‘Baalengera’ Ebintu Ebyasuubizibwa
“Ebisuubizo tebyatuukirizibwa mu kiseera kyabwe, naye baabirengerera wala.”—BEB. 11:13.
1. Obusobozi bwe tulina obw’okukuba akafaananyi ak’ebintu ebitannalabika, butuganyula butya? (Laba ekifaananyi waggulu.)
OBUSOBOZI bwe tulina obw’okukuba akafaananyi ak’ebintu bye tutannalabako kirabo okuva eri Katonda. Olw’okuba tulina obusobozi obwo tusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi n’okwesunga ebintu ebirungi ebijja. Yakuwa amanyi ebintu ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso era abitubuulira ng’ayitira mu Byawandiikibwa. Ekyo kituyamba okukuba akafaananyi k’ebintu ebyo. Mu butuufu, obusobozi obw’okukuba akafaananyi ak’ebintu ebitalabika butuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe.—2 Kol. 4:18.
2, 3. (a) Lwaki kikulu okubaako kye tusinziirako okukuba akafaananyi? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
2 Kya lwatu nti oluusi tukuba akafaananyi ak’ebintu ebitasobola kubaawo. Ng’ekyokulabirako, singa akawala kakuba akafaananyi nga katudde ku kiwojjolo nga kibuuka, ekyo kiba kirooto bulooto. Naye Kaana bwe yakubanga akafaananyi ng’atutte mutabani we Samwiri okuweereza ku weema entukuvu, ekyo tekyali kirooto bulooto. Yalina ensonga ey’amaanyi kwe yali asinziira okukuba akafaananyi ako era ekyo kyamuyamba okutuukiriza ekyo kye yali asazeewo okukola. (1 Sam. 1:22) Bwe tukuba akafaananyi k’ebintu Katonda by’asuubizza okukola, tuba tulowooza ku bintu ebijja okutuukirira.—2 Peet. 1:19-21.
3 Abaweereza ba Katonda bangi abeesigwa baakubanga akafaananyi ak’ebintu Katonda bye yabanga asuubizza. Ekyo kyabaganyulanga kitya? Era singa naffe tulowooza ku bintu eby’ekitalo Katonda by’asuubizza abantu abeesigwa, kinaatuganyula kitya?
OKUKUBA AKAFAANANYI KYABAYAMBA OKUNYWEZA OKUKKIRIZA KWABWE
4. Lwaki Abbeeri yasobola okukiraba nti ebiseera eby’omu maaso byandibadde birungi?
4 Abbeeri ye muntu eyasooka okukiraga nti yali akkiririza mu bisuubizo bya Yakuwa. Yali amanyi ebyo Yakuwa bye yagamba omusota oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okwonoona. Yakuwa yagamba nti: “Obulabe n’abuteekanga wakati wo n’omukazi, era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi: (ezzadde ly’omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.” (Lub. 3:14, 15) Abbeeri yali tamanyidde ddala ngeri ebigambo ebyo gye byandituukiriziddwamu. Wadde kyali kityo, ayinza okuba nga yabifumiitirizaako nnyo n’akiraba nti waliwo omuntu ‘eyandibetenteddwa ekisinziiro’ abantu basobole okuddamu okuba abatuukiridde nga Adamu ne Kaawa bwe baali nga tebannayonoona. Ka kibe ki Abbeeri kye yalowoozanga, yali mukakafu nti ekisuubizo kya Katonda ekyo kyandituukiridde, era bwe yawaayo ssaddaaka ye, Yakuwa yagikkiriza.—Soma Olubereberye 4:3-5; Abebbulaniya 11:4.
5. Lwaki okukuba akafaananyi ak’ebintu eby’omu maaso kyayamba nnyo Enoka?
5 Enoka yalina okukkiriza okw’amaanyi, wadde nga yali abeera mu bantu ababi abaali boogera obubi ku Katonda. Enoka yaluŋŋamizibwa okugamba nti Yakuwa yali agenda kujja “ne bamalayika be abatukuvu mitwalo na mitwalo, okusalira omusango abo bonna abatawa Katonda kitiibwa olw’ebintu bye baakola mu ngeri etamuweesa kitiibwa, n’olw’ebintu byonna ebibi aboonoonyi abatawa Katonda kitiibwa bye baamwogerako.” (Yud. 14, 15) Okuva bwe kiri nti Enoka yalina okukkiriza okw’amaanyi, ayinza okuba nga yakuba akafaananyi ng’alaba ensi omutali bantu babi.—Soma Abebbulaniya 11:5, 6.
6. Oluvannyuma lw’Amataba, kiki Nuuwa ky’ayinza okuba nga yalowoozaako?
6 Olw’okuba Nuuwa yalina okukkiriza okw’amaanyi, yawonawo mu Mataba. (Beb. 11:7) Oluvannyuma lw’Amataba, okukkiriza Nuuwa kwe yalina kwamukubiriza okuwaayo ensolo nga ssaddaaka. (Lub. 8:20) Okufaananako Abbeeri, Nuuwa yali mukakafu nti ekiseera kyandituuse abantu ne basumululwa okuva mu buddu bw’ekibi n’okufa. Ne mu kiseera Nimuloodi mwe yawakanyiza Yakuwa, Nuuwa yasigala alina okukkiriza okw’amaanyi. (Lub. 10:8-12) Nuuwa ayinza okuba nga yakubanga akafaananyi ng’alaba nga tewakyaliwo bufuzi obunyigiriza abantu, ekibi ekisikire, n’okufa, era ekyo kiteekwa okuba nga kyamusanyusanga nnyo. Naffe tusobola okukuba akafaananyi ak’ekiseera ekyo, era mu butuufu ekiseera ekyo kinaatera okutuuka!—Bar. 6:23.
BAAKUBA AKAFAANANYI NG’EBISUUBIZO BYA KATONDA BITUUKIRIDDE
7. Kafaananyi ki Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo ke bayinza okuba nga baakubanga?
7 Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo bateekwa okuba nga baakubanga akafaananyi ak’ebiseera eby’omu maaso ebirungi kubanga Katonda yali yasuubiza nti okuyitira mu zzadde lyabwe, amawanga gonna ag’oku nsi gandiweereddwa omukisa. (Lub. 22:18; 26:4; 28:14) Bazzukulu baabwe bandyeyongedde obungi era bandibadde mu Nsi Ensuubize. (Lub. 15:5-7) Olw’okuba baalina okukkiriza okw’amaanyi, abasajja abo abeesigwa bateekwa okuba nga baakubanga akafaananyi nga bazzukulu baabwe bali mu nsi eyo. Mu butuufu, okuva abantu lwe baafuuka abatatuukiridde, Yakuwa abaddenga awa abantu essuubi nti ekiseera kijja kutuuka abantu baddemu okuba abatuukiridde.
8. Kiki ekyayamba Ibulayimu okuba n’okukkiriza okw’amaanyi?
8 Okuba nti Ibulayimu yakubanga akafaananyi ng’alaba ebisuubizo bya Katonda nga bituukiridde kiyinza okuba nga kyamuyamba okwoleka okukkiriza okw’amaanyi. Ebyawandiikibwa biraga nti wadde nga Ibulayimu n’abaweereza ba Katonda abalala abeesigwa tebaalaba ‘kutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda mu kiseera kyabwe, baabirengerera wala ne babisanyukira.’ (Soma Abebbulaniya 11:8-13.) Olw’okuba Ibulayimu yalina obukakafu bungi obulaga nti bulijjo Yakuwa atuukiriza ebisuubizo bye, yali mukakafu nti n’ebisuubizo bya Katonda byonna eby’omu biseera eby’omu maaso byandituukiridde.
9. Okukkiririza mu bisuubizo bya Katonda kyayamba kitya Ibulayimu?
9 Okukkiriza okw’amaanyi Ibulayimu kwe yalina mu bisuubizo bya Katonda kwamuleetera okuba omumalirivu okukola Katonda by’ayagala. Olw’okukkiriza, Ibulayimu yava mu kibuga Uli era n’agaana okufuna obutuuze obw’enkalakkalira mu bibuga bya Kanani. Okufaananako Uli, ebibuga ebyo nabyo tebyalina musingi munywevu okuva bwe kiri nti abakulembeze baabyo baali tebasinza Yakuwa. (Yos. 24:2) Ekiseera kyonna kye yamala nga mulamu, Ibulayimu “yali alindirira ekibuga ekirina emisingi gyennyini, era nga eyakizimba era eyakikola ye Katonda.” (Beb. 11:10) Ibulayimu yakuba akafaananyi ng’ali mu nsi ennungi efugibwa Yakuwa. Abbeeri, Enoka, Nuuwa, Ibulayimu, awamu n’abaweereza ba Yakuwa abalala baali bakkiririza mu kuzuukira era baali beesunga nnyo okubeera mu nsi efugibwa Obwakabaka bwa Katonda, “ekibuga ekirina emisingi gyennyini.” Okufumiitiriza ku mikisa ng’egyo, kyanyweza okukkiriza kwabwe mu Yakuwa.—Soma Abebbulaniya 11:15, 16.
10. Okukuba akafaananyi ku biseera eby’omu maaso, kyayamba kitya Saala?
10 Ate lowooza ku mukyala wa Ibulayimu, Saala. Ne bwe yali nga wa myaka 90 era nga talina mwana, okulowooza ku biseera eby’omu maaso ebirungi kyamuyamba okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. Saala yakubanga akafaananyi ng’alaba abaana be bafunye emikisa Yakuwa gye yali asuubizza. (Beb. 11:11, 12) Lwaki Saala yali mukakafu nti ebisuubizo bya Katonda byandituukiridde? Kubanga Yakuwa yali yagamba omwami we nti: “Nange [ndiwa Saala] omukisa, era nate ndikuwa omwana mu ye: weewaawo, ndimuwa omukisa, naye aliba nnyina w’amawanga; bakabaka b’abantu baliva mu ye.” (Lub. 17:16) Oluvannyuma lw’okuzaala Isaaka, Saala yali mukakafu nti n’ebintu ebirala byonna Katonda bye yasuubiza Ibulayimu byali bya kutuukirira. Naffe bwe tukuba akafaananyi ne tulaba ng’ebintu Katonda bye yasuubiza bituukiridde, kisobola okunyweza okukkiriza kwaffe.
YEEKALIRIZA EMPEERA EYALI EY’OKUMUWEEBWA
11, 12. Kiki ekyayamba Musa okwongera okwagala Yakuwa?
11 Musa ye muntu omulala eyalina okukkiriza okw’amaanyi mu bisuubizo bya Yakuwa. Musa yakulira mu lubiri lwa Falaawo e Misiri. Naye olw’okuba yali ayagala Yakuwa okusinga ekintu ekirala kyonna, Musa teyaluubirira ttutumu oba bya bugagga. Bazadde be Abebbulaniya baali baamuyigiriza ebikwata ku Yakuwa era nga baamubuulira ku kisuubizo kya Katonda eky’okununula Abebbulaniya okuva mu buddu e Misiri n’okubawa Ensi Ensuubize. (Lub. 13:14, 15; Kuv. 2:5-10) Musa gye yakoma okufumiitiriza ku bisuubizo ebyo, gye yakoma okwagala Yakuwa.
12 Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Olw’okukkiriza, Musa bwe yakula yagaana okuyitibwa mutabani wa muwala wa Falaawo, n’alondawo okuyisibwa obubi awamu n’abantu ba Katonda, mu kifo ky’okubeera mu ssanyu ly’ekibi ery’akaseera obuseera; kubanga okuvumibwa kwe yayolekagana nakwo ng’oyo Eyafukibwako Amafuta yakutwala ng’eky’obugagga ekisinga obugagga bw’e Misiri; kubanga yeekaliriza empeera eyali ey’okumuweebwa.”—Beb. 11:24-26.
13. Okulowooza ku bintu Katonda bye yali asuubizza kyayamba kitya Musa?
13 Musa bwe yafumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yali asuubizza okukolera Abaisiraeri, okukkiriza kwe kweyongera okunywera era yeeyongera okwagala Katonda. Okufaananako abaweereza ba Katonda abalala abeesigwa, ayinza okuba nga yalowoozanga ku kiseera Yakuwa lw’anaanunula abantu okuva mu kufa. (Yob. 14:14, 15; Beb. 11:17-19) N’olwekyo tekyewuunyisa nti Musa yali ayagala nnyo Katonda, eyalaga Abebbulaniya n’abantu abalala bonna ekisa. Okukkiriza n’okwagala byayamba Musa okuba omumalirivu okuweereza Yakuwa obulamu bwe bwonna. (Ma. 6:4, 5) Falaawo ne bwe yatiisatiisa okumutta, Musa yasigala muvumu olw’okuba yalina okukkiriza okw’amaanyi, ng’ayagala nnyo Yakuwa, era ng’alowooza ku biseera eby’omu maaso ebirungi.—Kuv. 10:28, 29.
LOWOOZA KU BINTU OBWAKABAKA BYE BUGENDA OKUKOLA
14. Ndowooza ki enkyamu abantu abamu ze balina ku biseera eby’omu maaso?
14 Leero abantu bangi balina endowooza ezitali zimu enkyamu. Ng’ekyokulabirako, wadde ng’abantu abamu baavu nnyo balowooza nti bajja kugaggawala nnyo babe nga tebakyalina kibeeraliikiriza. Naye Bayibuli egamba nti obulamu mu nsi ya Sitaani eno bulijjo bujja kubaamu ‘okutegana n’okunakuwala.’ (Zab. 90:10) Abamu balowooza nti gavumenti z’abantu zijja kugonjoola ebizibu byabwe byonna. Naye Bayibuli eraga nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okugonjoola ebizibu by’abantu byonna. (Dan. 2:44) Abantu bangi balowooza nti Katonda tajja kuzikiriza nsi eno embi. Naye Bayibuli egamba nti ajja kugizikiriza. (Zef. 1:18; 1 Yok. 2:15-17) Abo abasuubira ebintu ebikontana n’ebyo Katonda by’agamba, bali mu birooto bulooto.
Weeraba ng’oli mu nsi empya? (Laba akatundu 15)
Weeraba ng’oli mu nsi empya? (Laba akatundu 15)
15. (a) Abakristaayo bwe balowooza ku ssuubi lyabwe kibaganyula kitya? (b) Yogera ku kintu kye weesunga nga Katonda atuukirizza ebisuubizo bye.
15 Ku luuyi olulala, Abakristaayo tukubirizibwa okulowooza ennyo ku ssuubi lyaffe, ka libe lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi. Okuba akafaananyi ng’oli mu bulamu Yakuwa bw’asuubizza? Okulowooza ku ebyo by’onookola nga Katonda atuukirizza ebisuubizo bye kijja kukuleetera essanyu lingi. Oboolyawo, weeraba ng’oli mu nsi empya era ng’ofunye obulamu obutaggwaawo. Lowooza ku ngeri obulamu bwe bunaaba ng’okolera wamu n’abalala okufuula ensi olusuku lwa Katonda. Baliraanwa bo bonna baagala Yakuwa nga naawe bw’omwagala. Oli mulamu bulungi, olina amaanyi, era ebiseera byo eby’omu maaso bitangaavu. Abo bonna abalabirira omulimu ogw’okutereeza ensi bantu balungi era bakufaako. Owulira essanyu lingi olw’okuba okozesa ebitone by’olina n’obusobozi bwo mu ngeri eganyula abalala era eweesa Yakuwa ekitiibwa. Oboolyawo oyamba abantu abanaaba bazuukiziddwa okuyiga ebikwata ku Yakuwa. (Yok. 17:3; Bik. 24:15) Mu butuufu, bw’olowooza ku bintu ng’ebyo oba toloota buloosi. Ebintu ebyo bijja kutuukirira, kubanga byesigamiziddwa ku Byawandiikibwa.—Is. 11:9; 25:8; 33:24; 35:5-7; 65:22.
LWAKI KIKULU OKWOGERA KU SSUUBI LYAFFE?
16, 17. Okwogera ku ssuubi lyaffe kituganyula kitya?
16 Bwe twogerako ne bakkiriza bannaffe ku bintu bye twesunga okukola nga Yakuwa atuukirizza ebisuubizo bye, kituleetera okwesunga ebiseera eby’omu maaso. Wadde nga tewali n’omu ku ffe asobola kumanyira ddala embeera ya buli muntu bw’eneeba mu nsi empya, okwogera ku bintu bye tusuubira okulaba kituyamba okuzziŋŋanamu amaanyi n’okwoleka okukkiriza kwaffe mu bintu Katonda bye yasuubiza. Omutume Pawulo bwe yakyalira bakkiriza banne mu Rooma, ‘bazziŋŋanamu amaanyi,’ era ekyo naffe tukyetaaga nnyo mu biseera bino ebizibu.—Bar. 1:11, 12.
17 Okufumiitiriza ku biseera eby’omu maaso kisobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bizibu ebiriwo leero. Lumu Peetero yali mweraliikirivu n’agamba Yesu nti: “Laba! Twaleka ebintu byonna ne tukugoberera; kale tulifuna ki?” Okusobola okuyamba Peetero n’abalala okufumiitiriza ku biseera eby’omu maaso ebirungi, Yesu yagamba nti: “Mazima mbagamba nti, Omwana w’omuntu bw’alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa ng’ebintu byonna bizzibwa obuggya, nammwe abamugoberera mulituula ku ntebe ekkumi n’ebbiri ne mulamula ebika bya Isiraeri ekkumi n’ebibiri. Era buli muntu eyaleka ennyumba, baganda be, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba abaana, oba ebibanja olw’erinnya lyange, ajja kufuna ebisingawo emirundi mingi era ajja kufuna n’obulamu obutaggwaawo.” (Mat. 19:27-29) Bwe kityo, Peetero n’abayigirizwa abalala baali basobola okukuba akafaananyi nga bafugira wamu ne Yesu mu gavumenti eneereetera abantu abeesigwa abanaaba ku nsi emikisa egy’ekitalo.
18. Okufumiitiriza ku ngeri ebisuubizo bya Katonda gye bijja okutuukirizibwamu kituganyula kitya?
18 Abaweereza ba Yakuwa bangi baganyuddwa nnyo mu kufumiitiriza ku ngeri ebisuubizo bya Katonda gye bijja okutuukirizibwamu. Olw’okuba Abbeeri yafumiitiriza ku biseera eby’omu maaso ebirungi Katonda bye yali asuubizza era n’ayoleka okukkiriza okw’amaanyi mu bisuubizo ebyo, yasanyusa Yakuwa. Ibulayimu yayoleka okukkiriza okw’amaanyi olw’okuba yafumiitiriza ku ngeri ekisuubizo kya Katonda ekikwata ku ‘zzadde’ lye gye kyandituukiriziddwamu. (Lub. 3:15) Musa “yeekaliriza empeera eyali ey’okumuweebwa,” n’ayoleka okukkiriza okw’amaanyi era ne yeeyongera okwagala Yakuwa. (Beb. 11:26) Naffe bwe tukuba akafaananyi ku ngeri ebisuubizo bya Katonda gye bijja okutuukirizibwamu, okukkiriza kwaffe kujja kweyongera okunywera era tujja kweyongera okumwagala. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri endala gye tuyinza okukozesaamu obusobozi bwaffe obwo.