Amagezi Amalala Agayamba Amaka
BAYIBULI ERIMU AMAGEZI AGASINGAYO OBULUNGI agasobola okuyamba abafumbo, abazadde, n’abaana. Amagezi agalimu gasobola okuluŋŋamya endowooza y’omuntu n’okumuyamba okusalawo obulungi.—Engero 1:1-4.
BAYIBULI ERA EDDAMU EBIBUUZO BINO EBIKULU ENNYO:
Ekigendererwa ky’obulamu kye kiruwa?
Katonda y’atuleetera ebizibu?
Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?
Laba engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo awamu n’ebirala. Laba vidiyo Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? Kozesa code oba genda ku www.pr418.com/lg.