LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • T-34 lup. 1-4
  • Okubonaabona kuliggwaawo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okubonaabona kuliggwaawo?
  • Okubonaabona Kuliggwaawo?
  • Similar Material
  • Olowooza ki ku Biseera eby’Omu Maaso?
    Olowooza Ki ku Biseera eby’Omu Maaso?
  • Ddala abafu basobola okuddamu okuba abalamu?
    Ddala abafu basobola okuddamu okuba abalamu?
  • Obwakabaka bwa Katonda kye ki?
    Obwakabaka bwa Katonda kye ki?
  • Ddala Ani Afuga Ensi?
    Ddala Ani Afuga Ensi?
See More
Okubonaabona Kuliggwaawo?
T-34 lup. 1-4

Okubonaabona kuliggwaawo?

Wandizzeemu nti . . .

  • yee?

  • nedda?

  • oboolyawo?

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Katonda . . . alisangula buli zziga mu maaso gaabwe, era tewalibaawo kufa, kubonaabona, kukaaba, wadde obulumi.”—Okubikkulirwa 21:3, 4, Contemporary English Version.

OMUGANYULO OGULI MU KUMANYA EKYO

Oba mukakafu nti Katonda si y’atuleetera ebizibu.​—Yakobo 1:13.

Oddamu amanyi okukimanya nti Katonda naye tekimusanyusa okulaba nga tubonaabona.​—Zekkaliya 2:8.

Oba n’essuubi nti okubonaabona kwonna kujja kukoma.​—Zabbuli 37:9-11.

Omusajja asoma Bayibuli ng’eno bwakuba akafaananyi nga ku nsi tekukyaliko kubonaabona na butali bwenkanya

TUSOBOLA OKUKKIRIZA EKYO BAYIBULI KY’EGAMBA

Lwa nsonga nga bbiri:

  • Katonda tayagala bantu kubonaabona na kuyisibwa bubi. Lowooza ku ngeri Yakuwa Katonda gye yawuliramu abantu be bwe baayisibwanga obubi. Bayibuli egamba nti yanyolwa nnyo ‘olw’abo abaabakijjanyanga.’​—Ekyabalamuzi 2:18, Enkyusa ey’Ensi Empya.

    Katonda tayagala abo ababonyaabonya bannaabwe. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti ‘abo abayiwa omusaayi ogutaliiko musango’ ba muzizo gy’ali.​—Engero 6:16, 17.

  • Katonda atufaako kinnoomu. “Buli omu amanyi ekimubonyaabonya era n’obulumi bwe.” Kyokka ne Yakuwa abimanyi!​—2 Ebyomumirembe 6:29, 30.

    Okuyitira mu Bwakabaka bwe, Yakuwa ajja kumalawo okubonaabona. (Matayo 6:9, 10) Ng’ekyo tekinnabaawo, abudaabuda abo abamunoonya.​—Ebikolwa 17:27; 2 Abakkolinso 1:3, 4.

KY’OYINZA OKULOWOOZAAKO

Abakazi babiri nga basoma Bayibuli

Lwaki Katonda akyaleeseewo okubonaabona?

Bayibuli eddamu ekibuuzo ekyo mu ABARUUMI 5:12 ne 2 PEETERO 3:9.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share