LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp16 Na. 4 lup. 8
  • Lwaki Bayibuli Ekyaliwo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Bayibuli Ekyaliwo?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Similar Material
  • Bayibuli—Bubaka bwa Katonda Gye Tuli
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Ebikwata ku Bayibuli by’Osaanidde Okumanya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Amagezi Amalala Agayamba Amaka
    Zuukuka!—2018
  • Bayibuli Ogitwala Otya?
    Bayibuli Ogitwala Otya?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
wp16 Na. 4 lup. 8
Omusajja asoma Bayibuli

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BAYIBULI​—YAWONA OKUSAANAWO

Lwaki Bayibuli Ekyaliwo?

Leero osobola okufuna Bayibuli eyiyo ku bubwo era n’ogyesomera olw’okuba teyasaanyizibwawo. Ate bw’ofuna Bayibuli eyavvuunulwa obulungi, oba mukakafu nti erimu ebyo ebyali mu biwandiiko bya Bayibuli ebyasookera ddala.a Naye lwaki Bayibuli ekyaliwo wadde nga yali esobola okuvunda, era nga baagezaako okugisaanyaawo n’okukyusa obubaka obugirimu? Lwaki Bayibuli kitabo kya njawulo nnyo?

“Kati ndi mukakafu nti Bayibuli gye nnina kirabo ekyava eri Katonda”

Abantu bangi abasoma Bayibuli bakkiriziganya n’omutume Pawulo eyawandiika nti: “Buli kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda.” (2 Timoseewo 3:16) Bakkiriza nti Bayibuli ekyaliwo n’okutuusa leero olw’okuba Kigambo kya Katonda era n’olw’okuba Katonda y’akikuumye. Faizal, eyayogeddwako mu kitundu ekyasoose, yasalawo okwesomera Bayibuli asobole okukakasa obanga ebyo ebyali bimugambibwa bituufu. Bye yazuula byamwewuunyisa nnyo. Yakizuula nti enjigiriza nnyingi eziri mu madiini ageeyita ag’Ekikristaayo tezisangibwa mu Bayibuli. N’ekyo Bayibuli ky’eyogera ku kigendererwa kya Katonda eri ensi kyamwewuunyisa nnyo.

Faizal agamba nti, “Kati ndi mukakafu nti Bayibuli gye nnina kirabo ekyava eri Katonda. Bwe kiba nti Katonda yasobola okutonda ensi, tasobola kutuwa Bayibuli era n’agikuuma n’etasaanawo? Okugamba nti Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna tasobola kugikuuma, kuba kugaya maanyi ge. Nze ani agaya amaanyi ga Katonda?”—Isaaya 40:8.

a Laba ekitundu ekirina omutwe “How Can You Choose a Good Bible Translation?” (“Oyinza Otya Okumanya Bayibuli Eyavvuunulwa Obulungi”) mu Watchtower eya Maayi 1, 2008.

Tukakasa Tutya nti Bayibuli Ntuufu?

Tulabye engeri Bayibuli gye yawona okusaanawo. Naye oyinza otya okuba omukakafu nti ddala Bayibuli ‘kigambo kya Katonda’ so si kitabo kya ngero oba nfumo? (1 Abakkolinso 2:13) Laba vidiyo ey’eddakiika entono erina omutwe, Tukakasa Tutya nti Bayibuli Ntuufu? eri ku www.pr418.com/lg. (Genda ku EBITABO > VIDIYO)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share