Wa we tusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu ennyo mu bulamu?
Tusobola kubifuna . . .
mu bannasayansi?
mu bawi b’amagezi?
mu Bayibuli?
OMUWANDIISI OMU OWA BAYIBULI YASABA KATONDA NTI
“Mpa okutegeera . . . Amazima gwe mulamwa gw’ekigambo kyo.”—Zabbuli 119:144, 160, Enkyusa ey’Ensi Empya.
Abantu bukadde na bukadde bafunye eby’okuddamu okuva mu Bayibuli.
Naawe wandyagadde okufuna eby’okuddamu?
Omukutu gwa Intaneeti, jw.org, gusobola okukuyamba.
SOMA ebiri ku mukutu ogwo
Kuliko Bayibuli mu nnimi nnyingi
Kuliko eby’okuddamu mu bibuuzo ebikwata ku Bayibuli
Kuliko amagezi agasobola okuyamba amaka
LABA vidiyo ezeesigamiziddwa ku Bayibuli
Abaana Eby’okuyiga n’ennyimba z’abaana abato
Abavubuka Amagezi agasobola okuyamba abavubuka
N’ezikwata ku nsonga endala
WANULAKO ebitabo
Magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Zuukuka!
KU BIBUUZO BINO, KIRUWA KY’OSINGA OKWEBUUZA?
Ddala ani afuga ensi?
Okubonaabona kuliggwaawo?
Ddala abafu basobola okuddamu okuba abalamu?
Funa eby’okuddamu ebiva mu Bayibuli ku jw.org/lg.
(Genda ku ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI > EBIBUUZO BAYIBULI BY’EDDAMU)