Ebirimu
Ssebutemba 15, 2015
© 2015 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
OKITOBBA 26, 2015–NOOVEMBA 1, 2015
Ofuba Okutuuka ku Kigero eky’Obukulu bwa Kristo?
OLUPAPULA 3
NOOVEMBA 2-8, 2015
Omuntu Wo ow’Omunda Akola Bulungi?
OLUPAPULA 8
NOOVEMBA 9-15, 2015
OLUPAPULA 13
NOOVEMBA 16-22, 2015
Yakuwa Akiraze Atya nti Atwagala Nnyo?
OLUPAPULA 18
NOOVEMBA 23-29, 2015
Tuyinza Tutya Okulaga nti Twagala Yakuwa?
OLUPAPULA 23
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ Ofuba Okutuuka ku Kigero eky’Obukulu bwa Kristo?
▪ Omuntu Wo ow’Omunda Akola Bulungi?
Abaweereza ba Katonda basaanidde okufuba okukula mu by’omwoyo. Era basaanidde okufuba okutendeka omuntu waabwe ow’omunda. Ebitundu bino biraga ebintu ebiyinza okuyamba Omukristaayo okukula mu by’omwoyo n’okutendeka omuntu we ow’omunda.
▪ “Munywerere mu Kukkiriza”
Ebyo ebyaliwo nga Peetero atambulira ku mazzi g’Ennyanja y’e Ggaliraaya birina kinene kye bituyigiriza ku kukkiriza. Ekitundu kino kituyamba okumanya obanga okukkiriza kwaffe kuddiridde n’engeri gye tusobola okukunywezaamu.
▪ Yakuwa Akiraze Atya nti Atwagala Nnyo?
▪ Tuyinza Tutya Okulaga nti Twagala Yakuwa?
Bwe tukimanya nti Yakuwa atwagala era naffe ne tukiraga nti tumwagala kituleetera essanyu lingi. Ebitundu bino ebibiri byogera ku bintu ebiraga nti Yakuwa atwagala era n’engeri naffe gye tuyinza okukiragamu nti tumwagala.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
KU DDIBA: Ababuulizi ab’omu Italy abakuŋŋaanira mu kibiina ky’Olukyayina nga babuulira abantu abazze okulambula ekibuga Rooma. Ebitabo byaffe ebiteekebwa ku bugaali okumpi n’ebifo abalambuzi bye bettanira ennyo bisikiriza abantu bangi
ITALY
ABANTU
60,782,668
ABABUULIZI
251,650
BAPAYONIYA
33,073
Ababuulizi abasukka mu 24,000 babuulira amawulire amalungi mu nnimi engwira 37