LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 12/1 lup. 4-7
  • Ensonga Lwaki Twetaaga Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ensonga Lwaki Twetaaga Katonda
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Twetaaga Obulagirizi Obutuufu
  • Twetaaga Okumanya Ensonga Lwaki Waliwo Okubonaabona
  • Twetaaga Obuyambi bwa Katonda
  • Kino kye Kiseera Okunoonya Katonda
  • Obwakabaka bwa Katonda—Obufuzi bw’Ensi Obuppya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Ekigendererwa kya Katonda eri Ensi Kye Kiruwa?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • ‘Basanyufu Abo Abamanyi Obwetaavu Bwabwe obw’Eby’Omwoyo’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Biki Katonda by’Akoze?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 12/1 lup. 4-7
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | DDALA KATONDA TUMWETAAGA?

Ensonga Lwaki Twetaaga Katonda

Abanoonyereza ku mbeera z’abantu bagamba nti omuntu bw’aba ow’okufuna essanyu erya nnamaddala, waliwo ekirala kye yeetaaga ng’oggyeko ebyetaago bye eby’omubiri. Kino tukirabira ku ky’okuba nti abantu baba n’ebintu bye baba baagala okutuukako mu bulamu oba okuweereza omuntu abasinga. Bwe kityo, abamu basalawo kwemalira ku bintu gamba ng’okulabirira obutonde, ku by’okuyimba, ku bya katemba, n’ebirala. Kyokka era basigala si bamativu.

Katonda ayagala abantu babe basanyufu kati n’emirembe gyonna

Eky’okuba nti ffenna tulina obwetaavu obw’eby’omwoyo tekyewuunyisa basomi ba Bayibuli. Essuula ezisooka ez’ekitabo ky’Olubereberye ziraga nti Katonda bwe yamala okutonda omusajja n’omukazi abaasooka, yayogeranga nabo entakera ekyabasobozesa okuba n’enkolagana ennungi naye. (Olubereberye 3:8-10) Katonda yatonda abantu nga balina obwetaavu obw’okuwuliziganya n’Omutonzi waabwe. Bayibuli eyogera ku bwetaavu obwo emirundi mingi.

Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.” (Matayo 5:3) Ekyo kiraga nti bwe tuba ab’okufuna essanyu erya nnamaddala n’okuba n’ekigendererwa mu bulamu, tulina okukola ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Yesu yagamba nti: “Omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.” (Matayo 4:4) Lwaki tuyinza okugamba nti ebigambo ebiva mu kamwa ka Katonda, oba amateeka ge agali mu Bayibuli, bituyamba okufuna essanyu erya nnamaddala n’okuba n’ekigendererwa mu bulamu? Ka twetegereze ensonga ssatu enkulu.

Twetaaga Obulagirizi Obutuufu

Leero, waliwo abakugu bangi abawa amagezi ku nsonga z’amaka, ku ngeri y’okumalawo obutakkaanya, ku ngeri y’okufunamu essanyu, era ne ku ngeri omuntu gy’ayinza okuba mu bulamu obweyagaza. Naye Yakuwa Katonda eyatutonda ye yekka asobola okutuwa obulagirizi obusingayo obulungi mu mbeera zonna ez’obulamu.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

Okufaananako akatabo akannyonnyola enkozesa y’ekintu, ne Bayibuli etuwa obulagirizi

Ekyokulabirako: Bw’ogula kamera oba essimu, bakuweerako akatabo akannyonnyola engeri y’okugikozesaamu. Bayibuli eyinza okugeraageranyizibwa ku katabo ako. Omutonzi waffe yagituwa etuyambe okumanya engeri gye tusaanidde okutambuzaamu obulamu bwaffe. Ate era etunnyonnyola ensonga lwaki twatondebwa.

Okufaananako ekitabo ekinnyonnyola engeri y’okukozesaamu ekintu ky’oba oguze, Bayibuli etulabula ku bintu ebiyinza okukosa obulamu bwaffe. Amagezi abantu ge batuwa gayinza okulabika ng’amalungi era amangu okukolerako, naye tusaanidde okukijjukira nti okusobola okuba n’obulamu obulungi n’okwewala ebizibu, tulina kukolera ku bulagirizi bw’oyo eyatutonda.

‘Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okukugasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu. Singa owulira amateeka gange, emirembe gyo gijja kuba ng’omugga, n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.’​—Isaaya 48:17, 18

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Mu Bayibuli tusobola okusangamu obulagirizi bwe twetaaga

Wadde nga Yakuwa Katonda atuwa obulagirizi, tatukaka kubukolerako. Mu kifo ky’ekyo, atugamba nti: ‘Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okukugasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu. Singa owulira amateeka gange, emirembe gyo gijja kuba ng’omugga, n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.’ (Isaaya 48:17, 18) Bwe tukolera ku bulagirizi Katonda bw’atuwa, obulamu bwaffe bujja kuba bulungi. N’olwekyo, okusobola okufuna essanyu mu bulamu, twetaaga Katonda.

Twetaaga Okumanya Ensonga Lwaki Waliwo Okubonaabona

Abamu muli bawulira nti tebeetaaga Katonda olw’okuba waliwo ebizibu bingi ebibaleetera okulowooza nti tatufaako. Ng’ekyokulabirako, bayinza okuba nga beebuuza nti: ‘Lwaki abantu abalungi babonaabona?’ ‘Lwaki abaana abamu bazaalibwa baliko obulemu?’ ‘Lwaki waliwo obutali bwenkanya bungi?’ Ebibuuzo ebyo bikulu nnyo, era bwe tufuna eby’okuddamu ebimatiza kiyinza okutuyamba ennyo mu bulamu bwaffe. Naye mu kifo ky’okunenya Katonda olw’ebizibu ng’ebyo, ka tulabe ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nsibuko yaabyo.

Essuula ey’okusatu ey’ekitabo ky’Olubereberye eraga nti Sitaani yayitira mu musota okukema bajjajjaffe, Adamu ne Kaawa, okumenya etteeka lya Yakuwa Katonda ery’obutalya ku muti ogw’okumanya obulungi n’obubi. Sitaani yagamba Kaawa nti: “Okufa temulifa. Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n’obubi.”​—Olubereberye 2:16, 17; 3:4, 5.

Mu kwogera ebigambo ebyo, Sitaani yali ng’agamba nti Yakuwa Katonda mulimba era nti engeri gy’afugamu si ya bwenkanya. Ate era Omulyolyomi yali alaga nti singa abantu bamuwuliriza, bandibadde bulungi n’okusingawo. Yakuwa yandigonjodde atya ensonga ezo?. Yaleka wayitewo ekiseera abantu bonna bakakase obanga ebyo Sitaani bye yamwogerako bituufu. Yawa Sitaani n’abo abaamwegattako akakisa okulaga obanga abantu basobola okuba obulungi nga tebagoberedde bulagirizi bwa Katonda.

Ggwe olowooza Sitaani bye yayogera byali bituufu? Ddala abantu basobola okwefuga era ne baba bulungi nga tebagoberedde bulagirizi bwa Katonda? Okubonaabona, obutali bwenkanya, endwadde, obumenyi bw’amateeka, okwonooneka kw’empisa, entalo, ekitta bantu, n’ebizibu ebirala ebizze bibaawo, bukakafu obw’enkukunala obulaga nti abantu tebasobola kwefuga bokka era nti beetaaga Katonda. Bayibuli teraga nti Katonda y’aleeta okubonaabona, wabula egamba nti: ‘omuntu abeera n’obuyinza ku mulala olw’okumukola obubi.’​—Omubuulizi 8:9.

Ebyo tebiraga nti Katonda ye yekka asobola okutuyamba okumanya ensibuko y’ebizibu ebiriwo leero n’engeri gye binaagonjoolwamu? Kiki Katonda ky’anaakola?

Twetaaga Obuyambi bwa Katonda

Abantu bamaze ebbanga ddene nga bakola buli ekisoboka okuggyawo endwadde, okukaddiwa, n’okufa, naye balemereddwa. Abamu bagezezzaako okubirwanyisa nga bakozesa eddagala ery’ebika eby’enjawulo, nga banywa amazzi agatwalibwa okuba ag’omukisa, nga beenyigira mu by’obusamize, oba ebintu ebirala ebiri ng’ebyo, naye tebasobodde kumalawo bizibu ebyo.

Katonda ayagala abantu babe bulungi era babe basanyufu. Ekyo kye kyali ekigendererwa kye ng’atonda abantu, era tekikyukanga. (Olubereberye 1:27, 28; Isaaya 45:18) Yakuwa Katonda atukakasa nti ebigendererwa bye byonna bijja kutuukirira. (Isaaya 55:10, 11) Bayibuli etutegeeza nti Katonda ajja kufuula ensi eno olusuku lwe ebe ng’olwo Adamu ne Kaawa lwe baalimu. Ekitabo ekisembayo mu Bayibuli kigamba nti: “[Yakuwa Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era tewalibaawo kufa nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.” (Okubikkulirwa 21:4) Ekyo Katonda anaakikola atya?

Yesu Kristo, Omwana wa Katonda, yayigiriza abagoberezi be okusaba nti Katonda by’ayagala bikolebwe. Essaala eyo abamu gye bayita Essaala ya Mukama Waffe abantu bangi bagimanyi era abamu bagiddiŋŋana enfunda n’enfuda. Egamba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:9, 10) Essaala eyo eraga bulungi nti Yakuwa Katonda ajja kukozesa Obwakabaka bwe okuggyawo ebizibu byonna ebireeteddwawo obufuzi bw’abantu era n’okussaawo ensi empya ey’obutuukirivu.a (Danyeri 2:44; 2 Peetero 3:13) Kati olwo, kiki kye tusaanidde okukola okuganyulwa mu kisuubizo kya Katonda ekyo?

Yesu Kristo yatubuulira kye tusaanidde okukola. Yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) N’olwekyo, Katonda asobola okutuyamba okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi empya gye yasuubiza. Ekyo kyongera okutukakasa nti twetaaga Katonda.

Kino kye Kiseera Okunoonya Katonda

Emyaka nkumi bbiri emabega, omutume Pawulo bwe yali ayogera eri abantu mu Aleyopaago eky’omu Asene, yagamba nti: “[Katonda] y’awa abantu bonna obulamu, omukka gwe bassa, n’ebintu byonna. Ku bw’oyo tuli balamu, tutambula, era weetuli, era ng’abamu ku bayiiya b’ebitontome mu mmwe bwe bagamba nti, ‘Naffe tuli zzadde lye.’”​—Ebikolwa 17:25, 28.

Ebyo Pawulo bye yagamba abantu ab’omu Asene naffe bitukwatako. Omutonzi waffe y’atuwa omukka gwe tussa, emmere gye tulya, n’amazzi ge tunywa. Tetwandibadde balamu singa Yakuwa tatuwa bintu ebyo. Naye lwaki Yakuwa akyeyongera okuwa abantu bonna ebintu ng’ebyo nga mw’otwalidde n’abo abatamusinza? Pawulo yagamba nti, “basobole okunoonya Katonda, bamuwammante, era bamuzuule, wadde nga tali wala wa buli omu ku ffe.”​—Ebikolwa 17:27.

Wandyagadde okuyiga ebisingawo ebikwata ku Katonda, ebigendererwa bye, engeri gy’osobola okuba mu bulamu obulungi kati, n’ebirala by’osaanidde okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso? Bwe kiba bwe kityo, tukukubiriza okwogera n’omuntu eyakuwa akatabo kano oba okuwandiikira abaakakuba. Bajja kuba basanyufu nnyo okukuyamba.

a Okumanya ebisingawo ku ngeri Obwakabaka obwo gye bujja okusobozesaamu Katonda by’ayagala okukolebwa ku nsi, laba essuula 8 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa, era osobola okukafuna ne ku mukutu gwa Intaneeti www.pr418.com.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share