EBIBUUZO EBIVA MU BASOMI
Abakristaayo basaanidde kutwala batya enkola ey’okwokya emirambo?
Ebyawandiikibwa tebirina we biragira nti kikyamu okwokya emirambo.
Bayibuli eyogera ku mirambo ne ku magumba g’abafu ebyayokebwa. (Yos. 7:25; 2 Byom. 34:4, 5) Okubyokya kiyinza okuba nga kyali kiraga nti abantu abo baali tebasaana kuziikibwa mu ngeri ya kitiibwa; kyokka oluusi waabangawo n’ensonga endala.
Ekyo tukirabira ku ebyo ebyaliwo oluvannyuma lw’okufa kwa Kabaka Sawulo awamu ne batabani be abasatu. Sawulo ne batabani be abo baafiira mu lutalo nga balwana n’Abafirisuuti. Omu ku batabani be abo yali Yonasaani, eyali mukwano gwa Dawudi nfiirabulago era eyamuwagira ennyo. Abasajja ba Isiraeri abazira abaali babeera mu Yabesugireyaadi bwe baakimanya nti Sawulo ne batabani be baali battiddwa, baagenda ne baggyayo emirambo gyabwe ne bagyokya, era oluvannyuma amagumba gaabwe ne bagaziika. Dawudi yasiima nnyo abasajja abo olw’ekyo kye baakola.—1 Sam. 31:2, 8-13; 2 Sam. 2:4-6.
Bayibuli eraga nti Katonda ajja kuzuukiza abantu abaafa, ekitegeeza nti, bajja kuddamu babe balamu. Omulambo gw’omuntu ka gube nga gwokeddwa oba nedda, Yakuwa alina obusobozi bw’okuzzaawo omuntu oyo n’amuwa omubiri omuggya. Kabaka Nebukadduneeza bwe yalagira Abebbulaniya abasatu okwokebwa, Abebbulaniya abo tebaalimu kutya kwonna nti bwe bandyokeddwa ne basaanawo, Katonda yandiremereddwa okubazuukiza. (Dan. 3:16-18) Bwe kityo bwe kyali ne ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa abattirwa mu nkambi z’Abanazi era emirambo gyabwe ne gyokebwa. Waliwo n’abaweereza ba Katonda abatali bamu abaafa oluvannyuma lw’okukubwa bbomu oba abaafa mu ngeri endala naye emirambo gyabwe ne gisaanawo. Abaweereza ba Katonda ng’abo nabo bajja kuzuukira.—Kub. 20:13.
Yakuwa tekimwetaagisa kugenda ng’agatagata ebitundu by’omubiri omuntu gwe yalina okusobola okumuzuukiza. Ekyo tukirabira ku ky’okuba nti Yakuwa azuukiza Abakristaayo abaafukibwako amafuta n’abawa obulamu mu ggulu. Okufaananako Yesu, ‘eyafuulibwa omulamu mu mwoyo,’ Yakuwa bw’azuukiza Omukristaayo eyafukibwako amafuta, amuzuukiza nga ye muntu oyo yennyini, naye ng’alina omubiri gwa mwoyo. Abakristaayo abaafukibwako amafuta bwe baba bagenda mu ggulu, tewali kitundu na kimu eky’omubiri gwabwe ogw’ennyama kye bagenda nakyo.—1 Peet. 3:18; 1 Kol. 15:42-53; 1 Yok. 3:2.
Essuubi ery’okuzuukira lye tulina teryesigamiziddwa ku kiki ekituuka ku mulambo gw’omuntu, wabula lyesigamiziddwa ku kuba nti Katonda alina obusobozi obw’okuzuukiza abafu n’okuba nti ekyo ayagala nnyo okukikola. (Bik. 24:15) Kyo kituufu nti tetumanyidde ddala ngeri Katonda gye yazuukizaamu bantu mu biseera by’edda oba engeri gy’ajja okubazuukizaamu mu biseera eby’omu maaso, naye tuli bakakafu nti ajja kuzuukiza abantu abaafa. Okuba nti yazuukiza Yesu ‘bukakafu’ bwa maanyi obulaga nti ekyo ajja kukikola.—Bik. 17:31; Luk. 24:2, 3.
Abakristaayo bwe baba balowooza ku ky’okwokya omulambo gw’omuntu waabwe, kiba kirungi ne balowooza ne ku mpisa y’omu kitundu, engeri abalala gye banaakitwalamu, n’ekyo amateeka g’omu kitundu kye googera ku nsonga eyo. (2 Kol. 6:3, 4) Oluvannyuma lw’ekyo, kiba eri bo okusalawo okwokya omulambo gw’omuntu waabwe oba obutagwokya.