gw’amawanga ag’omu nsi.”—Nek. 9:30.
16, 17. (a) Abaisiraeri bwe baddamu okujeemera Yakuwa, kiki ekyabatuukako? (b) Kiki Abaisiraeri kye bakkiriza, era kiki kye beeyama okukola?
16 N’oluvannyuma lw’okuva mu buwambe, Abaisiraeri beeyongera okujeemera Yakuwa. Biki ebyavaamu? Abaleevi baagamba nti: “Laba, tuli baddu leero, n’ensi gye wawa bajjajjaffe, okulyanga ebibala byamu n’obulungi bwamu, laba, tuli baddu omwo. Era ewa amagoba mangi bakabaka be wassaawo okutufuga olw’okwonoona kwaffe . . . naffe tulabye ennaku nnyingi.”—Nek. 9:36, 37.
17 Kati olwo Abaleevi baali balaga nti Yakuwa teyali mwenkanya olw’okukkiriza Abaisiraeri okubonaabona? Nedda! Bakkiriza ensobi z’eggwanga lyabwe nga bagamba nti: “Ggwe mutuukirivu mu byonna ebyatubangako kubanga wakolanga eby’amazima, naye ffe twakolanga obubi.” (Nek. 9:33) Abaleevi baakomekkereza essaala yaabwe nga beeyama nti okuva olwo eggwanga lyabwe lyali lya kukwata Amateeka ga Katonda. (Soma Nekkemiya 9:38; 10:29) Era oluvannyuma, baakola endagaano, ne bagiteeka mu buwandiike, era abakulembeze b’Abayudaaya 84 ne bagiteekako akabonero.—Nek. 10:1-27.
18, 19. (a) Kiki kye tulina okukola okusobola okuyingira mu nsi ya Katonda empya? (b) Kiki kye tusaanidde okweyongera okusaba, era lwaki?
18 Bwe tuba ab’okuyingira mu nsi ya Katonda empya tulina okuba abeetegefu okukkiriza Yakuwa okutukangavvula. Omutume Pawulo yabuuza nti: “Mwana ki kitaawe gw’atakangavvula?” (Beb. 12:7) Bwe tukkiriza Yakuwa okutukangavvula era ne tweyongera okumuweereza n’obwesigwa tuba tukiraga nti tugoberera obulagirizi bw’omwoyo gwe omutukuvu. Era singa tukola ekibi eky’amaanyi, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutusonyiwa singa twenenya mu bwesimbu era ne tumukkiriza okutukangavvula.
19 Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kukola ebintu eby’ekitalo n’okusinga ebyo bye yakola ng’anunula Abaisiraeri okuva mu Misiri. (Ez. 38:23) Mu kiseera ekyo Yakuwa ajja kutukuza erinnya lye, era Abakristaayo bonna abeesigwa gy’ali bajja kuyingira mu nsi ye empya ey’obutuukirivu, ng’Abaisiraeri bwe baayingira mu Nsi Ensuubize. (2 Peet. 3:13) N’olwekyo, ka tweyongere okusaba erinnya lya Katonda ery’ekitiibwa litukuzibwe. Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku ssaala endala esobola okutuyamba okulaba ekyo kye tusaanidde okukola okusobola okufuna emikisa gya Katonda mu kiseera kino n’emirembe gyonna.