Ddala Abafu Basobola Okuddamu Okuba Abalamu?
Wandizzeemu nti . . .
yee?
nedda?
simanyi?
BAYIBULI KY’EGAMBA
“Wajja kubaawo okuzuukira.”—Ebikolwa 24:15, Enkyusa ey’Ensi Empya.
OMUGANYULO OGULI MU KUMANYA EKYO
Oguma ng’ofiiriddwa omwagalwa wo.—2 Abakkolinso 1:3, 4.
Oba tokyatya nnyo kufa.—Abebbulaniya 2:15.
Oba n’essuubi ekkakafu nti oliddamu okulaba abantu bo abaafa.—Yokaana 5:28, 29.
TUSOBOLA OKUKKIRIZA EKYO BAYIBULI KY’EGAMBA
Lwa nsonga nga ssatu:
Katonda ye nsibuko y’obulamu. Bayibuli eraga nti Yakuwa Katonda ye “nsibuko y’obulamu.” (Zabbuli 36:9; Ebikolwa 17:24, 25) Oyo eyawa ebitonde byonna obulamu asobola bulungi okuzuukiza omuntu eyafa.
Katonda yazuukiza abantu mu biseera eby’edda. Bayibuli eyogera ku bantu munaana—abato n’abakulu, abasajja n’abakazi—abaazuukizibwa. Abamu baazuukizibwa nga baakamala okufa, ate omulala yali yaakamala mu ntaana ennaku nnya!—Yokaana 11:39-44.
Katonda agenda kuddamu okuzuukiza abantu. Yakuwa okufa akutwala ng’omulabe. (1 Abakkolinso 15:26) Ayagala nnyo okuggyawo omulabe oyo n’okuzuukiza abantu abaafa. Ayagala okuzuukiza abo abaafa baddemu okubeera ku nsi.—Yobu 14:14, 15.