ETTEREKERO LYAFFE
Firimu ya “Eureka Drama” Yayamba Bangi Okuzuula Amazima
“EUREKA!” Ekigambo ekyo kitegeeza ki? Mu kyasa ekya 19, abantu b’omu California, Amerika baasimanga zzaabu. Omuntu bwe yazuulanga zzaabu yayogeranga ekigambo “Eureka!” ekitegeeza nti “Mmuzudde!” Kyokka Ow’oluganda Charles Taze Russell awamu n’Abayizi ba Bayibuli abalala baali bazudde ekintu eky’omuwendo ennyo okusinga zzaabu, nga gano ge mazima agali mu Bayibuli. Amazima ago baali baagala nnyo okugabuulirako abalala.
Mu 1914 abantu bangi nnyo baalaba firimu ya “Photo-Drama of Creation,” eyategekebwa International Bible Students Association (I.B.S.A.). Firimu eyo yali emala essaawa munaana, ng’erimu amaloboozi, ebifaananyi ebiri mu langi ez’enjawulo, awamu n’obuyimba obuseeneekerevu. Yali eraga ebyo ebyaliwo okuva ku kutondebwa kw’ebintu okutuukira ddala ku nkomerero y’Obufuzi bwa Yesu Kristo obw’Emyaka Olukumi.—Kub. 20:4.a
Ate abo abaabeeranga mu bubuga obutono oba mu byalo? Okusobola okulaba nti tewali n’omu ku bantu abaali bayaayaanira amazima asubwa kulaba firimu eyo, mu Agusito 1914 ekibiina kya I.B.S.A. kyafulumya “Eureka Drama.” Eno yali firimu ya “Photo-Drama” eyali ennyangu okutwala buli wamu. Firimu eyo yalimu ebika bisatu era ng’eri mu nnimi ez’enjawulo. Waaliwo “Eureka X” eyalimu obuyimba obuseeneekerevu n’amaloboozi g’abo abattottola ebigenda mu maaso. Waaliwo ne “Eureka Y” eyalimu amaloboozi gonna awamu n’ebifaananyi ebirabika obulungi ebyali ku bulabirwamu. Era waaliwo ne “Eureka Family Drama” eyalimu amaloboozi agamu n’ennyimba ezimu, eyalagibwanga abantu mu maka gaabwe. Mu kiseera ekyo gramufomu n’ebyuma ebiraga ebifaananyi ku lutimbe tebyali bya buseere.
Ekyuma ekyakozesebwanga okulaga ebifaananyi ku lutimbe mu langi ez’enjawulo
Okuva bwe kiri nti ebiseera ebimu kyali tekyetaagisa kukozesa byuma bya masannyalaze okulaga firimu eyo, Abayizi ba Bayibuli baali basobola okugiraga ne mu byalo. Ekyo kyabayamba okutuusa amawulire ag’Obwakabaka mu bitundu bingi. Firimu ya “Eureka X” eyali ey’amaloboozi gokka yali esobola okuwulirizibwa emisana oba ekiro. Ate firimu ya “Eureka Y” yali esobola okulagibwa awatali masannyalaze. Alipoota eyafulumira mu Watch Tower ey’Olufiini yagamba nti: “Tusobola okulaga firimu eyo kumpi buli wamu.”
Mu kifo ky’okupangisa ebifo aw’okulagira firimu, Abayizi ba Bayibuli baateranga okufuna ebifo ebitaali bya kusasulira, gamba ng’ebibiina by’amasomero, sitenseni z’eggaali y’omukka, oba amaka g’abantu. Bangi firimu eyo baagirabiranga wabweru ku lutimbe olw’essuuka enjeru. Anthony Hambuch yagamba nti: “Abalimi baateranga okutegeka ekifo aw’okulabira firimu mu nnimiro zaabwe nga bateekawo ebiti abantu kwe baatuulanga.” Ekibinja Anthony mwe yali kyalina ekigaali mwe baatambulizanga ebyuma byabwe, ebisawo byabwe, amatundubaali gaabwe, n’ebintu bye baakozesanga mu kufumba.
Abantu abaalabanga firimu ya “Eureka” oluusi baabanga batono ate oluusi baabanga bangi. Mu Amerika, abantu 400 baakuŋŋaanira mu ssomero erimu eriri mu kabuga akaalimu abantu nga 150 okulaba firimu eyo. Mu kitundu ekirala, abantu abamu baatambula mayiro nga ttaano okugenda okulaba firimu ya “Eureka Drama.” Mu Sweden, baliraanwa ba Charlotte Ahlberg baakuŋŋaanira mu kayumba ke akatono okuwuliriza firimu eyo, era ebyo bye baawulira byabakwatako nnyo. Ate lumu abantu nga 1,500 baakuŋŋaana okulaba firimu eyo mu kitundu ekimu ekisangibwa mu Australia. Magazini ya Watch Tower yagamba nti mu masomero ga sekendule ne mu matendekero, abasomesa n’abayizi firimu eyo yabakwatangako nnyo. N’abantu abaabeeranga mu bitundu awaalagirwanga ennyo firimu endala, baanyumirwanga nnyo firimu ya “Eureka.”
OKUSIGA ENSIGO EZ’AMAZIMA
Firimu ya “Eureka” yakola kinene mu kuyamba abantu okwegatta ku kibiina kya Yakuwa, kubanga yayamba Abayizi ba Bayibuli okutandikawo ebibinja ebiwerako. Tetuyinza kumanyira ddala bantu bameka abaalaba firimu eyo. Kyokka ebintu ebimu ebyakozesebwanga mu kulaga firimu eyo byakozesebwanga obutayosa. Mu 1915, ku bibinja 86 ebyalaganga firimu eyo, 14 byokka bye byawangayo alipoota obutayosa. Alipoota y’omwaka eyakolebwa yalaga nti abantu abasukka mu 1,000,000 be baali balabye firimu eyo, era ku bo abantu nga 30,000 be baasaba okuweebwa ebitabo byaffe.
Wadde nga firimu ya “Eureka” teyacaaka nnyo, abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi baagiraba. Bangi ku bo baazuula amazima agali mu Bayibuli, ag’omuwendo ennyo okusinga zzaabu, era baali basobola okugamba nti “Eureka!” ekitegeeza nti ‘tugazudde.’