LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 6/15 lup. 8-11
  • Okuyamba Mukkiriza Munno Eyagattululwa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuyamba Mukkiriza Munno Eyagattululwa?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Subheadings
  • Similar Material
  • KIREETAWO OBULUMI OBW’AMAANYI
  • BAYINZA OKUFUNA ENDOWOOZA ETERI NNUŊŊAMU
  • BWE BABA BAWULIRA EKIWUUBAALO OBA NGA BAWULIRA NTI TEBAFIIBWAKO
  • Ebinaakuyamba Okuba Omusanyufu bw’Oba Wagattululwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 6/15 lup. 8-11

Okuyamba Mukkiriza Munno Eyagattululwa

Omukyala Omukristaayo ng’abudaabuda mukkiriza munne eyagattululwa

Oyinza okuba ng’olinayo omuntu gw’omanyi eyagattululwa mu bufumbo oba ng’omanyiiyo abantu ng’abo abawerako. Ekyo kiri kityo kubanga leero waliwo abantu bangi abagattululwa. Ng’ekyokulabirako, okunoonyereza okwakolebwa mu Poland kwalaga nti abafumbo abali mu myaka 30 bagattululwa nga baakamala emyaka egiri wakati w’esatu n’omukaaga mu bufumbo. Naye abantu abali mu myaka egyo si be bokka abagattululwa mu bufumbo.

Ekitongole ekikola ku nsonga z’amaka mu Sipeyini kigamba nti: “Mu nsi [za Bulaaya] abantu ebitundu kimu kya kubiri abafumbiriganwa bagattululwa oluvannyuma lw’ekiseera.” Bwe kityo bwe kiri ne mu nsi endala engagga.

KIREETAWO OBULUMI OBW’AMAANYI

Biki ebitera okubaawo oluvannyuma lw’abafumbo okugattululwa? Omukugu omu akola ku nsonga z’amaka mu Bulaaya agamba nti: “Okugattululwa kikakasa ekintu ekyamala edda okubaawo, kwe kugamba, nti enkolagana wakati w’omwami n’omukyala tekyaliwo, ekintu ekireetawo obulumi obw’amaanyi.” Yagattako nti: ‘Abo ababa bagattuluddwa, batera okwennyamira, okuwulira obuswavu, okwejjusa, oba okusunguwala.’ Ebiseera ebimu omuntu aba agattuluddwa ayinza n’okulowooza ku ky’okwetta. Ate era omuntu oyo ayinza n’okwebuuza: ‘Okuva bwe kiri nti kati mmaze okugattululwa, kiki ekiddako?’

Ng’ayogera ku ngeri gye yawuliramu oluvannyuma lw’okugattululwa n’omwami we, Ewa agamba nti: “Baliraanwa bange bwe baabanga banjogerako bampitanga ‘omugattulule.’ Ekyo kyandeetera okuwulira obuswavu n’obusungu. Ate okuva bwe kiri nti nze nnasigaza abaana baffe ababiri, nze nnali maama era taata.” a Adam, eyali amaze emyaka 12 ng’aweereza ng’omukadde, yagamba nti: “Mpulira nga sikyalina kitiibwa kyonna era oluusi mpulira obusungu ne mba nga saagala kubeera na muntu yenna.”

BAYINZA OKUFUNA ENDOWOOZA ETERI NNUŊŊAMU

Olw’okuba baba tebamanyi ngeri biseera byabwe eby’omu maaso bwe binaaba, abamu ku abo abagattululwa kibatwalira ebbanga ddene okuddamu okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Bayinza okutandika okulowooza nti abalala tebabafaako. Ate era omuwandiisi omu eyeekenneenya ensonga z’amaka agamba nti: “Abantu ng’abo baba balina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi n’okuyiga okwegonjoolera ebizibu byabwe.”

Stanisław agamba nti: “Bwe nnagattululwa ne mukyala wange, yaŋŋaana okulaba ku baana bange. Ekyo kyandeetera okuwulira nti tewali n’omu anfaako era nnatandika n’okulowooza nti Yakuwa yali anjabulidde. Nnawulira nga njagala kufa. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nnakiraba nti endowooza yange yali nkyamu.” Mwannyinaffe ayitibwa Wanda bwe yamala okugattululwa n’omwami we, yatandika okweraliikirira ebikwata ku biseera bye eby’omu maaso. Yagamba nti: “Nnali ndowooza nti, nze n’abaana bange, oluvannyuma lw’ekiseera abantu bonna, nga mw’otwalidde ne bakkiriza bannange, bandibadde tebakyatufaako. Naye nkirabye nti bakkiriza bannange tebanjabulidde era bannyambye nnyo nga nfuba okukuliza abaana bange mu makubo ga Yakuwa.”

Ebyokulabirako ebyo bye tulabye waggulu biraga nti abantu abagattululwa oluusi bafuna endowooza eteri nnuŋŋamu. Bayinza okutandika okulowooza nti tebakyalina mugaso. Era bayinza n’okutandika okulowooza nti ab’oluganda mu kibiina tebabaagala era nti tebabafaako. Kyokka, ng’ekyokulabirako kya Stanisław ne Wanda bwe biraga bangi ku bo bakirabye nti bakkiriza bannaabwe babafaako nnyo. Mu butuufu, bakkiriza bannaabwe bafuba okubayamba wadde nga mu kusooka ekyo bayinza okuba nga tebakiraba.

BWE BABA BAWULIRA EKIWUUBAALO OBA NGA BAWULIRA NTI TEBAFIIBWAKO

Osaanidde okukijjukira nti ne bwe tukola kyonna ekisoboka okuyamba abo ababa bagattuluddwa mu bufumbo, ebiseera ebimu bayinza okuwulira ekiwuubaalo. Okusingira ddala bannyinaffe bayinza okuwulira nti abalala tebabafaako. Mwannyinaffe Alicja agamba nti: “Kati wayise emyaka munaana bukya tugattululwa mu bufumbo. Kyokka ebiseera ebimu mpulira ng’atalina mugaso. Mu biseera ng’ebyo, mba mpulira nga njagala kubeera nzekka era oluusi nkaaba n’amaziga.”

Wadde nga kya bulijjo omuntu aba agattuluddwa okuwulira bw’atyo, Bayibuli etukubiriza okwewala okweyawula ku balala. Bwe tulemererwa okukolera ku kubuulirira okwo, tujja kwesanga nga twesambye “amagezi” gonna amalungi. (Nge. 18:1) Kyokka kiba kya magezi oyo aba awulira ekiwuubaalo okwewala okuba nga buli kiseera agenda eri omuntu gw’atafaanaganya naye kikula okumubudaabuda. Ekyo kisobola okumuyamba okwewala okufuna okwegomba okutali kulungi.

Bakkiriza bannaffe ababa bagattuluddwa bayinza okuba nga beeraliikirira ebikwata ku biseera byabwe eby’omu maaso, nga bawulira ekiwuubaalo, oba nga bawulira nti tebafiibwako. Olw’okuba tukimanyi nti abantu ng’abo batera okufuna enneewulira ng’ezo era nti si kyangu kwolekagana nazo, tusaanidde okukoppa Yakuwa nga tukola kyonna ekisoboka okubayamba. (Zab. 55:22; 1 Peet. 5:6, 7) Bakkiriza bannaffe abo basiima nnyo ekyo kyonna kye tukola okubayamba. Bwe tufuba okubayamba, bajja kukiraba nti mu kibiina mwe muli mikwano gyabwe aba nnamaddala!​—Nge. 17:17; 18:24.

a Amannya agamu gakyusiddwa.

Endowooza Ennuŋŋamu ku Kugattululwa

Ng’abaweereza ba Yakuwa, ekirabo ky’obufumbo tukitwala nga kya muwendo nnyo. Ekyo kiri kityo kubanga tumanyi ekyo Ebyawandiikibwa kye byogera ku bufumbo. Ng’ekyokulabirako, mu Malaki 2:16 (NW), Katonda agamba nti: “Nkyawa okugattululwa.” Okusinziira ku Byawandiikibwa, ensonga yokka omuntu gy’asobola okusinziirako okugattululwa ne munne mu bufumbo kwe kuba nti munne ayenze. N’olwekyo, kiba kikyamu omuntu okwagala okugattululwa ne munne mu bufumbo mu ngeri ekontana n’Ebyawandiikibwa, oboolyawo ng’alinayo omuntu omulala gw’ayagala okufumbiriganwa naye.​—Lub. 2:22-24; Ma. 5:21; Mat. 19:4-6, 9.

Naye singa Omukristaayo agattululwa oluvannyuma lwa munne mu bufumbo okwenda, bakkiriza banne bafuba okumuyamba. Ab’oluganda mu kibiina bafuba okukoppa Yakuwa nga bakola kyonna ekisoboka okuyamba mukkiriza munnaabwe omwesigwa ayinza okuba ng’alina omwoyo “ogumenyese.”​—Zab. 34:15, 18, NW; Is. 41:10.

KIKI KY’OYINZA OKUKOLA OKUBAYAMBA?

Kiki ky’osobola okukola okuyamba bakkiriza banno abaagattululwa mu bufumbo era abalina endowooza ng’ezo ezoogeddwako mu kitundu kino? Laba amagezi agali mu Bayibuli n’engeri Abakristaayo abamu gye bayambyemu abantu ng’abo.

Yoleka amagezi era bawulirize bulungi. (Nge. 16:20, 23)

Kijjukire nti oluvannyuma lw’okugattululwa, omuntu ayinza obutayagala kwogera ku ebyo byonna ebyaviirako embeera eyo okubaawo. Ate era okumuleetera okwogera ennyo ku bintu ng’ebyo, kiyinza okumuleetera okwongera okulumizibwa. (Nge. 12:25; Bar. 12:15) Michał, eyayamba ennyo Adam, eyayogeddwako, yakiraba nti kisoboka okuwuliriza omuntu obulungi awatali kumanya byonna bizingirwamu. Agamba nti: “Nnagezaako okuyamba Adam okukiraba nti bw’aba mu mbeera enzibu tekimwetaagisa kumbuulira buli kimu kubanga oluvannyuma ayinza okwejjusa lwaki ambuulidde ebintu ebimu.” Wadde nga Michał teyakubiriza Adamu kumubuulira buli kimu, yamuwulirizanga bulungi. Tuyinza okwogerako ne bakkiriza bannaffe abaagattululwa ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde. Tusaanidde okukiraga nti tutegeera embeera gye balimu era nti tuli beetegefu okubayamba.

Kirage nti obafaako. (Baf. 2:4)

Mirosław agamba nti: “Nze ne mukyala wange twakola enteekateeka okuyamba mwannyinaffe eyali agattuluddwa mu bufumbo. Ng’ekyokulabirako, lumu twagenda ne tuddaabiriza omunyolo gw’oluggi lwe. Ate era bwe yabanga agenda okulaba omusawo, twamutwalangako.” Ebintu ebyo birabika ng’ebitono naye bikulu nnyo kubanga byayamba mwannyinaffe oyo. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, mwannyinaffe oyo yaddamu amaanyi. Yatandika okuweereza nga payoniya era ne muwala we ow’emyaka 11 yabatizibwa.

Omwami ne mukyala we nga bafaayo ku mukyala Omukristaayo eyagattululwa

Bayambe okukiraba nti Yakuwa ategeera embeera gye balimu.

Mukkiriza munno bw’aba awulira ng’atalina mugaso, osobola okumuyamba okukiraba nti Katonda atwala buli omu ku baweereza be nga wa muwendo. Mu butuufu, tuli “ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.” (Mat. 10:29-31) ‘Yakuwa akebera emitima’ era asobola bulungi okumanya ekyo ekiri mu mitima gy’abaweereza be abeesigwa abaagattululwa era tasobola kubaabulira. (Nge. 17:3, NW; Zab. 145:18; Beb. 13:5) Osobola okukiraga nti ofaayo ku bakkiriza banno ng’abo ng’obayamba okukiraba nti Katonda tasobola kwerabira abo abamwagala era abafuba okuwagira okusinza okw’amazima.​—Baf. 2:29.

Bakubirize okunywerera ku kibiina.

Abamu bwe baba mu mbeera enzibu bayinza okuwulira nga tebaagala kugenda na mu nkuŋŋaana. Naye kikulu okukijjukira nti bwe tugenda mu nkuŋŋaana, tubudaabudibwa era ne tuzzibwamu amaanyi. (Zab. 122:1; 1 Kol. 14:26) Ate era abakadde mu kibiina balina kinene kye bayinza okukola okuzzaamu bakkiriza bannaabwe ng’abo amaanyi. Wanda, ayogeddwako waggulu agamba nti, “Abakadde baatufaako nnyo.”

Bakubirize okunyweza enkolagana yaabwe ne Katonda nga basaba, nga beesomesa, era nga bafumiitiriza. (Yak. 4:8)

Wadde nga Yakuwa ye muyinza w’ebintu byonna era ng’abeera mu ggulu, afaayo ku abo ‘abalina omwoyo ogumenyese era abassa ekitiibwa mu kigambo kye.’ Yamba oyo eyagattululwa ekyo okukimanya, era muyambe okukiraba nti asobola okunyweza enkolagana ye ne Katonda okuyitira mu kusaba n’okwesomesa Bayibuli.​—Is. 66:2, NW.

Kola enteekateeka okubuulirako nabo oba okutegekerako awamu nabo enkuŋŋaana.

Abasajja babiri Abakristaayo nga bali mu mulimu gw’okubuulira

Ekyo kijja kubayamba okuddamu amaanyi. Marta, eyayamba mwannyinaffe eyali aweddemu amaanyi oluvannyuma lw’okugattululwa mu bufumbo, agamba nti: “Nnateranga okubuulirako awamu naye. Tweteerangawo ebiruubirirwa era ne tufuba okubituukako. Ekyo kyatuleeteranga essanyu lingi. Ebiseera ebimu twategekeranga wamu enkuŋŋaana era oluvannyuma ne tutegekayo n’eky’okulya.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share